Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 17

Yakuwa Ajja Kukuyamba ng’Oyolekagana n’Ebizibu by’Obadde Tosuubira

Yakuwa Ajja Kukuyamba ng’Oyolekagana n’Ebizibu by’Obadde Tosuubira

“Omutuukirivu aba n’ebizibu bingi, naye byonna Yakuwa abimuyisaamu.”​—ZAB. 34:19.

OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku

OMULAMWA a

1. Tuli bakakafu ku ki?

 ABAWEEREZA ba Yakuwa tukimanyi nti Yakuwa atwagala nnyo, era nti ayagala tube basanyufu. (Bar. 8:35-39) Ate era tuli bakakafu nti okukolera ku misingi gya Bayibuli kituganyula. (Is. 48:17, 18) Naye watya singa tufuna ebizibu bye tuba tutasuubira?

2. Bizibu ki bye tuyinza okwolekagana nabyo, era biyinza kutuleetera kwebuuza ki?

2 Abaweereza ba Yakuwa bonna boolekagana n’ebizibu. Ng’ekyokulabirako, omu ku b’omu maka gaffe ayinza okukola ekintu ekitumalako essanyu. Tuyinza okufuna obulwadde obw’amaanyi obutulemesa okukola ebintu ebimu mu buweereza bwaffe eri Yakuwa. Tuyinza okukosebwa obutyabaga, oba tuyinza okuyigganyizibwa olw’okuba tuweereza Yakuwa. Bwe twolekagana n’ebizibu ng’ebyo, tuyinza okwebuuza: ‘Lwaki kino kintuuseeko? Waliwo ekikyamu kye nnakola? Kyandiba nti Yakuwa takyampa mikisa?’ Wali owuliddeko bw’otyo? Bwe kiba kityo, toggwaamu maanyi. Bangi ku baweereza ba Yakuwa baali bawuliddeko bwe batyo.—Zab. 22:1, 2; Kaab. 1:2, 3.

3. Biki bye tuyiga mu Zabbuli 34:19?

3 Soma Zabbuli 34:19. Weetegereze ensonga bbiri eziri mu lunyiriri olwo: (1) Abantu abatuukirivu boolekagana n’ebizibu. (2) Yakuwa atuyisa mu bizibu bye twolekagana nabyo. Ekyo akikola atya? Engeri emu gy’akikolamu kwe kutuyamba okukimanya nti, nga tukyali mu nteekateeka y’ebintu eno tujja kwolekagana n’ebizibu. Wadde nga Yakuwa atusuubiza okufuna essanyu nga tumuweereza, tagamba nti tetujja kwolekagana na bizibu mu kiseera kino. (Is. 66:14) Atukubiriza okussa ebirowoozo byaffe ku biseera eby’omu maaso, lwe tuliba mu bulamu obweyagaza emirembe n’emirembe. (2 Kol. 4:16-18) Naye mu kiseera kino, buli lunaku atuyamba okweyongera okumuweereza.—Kung. 3:22-24.

4. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

4 Ka tulabe bye tuyinza okuyigira ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’edda, n’ab’omu kiseera kyaffe. Nga bwe tugenda okulaba, tuyinza okufuna ebizibu bye tuba tutasuubira. Naye bwe twesiga Yakuwa, tayinza kulekayo kutuyamba. (Zab. 55:22) Nga twekenneenya ebyokulabirako ebyo, weebuuze: ‘Nze kiki kye nnandikoze nga ndi mu mbeera eyo? Ebyokulabirako ebyo binnyamba bitya okweyongera okwesiga Yakuwa? Mbiyigirako ki?’

MU BISEERA EBY’EDDA

Yakobo yakolera kojja we Labbaani okumala emyaka 20. Wadde nga Labbaani yakumpanya Yakobo, Yakuwa yawa Yakobo emikisa (Laba akatundu 5)

