Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 19

Tuyinza Tutya Okweyongera Okuba Abakakafu Nti Wajja Kubaawo Ensi Empya?

Tuyinza Tutya Okweyongera Okuba Abakakafu Nti Wajja Kubaawo Ensi Empya?

“[Yakuwa] bw’abaako ky’agambye, takikola?”​—KUBAL. 23:19.

OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe

OMULAMWA a

1-2. Kiki kye tusaanidde okukola nga bwe tulindirira ensi empya?

 TUSIIMA nnyo ekyo Yakuwa kye yatusuubiza nti ajja kuggyawo enteekateeka y’ebintu eno embi aleete ensi empya ejja okubaamu obutuukirivu. (2 Peet. 3:13) Wadde nga tetumanyi ddi ekyo lwe kinaabaawo, ebiriwo mu nsi biraga nti kinaatera okubaawo.—Mat. 24:32-34, 36; Bik. 1:7.

2 Ka tube nga tumaze bbanga ki mu mazima, ffenna twetaaga okunyweza okukkiriza kwe tulina mu kisuubizo ekyo. Lwaki? Kubanga omuntu ne bw’aba n’okukkiriza okunywevu, kusobola okunafuwa. Mu butuufu, obutaba na kukkiriza omutume Pawulo yakuyita “ekibi ekyanguwa okutwezingako.” (Beb. 12:1) Okusobola okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu, tusaanidde okufumiitirizanga ku bintu ebiraga nti ensi empya eneetera okujja.—Beb. 11:1.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba ebintu bisatu ebinaatuyamba okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe mu kisuubizo kya Yakuwa eky’ensi empya: (1) okufumiitiriza ku kinunulo (2) okufumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa, ne (3) okwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Oluvannyuma tugenda kulaba engeri ebyo Yakuwa bye yagamba Kaabakuuku gye binyweza okukkiriza kwaffe leero. Naye ka tusooke tulabe ezimu ku mbeera ezitwetaagisa okuba n’okukkiriza okunywevu mu kisuubizo kya Yakuwa eky’ensi empya.

EMBEERA EZITWETAAGISA OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUNYWEVU

4. Biki bye tusalawo ebitwetaagisa okuba n’okukkiriza okunywevu?

4 Buli lunaku tuba n’eby’okusalawo ebitwetaagisa okuba n’okukkiriza okunywevu. Ng’ekyokulabirako, tusalawo ku bikwata ku mikwano, ku by’okwesanyusaamu, ku buyigirize, ku bufumbo, ku baana, ne ku mirimu gye tukola okweyimirizaawo. Tusaanidde okwebuuza nti, ‘Bye nsalawo biraga nti nkikkiriza nti ensi eno embi eneetera okuvaawo waddewo ensi empya Katonda gye yatusuubiza? Oba biraga nti ntwaliriziddwa endowooza y’abantu abatakkiriza nti eriyo obulamu obutaggwaawo?’ (Mat. 6:19, 20; Luk. 12:16-21) Bwe tuba nga tukkiriza nti ensi empya eneetera okujja, kituyamba okusalawo obulungi.

5-6. Lwaki twetaaga okuba n’okukkiriza okunywevu nga twolekagana n’ebizibu? Waayo ekyokulabirako.

5 Ate era twolekagana n’ebizibu ebitwetaagisa okuba n’okukkiriza okunywevu. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okuyigganyizibwa, okulwala obulwadde obutawona, oba okufuna ebizibu ebirala ebiyinza okutumalamu amaanyi. Mu kusooka tuyinza okulowooza nti tusobola okugumira ebizibu bye tuba twolekagana nabyo. Naye bwe tumala ekiseera kiwanvu nga twolekagana n’ekizibu, kiba kitwetaagisa okuba n’okukkiriza okunywevu okusobola okukigumira n’okweyongera okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu.—Bar. 12:12; 1 Peet. 1:6, 7.

6 Bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu, tuyinza okulowooza nti ensi empya terijja. Ekyo kiba kiraga nti okukkiriza kwaffe kuddiridde? Kiyinza obutaba bwe kityo. Lowooza ku kyokulabirako kino. Bwe tuba mu kyeya eky’amaanyi, tuyinza okulowooza nti enkuba teritonnya. Naye emala n’etonnya. Mu ngeri y’emu, bwe tuba nga tuweddemu nnyo amaanyi, tuyinza okulowooza nti ensi empya terijja. Kyokka okukkiriza kwaffe bwe kuba okunywevu, tuba tukimanyi nti ebisuubizo bya Yakuwa bijja kutuukirira. (Zab. 94:3, 14, 15; Beb. 6:17-19) Ekyo kituyamba okweyongera okukulembeza Yakuwa mu bulamu bwaffe.

