Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 14

OLUYIMBA 56 Nyweza Amazima

‘Fuba Okukula’

‘Fuba Okukula’

“Ka tufube okukula.”BEB. 6:1.

EKIGENDERWA

Laba engeri Omukristaayo akuze mu by’omwoyo gy’alowoozaamu era n’engeri gye yeeyisaamu mu ngeri Katonda gy’ayagala. Ate era laba engeri gy’asobola okusalawo obulungi.

1. Kiki Yakuwa ky’atwetaagisa?

 EKIMU ku bintu ebisanyusa ennyo abafumbo kwe kuzaala omwana omulamu obulungi. Kyokka wadde ng’abazadde baba baagala nnyo omwana waabwe omuwere, baba tebaagala asigale nga muwere emirembe gyonna. Mu butuufu, singa omwana oyo teyeeyongera kukula, ekyo kibeeraliikiriza nnyo. Mu ngeri y’emu, Yakuwa asanyuka nnyo bw’alaba nga tutandise okuyiga ebimukwatako, naye tayagala tusigale nga tuli bato mu by’omwoyo. (1 Kol. 3:1) Mu kifo ky’ekyo, atukubiriza okubeera Abakristaayo ‘abakulu.’—1 Kol. 14:20.

2. Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Kitegeeza ki okuba abakulu mu by’omwoyo? Kiki kye twetaaga okukola okusobola okukula mu by’omwoyo? Emmere enkalubo ey’eby’omwoyo etuyamba etya okukula? Lwaki tusaanidde okwewala okwekakasa ekisukkiridde? Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

KITEGEEZA KI OKUBA ABAKULU MU BY’OMWOYO?

3. Kitegeeza ki okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo?

3 Mu Bayibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa ‘abakulu’ era kiyinza okutegeeza “abatuukiridde” oba “abataliiko kibabulako.” a (1 Kol. 2:6) Ng’omwana bwe yeeyongera okukula, naffe tusaanidde okweyongera okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Mu ngeri eyo, tuba tufuuse Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo. Kya lwatu, ne bwe tuba nga tukuze mu by’omwoyo tetusaanidde kulekera awo kubaako nkyukakyuka ze tukola okulongoosaamu. (1 Tim. 4:15) Ffenna nga mw’otwalidde n’abaana tusobola okukula mu by’omwoyo. Naye kiki ekiraga nti Omukristaayo akuze mu by’omwoyo?

4. Biki ebiraga nti omuntu mukulu mu by’omwoyo?

4 Omukristaayo akuze mu by’omwoyo y’oyo afuba okukolera ku ebyo byonna Katonda by’atwetaagisa so si okulondamu ebyo byokka ye by’awulira nti by’ayagala okukolerako. Kya lwatu nti olw’okuba tatuukiridde, olumu n’olumu akola ensobi. Wadde kiri kityo, buli lunaku afuba okutuukanya endowooza ye n’eya Yakuwa era afuba okukola Yakuwa by’ayagala. Ate era afuba okwambala omuntu omuggya. (Bef. 4:​22-24) Olw’okuba aba yeemanyiiza okusalawo obulungi ng’agoberera amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye, aba teyeetaaga lukalala lwa mateeka okumanya engeri gy’asaanidde okweyisaamu. Bw’abaako ky’asazeewo afuba okulaba ng’akikolerako.—1 Kol. 9:​26, 27.

5. Kiki ekituuka ku muntu asigala nga muto mu by’omwoyo? (Abeefeso 4:​14, 15)

5 Ku luuyi olulala, Omukristaayo aba akonye mu by’omwoyo atwalirizibwa mangu ‘obukuusa bw’abantu n’endowooza ez’obulimba.’ Kiba kyangu gy’ali okutwalirizibwa endowooza za bakyewaggula n’ebintu ebirala eby’obulimba ebiba ku mikutu gy’eby’empuliziganya. b (Soma Abeefeso 4:​14, 15.) Ate era kyangu omuntu oyo okukwatirwa abalala obuggya, okufuna obutategeeragana n’abalala, okunyiiga amangu, n’okukola ekibi ng’akemeddwa.—1 Kol. 3:3.

