EKITUNDU EKY’OKUSOMA 16
“Mwannyoko Ajja Kuzuukira”!
“Yesu [n’agamba Maliza] nti: ‘Mwannyoko ajja kuzuukira.’”—Yok. 11:23.
OLUYIMBA 151 Alibayita
OMULAMWA a
1. Omwana omu yakiraga atya nti akkiririza mu kuzuukira?
OMWANA ayitibwa Matthew alina obulwadde obw’amaanyi, era obulwadde obwo bumuviiriddeko okulongoosebwa emirundi egiwera. Bwe yali nga wa myaka musanvu, ye ne bazadde be baalaba programu y’omwezi ku JW Broadcasting® eyalimu Vidiyo y’oluyimba eraga ab’oluganda nga baaniriza abantu baabwe abazuukidde. b Programu bwe yaggwa, Matthew yagenda awaali bazadde be n’abagamba nti: “Maama ne taata, ndowooza mukirabye! Ne bwe nfa, nja kuzuukira. Mujja kunnindirira.” Lowooza ku ssanyu abazadde abo lye baafuna okukimanya nti essuubi ery’okuzuukira lyali lya ddala eri mutabani waabwe?
2-3. Lwaki kikulu okufumiitirizanga ku ssuubi ery’okuzuukira?
2 Kikulu ffenna okufumiitirizanga ku ssuubi ery’okuzuukira. (Yok. 5:28, 29) Lwaki? Kubanga ekiseera kyonna tuyinza okufuna obulwadde obw’amaanyi, oba tuyinza okufiirwa omuntu waffe. (Mub. 9:11; Yak. 4:13, 14) Essuubi ery’okuzuukira lisobola okutuyamba okugumira ebizibu ng’ebyo. (1 Bas. 4:13) Ebyawandiikibwa biraga nti Kitaffe ow’omu ggulu atumanyi bulungi era atwagala nnyo. (Luk. 12:7) Okuba nti Yakuwa ajja kutuzuukiza atuzzeewo nga tuli ddala nga bwe twali, kiraga nti atumanyi bulungi. Yakuwa atwagala nnyo, era akoze enteekateeka tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Ne bwe tufa, ajja kutuzuukiza!
3 Mu kitundu kino tugenda kusooka tulabe ensonga lwaki tukkiririza mu kuzuukira. Oluvannyuma tugenda kwekenneenya okumu ku kuzuukira okwogerwako mu Bayibuli, era ng’ebyo ebyogerwa ku kuzuukira okwo mwe muggiddwa ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, ekigamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” (Yok. 11:23) Oluvannyuma tujja kulaba ekyo kye tusobola okukola okusobola okweyongera okuba abakakafu nti ddala wajja kubaawo okuzuukira.
ENSONGA LWAKI TUKKIRIZA NTI WAJJA KUBAAWO OKUZUUKIRA
4. Okusobola okukkiririza mu kisuubizo, tulina kuba bakakafu ku ki? Waayo ekyokulabirako.
4 Okusobola okukkiririza mu kisuubizo, tuba tulina okuba abakakafu nti oyo akisuubizza ayagala okukituukiriza, era nti asobola okukituukiriza. Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’ennyumba yo eyonooneddwa omuyaga. Mukwano gwo ajja n’akugamba nti, ‘Ŋŋenda kukuyamba okuzzaawo ennyumba yo.’ Mukwano gwo oyo mwesimbu, era oli mukakafu nti ayagala okukuyamba. Bw’aba nga muzimbi mukugu era ng’alina ebikozesebwa mu kuzimba, oba mukakafu nti asobola okuzzaawo ennyumba yo. N’olwekyo, ekyo ky’akusuubiza okikkiriza. Kati olwo kiri kitya ku kisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abafu? Ddala ayagala okubazuukiza? Asobola okubazuukiza?
5-6. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa ayagala okuzuukiza abantu abaafa?
5 Yakuwa ayagala okuzuukiza abafu? Kya lwatu ayagala nnyo. Yaluŋŋamya abawandiisi ba Bayibuli abawerako okuwandiika nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso. (Is. 26:19; Kos. 13:14; Kub. 20:11-13) Bulijjo Yakuwa atuukiriza ebyo by’asuubiza. (Yos. 23:14) Mu butuufu Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abafu. Lwaki tugamba bwe tutyo?
