Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnaleka Ebintu Ne Ngoberera Mukama Waffe

Nnaleka Ebintu Ne Ngoberera Mukama Waffe

“Bw’ogenda okubuulira, todda kubanga bw’onodda, nja kukumenya amagulu.” Taata bwe yaŋŋamba ebigambo ebyo, nnasalawo okugenda. Ku olwo lwe nnatandika okuleka ebintu okusobola okugoberera Mukama waffe. Mu kiseera ekyo nnalina emyaka 16.

KIKI ekyaleetawo embeera eyo? Ka mbabuulire. Nnazaalibwa nga Jjulaayi 29, 1929, era nnakulira ku kyalo ekimu ekisangibwa mu ssaza ly’e Bulacan mu Philippines. Tetwalina bintu bingi kubanga mu kiseera ekyo embeera y’eby’enfuna teyali nnyangu. Bwe nnali mu myaka egy’obuvubuka, waabalukawo olutalo. Eggye lya Japan lyalumba Philippines. Naye olw’okuba ekyalo kyaffe kyali kyesudde, tetwakosebwa nnyo lutalo olwo. Tetwalina leediyo, ttivi, wadde empapula z’amawulire. N’olwekyo amawulire agakwata ku lutalo abantu be baagatutegeezanga.

Twazaalibwa abaana munaana era nze eyali omwana ow’okubiri. Bwe nnaweza emyaka munaana, bajjajja bange bantwala okubeera nabo. Wadde nga twali Bakatuliki, jjajja omusajja yawulirizanga endowooza z’amadiini amalala era yalina ebitabo bingi eby’eddiini mikwano gye bye gyamuwa. Nzijukira lumu yandaga obutabo Protection, Safety, ne Uncovered obwali mu lulimi Olutagalogo, * era n’andaga ne Bayibuli. Nnanyumirwa nnyo okusoma Bayibuli, nnaddala ebitabo ebina eby’Enjiri. Okusoma ebitabo ebyo kyandeetera okwagala okukoppa Yesu.​—Yok. 10:27.

NJIGA OKUGOBERERA MUKAMA WAFFE

Eggye lya Japan lyava mu Philippines mu 1945. Mu kiseera ekyo, bazadde bange baŋŋamba nzireyo awaka. Jjajja omusajja yankubiriza okuddayo eka, era bw’entyo nnaddayo.

Nga wayise ekiseera kitono, mu Ddesemba 1945, Abajulirwa ba Yakuwa abaava mu kabuga k’e Angat bajja okubuulira ku kyalo kyaffe. Omujulirwa wa Yakuwa omu eyali akuze mu myaka yajja ewaffe n’atubuulira Bayibuli ky’eyogera ku “nnaku ez’enkomerero.” (2 Tim. 3:1-5) Yatuyita okubaawo mu lukuŋŋaana olw’okusoma Bayibuli olwalinga ku kyalo ekiriraanye ekyaffe. Bazadde bange tebaagenda naye nze nnagenda. Olukuŋŋaana olwo lwalimu abantu nga 20 era abamu baabuuza ebibuuzo ebikwata ku Bayibuli.

Olw’okuba nnali sitegeera bulungi bye baali boogerako, nnasalawo okufuluma ŋŋende. Naye mu kiseera ekyo, baatandika okuyimba oluyimba lw’Obwakabaka. Oluyimba olwo lwannyumira nnyo, ne nsalawo okusigala. Oluvannyuma lw’okuyimba n’okusaba, bonna abaaliwo baasabibwa okubaawo mu lukuŋŋaana olwali lugenda okuba mu Angat ku Ssande.

Bangi ku ffe twatambula mayiro nga ttaano okugenda mu lukuŋŋaana olwali mu maka ga Cruz. Mu lukuŋŋaana olwo mwalimu abantu 50 era kyanneewuunyisa nnyo okulaba nga n’abaana abato boogera ku bintu bya Bayibuli eby’ebuziba. Oluvannyuma lw’okugenda mu nkuŋŋaana emirundi egiwerako, Ow’oluganda Damian Santos, eyali aweereza nga payoniya era eyaliko meeya w’ekibuga, yansaba nsuleko ewuwe. Kumpi ekiro ekyo kyonna twakimala tukubaganya birowoozo ku Bayibuli.

