Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abaana​—“Mweyongere Okukolerera Obulokozi Bwammwe”

Abaana​—“Mweyongere Okukolerera Obulokozi Bwammwe”

“Nga bulijjo bwe mubadde abawulize, . . . mweyongere okukolerera obulokozi bwammwe nga mutya era nga mukankana.”​—BAF. 2:12.

ENNYIMBA: 133, 135

1. Lwaki okubatizibwa kintu kikulu nnyo? (Laba ekifaananyi waggulu.)

BULI mwaka abayizi ba Bayibuli bangi babatizibwa. Bangi ku bo baba baana abatiini oba abanaatera okuyingira mu myaka egy’obutiini. Bangi ku bo bakulidde mu mazima. Oli omu ku bo? Bwe kiba kityo weebazibwa nnyo. Abakristaayo balina okubatizibwa, kubanga okubatizibwa kye kimu ku ebyo omuntu by’alina okukola okusobola okufuna obulokozi.​—Mat. 28:19, 20; 1 Peet. 3:21.

2. Lwaki omuntu tasaanidde kulonzalonza oba kutya kwewaayo eri Yakuwa?

2 Wadde ng’okubatizibwa kusobozesa omuntu okufuna emikisa mingi era kujjirako obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Buvunaanyizibwa ki? Ku lunaku lw’obatizibwa, oddamu nti yee mu kibuuzo kino, “Ng’osinziira ku ssaddaaka ya Yesu Kristo, weenenyezza ebibi byo era n’otegeeza Yakuwa nti weewaddeyo gy’ali okukola by’ayagala?” Okubatizibwa kabonero akalaga nti weewaayo eri Yakuwa. Bwe weewaayo eri Yakuwa, weeyama okumwagala n’okukulembezanga by’ayagala mu bulamu bwo. Obwo buvunaanyizibwa bwa maanyi. Wandyejjusizza olw’okwewaayo eri Yakuwa? Nedda. Bwe weewaayo eri Yakuwa oba tokoze nsobi. Lowooza ku kino! Omuntu ateewaddeyo eri Yakuwa aba afugibwa Sitaani. Sitaani tayagala ofune bulokozi. Sitaani kimusanyusa nnyo singa olekera awo okuwagira obufuzi bwa Yakuwa n’odda ku ludda lwe, n’ofiirwa obulamu obutaggwaawo.

3. Mikisa ki egiva mu kwewaayo eri Yakuwa?

3 Lowooza ku mikisa gy’ofuna olw’okuba weewaayo eri Yakuwa n’obatizibwa. Olw’okuba kati weewaayo eri Yakuwa, osobola okwogera n’obuvumu nti: “Yakuwa ali ku ludda lwange; siityenga. Omuntu ayinza kunkola ki?” (Zab. 118:6) Okuba ku ludda lwa Yakuwa n’okuba ng’osiimibwa mu maaso ge nkizo ya maanyi etageraageranyizika.

BUVUNAANYIZIBWA BWA MUNTU KINNOOMU

4, 5. (a) Lwaki okwewaayo eri Yakuwa buvunaanyizibwa bwa muntu kinnoomu? (b) Kusoomooza ki Abakristaayo bonna kwe bafuna?

4 Bwe weewaayo eri Yakuwa, enkolagana yo ne Yakuwa tosaanidde kugitwala ng’essimu, bazadde bo gye bateekako ssente n’ekozesebwa ab’awaka bonna. Ne bw’oba ng’okyabeera ne bazadde bo, buvunaanyizibwa bwo okukuuma enkolagana yo ne Yakuwa. Ekyo lwaki kikulu okukijjukira? Kubanga tosobola kumanya kusoomooza kwonna kw’onooyolekagana nakwo mu biseera eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, bw’oba nga wabatizibwa nga tonnayingira mu myaka gy’obutiini, bw’onootuuka mu myaka gya kaabuvubuka oyinza okwolekagana n’okusoomooza okw’enjawulo. Omuwala omu omutiini yagamba nti: “Omwana omuto, banne ku ssomero bwe bamulyako keeki y’amazaalibwa, ayinza obutawulira nti anyigirizibwa olw’okubeera Omujulirwa wa Yakuwa. Naye bwe wayitawo emyaka mitono n’atuuka mu myaka okwegomba okw’okwegatta we kubeerera okw’amaanyi, aba alina okufuba ennyo okuba omukakafu nti bulijjo okugondera amateeka ga Yakuwa kye kisingayo obulungi.”

