Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 15

OLUYIMBA 124 Tubeerenga Beesigwa

Weeyongere Okwesiga Ekibiina kya Yakuwa

Weeyongere Okwesiga Ekibiina kya Yakuwa

“Mujjukirenga abo ababakulembera, abababuulidde ekigambo kya Katonda.”BEB. 13:7.

EKIGENDERERWA

Kye tusaanidde okukola okwesiganga ekibiina kya Yakuwa.

1. Abantu ba Yakuwa baali bategekeddwa batya mu kyasa ekyasooka?

 BULI Yakuwa lw’awa abantu be obuvunaanyizibwa ababa abasuubira okubutuukiriza mu ngeri entegeke obulungi. (1 Kol. 14:33) Ng’ekyokulabirako, ayagala amawulire amalungi gabuulirwe mu nsi yonna. (Mat. 24:14) Yakuwa yalonda Yesu okulabirira omulimu ogwo. Yesu akakasizza nti omulimu ogwo gukolebwa mu ngeri entegeke obulungi. Mu kyasa ekyasooka, ebibiina bwe byali bitandikibwawo mu bitundu ebitali bimu, abakadde baalondebwa okuwa obulagirizi mu bibiina ebyo. (Bik. 14:23) Mu Yerusaalemi, abatume n’abakadde abatonotono be baasalangawo ku nsonga ezitali zimu ebibiina byonna bye zaalinanga okugoberera. (Bik. 15:2; 16:4) Olw’okuba ebibiina byagobereranga obulagirizi obwabiweebwanga, “byeyongera okunywezebwa mu kukkiriza era omuwendo gw’abakkiriza ne gweyongeranga.”—Bik. 16:5.

2. Okuva mu 1919, Yakuwa azze awa atya abantu be emmere ey’eby’omwoyo n’obulagirizi?

2 Ne leero Yakuwa akyeyongera okutegeka abantu be. Okuva mu 1919, Yesu azze akozesa abasajja abatonotono abaafukibwako amafuta okuteekateeka omulimu gw’okubuulira n’okuwa abagoberezi be emmere ey’eby’omwoyo. a (Luk. 12:42) Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa awa omulimu gwe bakola omukisa.—Is. 60:22; 65:​13, 14.

3-4. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gye tuganyulwamu olw’okuba tutegekeddwa bulungi. (b) Biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Singa twali tetutegekeddwa bulungi, twandibadde tetusobola kutuukiriza mulimu Yesu gwe yatuwa. (Mat. 28:​19, 20) Ng’ekyokulabirako, kyandibadde kitya singa buli kibiina kyali tekiweereddwa bitundu bye kibuuliramu nga buli muntu abuulira wonna w’aba ayagadde okubuulira? Ebitundu ebimu byandibadde bibuulirwamu enfunda n’enfuda ababuulizi abawerako, ate ebirala byandibadde biragajjalirwa. Waliwo engeri endala gy’oyinza okulowoozaako gye tuganyulwa olw’okuba tutegekeddwa bulungi?

4 Yesu akyeyongera okuteekateeka abantu ba Katonda leero nga bwe yateekateeka abagoberezi be ng’ali ku nsi. Mu kitundu kino, tugenda kulaba ekyokulabirako Yesu kye yassaawo n’engeri ekibiina kyaffe kye kikoppye ekyokulabirako ekyo. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okweyongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa.

EKIBIINA KYAFFE KIKOPPA EKYOKULABIRAKO YESU KYE YASSAAWO

5. Engeri emu gye tukoppamu Yesu y’eruwa? (Yokaana 8:28)

5 Byonna Yesu bye yakolanga ne bye yayogeranga yabiyigira ku Kitaawe ow’omu ggulu. Ekibiina kya Yakuwa kikoppye ekyokulabirako Yesu kye yassaawo nga kikozesa Ekigambo kya Katonda okutuyamba okumanya ekituufu n’ekikyamu era nga kituwa obulagirizi. (Soma Yokaana 8:28; 2 Tim. 3:​16, 17) Bulijjo tujjukizibwa okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukolera ku ebyo bye tusoma. Tuganyulwa tutya bwe tukolera ku bulagirizi obwo?

