Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 18

Tuzziŋŋanemu Amaanyi nga Tuli mu Nkuŋŋaana

Tuzziŋŋanemu Amaanyi nga Tuli mu Nkuŋŋaana

“Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne . . . , nga tuzziŋŋanamu amaanyi.”​—BEB. 10:24, 25.

OLUYIMBA 88 Njigiriza Amakubo Go

OMULAMWA a

1. Lwaki tubaako ne bye tuddamu mu nkuŋŋaana?

 LWAKI tubaawo mu nkuŋŋaana? Okusingira ddala ensonga etuleetera okubaawo mu nkuŋŋaana, kwe kutendereza Yakuwa. (Zab. 26:12; 111:1) Ate era tubaawo mu nkuŋŋaana tusobole okuzziŋŋanamu amaanyi mu biseera bino ebizibu. (1 Bas. 5:11) Bwe tuwanika omukono ne tubaako kye tuddamu, tutuukiriza ebintu ebyo byombi.

2. Ddi lwe tuba n’akakisa okubaako ne kye tuddamu mu nkuŋŋaana zaffe?

2 Buli wiiki tuba n’akakisa okubaako kye tuddamu mu nkuŋŋaana. Ng’ekyokulabirako, mu nkuŋŋaana ezibaawo ku wiikendi, tusobola okubaako ne bye tuddamu mu kitundu eky’okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Ate mu nkuŋŋaana ezibaawo wakati mu wiiki tusobola okubaako ne bye tuddamu mu kitundu ky’Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo, Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina, ne mu bitundu ebirala ebibaamu okukubaganya ebirowoozo.

3. Kusoomooza ki kwe tuyinza okwolekagana nakwo bwe kituuka ku kubaako ne bye tuddamu mu nkuŋŋaana, era ebyo ebiri mu Abebbulaniya 10:24, 25 biyinza kutuyamba bitya?

3 Ffenna twagala okutendereza Yakuwa n’okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. Kyokka waliwo ebintu ebiyinza okukifuula ekizibu gye tuli okubaako bye tuddamu. Tuyinza okutya okubaako bye tuddamu, oba tuyinza okwagala okubaako bye tuddamu emirundi egiwerako naye ne tulondebwa omulundi gumu oba ebiri gyokka, oba ne tutalondebwa. Kiki ekiyinza okutuyamba mu mbeera ezo? Eky’okuddamu tukisanga mu bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya. Bwe yali alaga obukulu bw’okukuŋŋaana awamu, omutume Pawulo yagamba nti tusaanidde okussa essira ku ‘kuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Bwe tukimanya nti n’ebigambo ebitono bye tuddamu bizzaamu abalala amaanyi, tetujja kutya kuwanika mukono kubaako kye tuddamu. Ate singa tetulondebwa mirundi giwerako, tujja kusanyuka okukimanya nti abalala nabo bafunye akakisa okubaako kye baddamu.—1 Peet. 3:8.

4. Bintu ki ebisatu bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Mu kitundu kino, okusookera ddala tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuzziŋŋanamu amaanyi nga tuli mu kibiina ekirimu abantu abatono era ng’abawanika emikono si bangi. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuzziŋŋanamu amaanyi nga tuli mu kibiina ekirimu abantu abangi era ng’abawanika emikono bangi. Oluvannyuma tugenda kulaba engeri gye tuyinza okuzzaamu abalala amaanyi okuyitira mu ebyo bye tuddamu.

MUZZIŊŊANEMU AMAANYI MU KIBIINA EKIRIMU ABANTU ABATONO

5. Tuyinza tutya okuzziŋŋanamu amaanyi nga tuli mu kibiina ekirimu abantu abatono?

5 Mu kibiina oba mu kibinja omuli abantu abatono, wayinza obutabaawo bangi bawanika mikono kubaako bye baddamu. Ebiseera ebimu oyo akubiriza ayinza okulindirira okumala akaseera wasobole okubaawo awanika omukono okuddamu. Mu mbeera ng’eyo, tuyinza okuwulira ng’olukuŋŋaana terunyuma era nga teruzzaamu maanyi. Kiki ky’oyinza okukola mu mbeera eyo? Ba mwetegefu okuwanika omukono emirundi egiwerako. Bw’onookola bw’otyo, oyinza okuleetera n’abalala okukola kye kimu.

6-7. Tuyinza tutya okukendeeza ku kutya okubaako ne kye tuddamu mu nkuŋŋaana?