5 Kya lwatu nti abaana si be bokka abafuna okusoomoozebwa kwe baali batalowoozangako. N’abo ababatizibwa nga bakuze boolekagana n’okusoomooza kwe baba batalowoozanganako nti bajja kukufuna. Okusoomooza okwo kuyinza okuba nga kuva mu bizibu ebiba bizzeewo mu bufumbo bwabwe, obulwadde, oba omulimu. Ffenna, ka tube bakulu oba bato, twolekagana n’ebintu ebigezesa okukkiriza kwaffe.​—Yak. 1:12-14.

6. (a) Bwe weewaayo eri Yakuwa kyali kitegeeza ki? (b) Kiki ky’oyinza okuyigira mu bigambo ebiri mu Abafiripi 4:11-13?

6 Okusobola okusigala ng’oli mwesiga eri Yakuwa, kijjukire nti bwe weewaayo gy’ali weeyama okumuweereza mu mbeera zonna. Ekyo kitegeeza nti wasuubiza Omuyinza w’Ebintu Byonna nti ojja kumuweereza ka kibe nti mikwano gyo oba bazadde bo balekedde awo okumuweereza. (Zab. 27:10) Ba mukakafu nti k’ebe mbeera ki gy’oyolekagana nayo, Yakuwa asobola okukuyamba okutuukiriza kye wamusuubiza.​—Soma Abafiripi 4:11-13.

7. Kitegeeza ki okukolerera obulokozi bwo ‘ng’otya era ng’okankana’?

7 Yakuwa ayagala obe mukwano gwe. Naye kikwetaagisa okufuba ennyo bw’oba ow’okusigala ng’oli mukwano gwa Yakuwa n’okukolerera obulokozi bwo. Abafiripi 2:12 wagamba nti: “Mweyongere okukolerera obulokozi bwammwe nga mutya era nga mukankana.” Ebigambo ebyo biraga nti kikwetaagisa okufumiitiriza ennyo ku ngeri gy’onookuumamu enkolagana yo ne Yakuwa era n’okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali mu mbeera zonna. Tosaanidde kwekakasa kisukkiridde. N’abamu ku bantu abaali bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa baawaba ne bamuvaako. Kati olwo biki by’oyinza okukola okusobola okukolerera obulokozi bwo?

KIKULU OKWESOMESA

8. Okwesomesa kizingiramu ki, era lwaki kikulu?

8 Okusobola okuba mukwano gwa Yakuwa olina okuwuliriza eddoboozi lye era naawe olina okwogera naye. Okwesomesa Bayibuli y’engeri enkulu gye tuwulirizaamu eddoboozi lya Yakuwa. Ekyo kizingiramu okusoma Ekigambo kya Katonda n’ebitabo ebikinnyonnyola era ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma. Bwe tuba twesomesa Bayibuli, tetulina kukwata bukwasi bukusu ebyo bye tusoma nga tulinga abasomerera okuyita ebigezo. Tulina okuba n’ekigendererwa eky’okwongera okumanya ebikwata ku Yakuwa n’engeri ze. Ekyo kituyamba okwongera okusemberera Yakuwa era naye n’atusemberera.​—Yak. 4:8.

Empuliziganya yo ne Yakuwa eri etya? (Laba akatundu 8-11)

9. Bintu ki ebikuyambye mu kwesomesa?

9 Ekibiina kya Yakuwa kituwadde ebintu ebitali bimu ebisobola okutuyamba okwesomesa obulungi. Ng’ekyokulabirako, ekitundu ekirina omutwe Bible Study Activitiesekisangibwa ku jw.org wansi w’omutwe Teenagerskiyinza okukuyamba okuyigira ku bintu ebitali bimu ebyogerwako mu Bayibuli. Era ebyo ebiri wansi w’ekitundu ekirina omutwe What Does the Bible Really Teach?ku jw.org, bisobola okukuyamba okwongera okunyweza okukkiriza kw’olina mu ebyo by’oyiga mu Bayibuli. Ebyo ebiri wansi w’ekitundu ekyo bisobola okukuyamba okumanya engeri gy’oyinza okunnyonnyolamu abalala ebikwata ku nzikiriza yo. Ebintu ebirala ebiyinza okukuyamba mu kwesomesa bisangibwa mu Awake! eya Apuli 2009 olupapula 23. Okwesomesa n’okufumiitiriza bijja kukuyamba okukolerera obulokozi bwo.​—Soma Zabbuli 119:105.

KIKULU OKUSABA

10. Lwaki okusaba kukulu nnyo eri Omukristaayo omubatize?

10 Bwe twesomesa Bayibuli tuba tuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa, ate bwe tusaba tuba twogera naye. Okusaba tetusaanidde kukutwala ng’ekintu kye tukola okutuusa obutuusa omukolo oba ng’ekintu kye tunoonyezaamu obunoonyeza bye twagala. Bwe tuba tusaba tuba twogera n’Omutonzi waffe. Yakuwa ayagala oyogere naye. (Soma Abafiripi 4:6.) Bw’ofuna ekintu kyonna ekikweraliikiriza, Bayibuli ekukubiriza ‘okutikka Yakuwa omugugu gwo.’ (Zab. 55:22) Ekyo okikkiriza? Waliwo ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abawa obukakafu nti amagezi ago gabayambye. Naawe gasobola okukuyamba!