6 Lowooza ku bigambo Yobu bye yayogera. Yali mukakafu nti ne bwe yandifudde, Yakuwa yandibadde yeesunga okumuzuukiza. (Yob. 14:14, 15) Yakuwa bw’atyo bw’awulira n’eri abaweereza be bonna abaafa. Yeesunga nnyo okubazuukiza, abazzeewo nga balamu bulungi era nga basanyufu. Ate obuwumbi n’obuwumbi bw’abantu abaafa nga tebafunye kakisa kuyiga bikwata ku Yakuwa? Nabo Yakuwa ayagala okubazuukiza. (Bik. 24:15) Ayagala bafune akakisa ak’okuba mikwano gye, basobole okuba abalamu ku nsi emirembe gyonna. (Yok. 3:16) Mazima ddala Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abaafa.
7-8. Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa alina obusobozi obw’okuzuukiza abaafa?
7 Ddala Yakuwa asobola okuzuukiza abantu abaafa? Yee! Ye ‘Muyinza w’Ebintu Byonna.’ (Kub. 1:8) Alina amaanyi mangi, ne kiba nti asobola okuwangula omulabe yenna, ka kube kufa. (1 Kol. 15:26) Okumanya ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi era kitubudaabuda. Lowooza ku ebyo ebyayogerwa mwannyinaffe Emma Arnold. Ye n’ab’omu maka ge baayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ennyo mu kiseera kya Ssematalo II. Okusobola okubudaabuda muwala we olw’abantu baabwe abaali bafiiridde mu nkambi z’Abanazi, Emma yagamba nti: “Singa abantu abafa baali tebasobola kuzuukira, ekyo kyandibadde kitegeeza nti okufa kusinga Katonda amaanyi. Naye ekyo tekisoboka.” Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi! Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna eyawa abantu n’ebintu ebirala byonna obulamu, asobola okuzuukiza abantu ne baddamu okuba abalamu.
8 Ensonga endala lwaki tuli bakakafu nti Katonda asobola okuzuukiza abafu eri nti, alina obusobozi obw’okujjukira buli kintu. Bayibuli eraga nti buli mmunyeenye agimanyi erinnya. (Is. 40:26) Akyajjukira n’abantu abaafa. (Yob. 14:13; Luk. 20:37, 38) Ajjukira kalonda yenna akwata ku abo b’ajja okuzuukiza, omuli endabika yaabwe, engeri zaabwe, ebyo bye baayitamu, n’ebintu bye baali bamanyi.
9. Lwaki okkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa eky’okuzuukiza abafu?
9 Mazima ddala tusobola okukkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa eky’okuzuukiza abafu, kubanga tukimanyi nti ayagala okubazuukiza, era alina obusobozi bw’okubazuukiza. Waliwo n’ensonga endala lwaki tukkiririza mu kisuubizo ekyo: Yakuwa alina abantu be yazuukizaako. Mu biseera by’edda, alina abantu be yasobozesa okuzuukiza abafu, era nga mu bantu abo mwe mwali ne Yesu. Kati ka tulabe ebyo ebyogerwa ku omu ku bantu Yesu be yazuukiza ebiri mu Yokaana essuula 11.
YESU AFIIRWA MUKWANO GWE GW’AYAGALA ENNYO
10. Kiki ekibaawo nga Yesu abuulira emitala wa Yoludaani, era kiki ky’akolawo? (Yokaana 11:1-3)
10 Soma Yokaana 11:1-3. Kuba akafaananyi ng’oli mu Bessaniya, ng’omwaka gwa 32 E.E. gunaatera okuggwaako. Mikwano gya Yesu egy’oku lusegere, Lazaalo, ne bannyina ababiri, Maliyamu ne Maliza, babeera ku kyalo ekyo. (Luk. 10:38-42) Laazaalo mulwadde nnyo era bannyina beeraliikirivu nnyo. Batumira Yesu okumutegeeza embeera gy’alimu. Yesu ali mitala wa Yoludaani, era ng’okuva w’ali okutuuka e Bessaniya omuntu atambulirawo ennaku nga bbiri. (Yok. 10:40) Eky’ennaku, Laazaalo afa awo nga mu kiseera omubaka w’atuukira eri Yesu. Wadde nga Yesu akitegeera nti mukwano gwe afudde, asigala eyo gy’ali okumala ennaku endala bbiri, oluvannyuma n’alyoka asitula okugenda e Bessaniya. N’olwekyo Yesu w’atuukirayo, Laazaalo aba amaze ennaku nnya nga afudde. Yesu alina ekintu ky’agenda okukola ekigenda okuganyula mikwano gye, era ekigenda okuviirako Katonda okugulumizibwa.—Yok. 11:4, 6, 11, 17.