5. Labbaani yayisa atya Yakobo mu ngeri etaali ya bwenkanya? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

5 Abaweereza ba Yakuwa mu biseera eby’edda baayolekagana n’ebizibu bye baali batasuubira. Lowooza ku Yakobo. Kitaawe yamulagira okuwasa omu ku bawala ba Labbaani, kojja we eyali aweereza Yakuwa. Yamukakasa nti ekyo bwe yandikikoze, Yakuwa yandimuwadde emikisa. (Lub. 28:1-4) N’olwekyo Yakobo yakola ekituufu. Yatindigga olugendo okuva e Kanani n’agenda ewa Labbaani. Labbaani yalina abawala babiri, Leeya ne Laakeeri. Yakobo yayagala Laakeeri era n’akkiriza okukolera Labbaani okumala emyaka musanvu asobole okumuwasa. (Lub. 29:18) Naye ebintu tebyagenda nga Yakobo bwe yali asuubira. Labbaani yamulimbalimba n’amuwa Leeya mu kifo kya Laakeeri. Labbaani yakkiriza Yakobo okuwasa Laakeeri nga wayiseewo wiiki, Yakobo bwe yandikkirizza okumukolera emyaka emirala musanvu. (Lub. 29:25-27) Ate era Labbaani teyali mwenkanya eri Yakobo mu ngeri gye yakolaganamu naye mu bya bizineesi. Emyaka gyonna awamu Labbaani gye yayisa Yakobo mu ngeri etaali ya bwenkanya gyali 20!—Lub. 31:41, 42.

6. Bizibu ki ebirala Yakobo bye yayolekagana nabyo?

6 Yakobo yayolekagana n’ebizibu ebirala. Yalina abaana bangi, naye abaana abo ebiseera ebimu baalinga tebakwatagana. Baatuuka n’okutunda muganda waabwe Yusufu mu buddu. Babiri ku batabani ba Yakobo, Simiyoni ne Leevi, baaleeta ekivume ku maka ga Yakobo ne ku linnya lya Yakuwa. Ng’oggyeeko ekyo, Laakeeri, omukyala Yakobo gwe yali asinga okwagala, yafa ng’azaala omwana we ow’okubiri. Ate era olw’enjala ey’amaanyi eyagwa, Yakobo yawalirizibwa okusengukira mu Misiri ng’akaddiye.—Lub. 34:30; 35:16-19; 37:28; 45:9-11, 28.

7. Yakuwa yakiraga atya nti yali asiima Yakobo?

7 Mu bizibu ebyo byonna, Yakobo yasigala yeesiga Yakuwa era nga mukakafu nti ebisuubizo bye bijja kutuukirira. Yakuwa yamuwa emikisa. Ng’ekyokulabirako, wadde nga Labbaani yayisa Yakobo mu ngeri etaali ya bwenkanya, Yakuwa yawa Yakobo ebintu bingi. Ate lowooza ku ssanyu Yakobo lye yawulira bwe yaddamu okulaba ku mwana we Yusufu gwe yali alowooza nti yali yafa dda! Kya lwatu ateekwa okuba nga yasiima nnyo Yakuwa. Enkolagana ey’oku lusegere Yakobo gye yalina ne Yakuwa yamusobozesa okugumira ebizibu bye yayolekagana nabyo. (Lub. 30:43; 32:9, 10; 46:28-30) Naffe bwe tuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, tusobola okugumira ebizibu bye tuyinza okufuna nga tetubisuubira.

8. Kiki Kabaka Dawudi kye yali ayagala okukola?

8 Kabaka Dawudi teyasobola kukola bintu ebimu bye yali ayagala okukola mu buweereza bwe eri Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yali ayagala nnyo okuzimbira Yakuwa yeekaalu. Ekyo yakitegeezaako nnabbi Nasani. Nasani yamugamba nti: “Kola kyonna ekiri mu mutima gwo, kubanga Katonda ow’amazima ali naawe.” (1 Byom. 17:1, 2) Ebigambo ebyo biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Dawudi amaanyi. Ayinza okuba nga yatandikirawo okulowooza ku ngeri gye yali agenda okukolamu omulimu ogwo omunene.

9. Kiki Dawudi kye yakola nga takkiriziddwa kukola kintu kye yali ayagala?

9 Kyokka mu kiseera kitono Nasani yakomawo eri Dawudi n’amutegeeza amawulire agaali gatasanyusa. Bayibuli eraga nti “ekiro ekyo,” Yakuwa yagamba Nasani nti Dawudi si ye yali agenda okuzimba yeekaalu; wabula nti mutabani we ye yandigizimbye. (1 Byom. 17:3, 4, 11, 12) Kiki Dawudi kye yakola ng’afunye amawulire ago? Yakyusa ekiruubirirwa kye. Yatandika okukuŋŋaanya ssente n’ebintu mutabani we Sulemaani bye yandibadde yeetaaga mu mulimu gw’okuzimba yeekaalu.—1 Byom. 29:1-5.