7. Ndowooza ki gye tulina okwewala?

7 Embeera endala etwetaagisa okuba n’okukkiriza kunywevu kwe kubuulira. Abantu bangi be tubuulira balowooza nti ekisuubizo kya Katonda eky’ensi empya tekiyinza kutuukirira. (Mat. 24:14; Ezk. 33:32) Tusaanidde okwegendereza tuleme kuba na ndowooza ng’eyo. Okusobola okwewala okuba n’endowooza ng’eyo, tulina okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe. Ka tulabeyo ebintu bisatu ebinaatuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe.

FUMIITIRIZA KU KINUNULO

8-9. Okufumiitiriza ku kinunulo kiyinza kitya okunyweza okukkiriza kwaffe?

8 Engeri emu gye tuyinza okunywezaamu okukkiriza kwaffe kwe kufumiitiriza ku kinunulo. Okuba nti Yakuwa yatuwa ekinunulo, kiraga nti ebisuubizo bye bijja kutuukirira. Bwe tulowooza ku ebyo Yakuwa bye yeefiiriza okusobola okutuwa ekinunulo, twongera okuba abakakafu nti ajja kutuwa obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. Lwaki tugamba bwe tutyo?

9 Biki ebyazingirwa mu kuwaayo ekinunulo? Yakuwa yasindika ku nsi Omwana we gw’ayagala ennyo gwe yali amaze ekiseera kiwanvu nnyo ng’abeera naye mu ggulu. Yesu bwe yali ku nsi, yayolekagana n’ebizibu ebya buli ngeri. Oluvannyuma yabonyaabonyezebwa era n’attibwa mu ngeri embi ennyo. Yakuwa nga yeefiiriza nnyo okuwaayo ekinunulo! Katonda waffe atwagala yali tasobola kuleka Mwana we kubonaabona n’okufa tusobole okubeera mu bulamu obulungi okumala ekiseera kitono. (Yok. 3:16; 1 Peet. 1:18, 19) Olw’okuba Yakuwa yeefiiriza nnyo, ajja kukakasa nti tufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.

FUMIITIRIZA KU BUYINZA YAKUWA BW’ALINA

10. Okusinziira ku Abeefeso 3:20, biki Yakuwa by’asobola okukola?

10 Ekintu eky’okubiri ekisobola okutuyamba okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe kwe kufumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa. Olw’okuba Yakuwa alina amaanyi mangi, asobola okutuukiriza byonna by’asuubiza. Kyo kituufu nti bangi leero tebakkiriza nti abantu basobola okuba abalamu emirembe gyonna mu nsi empya. Naye emirundi mingi Yakuwa asuubiza ebintu abantu bye batasobola kukola. Ekyo kiri kityo kubanga ye Muyinza w’Ebintu Byonna. (Yob. 42:2; Mak. 10:27) N’olwekyo tekitwewuunyisa bw’atusuubiza ebintu ebirabika ng’ebitasoboka.—Soma Abeefeso 3:20.

11. Waayo ekyokulabirako kimu ku bintu Yakuwa bye yasuubiza ekyali kirabika ng’ekitasobola kutuukirira. (Laba akasanduuko “ Ebimu ku Bintu Yakuwa Bye Yasuubiza Ebyali Birabika ng’Ebitasoboka.”)

11 Lowooza ku bintu ebimu Yakuwa bye yasuubiza abantu be mu biseera eby’edda ebyali birabika ng’ebitasobola kutuukirira. Yakuwa yasuubiza Ibulayimu ne Saala nga bakaddiye nti bandizadde omwana ow’obulenzi. (Lub. 17:15-17) Ate era yasuubiza Ibulayimu nti yandiwadde bazzukulu be ensi ya Kanani. Mu kiseera ekiwanvu nga bazzukulu ba Ibulayimu, Abayisirayiri, bali mu buddu e Misiri, ekisuubizo ekyo kyalabika ng’ekitalituukirira. Naye kyatuukirira. Ate oluvannyuma Yakuwa yasuubiza Erizabeesi eyali akaddiye nti yandizadde omwana ow’obulenzi. Ate era yagamba nti Maliyamu eyali embeerera yali ajja kuzaala Omwana ow’obulenzi, era ng’okujja kw’Omwana oyo Yakuwa yali yakwogerako dda mu lusuku Edeni! Ekyo nakyo kyatuukirira.—Lub. 3:15.

