Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Amaanyi ga Katonda Gatuukiridde mu Bunafu Bwange

Amaanyi ga Katonda Gatuukiridde mu Bunafu Bwange

NZE ne mukyala wange we twatuukira mu Colombia mu 1985, ensi eyo yalimu ebikolwa eby’obukambwe bingi nnyo. Gavumenti yali erwanyisa abakukusa ebiragalalagala mu bibuga ate mu nsozi yali erwanyisa abayeekera. Mu kitundu ky’e Medellín, oluvannyuma kye twaweererezaamu, waaliyo ebibinja by’abayaaye abaalawunanga enguudo. Baatundanga ebiragalalagala, baasabanga abantu ssente baleme okubatuusaako obulabe, era baapangisibwanga okutta abantu. Tewali n’omu ku bavubuka abo eyawangaala. Twawulira ng’abali ku nsi endala.

Abantu babiri aba bulijjo okuva mu Finland, emu ku nsi ezisemberayo ddala mu mambuka g’ensi baatuuka batya okubeera mu Amerika ow’Ebukiikaddyo? Era biki bye njize emyaka bwe gigenze giyitawo?

EMYAKA EGY’OBUTO BWANGE MU FINLAND

Nnazaalibwa mu 1955. Baatuzaala abaana ab’obulenze basatu era nze nnali nsembayo obuto. Nnakulira kumpi n’omwalo gwa Finland ogw’ebukiikaddyo, mu kitundu leero ekiyitibwa ekibuga Vantaa.

Maama wange yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa ng’ebula emyaka mitono nzaalibwe. Naye taata yali tayagala Bajulirwa ba Yakuwa era tayakkirizanga maama kutuyigiza Bayibuli oba okututwala mu nkuŋŋaana. N’olwekyo, maama yatuyigirizanga amazima g’omu Bayibuli nga taata taliiwo.

Nnamalirira okugondera Yakuwa nga nnina emyaka musanvu

Okuviira ddala mu buto, nnali mumalirivu okugondera Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe nnali nga nnina emyaka musanvu, omusomesa yankambuwalira nnyo olw’okuba nnagaana okulya verilättyjä (eky’okulya ekimu mu Finland kye bakola nga batabuddemu omusaayi). Omusomesa oyo yannyiga emba okusobola okunjasamya n’akwata wuma n’agezaako okundiisa lwa mpaka eky’okulya ekyo. Naye nnakoona wuma gye yali akutte n’emuva mu ngalo n’egwa.

Taata yafa nga nnina emyaka 12. Oluvannyuma lwa taata okufa, nnali nsobola okubeerawo mu nkuŋŋaana. Ab’oluganda mu kibiina bandaga okwagala era ekyo kyannyamba okukulaakulana mu by’omwoyo. Nnatandika okusoma Bayibuli buli lunaku n’ebitabo ebikubibwa ekibiina kyaffe. Okwesomesa okwo kwannyamba okukulaakulana ne mbatizibwa nga nnina emyaka 14, nga Agusito 8, 1969.

Amangu ddala nga mmalirizza emisomo gyange, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Waayita wiiki ntono ne ŋŋenda okubuulira awaali obwetaavu obusingako mu Pielavesi, ekisangiba mu masekkati ga Finland.

Mu Pielavesi gye nnasisinkana Sirkka, oluvannyuma eyafuuka mukyala wange. Nnayagala nnyo Sirkka olw’okuba omwetoowaze n’olw’okwagala ennyo Yakuwa. Yali tagezaako kwenoonyeza bitiibwa oba eby’obugagga. Ffembi twali twagala okuweereza Yakuwa mu bujjuvu era twali beetegefu okuweereza yonna gye twandisindikiddwa. Twafumbiriganwa nga Maaki 23, 1974. Oluvannyuma lw’embaga, mu kifo ky’okugenda okwewummuzaamu, twagenda okuweerereza e Karttula, awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingawo.

Ennyumba gye twali tupangisa mu Karttula, Finland

YAKUWA YATULABIRIRA

Emmotoka muganda wange gye yatuwa

Okuviira ddala nga twakafumbiriganwa, Yakuwa yakiraga nti yali ajja kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri bwe twandikulembezza Obwakabaka. (Mat. 6:33) Ng’ekyokulabirako, bwe twali mu Karttula, tetwalina mmotoka. Mu kusooka twakozesanga bugaali. Kyokka, mu kiseera ky’obutiti obudde bwabanga bunnyogovu nnyo. Okusobola okubuulira mu kitundu ekinene eky’ekibiina kyaffe, twali twetaaga emmotoka. Naye tetwalina ssente zigigula.