6 Watya singa otya okuddamu mu nkuŋŋaana? Bangi batya okubaako ne bye baddamu. Kyokka okusobola okuzzaamu bakkiriza banno amaanyi, osaanidde okufuba okulaba nti okutya okwo kukendeera. Ekyo oyinza kukikola otya?

7 Waliwo amagezi agazze gaweebwa mu Omunaala gw’Omukuumi agasobola okukuyamba. b Ng’ekyokulabirako, tegeka bulungi. (Nge. 21:5) Bw’onootegeera obulungi ekitundu ekiba kigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo ojja kuwulira nti oyagala okubaako ky’oddamu. Ate era tegeka eky’okuddamu ekimpi. (Nge. 15:23; 17:27) Bw’oba n’eky’okuddamu ekimpi kikuyamba obutatya nnyo kuwanika kuddamu. Eky’okuddamu ekimpi kiyinza okuyamba bakkiriza bannaffe okutegeera ensonga gye tuba twogerako, okusinga eky’okuddamu ekiwanvu ekirimu ensonga ennyingi. Bw’oddamu mu bumpimpi era mu bigambo byo, kiba kiraga nti wategese bulungi era nti n’ekitundu ekiba kikubaganyizibwako ebirowoozo wakitegedde bulungi.

8. Yakuwa atwala atya okufuba kwaffe?

8 Watya singa ogezaako okukolera ku magezi ago naye n’osigala ng’otya okubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana? Beera mukakafu nti Yakuwa asiima okufuba kwo. (Luk. 21:1-4) Yakuwa tatusuubira kukola kye tutasobola. (Baf. 4:5) Manya ky’osobola okukola, ssaawo ekiruubirirwa, era osabe Yakuwa akuyambe obe mukkakkamu. Mu kusooka, ekiruubirirwa ky’ossaawo kiyinza kuba nga kya kuwa eky’okuddamu kimu nga kimpi.

MUZZIŊŊANEMU AMAANYI MU KIBIINA EKIRIMU ABANTU ABANGI

9. Kusoomooza ki okuyinza okubaawo mu kibiina ekirimu abantu abangi?

9 Ekibiina ky’olimu bwe kibaamu abantu abangi, okusoomooza kw’ofuna kuyinza okuba okw’enjawulo. Oboolyawo abawanika bayinza okuba abangi ne kiba nti emirundi mingi tofuna kakisa kuddamu. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Danielle ayagala nnyo okubaako ne kyaddamu mu nkuŋŋaana. c Okuddamu mu nkuŋŋaana akitwala ng’ekitundu ky’okusinza kwe, ng’engeri y’okuzzaamu abalala amaanyi, era kimuyamba okweyongera okwesiga ebyo ebiri mu Bayibuli. Kyokka bwe yagenda mu kibiina ekirimu abantu abangi, teyaweebwanga kakisa kuddamu mirundi giwerako era n’oluusi teyalondebwanga. Yagamba nti: “Nnawulira bubi nnyo. Nnawulira ng’eyali aggiddwako enkizo. Ekyo bwe kibaawo enfunda n’enfunda oyinza n’okulowooza nti bakigenderera obutakulonda.”

10. Biki bye tuyinza okukola okusobola okufuna akakisa okubaako ne kye tuddamu?

10 Naawe wali weewuliddeko nga Danielle? Mu mbeera eyo oyinza okwagala okulekera awo okubaako ky’okuddamu mu nkuŋŋaana, n’osalawo kuwuliriza buwuliriza. Naye tosaanidde kulekera awo kubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana. Kiki ekisobola okukuyamba? Oyinza okutegeka eby’okuddamu ebiwerako. Bwe batakulonda ng’ekitundu kyakatandika bayinza okukulonda oluvannyuma. Bw’oba otegeka ekitundu eky’okusoma mu Omunaala gw’Omukuumi, lowooza ku ngeri buli katundu gye kakwataganamu n’omutwe gw’ekitundu ekyo. Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba n’eby’okuddamu ebiwerako. Okuggata ku ekyo, oyinza n’okuteekateeka okuddamu ku butundu obulimu enjigiriza za Bayibuli ez’ebuziba ezitali nnyangu kunnyonnyola. (1 Kol. 2:10) Lwaki? Kubanga wayinza okubaawo abantu batono abawanika okuddamu ku butundu obwo. Watya singa n’oluvannyuma lw’okukolera ku magezi ago emirundi egiwera, tolondebwa kubaako ky’oddamu? Oyinza okwogerako n’oyo anaakubiriza ekitundu ekirimu okukubaganya ebirowoozo n’omubuulira akatundu ke wandyagadde okubaako ne ky’oddamu.