12. Ebyo bye tusoma mu Yoswa 23:14 ne Isaaya 55:10, 11, bitukakasa ki ku buyinza bwa Yakuwa?

12 Bwe tufumiitiriza ku bintu byonna Yakuwa by’azze asuubiza era n’abituukiriza, tukiraba nti wa buyinza era ekyo kituyamba okweyongera okuba abakakafu nti n’ensi empya gye yasuubiza ejja kujja. (Soma Yoswa 23:14; Isaaya 55:10, 11.) Bwe tuba abakakafu nti ensi empya ejja kujja, tuba tusobola okuyamba abalala nabo okukikkiriza nti ekisuubizo kya Katonda ekyo ddala kijja kutuukirira. Ng’ayogera ku ggulu eriggya n’ensi empya, Yakuwa kennyini yagamba nti: “Ebigambo bino byesigika era bya mazima.”—Kub. 21:1, 5.

WEENYIGIRENGA MU BINTU EBY’OMWOYO

ENKUŊŊAANA

Buli kimu ku bintu bino kikuyamba kitya okwongera okunyweza okukkiriza kwo? (Laba akatundu 13)

13. Enkuŋŋaana zongera zitya okunyweza okukkiriza kwaffe? Nnyonnyola.

13 Ekintu eky’okusatu ekituyamba okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe, kwe kwenyigira mu bintu eby’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri enkuŋŋaana zaffe gye zituganyulamu. Mwannyinaffe Anna amaze emyaka mingi nga yeenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna obutali bumu agamba nti: “Enkuŋŋaana zinyweza nnyo okukkiriza kwange. Omwogezi ne bw’ataba mulungi oba ne bw’aba nga talina kipya ky’ayogedde, emirungi mingi wabaawo ekintu kye njiga ekinnyamba okweyongera okutegeera obulungi amazima agali mu Bayibuli, era ekyo kyongera okunyweza okukkiriza kwange.” b Kya lwatu nti n’ebyo bakkiriza bannaffe bye baddamu mu nkuŋŋaana byongera okunyweza okukkiriza kwaffe.—Bar. 1:11, 12; 10:17.

OKUBUULIRA

Buli kimu ku bintu bino kikuyamba kitya okwongera okunyweza okukkiriza kwo? (Laba akatundu 14)

14. Okubuulira kunyweza kutya okukkiriza kwaffe?

14 Ate era bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira twongera okunyweza okukkiriza kwaffe. (Beb. 10:23) Mwannyinaffe Barbara, amaze emyaka egisukka mu 70 ng’aweereza Yakuwa, agamba nti: “Okubuulira kunyweza nnyo okukkiriza kwange. Gye nkoma okwogerako n’abalala ku bintu ebirungi Yakuwa by’atusuubiza, okukkiriza kwange gye kukoma okweyongera okunywera.”

OKWESOMESA

Buli kimu ku bintu bino kikuyamba kitya okwongera okunyweza okukkiriza kwo? (Laba akatundu 15)

15. Okwesomesa kunyweza kutya okukkiriza kwaffe? (Laba n’ebifaananyi.)

15 Ekintu ekirala ekinyweza okukkiriza kwaffe kwe kwesomesa. Mwannyinaffe ayitibwa Susan aganyuddwa nnyo mu kuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa. Agamba nti: “Ku Ssande ntegeka ekitundu ky’Omunaala gw’Omukuumi kye tuba tugenda okukubaganyako ebirowoozo wiiki eddako. Ku Bbalaza ne ku Lw’okubiri, ntegeka enkuŋŋaana za wakati mu wiiki. Ennaku ezisigadde nneesomesa ku bintu ebirala.” Okuba n’enteekateeka eyo ennungi ey’okwesomesa kiyambye Susan okweyongera okunyweza okukkiriza kwe. Mwannyinaffe Irene amaze emyaka mingi ng’aweereza ku kitebe kyaffe ekikulu agamba nti okwekenneenya obunnabbi bwa Bayibuli kinywezezza nnyo okukkiriza kwe. Agamba nti: “Kinneewuunyisa nnyo okulaba nti obunnabbi bwa Yakuwa butuukirira ddala mu bujjuvu ne mu buntu obutono.” c

“KUJJA KUTUUKIRIRA”