Lumu nga tetukisuubira, mukulu wange yajja okutukyalira era n’atuwa emmotoka ye. Yali asasudde emisolo gyayo gyonna era kye twalina okukola kyokka kwe kugula amafuta. Bwe tutyo bwe twafuna emmotoka gye twali twetaaga.

Yakuwa yatulaga nti obuvunaanyizibwa obw’okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri bwali bubwe. Ffe kye twalina okukola kwe kukulembeza Obwakabaka.

ESSOMERO LYA GIREYAADI

Essomero lya Bapayoniya mu 1978

Bwe twali mu Ssomero lya Bapayoniya mu 1978, Raimo Kuokkanen, a omu ku basomesa baffe yatukubiriza okujjuzaamu foomu okusabirwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. N’olwekyo, twatandika okuyiga Olungereza tusobole okutuukiriza ebisaanyizo by’okugenda mu ssomero eryo. Kyokka mu 1980, bwe twali tetunnajjuzaamu foomu eyo, twayitibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi mu Finland. Mu kiseera ekyo Ababeseri baali tebakkirizibwa kujjuzaamu foomu ezisabirwako okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Naye twali twagala kuweereza Yakuwa we yali alaba nti we tusaanidde okuweerereza so si ffe we twali tulaba nti we tusaanidde okuweerereza. N’olwekyo, twakkiriza okugenda ku ofiisi y’ettabi. Wadde kyali kityo, tweyongera okuyiga Olungereza tusobole okuba nga tutuukiriza ebisaanyizo singa wandizzeewo akakisa ak’okujjuzaamu foomu okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi.

Nga wayise emyaka mitono, Akakiiko Akafuzi kakkiriza Ababeseri okujjuzaamu foomu okusabirwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi. Mangu ddala twajjuzaamu foomu ezo naye tekyali nti tetwali basanyufu ku Beseri. Mu butuufu, twali basanyufu nnyo! Kye twali twagala kwe kuweereza awali obwetaavu obusingawo singa twandibadde tutuukiriza ebisaanyizo. Twayitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 79 era twamaliriza emisomo gyaffe mu Ssebutemba 1985. Oluvannyuma twasindikibwa e Colombia.

GYE TWASOOKA OKUWEEREREZA NG’ABAMINSANI

Mu Colombia, twasooka kuweerereza ku ofiisi y’ettabi. Nnafuba okukola kyonna kye nsobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwange, naye oluvannyuma lw’okuweereza okumala omwaka gumu, nnawulira nti nnali nneetaaga okukyusa obuweereza bwange. Bwe kityo, nnasaba mpeebwe obuweereza obulala, era ogwo gwe mulundi gwe nnasooka okukola ekyo era gwe gwasembayo. N’olwekyo, twasindikibwa okuweereza mu kibuga ky’e Neiva, mu kitundu ekiyitibwa Huila.

Bulijjo mbaddenga nnyumirwa nnyo omulimu gw’okubuulira. Bwe nnali mpeereza nga payoniya mu Finland nga sinnawasa, oluusi nnabuuliranga okuva ku makya okutuuka akawungeezi. Nze ne Sirkka bwe twamala okufumbiriganwa, oluusi twabuuliranga okumala olunaku lulamba. Bwe twagenda okubuulira mu bitundu eby’ewala, ebiseera ebimu twasulanga mu mmotoka yaffe. Ekyo kyakendeezanga ku biseera bye twandimaze ku lugendo era kyatusobozesanga okutandika okubuulira nga bukyali ku lunaku oluddako.

Bwe twatandika okukola omulimu gw’okubuulira ng’abaminsani, twaddamu okugunyumirwa ennyo nga bwe kyabanga edda. Ekibiina kyaffe kyeyongera okukula. Baganda baffe ne bannyinnaffe mu Colombia baali booleka okwagala, nga basiima, era nga bawa abalala ekitiibwa.

AMAANYI G’OKUSABA

Obubuga obwali okumpi n’ekibuga Neiva kye twali tubuuliramu tebwalimu Mujulirwa wa Yakuwa n’omu. Nnali ndowooza nnyo ku ngeri amawulire amalungi gye gandituuse mu bitundu ebyo. Kyokka okuva bwe kyali nti mu bitundu ebyo waaliyo olutalo lw’ekiyeekera, kyali kya bulabe omuntu atali munnansi okubuulirayo. Nnasaba Yakuwa wabeewo omuntu mu bitundu ebyo afuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Muli nnagamba nti omuntu oyo alina kuba ng’abeera mu Neiva okusobola okuyiga amazima. Era nnasaba nti, oluvannyuma lw’omuntu oyo okubatizibwa era ne yeeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo, addeyo okubuulira mu kitundu ky’ewaabwe. Naye Yakuwa yali amanyi engeri esingayo obulungi abantu b’omu kitundu ekyo gye bandiyambiddwamu.