6. Engeri emu enkulu gye tuganyulwamu mu kwesomesa Bayibuli y’eruwa?

6 Tuganyulwa nnyo bwe twesomesa Bayibuli nga tukozesa ebitabo ebituweebwa ekibiina kya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tuba tusobola okugeraageranya enjigiriza za Bayibuli n’obulagirizi obutuweebwa ekibiina. Bwe tukiraba nti obulagirizi bwe tufuna bwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa, tweyongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa.—Bar. 12:2.

7. Mawulire ki Yesu ge yabuulira era ekibiina kya Yakuwa kimukoppye kitya?

7 Yesu yabuuliranga “amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda.” (Luk. 4:​43, 44) Ate era yalagira abagoberezi be okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. (Luk. 9:​1, 2; 10:​8, 9) Leero abo bonna abali mu kibiina kya Yakuwa babuulira amawulire ag’Obwakabaka ka wabe wa bwe babeera oba ka babe nga balina buvunaanyizibwa ki.

8. Nkizo ki gye tulina?

8 Tugitwala nga nkizo ya maanyi okubuulira abalala amawulire agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda! Enkizo eyo si ya buli omu. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali ku nsi teyakkiriza myoyo mibi kumuwaako bujulirwa. (Luk. 4:41) Leero omuntu bw’aba tannatandika kubuulira wamu n’abantu ba Yakuwa, alina okutuukiriza ebisaanyizo by’okubuulira. Tukiraga nti tusiima enkizo ey’okubuulira nga tufuba okubuulira abantu wonna we tubasanga na buli lwe tuba tufunye akakisa. Okufaananako Yesu, ekigendererwa kyaffe kya kusiga ensigo ez’amazima mu mitima gy’abantu n’okuzifukirira.—Mat. 13:​3, 23; 1 Kol. 3:6.

9. Ekibiina kya Yakuwa kiyambye kitya abantu okumanya erinnya lya Katonda?

9 Yesu yabuulira abalala erinnya lya Katonda. Bwe yali asaba Kitaawe ow’omu ggulu yagamba nti: “Mbamanyisizza erinnya lyo.” (Yok. 17:26) Ekibiina kya Yakuwa kikoppa ekyokulabirako Yesu kye yassaawo nga kifuba okuyamba abalala okumanya erinnya lya Katonda. Engeri emu ekibiina kya Yakuwa gye kikozeemu ekyo kwe kufulumya enkyusa ya Bayibuli eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Mu nkyusa eyo erinnya lwa Katonda lyazzibwa mu bifo byonna we lirina okubeera. Enkyusa ya Bayibuli eyo kati eri mu nnimi 270 mu bulambalamba oba mu bitundutundu. Bw’osoma Ebyongerezeddwako A4 ne A5 mu Enkyusa ey’Ensi Empya, osobola okumanya ebisingawo ebikwata ku nsonga lwaki erinnya lya Katonda lyazzibwa mu bifo we lirina okubeera. Ebyongerezeddwako C mu Bayibuli ey’okwesomesa (Study Bible), biraga obukakafu obulala obulaga nti erinnya lya Katonda lirina okubeera mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani emirundi 237.

10. Kiki ky’oyigidde ku bigambo omukyala omu ow’omu Myanmar bye yayogera?

10 Okufaananako Yesu, twagala okuyamba abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka okumanya erinnya lya Katonda. Omukyala omu ow’emyaka 67 abeera mu Myanmar bwe yategeera erinnya lya Katonda yakaaba era n’agamba nti: “Guno gwe mulundi ogusooka mu bulamu bwange okukimanya nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. . . . Munjigirizza ekintu ekikulu ennyo.” Ng’ekyokulabirako ekyo bwe kiraga, abantu ab’emitima emirungi bakwatibwako nnyo bwe bamanya erinnya lya Katonda.

WEEYONGERE OKWESIGA EKIBIINA KYA YAKUWA

11. Abakadde bakiraga batya nti beesiga ekibiina kya Yakuwa? (Laba n’ekifaananyi.)

11 Engeri emu abakadde gye bakiraga nti basiima ekibiina kya Yakuwa y’eruwa? Bwe baweebwa obulagirizi basaanidde okubusoma n’obwegendereza era ne bafuba okukolerako. Ng’ekyokulabirako, ng’oggyeeko okuba nti baweebwa obulagirizi obukwata ku ngeri y’okukubirizaamu enkuŋŋaana n’okukulemberamu ekibiina mu kusaba, era baweebwa n’obulagirizi obukwata ku ngeri y’okulabiriramu endiga za Kristo. Abakadde abakolera ku bulagirizi obubaweebwa, bayamba ab’oluganda mu bibiina okuwulira nti baagalibwa era nti balina obukuumi.