11. Ebyo ebyaliwo ebikwata ku Laazaalo ne bannyina, bituyigiriza ki ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu mikwano gyaffe?
11 Ebyo ebyaliwo birina kye bituyigiriza ku ngeri gye tusaanidde okuyisaamu mikwano gyaffe. Weetegereze nti Maliyamu ne Maliza bwe baasindika omubaka eri Yesu, tebaasaba Yesu kujja Bessaniya. Baamugamba bugambi nti mukwano gwe yali mulwadde. (Yok. 11:3) Laazaalo bwe yafa, Yesu yandibadde asobola okumuzuukiza ng’asinziira eyo gye yali. Wadde kyali kityo, yasalawo okugenda e Bessaniya, okubeera wamu ne mikwano gye, Maliyamu ne Maliza. Olinayo mukwano gwo omwetegefu okukuyamba nga tosoose kumusaba? Bwe kiba kityo, okimanyi nti osobola okumwesiga nti ajja kukuyamba ng’oli “mu biro eby’okulaba ennaku.” (Nge. 17:17) Okufaananako Yesu, naffe ka tube bwe tutyo eri mikwano gyaffe! Kati ka tulabe ekyaddirira.
12. Kiki Yesu ky’asuubiza Maliza, era lwaki ekyo Maliza tayinza kukibuusabuusa? (Yokaana 11:23-26)
12 Soma Yokaana 11:23-26. Maliza akitegeerako nti Yesu ali kumpi ne Bessaniya. Mangu ddala agenda n’amusisinkana, era n’amugamba nti: “Mukama wange, singa waliwo, mwannyinaze teyandifudde.” (Yok. 11:21) Kyo kituufu nti Yesu yali asobola okuwonya Laazaalo. Naye waliwo ekintu Yesu ky’ayagala okukola ekisinga ku ekyo. Agamba Maliza nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” Ate era amubuulira ensonga endala gy’asobola okusinziirako okuba omukakafu nti ddala Laazaalo ajja kuzuukira. Amugamba nti: “Nze kuzuukira n’obulamu.” Katonda yawa Yesu obuyinza okuzuukiza abafu. Emabegako, yazuukiza omuwala eyali yaakafa. Ate era yazuukiza n’omuvubuka, kirabika ku lunaku olwo lwennyini lwe yafa. (Luk. 7:11-15; 8:49-55) Naye asobola okuzuukiza omuntu amaze ennaku nnya ng’afudde, era ng’atandise n’okuvunda?
“LAAZAALO, FULUMA!”
13. Nga bwe kiragibwa mu Yokaana 11:32-35, Yesu akwatibwako atya bw’alaba Maliyamu n’abalala nga bakaaba? (Laba n’ekifaananyi.)
13 Soma Yokaana 11:32-35. Lowooza ku ekyo ekyaddirira. Maliyamu mwannyina wa Laazaalo omulala naye agenda okusisinkana Yesu. Bw’atuuka w’ali naye amugamba nti: “Mukama wange, singa waliwo mwannyinaze teyandifudde.” Maliyamu awamu n’abo b’ali nabo balina ennaku ya maanyi. Yesu bw’abalaba era n’abawulira nga bakaaba, naye awulira ennaku ey’amaanyi. Olw’okuba alumirirwa nnyo mikwano gye, naye akulukusa amaziga. Ategeera bulungi obulumi omuntu bw’awulira ng’afiiriddwa omuntu we. Mazima ddala ayagala nnyo okuggyawo ekyo ekibaleetedde ennaku eyo ey’amaanyi!