10. Yakuwa yawa atya Dawudi emikisa?

10 Amangu ddala nga Yakuwa yaakamala okutegeeza Dawudi nti si ye yali agenda okumuzimbira yeekaalu, yakola endagaano naye. Yakuwa yasuubiza Dawudi nti, omu ku bazzukulu be yandibadde afuga emirembe n’emirembe. (2 Sam. 7:16) Mu nsi empya, mu kiseera eky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, Dawudi ajja kusanyuka nnyo okukimanya nti Yesu, omu ku bazzukulu be, y’afuga nga Kabaka! Ebyo bye tusoma ku Dawudi bituyamba okukimanya nti ne bwe tuba nga tetusobola kukola ebyo byonna bye twali twagala kukola mu buweereza bwaffe eri Yakuwa, Katonda waffe asobola okutuwa emikisa mu ngeri endala gye tuba tutasuubira.

11. Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baafuna batya emikisa wadde ng’Obwakabaka bwa Katonda tebwajja mu kiseera mwe baali babusuubirira? (Ebikolwa 6:7)

11 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baayolekagana n’ebizibu bye baali batasuubira. Ng’ekyokulabirako, baali beesunga nnyo Obwakabaka bwa Katonda okujja, naye baali tebamanyi ddi lwe bwandizze. (Bik. 1:6, 7) Kiki kye baakola? Beeyongera okubuulira n’obunyiikivu. Amawulire amalungi bwe gaagenda gasaasaana, baakiraba nti Yakuwa yali awa emikisa okufuba kwabwe.—Soma Ebikolwa 6:7.

12. Kiki Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka kye baakola nga waguddewo enjala?

12 Waliwo ekiseera enjala ey’amaanyi lwe yagwa “mu nsi yonna.” (Bik. 11:28) Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka nabo enjala eyo teyabataliza. Lowooza ku ngeri enjala eyo gye yabakosaamu! Emitwe gy’amaka bateekwa okuba nga beeraliikiriranga engeri gye bandibadde bafuniramu ab’omu maka gaabwe eky’okulya. Ate bo abavubuka abaali bateeseteese okwongera okugaziya ku buweereza bwabwe? Kyandiba nti beebuuza obanga baali basaanidde okusooka okulindako enjala eyo emale okuggwaawo? K’ebe mbeera ki Abakristaayo abo gye baayitamu, baatukagana nayo. Beeyongera okukola kyonna kye basobola okubuulira, era baagabananga ebintu ne bakkiriza bannaabwe ab’omu Buyudaaya.—Bik. 11:29, 30.

13. Mikisa ki Abakristaayo gye baafuna mu kiseera ky’enjala?

13 Mikisa ki Abakristaayo gye baafuna mu kiseera ky’enjala? Abo abaafuna obuyambi okuva eri bannaabwe baakiraba nti Yakuwa yali abayamba. (Mat. 6:31-33) Bateekwa okuba nga beeyongera okwagala bakkiriza bannaabwe abaabayamba. Ate abo abaawaayo ebintu okuyamba bannaabwe oba abeenyigira mu mulimu gw’okudduukirira bannaabwe, baafuna essanyu eriva mu kugaba. (Bik. 20:35) Bonna Yakuwa yabawa emikisa nga bayita mu mbeera eyo.

14. Kiki ekyatuuka ku Balunabba n’omutume Pawulo, era biki ebyavaamu? (Ebikolwa 14:21, 22)

14 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka emirundi mingi baayigganyizibwanga era ng’oluusi tebakisuubira. Lowooza ku ekyo ekyatuuka ku Balunabba n’omutume Pawulo bwe baali babuulira mu Lusitula. Mu kusooka abantu baabaaniriza n’essanyu era baabawuliriza. Kyokka oluvannyuma abo abaali bayigganya Abakristaayo ‘baasendasenda ekibiina ky’abantu,’ era abamu ku bantu abo ne bakuba Pawulo amayinja ne bamuleka ng’abulako katono okufa. (Bik. 14:19) Naye Balunabba ne Pawulo beeyongera okubuulira mu bitundu ebirala. Biki ebyavaamu? Baafula “abantu abatonotono abayigirizwa,” era baanyweza nnyo bakkiriza bannaabwe okuyitira mu bigambo byabwe, n’ekyokulabirako kye bassaawo. (Soma Ebikolwa 14:21, 22.) Bangi baaganyulwa nnyo olw’okuba Balunabba ne Pawulo tebaalekayo kubuulira nga bayigganyizibwa. Bwe tutalekaayo kukola mulimu Yakuwa gw’atuwadde, ajja kutuwa emikisa.