Mu kiseera ekyo, abantu bwe baawuliranga ku njigiriza za Bayibuli ezisookerwako, bakkirizanga mangu amazima. Bwe waali wayise ekiseera kitono bukya ntandika kugenda mu nkuŋŋaana, ab’oluganda bambuuza awamu n’abalala obanga twali twagala okubatizibwa. Nnaddamu nti, “Njagala.” Nnali njagala ‘okuweereza Mukama waffe, Kristo.’ (Bak. 3:24) Baatutwala ku mugga ogwali okumpi awo, era babiri ku ffe ne tubatizibwa nga Febwali 15, 1946.

Twakitegeera nti ng’Abakristaayo ababatize, tulina okubuulira obutayosa nga Yesu bwe yakola. Bwe nnatandika okubuulira, tekyasanyusa taata, era yaŋŋamba nti, “Okyali muto nnyo okubuulira. Ate kimanye nti okunnyikibwa obunnyikibwa mu mugga tekikufuula mubuulizi.” Nnamugamba nti Katonda ayagala tubuulire amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. (Mat. 24:14) Era nnamugamba nti, “Nnina okutuukiriza ekyo kye nneeyama eri Katonda.” Ekyo kye kyaviirako taata okwogera ebigambo bye njogedde ku ntandikwa. Yali ayagala kunnemesa kubuulira. Era bw’entyo bwe nnatandika okuleka ebintu okusobola okugoberera Mukama waffe.

Cruz ne mukyala we bansembeza mu maka gaabwe mu Angat. Era baatukubiriza nze ne Nora, muwala waabwe asembayo obuto, okuweereza nga bapayoniya. Ffembi twatandika okuweereza nga bapayoniya nga Noovemba 1, 1947. Nora yali aweerereza mu kabuga akalala, ate nze nga mpeerereza mu Angat.

EMBEERA ENDALA EYANNEETAAGISA OKULEKA EBINTU

Bwe waali wayise emyaka esatu nga mpeereza nga payoniya, Ow’oluganda Earl Stewart, okuva ku ofiisi y’ettabi, yawa emboozi mu kibangirizi ekimu mu Angat era abantu abasukka mu 500 be baaliwo. Emboozi eyo yagiwa mu Lungereza, era oluvannyuma ne ngiwa mu bufunze mu Lutagalogo. Nnali nnakoma mu kya musanvu, naye ekirungi kiri nti abasomesa baffe baakozesanga Lungereza. Ekintu ekirala ekyannyamba okuyiga Olungereza kwe kuba nti ebitabo byaffe ebisinga obungi byali mu Lungereza. N’olwekyo bingi ku byo nnabisomanga mu Lungereza. Bwe kityo, nnasobola okuvvuunula emboozi eyo awamu n’endala ezaaweebwa ku mirundi emirala.

Ku lunaku lwe nnavvuunula emboozi y’Ow’oluganda Stewart, ow’oluganda oyo yatutegeeza nti ofiisi y’ettabi yali yeetaaga ow’oluganda omu oba babiri abaweereza nga bapayoniya okugenda okuweereza ku Beseri. Ab’oluganda abo bandiyambyeko ku mirimu egikolebwa ku Beseri ng’abaminsani bagenze ku lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu New York, Amerika mu 1950. Nze omu ku b’oluganda abaayitibwa. Ne ku mulundi ogwo nnaleka embeera gye nnali mmanyidde ne ŋŋenda okuweereza ku Beseri.