14. Engeri Yesu gye yakwatibwako ng’alabye Maliyamu ng’akaaba etuyigiriza ki ku Yakuwa?
14 Okuba nti Yesu yalumwa era n’akaaba bwe yalaba Maliyamu ng’akaaba, kitulaga nti Yakuwa Katonda waffe musaasizi nnyo. Lwaki tugamba bwe tutyo? Nga bwe twalaba mu kitundu ekyayita, Yesu ayolekera ddala endowooza n’enneewulira ya Kitaawe. (Yok. 12:45) N’olwekyo, okuba nti Yesu yalumwa nnyo era n’akaaba bwe yalaba mikwano gye nga bali mu nnaku olw’okufiirwa omuntu waabwe, kiraga nti Yakuwa alumwa nnyo bw’alaba nga tukaaba olw’obulumi oba olw’ennaku gye tuba nayo. (Zab. 56:8) Ekyo tekikuleetera okwagala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda waffe omusaasizi?
15. Okusinziira ku Yokaana 11:41-44, kiki ekyaliwo nga Yesu agenze ku ntaana Laazaalo mwe yaziikibwa? (Laba n’ekifaananyi.)
15 Soma Yokaana 11:41-44. Yesu bw’atuuka ku ntaana mwe baaziika Laazaalo, abalagira baggyewo ejjinja erigibisse. Ekyo Maliza takisemba, era agamba nti, kati Laazaalo ateekwa okuba ng’awunya. Yesu amuddamu nti: “Saakugambye nti bw’onokkiriza ojja kulaba ekitiibwa kya Katonda?” (Yok. 11:39, 40) Oluvannyuma Yesu atunula waggulu, era asaba nga bonna bawulira. Ayagala Yakuwa y’aba atenderezebwa olw’ekyo ekigenda okubaawo. Ekiddirira, Yesu agamba nti: “Laazaalo, fuluma!” Laazaalo afuluma mu ntaana! Yesu akoze ekintu abamu kye babadde balowooza nti tekisoboka.
16. Ebyo bye tusoma mu Yokaana essuula 11 binyweza bitya essuubi lye tulina mu kuzuukira?
16 Ebyo bye tusoma mu Yokaana essuula 11 byongera okunyweza essuubi lye tulina mu kuzuukira. Mu ngeri ki? Kijjukire nti Yesu yagamba Maliza nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.” (Yok. 11:23) Okufaananako Kitaawe, Yesu ayagala nnyo okuzuukiza abantu era alina obusobozi obw’okubazuukiza. Okuba nti yakaaba, kiraga nti ayagala nnyo okuggyawo okufa n’obulumi bwe kuleeta. Laazaalo bwe yafuluma mu ntaana, kyayongera okukakasa nti Yesu alina obusobozi bw’okuzuukiza abafu. Ate era jjukira ebigambo bino Yesu bye yagamba Maliza: “Saakugambye nti bw’onokkiriza ojja kulaba ekitiibwa kya Katonda?” (Yok. 11:40) Tulina ensonga ennungi kwe tusinziira okukkiriza nti ekisuubizo kya Katonda eky’okuzuukiza abafu ddala kijja kutuukirira. Naye kiki kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okuba abakakafu nti ddala wajja kubaawo okuzuukira?
EBYO BYE TUSAANIDDE OKUKOLA OKUSOBOLA OKWEYONGERA OKUBA ABAKAKAFU NTI DDALA WAJJA KUBAAWO OKUZUUKIRA
17. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tusoma ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaazuukizibwa?
17 Soma era ofumiitirize ku ebyo ebikwata ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaazuukizibwa. Bayibuli eyogera ku bantu munaana abaazuukizibwa wano ku nsi. c Lwaki towaayo ebiseera n’osoma era n’ofumiitiriza ku buli kumu ku kuzuukira okwo? Bw’oba osoma ku bantu abo, kijjukire nti baaliyo ddala. Mwalimu abasajja, abakazi, n’abaana. Fumiitiriza ku ebyo by’oyigira ku kuzuukira okwo. Lowooza ku ngeri buli kumu ku kuzuukira okwo gye kulaga nti Katonda ayagala nnyo okuzuukiza abantu abaafa, era nti alina obusobozi okubazuukiza. Naye okusingira ddala, fumiitiriza ku kuzuukira okusinga okulala kwonna, nga kuno kwe kwa Yesu. Kijjukire nti abantu bikumi na bikumi baamulaba ng’azuukidde, era ekyo kyongera okunyweza essuubi lye tulina mu kuzuukira.—1 Kol. 15:3-6, 20-22.