11. Lwaki bulijjo osaanidde okwebaza Yakuwa?

11 Ng’oggyeeko okusaba Yakuwa atuyambe, tulina n’okumwebaza. Bayibuli egamba nti: “Mulage nti musiima.” (Bak. 3:15) Oluusi tuyinza okwesanga ng’ebirowoozo byaffe tubimalidde ku bizibu bye tulina ne tubuusa amaaso ebintu ebingi Yakuwa by’atukolera. Lwaki buli lunaku tofunayo akadde n’ofumiitiriza ku bintu waakiri nga bisatu by’osobola okwebaza Yakuwa? Oluvannyuma bw’oba osaba mwebaze olw’ebintu ebyo. Omuvubuka omu ayitibwa Abigail eyabatizibwa ng’alina emyaka 12, agamba nti: “Yakuwa tusaana okumwebaza okusinga omuntu omulala yenna. Tusaanidde okukozesa buli kakisa ke tufuna okumwebaza olw’ebirungi by’atukolera. Oluusi nneebuuza nti: Singa bukya ng’ebintu bye nneebazizza Yakuwa olwa leero bye nnina byokka, nnandibadde na bintu ki?” *

EBYO BY’OYISEEMU

12, 13. Lwaki osaanidde okulowooza ku ngeri Yakuwa gy’akulazeemu obulungi bwe?

12 Kabaka Dawudi, Yakuwa gwe yayamba okuyita mu bizibu ebitali bimu, yagamba nti: “Mulegeeko mulabe nti Yakuwa mulungi; alina essanyu oyo addukira gy’ali.” (Zab. 34:8) Olunyiriri olwo lulaga obukulu bw’okufumiitiriza ku ebyo bye tuba tuyiseemu mu bulamu. Bw’osoma Bayibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola era bw’obaawo mu nkuŋŋaana, olaba era n’owulira engeri Yakuwa gy’ayambyemu abantu be okusigala nga beesigwa. Naye bwe weeyongera okukula mu by’omwoyo, oba weetaaga okutandika okulaba engeri Yakuwa gy’akuyambamu ggwe kinnoomu mu bulamu bwo. Yakuwa akulaze atya obulungi bwe mu bulamu bwo?

13 Buli Mukristaayo alabye obulungi bwa Yakuwa mu ngeri ey’enjawulo. Buli omu ku ffe Yakuwa yamusembeza gy’ali n’eri Omwana we. Yesu yagamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” (Yok. 6:44) Naawe owulira nti Yakuwa ye yakuleeta eri Omwana we? Oba ogamba nti, ‘Yakuwa yasembeza bazadde bange, nze nnabagoberera bugoberezi.’ Kijjukire nti bwe weewaayo eri Yakuwa era n’obatizibwa, kyalaga nti kati wali ofunye enkolagana ey’enjawulo naye. Kati Yakuwa akumanyi. Bayibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ng’ayagala Katonda, Katonda aba amanyi omuntu oyo.” (1 Kol. 8:3) Bulijjo ekifo ky’olina mu kibiina kya Yakuwa kitwale nga kikulu nnyo.

14, 15. Okubuulira kuyinza kutya okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo?

14 Engeri endala gy’oyinza okulegako n’olaba obulungi bwa Yakuwa kwe kulaba engeri gy’akuyamba ng’obuulira abalala ebimukwatako, ku ssomero oba awalala wonna. Abamu kibazibuwalira okubuulira bayizi bannaabwe. Oboolyawo naawe oluusi kikuzibuwalira. Oyinza okweraliikirira engeri gye baneeyisaamu ng’obabuulidde. Kisobola okukutiisa ennyo, naddala singa kiba kikwetaagisa okubuulira abaana bangi omulundi gumu. Kiki ekiyinza okukuyamba?

15 Ekisooka, lowooza ku nsonga lwaki oli mukakafu nti ebyo by’okkiririzaamu bituufu. Ebyo ebituyamba okwesomesa ebisangibwa ku jw.org osobola okubifuna mu lulimi lw’otegeera obulungi? Bw’oba nga tomanyi, kinoonyerezeeko. Ebintu ebyo bisobola okukuyamba okufumiitiriza ku by’okkiririzaamu, ku nsonga lwaki obikkiririzaamu, ne ku ngeri gy’oyinza okubinnyonnyolamu abalala. Bw’oba oli mukakafu ku ebyo by’okkiririzaamu era nga weeteeseteese bulungi, ojja kuba oyagala nnyo okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa.​—Yer. 20:8, 9.

