Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi

Omukristaayo omufumbo akkirizibwa okukozesa enkola ey’ekizaala ggumba eya kkoyiro oba eyitibwa IUD (intrauterine device)?

Ku nsonga eno, omwami n’omukyala abafumbo balina okwekenneenya ebikwata ku nkola eno era ne basalawo nga basinziira ku misingi gya Bayibuli. Kye basalawo kisaanidde okubaleetera okuba n’omuntu ow’omunda omulungi.

Katonda bwe yatonda Adamu ne Kaawa (era n’oluvannyuma lw’Amataba, nga ku nsi kuliko abantu munaana), Yakuwa yabagamba nti: “Muzaale mwale.” (Lub. 1:28; 9:1) Bayibuli teraga nti ekiragiro ekyo kikwata ne ku Bakristaayo. N’olwekyo kiri eri abafumbo okwesalirawo obanga banaakozesa enkola ey’ekizaala ggumba, kibasobozese obutazaala baana bangi oba okusalawo ddi lwe banaazaala. Bintu ki bye basaanidde okulowoozaako?

Abakristaayo balina okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli nga basalawo enkola ey’ekizaala ggumba gye banaakozesa. Abakristaayo tebalina kuggyamu mbuto olw’okwagala okwewala okuzaala. Okuggyamu olubuto kikontana n’emisingi gya Bayibuli. Abakristaayo tebasaanidde kukomanya bulamu bwa mwana ali mu lubuto. (Kuv. 20:13; 21:22, 23; Zab. 139:16; Yer. 1:5) Enkola ya kkoyiro ekola etya?

Ensonga eyo yayogerwako mu Watchtower eya Maayi 15, 1979 (olupapula 30-31). Kkoyiro ezaali zikozesebwa ennyo mu kiseera ekyo zaabanga za pulasitiika, era zaateekebwanga mu nnabaana okusobola okuziyiza omukazi okufuna olubuto. Magazini eyo yalaga nti engeri enkola eyo gy’ekolamu yali temanyiddwa bulungi. Abakugu bangi baali bagamba nti kkoyiro ezo eza pulasitiika zaali zirina kye zikola ku nnabaana ne kiremesa enkwaso y’omusajja okutuuka ku ggi ly’omukazi. Olw’okuba enkwaso y’omusajja teyatuukanga ku ggi lya mukazi, omukazi yabanga tasobola kufuna lubuto.

Naye waliwo obukakafu obulaga nti oluusi n’oluusi enkwaso y’omusajja yatuukanga ku ggi ly’omukazi. Ekyo kyaviirangako eggi eryabanga limaze okwegatta n’enkwaso y’omusajja okutandika okukulira mu nseke oba okweseeseetula ne ligenda mu nnabaana. Eggi eryo bwe lyatuukanga mu nnabaana, kkoyiro yaliremesanga okwekwata ku kisenge kya nnabaana we lirina okwekwata era bwe kityo lyafanga. Okukomya obulamu obwo kwabanga nga kuggyamu lubuto. Magazini eyo era yagamba nti: “Omukristaayo bw’aba asalawo obanga asaanidde okukozesa kkoyiro oba obutagikozesa, alina okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli egikwata ku kussa ekitiibwa mu bulamu.”​—Zab. 36:9.

Wabaddewo enkyukakyuka ezikoleddwa mu nkola ya kkoyiro bukya magazini eyo efulumizibwa mu 1979?

Waliwo kkoyiro za bika bibiri ezaayiiyizibwa. Ekika ekimu kirimu ekikomo, era omwaka gwa 1988 we gwatuukira kkoyiro ez’ekika ekyo zaali zettanirwa nnyo mu Amerika. Ate mu 2001 kkoyiro ezirimu eddagala oba hormone zaatandika okukozesebwa. Kkoyiro ezo zikola zitya?

Ezirimu Ekikomo: Nga bwe kyogeddwako waggulu, kkoyiro zikifuula kizibu eri enkwaso y’omusajja okutuuka ku ggi ly’omukazi. Okugatta ku ekyo, kkoyiro ezirimu ekikomo bwe zifulumya ekikomo, kirabika ekikomo ekyo kitta enkwaso. * Ate era kigambibwa nti kkoyiro ezo ez’ekikomo zitaataaganya ekisenge kya nnabaana eggi we lirina okwekwata.

Ezirimu eddagala: Waliwo kkoyiro ezitali zimu ezirimu eddagala ng’eryo eribeera mu buweke obugema okuzaala. Kkoyiro ezo ziyiwa eddagala mu nnabaana. Kirabika mu bakazi abamu, kkoyiro ezo ziziyiza amagi okufuluma mu kisawo kyago. Kya lwatu nti eggi bwe litafuluma, enkwaso y’omusajja tesobola kwegatta nalyo. Ate era kigambibwa nti eddagala eriba mu kkoyiro ezo linafuya ekisenge kya nnabaana omwana we yeekwata. * Era lireetera amazzi aganaanuka agabeera ku mumwa gwa nnabaana okwongera okwekwata ne kiremesa enkwaso okuyingira mu nnabaana.

Nga bwe kyogeddwako waggulu, kirabika kkoyiro ezo ez’ebika ebibiri zikyusa enkula y’ebisenge bya nnabaana. Naye watya singa eggi liteebwa okuva mu kisawo era ne lyegatta n’enkwaso y’omusajja? Liyinza okuyingira mu nnabaana naye ne liremwa okwekwata ku kisenge kya nnabaana kubanga kiba kitaataganyiziddwa. Ekyo kiviirako eggi eryo okufa. Naye ekyo tekitera kubaawo, ng’era bwe kitatera kubaawo omukazi okufuna olubuto ng’amira obuweke obugema okuzaala.

N’olwekyo, tetusobola kugamba nti kkoyiro ezo zombi ziziyiriza ddala omukazi obutafuna lubuto. Naye nga bwe tulabye waggulu, okunoonyereza kulaga nti enkola ya kkoyiro ezo ekifuula kizibu nnyo eri omukazi okufuna olubuto ng’azikozesa.

Omwami n’omukyala Abakristaayo basaanidde okusooka okwebuuza ku basawo bamanye kkoyiro za ngeri ki ze balina era bamanye ebirungi n’obuzibu obuzirimu. Omwami n’omukyala tebalina kusuubira oba kukkiriza muntu mulala kubasalirawo kya kukola, k’abe musawo. (Bar. 14:12; Bag. 6:4, 5) Be balina okwesalirawo. Basaanidde okusalawo mu ngeri esanyusa Katonda era ebasobozesa okubeera n’omuntu ow’omunda omuyonjo.​—Geraageranya 1 Timoseewo 1:18, 19; 2 Timoseewo 1:3.

^ lup. 4 Omukugu okuva mu kitongole kya Bungereza eky’eby’obulamu yagamba nti: “Kkoyiro ezirimu ekikomo ekingi zeesigika nnyo okusinga ezo ezirimu ekikomo ekitono. Mu bakazi abakozesa kkoyiro ezirimu ekikomo ekingi, omukazi omu yekka ku buli bakazi 100 y’asobola okufuna olubuto mu mwaka.”

^ lup. 5 Okuva bwe kiri nti kkoyiro ezo zinafuya ebisenge bya nnabaana, oluusi ziweebwa abakazi abafumbo n’abatali bafumbo kibayambe obutavaamu musaayi mungi nga bali mu nsonga.