EKITUNDU EKY’OKUSOMA 17
OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu
Tovanga mu Lusuku Olw’Eby’Omwoyo
“Musanyuke era mujaganye emirembe gyonna olw’ekyo kye ntonda.”—IS. 65:18.
EKIGENDERERWA
Laba engeri gye tuganyulwa mu kubeera mu lusuku olw’eby’omwoyo, n’engeri gye tuyinza okusikiriza abalala okuluyingiramu.
1. Olusuku olw’eby’omwoyo kye ki, era kiki kye tumaliridde obutakola?
WALIWO olusuku leero ku nsi olulimu abantu abakola ebintu ebirungi. Lulimu abantu bukadde na bukadde abali mu mirembe egya nnamaddala. Abo abali mu lusuku olwo bamaliridde obutaluvaamu. Ate era baagala abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka okubeegattako. Lusuku ki olwo? Lwe lusuku olw’eby’omwoyo! a
2. Kiki ekyewuunyisa ku lusuku olw’eby’omwoyo?
2 Mu ngeri eyeewuunyisa, Yakuwa ataddewo ekifo eky’akabonero ekirimu abantu be abali mu mirembe era abali obumu, wadde nga babeera mu nsi ya Sitaani ejjudde obukyayi n’ebintu ebirala ebibi. (1 Yok. 5:19; Kub. 12:12) Katonda waffe atwagala alaba obulumi ensi ya Sitaani bw’ereetera abantu, naye aleetera abaweereza be okuwulira nti balina obukuumi, ekibayamba okweyongera okumuweereza nga basanyufu. Ekigambo kye kyogera ku lusuku luno ‘ng’ekifo eky’okuddukiramu’ era ‘ng’ennimiro efukirirwa obulungi.’ (Is. 4:6; 58:11) Olw’okuba abo abali mu lusuku luno Yakuwa abawa emikisa, basanyufu era bawulira nga balina obukuumi mu nnaku zino enzibu ennyo ez’enkomerero.—Is. 54:14; 2 Tim. 3:1.
3. Ebyo ebiri mu Isaaya 65 byatuukirizibwa bitya mu biseera eby’edda?
3 Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yalaga embeera bwe yandibadde eri abo abandibadde babeera mu lusuku olw’eby’omwoyo. Ebyo bye yayogera bisangibwa mu Isaaya essuula 65, era mu kusooka byatuukirizibwa mu 537 E.E.T. Mu kiseera ekyo, Abayudaaya abaali beenenyezza baasumululwa okuva mu buwambe e Babulooni ne baddayo mu nsi yaabwe. Yakuwa yawa omukisa abantu be ne basobola okuddamu okuzimba ekibuga Yerusaalemi ekyali kyazikirizibwa, era n’okuzzaawo yeekaalu eyali entabiro y’okusinza okw’amazima mu Isirayiri.—Is. 51:11; Zek. 8:3.
4. Ebyo ebiri mu Isaaya essuula 65 bituukirizibwa bitya leero?
4 Okutuukirizibwa okw’okubiri okw’obunnabbi bwa Isaaya kwatandika mu 1919 E.E., abantu ba Yakuwa ab’omu kiseera kino bwe baasumululwa mu buwambe mu Babulooni Ekinene. Oluvannyuma olusuku olw’eby’omwoyo lwatandika okubuna mpolampola mu nsi yonna. Ababuulizi b’Obwakabaka abanyiikivu baatandikawo ebibiina bingi era booleka engeri ez’Ekikristaayo. Abasajja n’abakazi edda abaali beenyigira mu bikolwa eby’obukambwe n’eby’obugwenyufu baayambala ‘omuntu omuggya eyatondebwa nga Katonda bw’ayagala.’ (Bef. 4:24) Kya lwatu nti mingi ku mikisa Isaaya gye yayogerako gijja kutuukirira mu nsi empya. Naye ne mu kiseera kino tuganyulwa nnyo mu lusuku olw’eby’omwoyo. Kati ka tulabe engeri gye tuganyulwa mu kubeera mu lusuku luno olw’eby’omwoyo era n’ensonga lwaki tetusaanidde kuluvaamu.