6. Lwaki okukula mu by’omwoyo tuyinza okukugeraageranya ku kukula kw’omwana? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Nga bwe kiragiddwa waggulu, mu Byawandiikibwa okukula mu by’omwoyo kugeraageranyizibwa ku kukula kw’omwana. Waliwo ebintu bingi omwana by’aba tamanyi, n’olwekyo aba yeetaaga omuntu omukulu okumukuuma n’okumuwa obulagirizi. Ng’ekyokulabirako, maama bw’aba n’omwana we nga basala oluguudo amukwata ku mukono. Omwana oyo bw’agenda akula, maama we ayinza okumukkiriza okutandika okwesaza yekka oluguudo, naye era n’amujjukiza okutunula eruuyi n’eruuyi nga tannasala. Omwana oyo bw’akulu, aba amanyi eky’okukola ng’asala oluguudo. Ng’abaana bwe beetaaga obuyambi bw’abantu abakulu okusobola kwewala obuzibu, Abakristaayo abato mu by’omwoyo emirundi mingi beetaaga obuyambi bw’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo okusobola okwewala okufuna ebizibu mu by’omwoyo era n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi. Ku luuyi olulala, Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bwe babaako kye baagala okusalawo, bafumiitiriza ku misingi gya Bayibuli okusobola okumanya endowooza ya Yakuwa era ne bakolera ku ekyo Bayibuli ky’egamba.

Abakristaayo abato mu by’omwoyo beetaaga okuyiga okusalawo nga basinziira ku misingi gya Bayibuli (Laba akatundu 6)


7. Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo nabo beetaaga abalala okubawa amagezi?

7 Ekyo kitegeeza nti Omukristaayo akuze mu by’omwoyo teyeetaaga balala kumuwa magezi? Nedda. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo nabo oluusi beetaaga okusaba obuyambi. Omukristaayo omuto mu by’omwoyo ayinza okusuubira abalala okumubuulira eky’okukola oba okumusalirawo ku kintu ye kennyini ky’alina okwesalirawo. Ku luuyi olulala, Omukristaayo akuze mu by’omwoyo abaako ky’ayigira ku magezi abalala ge bamuwa ne ku byokulabirako by’abalala naye ng’akimanyi nti Yakuwa amusuubira ‘okwetikka obuvunaanyizibwa bwe.’—Bag. 6:5.

8. Mu ngeri ki Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo gye baawukana?

8 Abantu abakulu baawukana mu ndabika. Mu ngeri y’emu, Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo baawukana mu ngeri gye boolekamu engeri gamba ng’amagezi, obuvumu, omwoyo omugabi, n’okulumirirwa abalala. Ate era Abakristaayo babiri abakulu mu by’omwoyo bwe baabaako ekintu kye kimu kye balina okusalawo, bayinza okusalawo mu ngeri za njawulo naye nga tezikontana na Byawandiikibwa. Ekyo kiri kityo naddala ku bintu buli omu by’alina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. N’olwekyo, beewala okusalira abalala omusango naddala ku bintu ng’ebyo. Mu kifo kyekyo, bafuba okulaba nga bakuuma obumu.—Bar. 14:10; 1 Kol. 1:10.

KIKI KYE TULINA OKUKOLA OKUSOBOLA OKUKULA MU BY’OMWOYO?

9. Tusobola okukula mu by’omwoyo nga tetutaddeemu kufuba kwonna? Nnyonnyola.

9 Omwana agenda akula mpolampola era tassaamu kufuba kwonna. Naye okukula mu by’omwoyo kyetaagisa okufuba. Ng’ekyokulabirako, ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina ky’e Kkolinso bakkiriza amawulire amalungi, baabatizibwa, baafuna omwoyo omutukuvu, era baaganyulwa mu bulagirizi omutume Pawulo bwe yabawanga. (Bik. 18:​8-11) Kyokka wadde nga waali wayiseewo emyaka mingi oluvannyuma lw’okubatizibwa, bangi ku bo baali tebannakula mu by’omwoyo. (1 Kol. 3:2) Tuyinza tutya okwewala okukona mu by’omwoyo?

10. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukula mu by’omwoyo? (Yuda 20)

10 Okusobola okuba Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo, tulina okuba nga twagala okukula by’omwoyo. Abo abaagala okusigala mu ‘butamanya,’ kwe kugamba, abataagala kukula mu by’omwoyo, tebasobola kufuuka Bakristaayo abakulu mu by’omwoyo. (Nge. 1:22) Tetwagala kubeera ng’abantu abakulu abeewala obuvunaanyizibwa era buli kiseera abaagala bazadde baabwe babe nga be babasalirawo. Mu kifo kyekyo, twagala okukola kyonna kye tusobola okukula mu by’omwoyo. (Soma Yuda 20.) Bw’oba ng’okyakula mu by’omwoyo, saba Yakuwa ‘akwagazise’ okukula era akuyambe ng’ofuba okukula.—Baf. 2:13.

11. Biki Yakuwa by’atuwadde okutuyamba okukula mu by’omwoyo? (Abeefeso 4:​11-13)

11 Yakuwa tatusuubira kukula mu by’omwoyo ku lwaffe. Abakadde baatendekebwa okutuyamba okufuuka ‘abantu abakulu’ mu by’omwoyo tusobole okutuuka ku “kigero eky’obukulu bwa Kristo.” (Soma Abeefeso 4:​11-13.) Yakuwa era atuwa omwoyo gwe omutukuvu okutuyamba okuba ‘n’endowooza ya Kristo.’ (1 Kol. 2:​14-16) Ate era Yakuwa yawandiisa ebitabo by’Enjiri ebina okutuyamba okumanya engeri Yesu gye yalowoozangamu, gye yayogerangamu, n’engeri gye yeeyisangamu ng’ali wano ku nsi. Bwe tufuba okuba n’endowooza ng’eya Kristo era ne tweyisa nga ye, tusobola okufuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo.