Waayita ekiseera kitono, ne ntandika okuyiga Bayibuli n’omuvubuka ayitibwa Fernando González. Yali abeera mu Algeciras, akamu ku bubuga obutaalimu Bajulirwa ba Yakuwa. Fernando yatindigganga olugendo lwa mayiro 30 okujja mu Neiva okukola. Yeeteekerateekeranga bulungi okuyiga Bayibuli era mangu ddala yatandika okubangawo mu nkuŋŋaana zonna. Okuviira ddala mu wiiki esooka ng’atandise okuyiga Bayibuli, Fernando yakuŋŋaanya abantu mu kabuga k’ewaabwe n’atandika okubayigiriza ebyo bye yabanga ayize mu Bayibuli.

Nga tuli ne Fernando mu 1993

Fernando yabatizibwa mu Jjanwali 1990, nga wayise emyezi mukaaga bukya atandika okuyiga Bayibuli. Oluvannyuma yafuuka payoniya owa bulijjo. Kati okuva bwe kiri nti mu Algeciras waaliyo Omujulirwa wa Yakuwa, ofiisi y’ettabi yasindikayo bapayoniya ab’enjawulo. Mu Febwali 1992, ekibiina kyatandikibwawo mu kabuga ako.

Fernando yabuulira mu kabuga k’ewaabwe kokka? Nedda! Oluvannyuma lw’okuwasa, ye ne mukyala we baagenda mu kabuga akalala akayitibwa San Vicente del Caguán, awataali Bajulirwa ba Yakuwa. Mu kabuga ako baayambako okutandikawo ekibiina. Mu 2002, Fernando yalondebwa okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina, era ye ne mukyala we, Olga, bakyakola omulimu ogwo n’okutuusa leero.

Ekyokulabirako kya Fernando kyanjigiriza nti kikulu nnyo okukoonera ddala ku nsonga nga tusaba ebikwata ku buweereza bwaffe. Yakuwa akola ekyo ffe kye tuba tutasobola. Ekyo kiri bwe kityo kubanga ye nnannyini mulimu gw’okukungula so si ffe.—Mat. 9:38.

YAKUWA ‘ATWAGAZISA ERA ATUWA AMAANYI OKUKOLA’

Mu 1990 twaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okukyalira ebibiina. Ebibiina bye twasooka okukyalira byali mu kibuga ekikulu ekiyitibwa Bogotá. Obuweereza obwo bwatutiisa. Nze ne mukyala wange tuli bantu ba bulijjo era tetulina bitone. Era twali tetwamanyiira kubeera mu kibuga ekirimu abantu abangi. Naye Yakuwa yatuukiriza ekyo kye yasuubiza mu Abafiripi 2:13 awagamba nti: “Katonda y’abawa amaanyi okukola ebimusanyusa, abaagazise okukola era mukole.”

Oluvannyuma twasindikibwa okyalira ebibiina by’e Medellín, ekibuga kye nnayogeddeko ku ntandikwa. Abantu b’omu kitundu ekyo baali bamanyidde ebikolwa eby’obukambwe ebyakolebwanga ku nguudo era nga tebikyabatiisa. Ng’ekyokulabirako, lumu bwe nnali njigiriza omuntu omu Bayibuli, amasasi gaatandika okuvugira wabweru n’enju mwe twali. Nnali ŋŋenda kweyala wansi naye oyo gwe nnali njigiriza Bayibuli ye yagenda mu maaso n’okusoma akatundu nga tatiddenamu. Bwe yamala okusoma akatundu yagamba nti k’afulumeko katono wabweru. Oluvannyuma lw’akaseera katono yakomawo n’abaana be abato babiri era n’aŋŋamba nga mukkakkamu nti, “Nsaba onsonyiwe, mbadde nzigyayo baana bange.”

Waliwo emirundi emirala lwe twali mu kabi. Lumu bwe twali tubuulira nnyumba ku nnyumba, mukyala wange yajja ng’adduka era ng’alabika atidde nnyo. Yaŋŋamba nti waliwo omuntu eyali ayagala okumukuba essasi. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo. Kyokka oluvannyuma twakitegeera nti omusajja eyalina emmundu yali tayagala kukuba Sirkka, wabula yali ayagala kukuba omusajja eyali ayita okumpi ne Sirkka.

Oluvannyuma lw’ekiseera, twayigira ku Bajulirwa ba Yakuwa ab’omu kitundu ekyo abaali bagumidde embeera ezo awamu n’endala ezisingawo obubi. Twakiraba nti Yakuwa bw’aba ng’abayamba, naffe ajja kutuyamba. Bulijjo twakoleranga ku magezi abakadde b’omu kitundu ekyo ge baatuwanga, twegenderezanga, era ne tuleka ensonga mu mikono gya Yakuwa.