ENGERI ABO ABALI MU LUSUKU OLW’EBY’OMWOYO GYE BAWULIRAMU
5. Nga bwe kyalagulwa mu Isaaya 65:13, biki bye tufuna mu lusuku olw’eby’omwoyo?
5 Baliisibwa bulungi era bazzibwamu amaanyi. Obunnabbi bwa Isaaya bulaga enjawulo eyandibaddewo wakati w’abo abandibadde mu lusuku olw’eby’omwoyo n’abo abandibadde ebweru waalwo. (Soma Isaaya 65:13.) Yakuwa awa abaweereza be buli kimu kye beetaaga okusobola okusigala nga balina enkolagana ennungi naye. Tulina omwoyo gwe omutukuvu, Ekigambo kye, n’emmere ey’eby’omwoyo nnyingi, ne kiba nti ‘tulya, tunywa, era tuli basanyufu.’ (Geraageranya Okubikkulirwa 22:17.) Kyokka abo abali ebweru w’olusuku olw’eby’omwoyo ‘balumwa enjala, balumwa ennyonta, era baswala.’ Obwetaavu bwabwe eby’eby’omwoyo tebukolwako.—Am. 8:11.
6. Yoweeri 2:21-24 woogera watya ku bintu eby’omwoyo Yakuwa by’atuwa, era tuyinza tutya okubiganyulwamu?
6 Nnabbi Yoweeri yakozesa ebintu bye twetaaga mu bulamu, gamba ng’emmere, omwenge, n’amafuta, okulaga nti Yakuwa awa abantu be mu bungi ebintu byonna bye beetaaga omuli n’emmere ey’eby’omwoyo. (Yow. 2:21-24) Ekyo akikola okuyitira mu Bayibuli, ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Bayibuli, omukutu gwaffe, awamu n’enkuŋŋaana ennene n’entono. N’olw’ensonga eyo, tusobola okulya emmere ey’eby’omwoyo buli lunaku, era ekyo kituleetera okuwulira nti tuliisibwa bulungi mu by’omwoyo era tuzziddwamu amaanyi.
7. Kiki ekitusobozesa okuba n’essanyu mu mutima? (Isaaya 65:14)
7 Basanyufu era bamativu. Abantu ba Katonda ‘boogerera waggulu n’essanyu’ olw’okuba basiima nnyo ebyo Yakuwa by’abakolera. (Soma Isaaya 65:14.) Amazima agali mu Bayibuli aganyweza okukkiriza kwaffe, ebisuubizo ebirimu ebitubudaabuda, n’essuubi lye tulina olwa ssaddaaka Yesu gye yawaayo, bitusobozesa okuba n’essanyu lingi mu mutima. Okunyumya ne bakkiriza bannaffe ku bintu ebyo kituleetera essanyu erya nnamaddala!—Zab. 34:8; 133:1-3.
8. Bintu ki ebibiri ebikulu ebiri mu lusuku olw’eby’omwoyo?
8 Okwagala n’obumu ebiri mu bantu ba Yakuwa bye bimu ku bintu ebikulu ebiri mu lusuku olw’eby’omwoyo. Okwagala okwo n’obumu bituyamba okukuba akafaananyi ku ngeri obulamu bwe buliba mu nsi empya ng’abantu ba Yakuwa balagaŋŋana okwagala ku kigero ekisingayo, era nga bali bumu nnyo n’okusinga leero. (Bak. 3:14) Mwannyinaffe ayogera ku ekyo kye yalaba mu bantu ba Yakuwa lwe yasooka okukuŋŋaana nabo. Agamba nti: “Nnali simanyi ngeri ya kubeeramu musanyufu, wadde ne mu maka mwe nnali. Omulundi gwe nnasooka okulaba abantu nga balagaŋŋana okwagala okwa nnamaddala gwe gwo lwe nnajja mu Bajulirwa ba Yakuwa.” Buli muntu ayagala okuba n’essanyu erya nnamaddala n’okubeera omumativu asaanidde kubeera mu lusuku lwaffe olw’eby’omwoyo. Ensi k’ebe ng’erina ndowooza ki ku baweereza ba Yakuwa, beekoledde erinnya eddungi eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaabwe.—Is. 65:15.