16. Lwaki ebyo Yakuwa bye yagamba Kaabakuuku naffe bitukwatako leero? (Abebbulaniya 10:36, 37)

16 Abamu ku baweereza ba Yakuwa bamaze emyaka mingi nnyo nga balindirira enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno okutuuka. Okusinziira ku ndaba ey’obuntu, enkomerero eyinza okulabika ng’eruddewo. Yakuwa akimanyi nti oluusi abaweereza be bawulira bwe batyo. Yagamba nnabbi Kaabakuuku nti: “Okwolesebwa okwo kwa mu kiseera kyakwo ekigereke, era kwanguwa kutuuke ku nkomerero yaakwo; era tekujja kulimba. Ne bwe kunaalwa, kulindirire! Kubanga kujja kutuukirira. Tekujja kulwa!” (Kaab. 2:3) Ebigambo ebyo Yakuwa yali abigamba Kaabakuuku yekka? Oba naffe bitukwatako leero? Yakuwa yaluŋŋamya omutume Pawulo okulaga nti ebigambo ebyo bikwata ne ku Bakristaayo abalindirira ensi empya okujja. (Soma Abebbulaniya 10:36, 37.) Wadde ng’okununulibwa kwaffe kulabika ng’okuluddewo, tuli bakakafu nti kujja kubaawo. “Tekujja kulwa.”

17. Mwannyinaffe omu akoledde atya ku kubuulirira Yakuwa kwe yawa Kaabakuuku?

17 Abaweereza ba Yakuwa bangi bamaze ekiseera kiwanvu nga ‘balindirira’ enkomerero okujja. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Louise yatandika okuweereza Yakuwa mu 1939. Agamba nti: “Mu kiseera ekyo nnali ndowooza nti Amagedoni ajja kujja nga sinnamalako misomo gya siniya. Naye ekyo si bwe kyali. Emyaka bwe gizze giyitawo, ŋŋanyuddwa nnyo mu kusoma ku baweereza ba Yakuwa aboogerwako mu Bayibuli abaalindirira okutuukirizibwa kw’ebisuubizo bye, gamba nga Nuuwa, Ibulayimu, Yusufu, n’abalala, era ng’abamu baalindirira okumala ekiseera kiwanvu ddala. Okukkiriza nti Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye, nze n’abalala kituyambye okuba abakakafu nti ensi empya eneetera okujja.” Abaweereza ba Yakuwa bangi abamaze ekiseera kiwanvu nga baweereza Yakuwa ekyo bakkiriziganya nakyo!

18. Okwetegereza ebintu ebitwetoolodde kituyamba kitya okuba abakakafu nti ensi empya ejja kujja?

18 Kyo kituufu nti ensi empya tennajja. Naye lowooza ku bintu ebimu bye tulabako, gamba ng’emmunyeenye, emiti, ensolo, n’abantu. Tewali n’omu ayinza kugamba nti ebintu ebyo tebiriiwo. Naye waliwo ekiseera lwe byali nga tebiriiwo. Kati weebiri olw’okuba Yakuwa yabitonda. (Lub. 1:1, 26, 27) Katonda waffe era yasuubiza nti ajja kuleeta ensi empya. Ekyo ajja kukituukiriza. Mu nsi empya abantu bajja kubeerawo emirembe gyonna nga balamu bulungi. Tuli bakakafu nti Katonda ajja kuleeta ensi empya mu kiseera kye ekituufu.—Is. 65:17; Kub. 21:3, 4.

19. Oyinza otya okweyongera okunyweza okukkiriza kwo?

19 Mu kiseera kino nga tukyalindirira ensi empya, kozesa buli kakisa k’ofuna okunyweza okukkiriza kwo. Weeyongere okusiima ekinunulo. Fumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa. Era weenyigire mu bintu eby’omwoyo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba omu ku “abo abafuna ebisuubizo okuyitira mu kukkiriza ne mu kugumiikiriza.”—Beb. 6:11, 12; Bar. 5:5.

OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya

a Abantu bangi tebakkiriza ekyo Yakuwa ky’atusuubiza mu Bayibuli nti wajja kubaawo ensi empya. Balowooza nti kirooto bulooto oba nti lugero bugero. Kyokka tuli bakakafu nti ebintu byonna Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira. Wadde kiri kityo, tulina okweyongera okunyweza okukkiriza kwaffe. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

c Ebitundu bingi ebyogera ku bunnabbi bwa Bayibuli bisangibwa mu Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, wansi w’omutwe “Obunnabbi.” Ng’ekyokulabirako, laba ekitundu “Yakuwa ky’Agamba Kituukirira” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 1, 2008.