OMUGASO GW’EMMERE ENKALUBO EY’EBY’OMWOYO

12. “Enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo” zizingiramu ki?

12 Okusobola okukula mu by’omwoyo, tetulina kukoma ku kumanya “enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo” zokka. Ezimu ku njigiriza ezo ze zino, okwenenya, okukkiriza, okubatizibwa, n’okuzuukira. (Beb. 6:​1, 2) Ezo ze zimu ku njigiriza ezisookerwako Abakristaayo ze balina okukkiririzaamu. Eyo ye nsonga lwaki omutume Peetero yazoogerako bwe yali ayogera eri ekibiina ky’abantu ku lunaku lwa Pentekooti. (Bik. 2:​32-35, 38) Tulina okukkiriza enjigiriza ezo ezisookerwako okusobola okufuuka abayigirizwa bwa Kristo. Ng’ekyokulabirako, omutume Pawulo yagamba nti omuntu yenna atakkiririza mu njigiriza ey’okuzuukira tasobola kugamba nti Mukristaayo ow’amazima. (1 Kol. 15:​12-14) Naye tetulina kumanya njigiriza ezo ezisookerwako zokka.

13. Kiki kye tuteekeddwa okukola okusobola okuganyulwa mu mmere ey’eby’omwoyo eyogerwako mu Abebbulaniya 5:14? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Okwawukana ku njigiriza ezisookerwako, emmere ey’eby’omwoyo enkalubo ezingiramu amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye egituyamba okumanya endowooza ye. Okusobola okuganyulwa mu mmere eyo, tulina okwesomesa, okufumiitiriza, n’okukolera ku ebyo bye tuba tuyize mu Kigambo kya Katonda. Bwe tukola bwe tutyo, tuba twetendeka okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. cSoma Abebbulaniya 5:14.

Emmere enkalubo ey’eby’omwoyo etuyamba okuyiga okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa (Laba akatundu 13) d


14. Pawulo yayamba atya Abakristaayo b’omu Kkolinso okukula mu by’omwoyo?

14 Abakristaayo abato mu by’omwoyo emirundi mingi bazibuwalirwa okumanya eky’okukola bwe wabaawo embeera ebeetaagisa okusalawo nga bagoberera emisingi gya Bayibuli. Bwe watabaawo tteeka mu Bayibuli eryogera ku mbeera emu, abamu balowooza nti basobola okukola kyonna kye baagala. Abalala bayinza okwagala okutegeezebwa etteeka ku nsonga emu naye nga tewaliiwo tteeka lyetaagisa. Ng’ekyokulabirako, kirabika Abakristaayo mu Kkolinso baagamba Pawulo ababuulire etteeka eryali likwata ku kulya oba obutalya mmere eyali eweereddwayo eri ebifaananyi. Mu kifo ky’okubabuulira eky’okukola, Pawulo yakiraga nti buli omu ku bo yalina “eddembe” okusalawo ky’ayagala ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. Pawulo yayogera ku gimu ku misingi gya Bayibuli egyandibayambye okusalawo mu ngeri eyandibalese nga balina omuntu ow’omunda omulungi ate nga tebeesittazza balala. (1 Kol. 8:​4, 7-9) Mu ngeri eyo, Pawulo yabayamba okukula mu by’omwoyo babe nga basobola okukozesa obusobozi bwabwe obw’okulowooza mu kifo ky’okwesigama ku muntu omulala oba ku mateeka okusobola okumanya eky’okukola.

15. Pawulo yayamba atya Abakristaayo Abebbulaniya okukula mu by’omwoyo?

15 Waliwo ekintu ekikulu kye tuyiga mu ebyo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo Abebbulaniya. Abamu baali tebeeyongedde kukula mu by’omwoyo. Mu butuufu baali ‘bafuuse abeetaaga amata so si emmere enkalubo.’ (Beb. 5:12) Baali tebafuddeeyo kumanya bintu ebipya Yakuwa bye yali abayigiriza okuyitira mu kibiina. (Nge. 4:18) Ng’ekyokulabirako, abamu ku Bakristaayo Abayudaaya baali bakyagamba nti Amateeka ga Musa gaalina okugobererwa wadde ng’Amateeka ago gaali gaggibwawo emyaka nga 30 emabega oluvannyuma lwa ssaddaaka ya Yesu okuweebwayo. (Bar. 10:4; Tit. 1:10) Ebbanga eryo lyali limala Abakristaayo abo okukitegeera nti baali tebakyetaaga kugoberera Mateeka! Omuntu yenna asoma ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abebbulaniya akiraba nti ddala ebbaluwa eno erimu emmere enkalubo. Ebyo ebiri mu bbaluwa eyo Abakristaayo abo bye baali beetaaga okusobola okuba abakakafu nti engeri Abakristaayo gye baali basinzaamu yali esingira wala ey’Ekiyudaaya. Ekyo kyandibayambye okuba abavumu ne beeyongera okubuulira wadde nga baali bayigganyizibwa.—Beb. 10:​19-23.