11. Abafiripi 2:4 watukubiriza kukola ki?

11 Soma Abafiripi 2:4. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okufaayo ku by’abalala. Tuyinza tutya okukolera ku kubuulira okwo nga tuli mu nkuŋŋaana? Nga tukijjukira nti n’abalala bandyagadde okubaako ne kye baddamu.

Nga bw’oteefuga mboozi ng’onyumya n’abalala, leka n’abalala babeeko bye baddamu mu nkuŋŋaana (Laba akatundu 12)

12. Ngeri ki gye tuyinza okuzzaamu abalala amaanyi nga tuli mu nkuŋŋaana? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Kirowoozeeko; bw’oba ng’onyumya ne mikwano gyo, wandyefuze emboozi n’otobawa kakisa kwogera? Kya lwatu nedda! Wandyagadde nabo babeeko kye boogera. Mu ngeri y’emu, bwe tuba mu nkuŋŋaana twagala abantu bangi nga bwe kisoboka babeeko ne kye baddamu. Mu butuufu engeri emu gye tuyinza okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi, kwe kubawa akakisa okubaako ne kye baddamu. (1 Kol. 10:24) Ka tulabe engeri ekyo gye tuyinza okukikolamu.

13. Tuyinza tutya okuddamu mu ngeri esobozesa n’abalala okubaako ne kye baddamu?

13 Bwe tuddamu mu bumpimpi, kiwa abalala akakisa okubaako ne kye baddamu. Abakadde n’ababuulizi abalina obumanyirivu basaanidde okuteerawo abalala ekyokulabirako ku nsonga eno. Ne bw’owa eky’okuddamu ekimpi, weewale okwogera ku nsonga eziwerako. Bw’oyogera ku buli nsonga eri mu katundu, abalala baba tebalina kye bagenda kwogerako. Ng’ekyokulabirako, akatundu kano kalimu ensonga zino enkulu bbiri ez’okuddamu: Esooka, ddamu mu bumpimpi, ey’okubiri, weewale okwogera ku nsonga eziwerako. Bw’oba nga ggwe osoose okulondebwa okubaako ky’oddamu ku katundu kano, yogerako ensonga emu.

Ddi lwe tuyinza okusalawo obutawanika mukono nga tuli mu nkuŋŋaana? (Laba akatundu 14) f

14. Kiki ekinaatuyamba okusalawo mirundi emeka gye tunaawanika okubaako kye tuddamu? (Laba n’ekifaananyi.)

14 Kozesa amagezi ng’osalawo mirundi emeka gy’onoowanika omukono okuddamu. Bwe tuwanika emirundi emingi, tuyinza okuleetera akubiriza okuwalirizibwa okutulonda wadde nga waliwo abalala abatannafuna kakisa kuddamu. Ekyo kiyinza okulemesa abalala okuwanika omukono okubaako kye baddamu.—Mub. 3:7.

15. (a) Twandikitutte tutya singa tebatulonda kubaako kye tuddamu? (b) Abo abakubiriza ebitundu bayinza batya okukiraga nti bafaayo ku buli omu? (Laba akasanduuko “ Bw’oba ng’Olina Ekitundu ky’Okubiriza.”)

15 Bwe wabaawo bangi abawanika, tuyinza obutafuna kakisa kuddamu mirundi gye twandyagadde. Ate oluusi oyo akubiriza ekitundu ayinza n’obutatulondera ddala. Ekyo kiyinza okutuleetera okuwulira obubi, naye tetusaanidde kunyiiga.—Mub. 7:9.

16. Tuyinza tutya okuzzaamu amaanyi abo ababaako bye baddamu mu nkuŋŋaana?

16 Bw’oba nga tofunye kakisa kuddamu mirundi gye wandyagadde, lwaki towuliriza bulungi ng’abalala baliko bye baddamu era oluvannyuma lw’enkuŋŋaana n’obasiima? Ebyo by’onooyogera ng’osiima bakkiriza banno bijja kubazzaamu amaanyi okufaananako ebyo bye wandizzeemu singa obadde olondeddwa okubaako ky’oddamu. (Nge. 10:21) Okusiima abalala ye ngeri endala gye tusobola okubazzaamu amaanyi.