16. Kiki ekiyinza okukuyamba okuvvuunuka obuzibu obw’okukaluubirirwa okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yo?

16 Ne bw’oba weeteeseteese, kiyinza obutakwanguyira kubuulira balala bikwata ku nzikiriza yo. Mwannyinaffe ow’emyaka 18 eyabatizibwa ng’alina emyaka 13, agamba nti: “Mmanyi bulungi bye nzikiririzaamu, naye oluusi kinzibuwalira okubibuulirako abalala.” Ekizibu ekyo akikwata atya? Agamba nti: “Ntera okutandika emboozi nga nnyumya ku bintu ebya bulijjo. Bayizi bannange batera okunyumya ku bintu bye bakola. Siraba nsonga lwaki nange nnanditidde okunyumya ku bye nkola. Oluusi nnyinza okutandika emboozi nga ŋŋamba nti, ‘Luli bwe nnali njigiriza omuntu Bayibuli ne . . .’ Awo ne ndyoka nnyongerezaako kye mba njagala okubabuulira. Wadde ng’ekyo kye mba mbabuulidde kiba tekikwata ku Bayibuli, emirundi mingi abamu bambuuza kye nkola nga njigiriza abantu Bayibuli. Oluusi bambuuza n’ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli. Enkola eno ekifudde kyangu gye ndi okubuulira abalala ebikwata ku nzikiriza yange, era bwe mmala okubabuulira mpulira essanyu.”

17. Kiki ekirala ekisobola okukuyamba okubuulirako abalala ebikwata ku nzikiriza yo?

17 Bw’owa abalala ekitiibwa era n’okiraga nti obafaako, kibanguyira okuwuliriza by’obagamba. Omuvubuka ow’emyaka 17 ayitibwa Olivia eyabatizibwa nga tannayingira myaka gya butiini agamba nti: “Nnalinga ntya okwogera ebikwata ku Bayibuli nga ndowooza nti abantu bajja kuntunuulira bubi.” Naye oluvannyuma Olivia yakyusa endowooza ye. Mu kifo ky’okumalira ebirowoozo bye ku bintu abalala bye bayinza okumulowoozaako agamba nti: “Bayizi bannange bangi tebamanyi bikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa. Ffe Bajulirwa ba Yakuwa ffekka be bamanyi. Engeri gye tweyisaamu esobola okubaleetera okuwuliriza obubaka bwaffe oba obutabuwuliriza. Singa twetya oba nga kituzibuwalira okubuulira balala ebikwata ku nzikiriza yaffe, bayinza okulowooza nti tetwenyumiririza mu kubeera Bajulirwa ba Yakuwa. Bayinza n’obutatuwuliriza olw’okuba twetya. Naye bwe twogera nga twekakasa era nga tuli bakkakkamu, nga tulinga abanyumya ku kintu ekya bulijjo, emirundi mingi bye twogera babitwala nga bikulu.”

WEEYONGERE OKUKOLERERA OBULOKOZI BWO

18. Biki ebinaakuyamba okukolerera obulokozi bwo?

18 Nga bwe tulabye, kikwetaagisa okufuba ennyo okukolerera obulokozi bwo. Ebimu ku bintu ebisobola okukuyamba mwe muli okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako, okusaba Yakuwa, n’okufumiitiriza ku ngeri gy’akuyambyemu kinnoomu. Bw’onyiikirira okukola ebintu ebyo, kijja kukuleetera okuba omukakafu nti ddala Yakuwa mukwano gwo. Era ekyo kijja kukuleetera okwagala okubuulirako abalala ebikwata ku nzikiriza yo.​—Soma Zabbuli 73:28.

19. Lwaki tosobola kwejjusa olw’okukolerera obulokozi bwo?

19 Yesu yagamba nti: “Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka, asitule omuti gwe ogw’okubonaabona angobererenga.” (Mat. 16:24) N’olwekyo okusobola okubeera omugoberezi wa Kristo, omuntu aba alina okwewaayo eri Yakuwa era n’abatizibwa. Obwo buvunaanyizibwa bwa maanyi, naye bumuviirako okufuna emikisa mingi mu kiseera kino n’obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda. N’olwekyo ba mumalirivu okukolerera obulokozi bwo.

^ lup. 11 Okumanya ebisingawo genda ku jw.org. wansi w’ekitundu “Abavubuka Babuuza​—Lwaki Nsaanidde Okusaba?” era laba n’ebigenderako.