18. Biki by’osaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu nnyimba ezikwata ku kuzuukira? (Laba n’obugambo obuli wansi.)
18 Wulirizanga era ofumiitirize ku ‘nnyimba ez’eby’omwoyo’ ezoogera ku ssuubi ery’okuzuukira. d (Bef. 5:19) Ennyimba ezo zituyamba okweyongera okuba abakakafu nti ddala okuzuukira gyekuli, era zinyweza essuubi lye tulina mu kuzuukira. Zeegezengamu, era ebigambo ebizirimu mubikubaganyeeko ebirowoozo mu kusinza kw’amaka. Ate era fuba okuzikwata mu mutwe. Singa okola bw’otyo, bw’onoofuna ekizibu eky’amaanyi oba bw’onoofiirwa omuntu wo, omwoyo gwa Yakuwa gujja kukuyamba okujjukira ennyimba ezo era zijja kukubudaabuda nnyo n’okukuzzaamu amaanyi.
19. Kafaananyi ki ke tuyinza okukuba bwe tulowooza ku kuzuukira? (Laba akasanduuko “ Biki by’Onoobabuuza?”)
19 Kuba akafaananyi. Yakuwa yatuwa obusobozi bw’okukuba akafaananyi, era tusobola okukuba akafaananyi nga tuli mu nsi empya. Mwannyinaffe omu agamba nti: “Ntera nnyo okukuba akafaananyi nga ndi mu nsi empya. Mbeerera ddala ng’aliyo, nga ndaba ebimuli, era nga mpunyirwa obuwoowo bwabyo.” Kuba akafaananyi ng’osisinkanye abasajja n’abakazi aboogerwako mu Bayibuli. Ani gwe weesunga okusisinkana? Bibuuzo ki by’onoomubuuza? Ate era kuba akafaananyi ng’ozzeemu okulaba abantu bo abaafa. Lowooza ku ekyo ekinaabaawo nga mwakasisinkana. Ng’obagudde mu kifuba, nga mukaaba amaziga ag’essanyu, era lowooza ne ku bigambo bye munaayogera nga mwakasisinkana.
20. Kiki kye tusaanidde okweyongera okukola?
20 Mazima ddala twebaza nnyo Yakuwa olw’okutuwa essuubi ery’okuzuukira! Tuli bakakafu nti ddala Katonda ajja kuzuukiza abantu abaafa, kubanga ayagala nnyo okubazuukiza era alina obusobozi okubazuukiza. Ka tweyongere okunyweza essuubi lye tulina mu kuzuukira. Ekyo kijja kutuyamba okweyongera okusemberera Katonda waffe, agamba buli omu ku ffe nti, ‘Abantu bo bajja kuzuukira!’
OLUYIMBA 147 Katonda Atusuubizza Obulamu Obutaggwaawo
a Bw’oba nga wafiirwa omuntu wo, essuubi ery’okuzuukira liteekwa okuba nga likuzzaamu nnyo amaanyi. Naye oyinza otya okunnyonnyola abalala ensonga lwaki okkiririza mu kuzuukira? Era kiki ky’oyinza okukola okusobola okweyongera okuba omukakafu nti ddala wajja kubaawo okuzuukira? Ekitundu kino kigenda kutuyamba okweyongera okuba abakakafu nti ddala wajja kubaawo okuzuukira.
b Vidiyo y’oluyimba olwo erina omutwe, Binaatera Okutuuka. Era yafulumira mu programu ya Noovemba 2016.
c Laba akasanduuko “Abantu Munaana Abaazuukizibwa Aboogerwako mu Bayibuli,” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Agusito 1, 2015, lup. 4.
d Laba ennyimba zino mu katabo “Muyimbire Yakuwa n’Essanyu: “Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya” (Oluyimba 139), “Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!” (Oluyimba 144), ne “Alibayita” (Oluyimba 151). Laba n’ennyimba zino endala ku jw.org: “Binaatera Okutuuka,” “Mu Nsi Empya Ejja,” ne “Bye Ndaba Naawe Birabe.”