EBIRALA BYE TUSOBOLA OKUKOLA OKUZZIŊŊANAMU AMAANYI

17. (a) Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okutegeka eby’okuddamu? (b) Okusinziira ku vidiyo, bintu ki ebina bye tusaanidde okukola nga tuteekateeka eky’okuddamu? (Laba n’obugambo obuli wansi.)

17 Biki ebirala bye tusobola okukola okuzziŋŋanamu amaanyi nga tuli mu nkuŋŋaana? Bw’oba oli muzadde, yamba abaana bo okutegeka eby’okuddamu ng’osinziira ku myaka gyabwe. (Mat. 21:16) Emirundi egimu ensonga eziba zikubaganyizibwako ebirowoozo, gamba ng’ezikwata ku bizibu ebibaawo mu maka oba ezikwata ku nneeyisa, ziyinza okuzibuwalira abaana okutegeera. Kyokka wayinza okubaawo akatundu kamu oba bubiri ng’omwana asobola okubaako ne kyaddamu. Ate era yamba abaana bo okutegeera ensonga lwaki emirundi egimu bayinza obutalondebwa nga bawanise. Ekyo kijja kubayamba obutaggwamu maanyi singa bawanika omukono ne batalondebwa.—1 Tim. 6:18. d

18. Tuyinza tutya okwewala okweyogerako ennyo nga tulina kye tuddamu? (Engero 27:2)

18 Ffenna tusobola okuteekateeka eby’okuddamu ebiweesa Yakuwa ekitiibwa era ebizzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi. (Nge. 25:11) Wadde ng’emirundi egimu tuyinza okuwaayo ekyokulabirako ekitukwatako, tusaanidde okwewala okweyogerako ennyo. (Soma Engero 27:2; 2 Kol. 10:18) Mu kifo ky’ekyo, essira tusaanidde kulissa ku Yakuwa, ku Kigambo kye, ne ku bantu be. (Kub. 4:11) Kyokka ekibuuzo bwe kiba nga kitwetaagisa okubaako ekintu ekitukwatako kye twogerako, tusobola okukyogerako. Ekyokulabirako ky’ekibuuzo ng’ekyo tugenda kukisanga mu katundu akaddako.

19. (a) Kiki ekinaavaamu bwe tunaafaayo ku bonna abali mu nkuŋŋaana? (Abaruumi 1:11, 12) (b) Kiki ky’osiima ku nteekateeka y’okubaako ne bye tuddamu nga tuli mu nkuŋŋaana?

19 Wadde nga tewali mateeka gakwata ku ngeri gye tusaanidde kuddamu mu nkuŋŋaana, ffenna tusobola okuzzaamu bakkiriza bannaffe amaanyi okuyitira mu ebyo bye tuddamu. Olumu kiyinza okutwetaagisa okuwanika omukono emirundi egiwerako. Oba kiyinza okutwetaagisa okuba abamativu n’ekyo kye tuba tuzzeemu wadde nga tebatulonze mirundi giwerako, kubanga ne bakkiriza bannaffe baba bafunye akakisa okubaako ne bye baddamu. Bwe tufaayo ku by’abalala nga tuli mu nkuŋŋaana, ffenna tusobola ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’—Soma Abaruumi 1:11, 12.

OLUYIMBA 93 Wa Omukisa Enkuŋŋaana Zaffe

a Tuzziŋŋanamu amaanyi bwe tubaako ne kye tuddamu mu nkuŋŋaana. Kyokka abamu batya okubaako kye baddamu. Ate abalala banyumirwa okubaako kye baddamu mu nkuŋŋaana, naye muli bawulira nti tebaweebwa kakisa kamala. Mu mbeera ezo zombi tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku balala, ffenna tusobole okuzziŋŋanamu amaanyi? Era tuyinza tutya okuddamu mu ngeri ereetera bakkiriza bannaffe okwoleka okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi? Ebibuuzo ebyo bigenda kuddibwamu mu kitundu kino.

b Laba amagezi amalala agasobola okukuyamba mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali  2019, lup. 8-13, ne Watchtower eya Ssebutemba 1, 2003, lup. 19-22.

c Erinnya likyusiddwa.

e Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2013, lup. 32, ne Watchtower eya Ssebutemba 1, 2003, lup. 21-22.

f EKIFAANANYI: Mu kibiina ekirimu abantu abangi, ow’oluganda eyafunye akakisa okubaako kyaddamu, alese abalala nabo babeeko ne bye baddamu.