OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Ddesemba 2017

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Jjanwali 29 okutuuka nga Febwali 25, 2018.

“Mmanyi nti Alizuukira”

Lwaki tuli bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira?

“Nnina Essuubi mu Katonda”

Lwaki okuzuukira y’emu ku njigiriza zaffe enkulu?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino.

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Mu Isirayiri ey’edda olunyiriri omwandivudde Masiya lwalina akakwate n’omugabo ogw’omwana omubereberye?

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Omukristaayo akkirizibwa okukozesa enkola ey’ekizaala ggumba eya kkoyiro?

Abazadde​—Muyambe Abaana Bammwe Okufuuka ‘ab’Amagezi Basobole Okufuna Obulokozi’

Abazadde bangi Abakristaayo beeraliikiriramu abaana baabwe bwe basalawo okwewaayo eri Yakuwa n’okubatizibwa. Bayinza batya okuyamba abaana baabwe okufuuka ab’amagezi basobole okufuna obulokozi?

Abaana​—“Mweyongere Okukolerera Obulokozi Bwammwe”

Okubatizibwa ddaala kkulu, naye abaana tebasaanidde kutya kubatizibwa.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Nnaleka Ebintu Ne Ngoberera Mukama Waffe

Felix Fajardo yafuuka Omukristaayo nga wa myaka 16 gyokka. Kati wayise emyaka 70 bukya atandika okugoberera Yesu era teyejjusa.

Olukalala lw’Emitwe mu Omunaala gw’Omukuumi 2017

Olukalala luno lujja kukuyamba okuzuula ebitundu ebyali ma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi eza 2017.