WEEWALE OKWEKAKASA EKISUKKIRIDDE

16. Ng’oggyeeko okufuba okukula mu by’omwoyo, kiki ekirala kye tulina okukola?

16 Tulina okufuba okukula mu by’omwoyo era n’okusigala nga tuli bakulu. Ekyo okusobola okubaawo, tulina okwewala okwekakasa ekisukkiridde. (1 Kol. 10:12) Kikulu ‘okwekeberanga’ buli kiseera okulaba obanga tweyongera okukula mu by’omwoyo.—2 Kol. 13:5.

17. Ebbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abakkolosaayi ekyoleka etya nti tusaanidde okusigala nga tuli bakulu mu by’omwoyo?

17 Mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abakkolosaayi, yaddamu okulaga obukulu bw’okufuba okusigala nga bakulu. Wadde ng’Abakristaayo abo baali bakuze mu by’omwoyo, Pawulo yabalabula ku kabi akali mu kutwalirizibwa endowooza y’ensi. (Bak. 2:​6-10) Ne Epafula eyali amanyi obulungi Abakristaayo abo, yabasabira ‘basobole okuba abatuukiridde,’ oba abakulu. (Bak. 4:12) Ekyo kituyigiriza ki? Pawulo ne Epafula baali bakimanyi nti omuntu okusigala nga mukulu mu by’omwoyo alina okufuba era aba yeetaaga n’obuyambi bwa Yakuwa. Baali baagala Abakristaayo abo basigale nga bakulu mu by’omwoyo wadde nga baalina ebibasoomooza.

18. Kiki ekiyinza okutuuka ku Mukristaayo wadde ng’akuze mu by’omwoyo? (Laba n’ekifaananyi.)

18 Pawulo yagamba Abebbulaniya nti Omukristaayo akuze mu by’omwoyo asobola okufiirwa enkolagana ye ne Yakuwa era n’ataddamu kuba nayo. Omutima gw’Omukristaayo gusobola okuguba n’aba nga takyasobola kwenenya asobole okusonyiyibwa ebibi. Ekirungi kiri nti Abakristaayo Abebbulaniya baali teboonoonese nnyo kutuuka awo. (Beb. 6:​4-9) Ate kiri kitya eri abo leero abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo oba abaagobebwa mu kibiina naye oluvannyuma ne beenenya? Okuba nti beenenya kiraga nti ba njawulo ku abo Pawulo be yawandiikako. Kyokka bwe bakomawo eri Yakuwa, baba beetaaga okuyambibwa. (Ezk. 34:​15, 16) Abakadde bayinza okusaba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo okubayamba okuddamu okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa.

Yakuwa awa obuyambi abo abaagala okuddamu okuba abanywevu mu by’omwoyo (Laba akatundu 18)


19. Kiruubirirwa ki kye tusaanidde okuba nakyo?

19 Bw’oba ng’ofuba okukula mu by’omwoyo, osobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo! Weeyongere okulya emmere ey’eby’omwoyo enkalubo n’okufuba okutuukanya endowooza yo n’eya Yakuwa. Ate bw’oba nga wakula dda mu by’omwoyo, fuba okusigala ng’oli mukulu mu by’omwoyo.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kitegeeza ki okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo?

  • Tuyinza tutya okukula mu by’omwoyo?

  • Lwaki tusaanidde okwewala okwekakasa ekisukkiridde?

OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!

a Wadde ng’Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya tebikozesa bigambo “bakulu” oba “bato” mu by’omwoyo, birina ebigambo bye bikozesa ebirina amakulu ago. Ng’ekyokulabirako, ekitabo ky’Engero kiraga enjawulo eriwo wakati w’omuntu akyali omuto era atalina bumanyirivu n’omuntu ow’amagezi era omutegeevu.—Nge. 1:​4, 5.

b Laba ekitundu Protect Yourself From Misinformation ku jw.org ne ku JW Library.®

c Laba ekitundu “By’Oyinza Okwesomesa” mu magazini eno.

d EKIFAANANYI: Ow’oluganda akolera ku misingi gy’ayize mu Kigambo kya Katonda ng’alonda eby’okwesanyusaamu