Nnatuuka ku Beseri nga Jjuuni 19, 1950, ne ntandika okuweereza. Amaka ga Beseri gaali mu kizimbe ekinene ekikadde ekyali kyetooloddwa emiti eminene, era gaali ku ttaka lya yiika bbiri n’ekitundu. Ab’oluganda nga 12 abaali obwannamunigina be baali baweereza ku Beseri. Ku makya nnakolanga mu ffumbiro. Oluvannyuma, okuva ku ssaawa nga ssatu nnakolanga gwa kugolola ngoye. Bwe ntyo bwe nnakolanga n’olw’eggulo. Nneeyongera okuweereza ku Beseri n’oluvannyuma lw’abaminsani okukomawo. Nnapakiranga magazini ezaabanga zigenda okutwalibwa ku posita, nnategekanga ebitabo eby’okuweereza abantu abaabanga babisabye, era oluusi nnakolanga awatuukira abagenyi. Nnakolanga buli mulimu gwonna gwe bampanga.

NVA MU PHILIPPINES NE ŊŊENDA MU GIREYAADI

Mu 1952, nze awamu n’ab’oluganda abalala mukaaga okuva mu Philippines, twasanyuka nnyo bwe baatuyita okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 20. Bingi ku bintu bye twalaba mu Amerika byali bipya gye tuli. Byali bya njawulo nnyo ku ebyo bye nnali mmanyidde ewaffe.

Nga ndi ne bayizi bannange mu Gireyaadi

Ng’ekyokulabirako, twalina okuyiga okukozesa ebintu eby’amasannyalaze bye twali tutalabangako. Ate era n’embeera y’obudde yali ya njawulo nnyo ku y’ewaffe! Lumu ku makya bwe nnafuluma ebweru, buli we nnatunulanga waali weeru ate nga walabika bulungi. Ogwo gwe gwali omulundi gwange ogusooka okulaba omuzira. Nneewuunya nnyo bwe nnagukwatako nga gunnyogoga nnyo!

Naye bwe twatandika okutendekebwa mu Ssomero lya Gireyaadi ebintu ebyo twalekera awo okubissaako ebirowoozo. Abasomesa baffe baatuyigirizanga mu ngeri ennungi ennyo, era bye baatuyigirizanga byatutuukanga ku mutima. Twayiga okunoonyereza n’okwesomesa. Okutendekebwa kwe twafuna mu Gireyaadi kwannyamba okweyongera okukula mu by’omwoyo.

Oluvannyuma lw’Essomero lya Gireyaadi nnasindikibwa mu kitundu ekiyitibwa Bronx mu kibuga New York okuweereza nga payoniya ow’enjawulo okumala akaseera. Bwe kityo mu Jjulaayi 1953, nnaliwo ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Bronx. Oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo nnaddayo okuweerereza mu Philippines.

NDEKA OBULAMU BW’EKIBUGA

Ab’oluganda ku ofiisi y’ettabi baŋŋamba nti, “Kati ogenda kukola ng’omulabirizi akyalira ebibiina.” Obuweereza obwo bwali bugenda kunsobozesa okukolera ddala mu bujjuvu omulimu Mukama waffe Yesu gwe yakola ogw’okutambula eŋŋendo empanvu okugenda mu bubuga ne mu bibuga okuyamba endiga za Yakuwa. (1 Peet. 2:21) Nnasindikibwa okuweereza mu masekkati ga Luzon, ekizinga ekisinga obunene mu Philippines, era ekitundu kino kyali kinene nnyo. Mwali muzingiramu essaza ly’e Bulacan, ery’e Nueva Ecija, ery’e Tarlac, n’ery’e Zambales. Okusobola okugenda mu bubuga obumu nnalina okuyita mu Nsozi za Sierra Madre. Tewaaliwo ntambula ya lukale omuntu gye yali ayinza kukozesa kugenda mu bitundu ebyo. N’olwekyo, okusobola okutuukayo nnasabanga abavuzi ba loole banzikirize okutuula waggulu ku miti gye baabanga batwala. Emirundi mingi banzikirizanga naye entambula eyo teyali nnyangu.

Ebibiina ebisinga obungi mu kitundu ekyo byali bitono ate nga bipya. N’olwekyo ab’oluganda baasima nnyo bwe nnabayamba okumanya engeri gye baalina okukubirizaamu enkuŋŋaana n’engeri y’okukolamu omulimu gw’okubuulira.