9. Isaaya 65:16, 17 woogera ki ku bizibu bye twolekagana nabyo leero?
9 Bakkakkamu. Isaaya 65:14 walaga nti abo abasalawo okusigala ebweru w’olusuku olw’eby’omwoyo ‘bakaaba olw’obulumi obuba mu mitima gyammwe, era bakuba ebiwoobe olw’okwennyamira mu mwoyo.’ Ate ebintu byonna ebireetedde abantu ba Katonda obulumi n’okubonaabona? Ebintu ebyo oluvannyuma “tebirijjukirwa; [era] biriggibwa mu maaso [ga Katonda].” (Soma Isaaya 65:16, 17.) Ebizibu byonna bye twolekagana nabyo Yakuwa ajja kubiggyawo, era oluvannyuma lw’ekiseera obulumi obuleetebwa ebizibu ebyo tujja kubwerabirira ddala.
10. Lwaki osiima akakisa k’ofuna okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza banno? (Laba n’ekifaananyi.)
10 Ne mu kiseera kino bwe tuba mu nkuŋŋaana zaffe tuwulira nga tukkakkanye era ebirowoozo tetubissa ku bintu eri mu nsi ya Sitaani ebireeta okweraliikirira. Tuyambako baganda baffe okuwulira nga bakkakkannye bwe twoleka engeri eziri mu kibala ky’omwoyo, gamba ng’okwagala, essanyu, emirembe, ekisa, n’obukkakkamu. (Bag. 5:22, 23) Mazima ddala tusiima nnyo okubeera mu kibiina kya Yakuwa! Abo abasigala mu lusuku olw’eby’omwoyo bajja kulaba ng’ekisuubizo kya Katonda ekikwata ku ‘ggulu eriggya n’ensi empya’ kituukirira mu bujjuvu.’
11. Okusinziira ku Isaaya 65:18, 19, tusaanidde kukwatibwako tutya olw’okubeera mu lusuku olw’eby’omwoyo Yakuwa lwe yassaawo?
11 Basiima nnyo. Isaaya alaga ensonga endala lwaki ‘tusanyuka era tujaganya’ olw’okubeera mu lusuku olw’eby’omwoyo. Olusuku luno Yakuwa ye yalussaawo. (Soma Isaaya 65:18, 19.) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yakuwa atukozesa okuyamba abantu okuva mu bibiina by’ensi bitayigiriza bantu mazima agamukwatako, ne bajja mu lusuku luno olw’eby’omwoyo! Tusiima nnyo emikisa gye tufuna olw’okubeera mu lusuku luno, era twagala nnyo okugitegeezako abalala.—Yer. 31:12.
12. Ebintu Yakuwa bye yatusuubiza mu Isaaya 65:20-24 bikuleetera kuwulira otya, era lwaki?
12 Ate era mu lusuku luno olw’eby’omwoyo, tusiima nnyo essuubi lye tulina. Lowooza ku bintu byonna bye tujja okulaba ne bye tujja okukola mu nsi ya Katonda empya! Bayibuli egamba nti: “Teriddayo kubaayo mwana muwere afa nga yaakamala nnaku bunaku, wadde omukadde atalimalayo nnaku ze.” Tujja ‘kuzimba ennyumba tuzibeeremu, era tujja kusimba ennimiro z’emizabbibu tulye ebibala byamu.’ Tetujja “kuteganira bwereere” kubanga Yakuwa ajja kutuwa omukisa. Yakuwa atusuubiza okuba mu bulamu obulungi era obw’amakulu. ‘Ne bwe tunaaba tetunnamukoowoola,’ ajja kuba amanyi buli omu kye yeetaaga era ‘ajja kuwa buli kiramu bye kyagala.’—Is. 65:20-24; Zab. 145:16.