Naye embeera ezimu tezaabanga mbi nnyo nga bwe twabanga tusuubira. Lumu bwe nnali mu nju emu nga mbuulira, nnawulira abakazi babiri nga bayomba. Nnali saagala kubalaba nga bayomba, naye nnannyinimu yampita ŋŋende ku lubalaza. Kyokka kyanneewuunyisa okukimanya nti abakazi si be baali “bayomba” wabula zaali enkusu bbiri ezaali zigeegeenya baliraanwa be.

TWAFUNA ENKIZO ENDALA ERA TWAYOLEKAGANA N’EBIZIBU EBIRALA

Mu 1997, nnaweebwa enkizo ey’okuyigiriza mu Ssomero Eritendeka Ab’oluganda Abali Obwannamunigina. b Bulijjo nnanyumirwanga nnyo okugenda mu masomero g’ekibiina, naye nnali sikirowoozangako nti nnandiweereddwa enkizo ey’okuyigiriza mu limu ku masomero ago.

Oluvannyuma nnaweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti. Enteekateeka eyo bwe yaggibwawo, nnaddayo okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. N’olwekyo, okumala emyaka egisukka mu 30, mbadde n’enkizo ey’okusomesa mu masomero g’ekibiina n’okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Nfunye emikisa mingi mu buweereza obwo. Naye era mubaddemu n’ebisomooza. Ka mbabuulire ensonga lwaki ŋŋamba bwe ntyo.

Ndi muntu eyeekakasa era ataluma mu bigambo. Ekyo kinnyambye okwaŋŋanga embeera enzibu. Kyokka bwe mbaddenga ngezaako okutereeza ensonga mu bibiina, mbaddenga oluusi mpitiriza. Oluusi mbaddenga nkubiriza abalala okulaga bannaabwe okwagala era n’obutaba bakakanyavu. Kyokka bwe mbaddenga mbakubiriza okukola bwe batyo, nange mbaddenga sooleka ngeri ezo.—Bar. 7:​21-23.

Emirundi egimu mpulidde nga mpeddemu amaanyi olw’obunafu bwange obwo. (Bar. 7:24) Lumu nnasaba Yakuwa ne mmugamba nti kisingako ndekere awo okukola ng’omuminsani nzireyo mu Finland. Ku olwo akawungeezi nnagenda mu nkuŋŋaana. Ebyo ebyali mu nkuŋŋaana byannyamba okukiraba nti nsaanidde okusigala mu buweereza bwange naye nneeyongere okukola ku bunafu bwange. N’okutuusa leero, nkyewuunya nnyo engeri Yakuwa gye yaddamu essaala eyo. Nsiima nnyo engeri gy’annyambye okuvvuunuka obunafu bwange.

SEERALIIKIRIRA BIJJA MU MAASO

Nze ne Sirkka twebaza nnyo Yakuwa olw’okutusobozesa okumala ekiseera ekisinga obunene eky’obulamu bwaffe mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Era nsiima nnyo Yakuwa olw’okumpa omukyala alina okwagala era omwesigwa, gwe mbadde naye emyaka gino gyonna.

Mu kiseera kitono ŋŋenda kuweza emyaka 70, era nja kulekera awo okusomesa mu masomero g’ekibiina n’okukyalira ebibiina. Naye ekyo tekinneeraliikiriza. Lwaki? Ndi mukakafu nti ekisinga okuweesa Yakuwa ekitiibwa kwe kuba nti tumuweereza mu bwetoowaze era nti tumutendereza n’omutima ogujjudde okwagala n’okusiima. (Mi. 6:8; Mak. 12:​32-34) Tekitwetaagisa kuba nga tulina enkizo ez’enjawulo okusobola okuweesa Yakuwa ettendo.

Bwe ndowooza ku buweereza bwe nzize nneenyigiramu nkiraba nti ssaaweebwa buweereza obwo olw’okuba nti nze nsinga abalala era ssaaweebwa nkizo ezo olw’okuba nnina obusobozi obw’enjawulo. Yakuwa yandaga ekisa eky’ensusso n’ampa enkizo ezo. Yazimpa wadde nga nnina obunafu obw’enjawulo. Nkimanyi nti Yakuwa y’annyambye okutuukiriza obuweereza obwo. Mu ngeri eyo, amaanyi ga Katonda gatuukiridde mu bunafu bwange.—2 Kol. 12:9.

a Ebyafaayo by’ow’oluganda Raimo Kuokkanen, byafulumira mu kitundu ekirina omutwe “Nnamalirira Okuweereza Yakuwa,” mu Watchtower eya Apuli 1, 2006.

b Essomero lino kati liyitibwa Essomero ly’Ababuulizi b’Enjiri y’Obwakabaka.