Abakadde batuyamba okwesiga obulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa (Laba akatundu 11) b


12. (a) Lwaki tusaanidde okukolagana obulungi n’abakadde? (Abebbulaniya 13:​7, 17) (b) Lwaki tusaanidde okussa ebirowoozo byaffe ku ngeri z’abakadde ennungi?

12 Bwe tufuna obulagirizi okuva eri abakadde, tusaanidde okuba abeetegefu okubukolerako. Bwe tubukolerako, tukifuula kyangu gye bali okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Bayibuli etukubiriza okuba abawulize era n’okugondera abo abatwala obukulembeze. (Soma Abebbulaniya 13:​7, 17.) Naye oluusi ekyo tekiba kyangu. Lwaki? Kubanga abakadde tebatuukiridde. Bwe tussa ebirowoozo ku ngeri zaabwe embi mu kifo ky’okubissa ku ngeri zaabwe ennungi, tuba tuyambako abalabe baffe. Mu ngeri ki? Abalabe baffe baagala tube nga tubuusabuusa nti Katonda akozesa ekibiina kyaffe okutuwa obulagirizi. N’olwekyo, bwe tuba n’endowooza embi ku bakadde tuyinza okutandika okulowooza obubi ku kibiina kya Yakuwa ne tulekera awo okukyesiga. Kiki kye tuyinza okukola okumanya eby’obulimba abalabe baffe bye boogera n’okubyewala?

TOKKIRIZA BALALA KUKULEETERA KULEKERA AWO KWESIGA KIBIINA KYA YAKUWA

13. Abalabe ba Katonda bagezezzaako batya okusiiga ekibiina kye enziro?

13 Abalabe ba Katonda bagezaako okulabisa ebintu ebirungi ebikwata ku kibiina kya Yakuwa ng’ebibi. Ng’ekyokulabirako, tukimanyi nti Yakuwa asuubira abo abamusinza okuba abayonjo mu mubiri, mu mpisa, ne mu by’omwoyo. Yakuwa atwetaagisa okugoba mu kibiina kye abo bonna abakola ebintu ebibi nga si beetegefu kukyusa nneeyisa yaabwe. (1 Kol. 5:​11-13; 6:​9, 10) Tunywerera ku kiragiro ekyo eky’omu Byawandiikibwa. Naye olw’okuba tugondera ekiragiro ekyo, abalabe baffe bagamba nti tetwagala bantu, tusalira abalala omusango bantu, era nti tetugumiikiriza bantu ba njawulo ku ffe.

14. Ani ali emabega w’obulimba obwogerwa ku kibiina kya Yakuwa?

14 Manya ali emabega w’obulumbaganyi. Sitaani Omulyolyomi y’ali emabega w’ebintu byonna eby’obulimba ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa. Ye “kitaawe w’obulimba.” (Yok. 8:44; Lub. 3:​1-5) N’olwekyo, tusaanidde okusuubira Sitaani okukozesa abantu be okwogera ebintu eby’obulimba ku kibiina kya Yakuwa. Ekyo bwe kityo bwe kyali ne mu kyasa ekyasooka.

15. Abakulembeze b’eddiini baakola ki Yesu n’abagoberezi be?

15 Mu kyasa ekyasooka, wadde nga Yesu Omwana wa Katonda eyali atuukiridde yakola ebyamagero, Sitaani yakozesa abantu abamu okumwogerako eby’obulimba. Ng’ekyokulabirako, abakulembeze b’eddiini baagamba abantu nti Yesu yali agoba emyoyo emibi ng’akozesa amaanyi agaamuweebwa ‘omufuzi wa badayimooni.’ (Mak. 3:22) Yesu bwe yali awozesebwa, abakulembeze b’eddiini baamulumiriza nti yali muvvoozi era baakuma omuliro mu bantu ne basaba nti attibwe. (Mat. 27:20) Oluvannyuma abagoberezi ba Kristo bwe baali babuulira amawulire amalungi, abo abaali babaziyiza baasiga “omutima omubi mu b’amawanga” okuyigganya Abakristaayo abo. (Bik. 14:​2, 19) Nga gwogera ku Ebikolwa 14:​2, Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 1, 1998, gwagamba nti: ‘Ng’oggyeeko okugaana obubaka, Abayudaaya abaali baziyiza baakola kaweefube ow’okwonoona erinnya ly’Abakristaayo, nga bagezaako okuleetera ab’Amawanga okubakyawa.’