13. Isaaya 65:25 woogera watya ku nkyukakyuka abantu ze bakola bwe batandika okuweereza Yakuwa?
13 Balina emirembe era balina obukuumi. Omwoyo gwa Katonda guyambye bangi abaalina engeri eziri ng’ez’ensolo okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwabwe. (Soma Isaaya 65:25.) Bafubye nnyo okweggyamu engeri embi. (Bar. 12:2; Bef. 4:22-24) Kyo kituufu nti abantu ba Katonda tebatuukiridde era bakyakola ensobi. Kyokka Yakuwa akuŋŋaanyizza “abantu aba buli ngeri” abamwagala era abalagaŋŋana okwagala. N’ekivuddemu, tulina emirembe egya nnamaddala era tuli bumu. (Tit. 2:11) Ekyo kyamagero, era Yakuwa yekka y’asobola okukikola!
14. Ebigambo ebiri mu Isaaya 65:25 byatuukirira bitya ku w’oluganda omu?
14 Ddala abantu basobola okukyusa engeri zaabwe? Lowooza ku kyokulabirako kino. Omuvubuka omu yasibibwa mu kkomera enfunda n’enfunda, era we yawereza emyaka 20 yali yeenyigira nnyo mu bikolwa eby’obugwenyufu n’ebikolwa eby’obukambwe. Yali yasibibwa olw’okubba emmotoka, olw’okumenya amayumba, n’olw’emisango emirala egya nnaggomola. Ate era yali ayagala nnyo okulwana. Lwe yasooka okuwulira amazima agali mu Bayibuli era n’atandika okukuŋŋaana n’Abajulirwa ba Yakuwa, yali mukakafu nti yali azudde ekigendererwa mu bulamu, kwe kugamba, okusinza Yakuwa mu lusuku olw’eby’omwoyo. Oluvannyuma lw’okubatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, emirundi mingi yalowoozanga ku bigambo ebiri Isaaya 65:25 era n’akiraba nti bimukwatako. Yali alekedde awo okuba ng’empologoma, kwe kugamba, ng’aleseeyo ebikolwa eby’obukambwe, n’afuuka ng’endiga, kwe kugamba, nga muntu wa mirembe.
15. Lwaki twagala okuyamba abalala okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo, era ekyo tuyinza kukikola tutya?
15 Isaaya 65:13 lutandika bwe luti: “Bw’ati Yakuwa Mukama Afuga Byonna bw’agamba.” Ate olunyiriri 25 lukomekkerezebwa bwe luti: “Yakuwa bw’agamba.” Bulijjo Yakuwa by’asuubiza bituukirira. (Is. 55:10, 11) Olusuku olw’eby’omwoyo weeruli era lwa ddala. Yakuwa asobozesezza abaweereza be okuba n’oluganda oluli mu nsi yonna. Olw’okuba tulina oluganda luno, tulina emirembe era tuwulira nga tulina obukuumi mu nsi eno ejjudde ebikolwa eby’obukambwe. (Zab. 72:7) Eyo ye nsonga lwaki twagala okuyamba abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka okutwegattako. Ekyo tusobola okukikola nga tufuba okukola omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa.—Mat. 28:19, 20.
ENGERI GYE TUYINZA OKUSIKIRIZA ABALALA OKUJJA MU LUSUKU OLW’EBY’OMWOYO
16. Kiki ekiyinza okuyamba abantu okwagala okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo?
16 Buli omu ku ffe alina ky’asobola okukolawo okusikiriza abalala okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo. Ekyo tusobola okukikola nga tukoppa Yakuwa. Yakuwa tawaliriza bantu kujja mu kibiina kye. Mu kifo ky’ekyo, abasembeza mpolampola gy’ali. (Yok. 6:44; Yer. 31:3) Abantu ab’emitima emirungi abayiga ebikwata ku ngeri za Yakuwa, bakwatibwako nnyo ne bajja gy’ali. Bwe twoleka engeri ennungi era ne tuba nga tweyisa bulungi, kiyinza kitya okusikiriza abantu okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo?