MU KISEERA KYAFFE

15. Kiki ky’oyigidde ku ow’Oluganda A. H. Macmillan?

15 Omwaka gwa 1914 bwe gwali gunaatera okutuuka, waliwo ebintu abantu ba Yakuwa bye baali basuubira okubaawo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku w’Oluganda A. H. Macmillan. Okufaananako bangi abaaliwo mu kiseera ekyo, ow’Oluganda Macmillan yali alowooza nti yali anaatera okufuna empeera ye oy’okugenda mu ggulu. Mu mboozi gye yawa mu Ssebutemba 1914, yagamba nti: “Eno eyinza okuba nga ye mboozi yange esembyeyo.” Kya lwatu eyo si ye mboozi ye eyasembayo. Oluvannyuma ow’Oluganda Macmillan yagamba nti: “Kirabika abamu ku ffe twayanguyiriza okulowooza nti twali tugenderawo mu ggulu.” Era yagattako nti: “Ekyali kyetaagisa kwe kukola n’obunyiikivu omulimu gwa Mukama waffe.” Era ddala ow’Oluganda Macmillan yali munyiikivu mu mulimu gwa Mukama waffe. Yabuuliranga n’obunyiikivu, era yazzangamu ab’oluganda amaanyi abaali basibiddwa mu kkomera olw’okugaana okuyingira amagye. Ate era teyayosanga kubaawo mu nkuŋŋaana ne bwe yali ng’akaddiye. Ow’Oluganda Macmillan yaganyulwa atya mu kuba n’eby’okukola bingi mu buweereza bwe eri Yakuwa nga bw’alindirira okufuna empeera ye? Ng’ebula ekiseera kitono afe mu 1966, yagamba nti: “Ne leero okukkiriza kwange kukyali kunywevu nnyo.” Mazima ddala yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo kye tusaanidde okukoppa, naddala bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu ebimaze ekiseera ekiwanvu okusinga ekyo kye twali tusuubira.—Beb. 13:7

16. Ow’Oluganda Herbert Jennings ne mukyala we baafuna kizibu ki kye baali batasuubira? (Yakobo 4:14)

16 Abaweereza ba Yakuwa bangi boolekagana n’ebizibu bye baali batasuubira. Ng’ekyokulabirako, mu byafaayo bye, ow’oluganda Herbert Jennings b yayogera ku ngeri ye ne mukyala we gye baali banyumirwamu obuweereza bwabwe mu Ghana. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, yazuulwamu obulwadde obw’amaanyi. Ow’Oluganda Jennings yalaga nti ekyo ekyamutuukako ky’ekyo kyennyini ekiri mu Yakobo 4:14 (Soma.) awalaga nti tetumanyi kiyinza kututuukako nkya. Agamba nti: “Embeera eyo twagikkiriza ne tuva mu Ghana gye twaleka mikwano gyaffe mingi, ne tuddayo mu Canada [okufuna obujjanjabi].” Yakuwa yayamba ow’oluganda Jennings ne mukyala we okweyongera okumuweereza n’obwesigwa wadde nga baali boolekagana n’ekizibu.

17. Ekyokulabirako ky’ow’Oluganda Jennings kyaganyula kitya bakkiriza banne?

17 Ebyo ow’oluganda Jennings bye yayogera mu byafaayo bye byakwata nnyo ku balala. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu yagamba nti: “Nnali sikwatibwangako nga bwe nnakwatibwako nga nsomye ekitundu kino  . . . Okusoma ku ngeri ow’oluganda Jennings gye yalekayo obuweereza bwe okusobola okufuna obujjanjabi kyannyamba okuba n’endowooza ennungi ku mbeera yange.” Ate ow’oluganda omu yagamba nti: “Oluvannyuma lw’okuweereza ng’omukadde okumala emyaka kkumi, nnalina okulekayo obuweereza obwo olw’obulwadde bwe nnafuna. Ekyo kyammalamu nnyo amaanyi era ne nnennyamira nnyo. Emirundi mingi nnalinga sisobola kusoma byafaayo bya baganda baffe ebifulumira mu magazini zaffe. . . . Naye okukimanya nti ow’oluganda Jennings yagumira embeera gye yali ayitamu, kyanzizaamu nnyo amaanyi.” Ekyokulabirako ekyo kituyamba okukiraba nti bwe tugumira ebizibu bye tuba tutasuubira kizzaamu abalala amaanyi. Ebintu ne bwe bitagenda nga bwe tuba tusuubira, bwe tugumiikiriza tuyinza okuzzaamu abalala amaanyi.—1 Peet. 5:9.