16. Bwe tuwulira ebintu eby’obulimba ebyogerwa, kiki kye tusaanidde okujjukira?

16 Obulimba bwa Sitaani tebwakoma mu kyasa ekyasooka. Ne leero, ‘akyalimbalimba ensi yonna.’ (Kub. 12:9) Bw’owulira ebintu ebibi ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa oba ku b’oluganda abatwala obukulembeze, jjukira engeri abalabe ba Katonda gye baayisaamu Yesu n’Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka. Leero abantu ba Yakuwa bayigganyizibwa era boogerwako ebintu ebibi nga Bayibuli bwe yalagula. (Mat. 5:​11, 12) Tetujja kubuzaabuzibwa ebintu eby’obulimba ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa bwe tumanya oyo ali emabega waabyo era ne tubaako kye tukolawo mangu okubyewala. Kiki kye tusaanidde okukola?

17. Tuyinza tutya okwewala akabi akava ku bintu eby’obulimba ebyogerwa? (2 Timoseewo 1:13) (Laba n’akasanduuko “ Engeri Gye Tuyinza Okwewala Ebintu eby’Obulimba.”)

17 Weewale ebintu eby’obulimba ebyogerwa. Omutume Pawulo yawa obulagirizi obutegeerekeka obulungi ku ekyo kye tusaanidde okukola nga tuwulidde ebintu eby’obulimba. Yagamba Timoseewo ‘alagire abamu obutassaayo mwoyo ku ngero ez’obulimba’ ‘n’okwewala enfumo ez’obulimba.’ (1 Tim. 1:​3, 4; 4:7) Lowooza ku kino, omwana ayinza okulonda ekintu ekicaafu n’akissa mu kamwa, naye omuntu omukulu ekyo tasobola kukikola kubanga akimanyi nti ekyo kya bulabe eri obulamu bwe. Mu ngeri y’emu, twewala ebintu eby’obulimba ebyogerwa kubanga tumanyi ali emabega waabyo. Tunywerera ku ‘bigambo eby’omuganyulo’ eby’amazima.—Soma 2 Timoseewo 1:13.

18. Tuyinza tutya okulaga nti twesiga ekibiina kya Yakuwa?

18 Waliwo engeri nnyingi ekibiina kya Yakuwa gye kikoppamu Yesu, era leero tulabyeyo ssatu. Bw’oba osoma Bayibuli, weetegereze engeri endala ekibiina kya Yakuwa gye kikoppamu Yesu. Yamba abalala mu kibiina kyo okweyongera okwesiga ekibiina kya Yakuwa. Era weeyongere okukiraga nti weesiga ekibiina kya Yakuwa ng’oweereza Yakuwa n’obwesigwa era ng’onywerera mu kibiina ky’akozesa leero okutuukiriza by’ayagala. (Zab. 37:28) Ka tweyongere okusiima enkizo gye tulina ey’okubeera mu bantu ba Katonda abalina okwagala era abeesigwa.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Mu ngeri ki abantu ba Katonda gye bakoppa Yesu?

  • Tuyinza tutya okweyongera okulaga nti twesiga ekibiina kya Yakuwa?

  • Kiki kye tusaanidde okukola singa wabaawo eby’obulimba ebyogerwa ku kibiina kya Yakuwa oba ku abo abatwala obukulembeze mu kibiina?

OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo

b EBIFAANANYI: Oluvannyuma lw’abakadde okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y’okubuulira mu bifo ebya lukale, omulabirizi w’ekibinja ky’obuweereza ategeeza ababuulizi obulagirizi obuweereddwa, nti balina kuyimirira kumpi n’ekisenge nga bakikubye amabega.