17. Tuyinza tutya okusikiriza abalala okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo?
17 Engeri emu gye tuyinza okusikiriza abalala okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo, kwe kuyisa bakkiriza bannaffe mu ngeri ey’okwagala era ey’ekisa. Abapya bwe bajja mu nkuŋŋaana zaffe, twagala bawulire ng’abapya abaagenda mu nkuŋŋaana z’omu kibiina ky’e Kkolinso eky’edda bwe bayinza okuba nga baawulira. Bayinza okuba nga baagamba nti: “Ddala Katonda ali mu mmwe.” (1 Kol. 14:24, 25; Zek. 8:23) N’olwekyo, tulina okweyongera okukolera ku kubuulira kuno: “Buli muntu abeere mu mirembe ne munne.”—1 Bas. 5:13.
18. Kiki ekiyinza okusikiriza abantu okujja mu kibiina kyaffe?
18 Bulijjo tulina okufuba okutunuulira baganda baffe nga Yakuwa bw’abatunuulira. Ekyo tukikola nga tussa ebirowoozo ku ngeri zaabwe ennungi so si ku butali butuukirivu bwabwe, oluvannyuma obujja okuggwaawo. Tusobola okugonjoola obutakkaanya bwonna bwe tulina mu ngeri ey’okwagala, nga tuba ‘ba kisa eri abalala, nga tusaasiragana, era nga tusonyiwagana.’ (Bef. 4:32) Bwe tukola tutyo, abantu abaagala okuyisibwa bwe batyo bajja kusikirizibwa okujja mu lusuku olw’eby’omwoyo. b
SIGALA MU LUSUKU OLW’EBY’OMWOYO
19. (a) Nga bwe kiragibwa mu kasanduuko, “ Baaluvaamu Naye ne Bakomawo,” biki abamu bye baayogera oluvannyuma lw’okukomawo mu lusuku olw’eby’omwoyo? (b) Tusaanidde kuba bamalirivu ku ki? (Laba n’ekifaananyi.)
19 Mazima ddala tusiima nnyo olusuku lwaffe olw’eby’omwoyo! Buli lukya lweyongera kuba lulungi era n’abalulimu beeyongera kuba bangi. Bulijjo ka tweyongere okusiima olusuku luno Yakuwa lwe yatuteerawo. Buli ayagala okuzzibwamu amaanyi, okuba omumativu, okuba omukkakkamu, n’okuwulira ng’alina obukuumi, asaanidde okujja mu lusuku luno era n’obutaluvaamu. Kyokka tusaanidde okwegendereza, kubanga Sitaani akola kyonna ky’asobola okulaba ng’atusendasenda tuluveemu. (1 Peet. 5:8; Kub. 12:9) Tetusaanidde kukkiriza Sitaani kulutuggyamu. Ka bulijjo tweyongera okukuuma olusuku luno nga lulungi, nga lulongoofu, era nga lulimu emirembe.
WANDIZZEEMU OTYA?
-
Olusuku olw’eby’omwoyo kye ki?
-
Mikisa ki gye tufuna mu lusuku olw’eby’omwoyo?
-
Tuyinza tutya okusikiriza abalala okujja mu lusuku luno?
OLUYIMBA 144 Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
a EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: “Olusuku olw’eby’omwoyo” ye mbeera ennungi ey’eby’omwoyo abo abasinza Yakuwa gye balimu. Mu lusuku luno olw’eby’omwoyo, tulina enkolagana ennungi ne Yakuwa era ne basinza bannaffe.
b Ku jw.org/lg laba vidiyo Bali Ludda Wa Kati? Alena Žitníková: Engeri Ekirooto Kyange Gye Kyatuukiriramu, eraga emikisa mwannyinaffe gye yafuna olw’okubeera mu lusuku olw’eby’omwoyo.
c EKIFAANANYI: Bakkiriza bannaffe banyumirwa okubeerako awamu ne bannaabwe nga bazze mu lukuŋŋaana, naye ow’oluganda omu ye yeeyawudde