Bwe twesiga Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu bye tubadde tutasuubira, tweyongera okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye (Laba akatundu 18)

18. Nga bwe kiragibwa mu kifaananyi, kiki ky’oyigira ku mwannyinaffe nnamwandu ow’omu Nigeria?

18 Ebizibu eby’amaanyi gamba ng’ekirwadde kya COVID-19 bikosezza abaweereza ba Yakuwa bangi. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu nnamwandu abeera mu Nigeria, yali asigazza emmere ntono ddala ne ssente ntono. Lumu ku makya, kawala ke kaamubuuza kye bandiridde nga bamaze okulya ekikopo ky’omuceere kyokka kye baali basigazzaawo. Mwannyinaffe yagamba kawala ke nti baali tebasigazza ssente zonna, era nti n’emmere yali eweddewo. Yakagamba nti baalina okukoppa nnamwandu w’e Zalefaasi, kwe kugamba, bafumbe ekikopo ky’omuceere ekyali kisembayo, beesige Yakuwa nti ajja kubalabirira. (1 Bassek. 17:8-16) Bwe baali tebannaba na kulowooza ku ekyo kye baali bagenda okulya ekyemisana, bakkiriza bannaabwe baabaleetera ekitereke ky’emmere. Emmere gye baabaleetera yali esobola okubamazaako wiiki ezisukka mu bbiri. Mwannyinaffe yagamba nti bwe yagamba kawala ke nti beesige Yakuwa, yali tamanyi nti Yakuwa yali awuliriza. Mazima ddala bwe twesiga Yakuwa nga twolekagana n’ebizibu bye tubadde tutasuubira, tweyongera okumusemberera.—1 Peet. 5:6, 7.

19. Kuyigganyizibwa kwa ngeri ki ow’Oluganda Aleksey Yershov kw’agumidde?

19 Bangi ku bakkiriza bannaffe boolekaganye n’okuyigganyizibwa kwe baali batasuubira. Lowooza ku w’Oluganda Aleksey Yershov abeera mu Russia. Ow’Oluganda Yershov we yabatirizibwa mu 1994, abantu ba Yakuwa mu Russia baalina eddembe ly’okusinza. Kyokka oluvannyuma lw’emyaka, embeera yakyuka. Mu 2020, ab’obuyinza baagenda mu maka g’ow’Oluganda Yershov ne bagaaza, era ne babaako ebintu bye bingi bye baawamba. Oluvannyuma lw’emyezi egiwera, baamuggulako emisango. N’ekisinga obubi, emisango gye baamuggulako baagyesigamya ku bujulizi obwali mu vidiyo eyakwatibwa omuntu eyali amaze ebbanga erisukka mu mwaka gumu nga yeefudde ayagala okuyiga Bayibuli. Ekyo nga kyali kibi nnyo!

20. Ow’Oluganda Yershov ayongedde atya okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa?

20 Waliwo ekirungi kyonna ekivudde mu bizibu ow’Oluganda Yershov by’ayolekagana nabyo? Yee. Enkolagana ye ne Yakuwa yeeyongedde okunywera. Agamba nti: “Nze ne mukyala wange tweyongedde okusabira awamu emirundi mingi. Nkiraba nti embeera eno ssandisobodde kugigumira awatali buyambi bwa Yakuwa.” Ate era agamba nti: “Okwesomesa kunnyamba nnyo mu kiseera nga mpulira mpeddemu amaanyi. Nfumiitiriza ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo mu biseera eby’edda. Waliwo ebyokulabirako bingi mu Bayibuli ebiraga obukulu bw’okusigala nga tuli bakkakkamu n’okwesiga Yakuwa.”

21. Biki bye tuyize mu kitundu kino?

21 Biki bye tuyize mu kitundu kino? Oluusi tufuna ebizibu bye tuba tutasuubira. Wadde kiri kityo, bulijjo Yakuwa ayamba abaweereza be abamwesiga. Nga bwe kiragibwa mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, “omutuukirivu aba n’ebizibu bingi, naye byonna Yakuwa abimuyisaamu.” (Zab. 34:19) Ka tweyongere okussa ebirowoozo byaffe ku buyambi Yakuwa bw’atuwa, so si ku bizibu bye tuba twolekagana nabyo. Bwe tukola bwe tutyo, okufaananako omutume Pawulo, naffe tujja kugamba nti: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”—Baf. 4:13.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

a Wadde ng’oluusi tufuna ebizibu bye tuba tutasuubira, tuba bakakafu nti Yakuwa ayamba abaweereza be abeesigwa. Yakuwa yayamba atya abaweereza be mu biseera eby’edda? Atuyamba atya leero? Okwekenneenya ebimu ku byokulabirako by’abaweereza ba Yakuwa aboogerwako mu Bayibuli, n’ab’omu kiseera kino, kijja kutuyamba okweyongera okuba abakakafu nti naffe bwe twesiga Yakuwa, ajja kutuyamba.

b Laba Watchtower, eya Ddesemba 1, 2000, lup. 24-28.