Oluvannyuma nnasindikibwa okuweerereza mu kitundu ky’e Bicol. Ekitundu ekyo okusinga kyalimu ebibinja by’ababuulizi eby’esudde, bapayoniya ab’enjawulo bye baatandikawo nga bagenze okubuulira mu bifo ebyali bitabuulirwangamu. Mu maka agamu mwalimu kabuyonjo eyali etindiriddwa ebiti bibiri. Bwe nnagenda mu kabuyonjo eyo, ebiti ebyo byagwamu era nange ne ngwamu. Kyantwalira akaseera okwerongoosa okusobola okugenda okulya eky’enkya.

Bwe nnali nga mpeereza mu kitundu ekyo, nnatandika okulowooza ku Nora, eyali yatandika okuweereza nga payoniya mu Bulacan. Mu kiseera ekyo yali aweereza nga payoniya mu kibuga Dumaguete era nnagenda okumukyalirako. Oluvannyuma lw’okumukyalira twatandika okwewandiikiranga amabaluwa, era twafumbiriganwa mu 1956. Wiiki eyasooka mu bufumbo bwaffe twagimala tukyalira ekibiina ekyali ku kizinga Rapu Rapu. Twalinnya ensozi era twatambula nnyo, naye twafuna essanyu lingi okuweereza ab’oluganda abaali mu bitundu ebyesudde nga tuli babiri.

MPITIBWA OKUDDAMU OKUWEEREZA KU BESERI

Oluvannyuma lw’okumala emyaka ng’ena nga tukyalira ebibiina, twayitibwa okuweereza ku ofiisi y’ettabi. Bwe kityo, mu Jjanwali 1960 twatandika okuweereza ku Beseri era obuweereza obwo tubumazeemu emyaka mingi. Ekiseera bwe kizze kiyitawo, nkoleddeko wamu n’ab’oluganda abatali bamu abalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina era nnina bingi bye mbayigiddeko. Nora naye akoze emirimu egitali gimu ku Beseri.

Nga mpa emboozi ku lukuŋŋaana olunene, nga waliwo ow’oluganda agitaputa mu Lusebwano

Ekiseera kye mmaze nga mpeereza ku Beseri, ndabye okukulaakulana okw’amaanyi mu Philippines. We nnatandikira okuweereza ku Beseri nga nkyali muvubuka, mu Philippines mwalimu ababuulizi nga 10,000. Naye kati mulimu ababuulizi abasukka mu 200,000, era tulina n’Ababeseri bangi abakola ennyo okuwagira omulimu gw’okubuulira.

Omuwendo gw’ababuulizi bwe gweyongera okulinnya, ekifo Beseri we yali kyali tekikyamala. Bwe kityo Akakiiko Akafuzi kaatugamba okunoonya ekifo ekirala we twandizimbye Beseri enneneko. Nze n’ow’oluganda eyali alabirira omulimu gw’okukuba ebitabo twatambula nnyumba ku nnyumba mu kitundu Beseri mwe yali, nga tubuuza obanga waliwo omuntu atunda ettaka. Tewaaliwo n’omu eyali atunda, era omu ku abo abaalina ettaka yatugamba nti: “Ffe Abakyayina tetutunda, tugula buguzi.”

Nga ntaputa emboozi y’Ow’oluganda Albert Schroeder

Naye lumu waliwo ekintu ekyaliwo ekyatwewuunyisa. Omusajja omu yatubuuza obanga twandyagadde okugula ettaka lye kubanga ye yali agenda mu Amerika. N’omusajja omulala eyali amuliraanye naye yasalawo okutuguza ettaka lye era n’akubiriza n’abalala okukola kye kimu. Twasobola n’okugula ettaka ku musajja eyatugamba nti “Ffe Abakyayina tetutunda.” Mu kiseera kitono twafuna ettaka eryali likubisaamu ettaka okwali Beseri emirundi egisukka mu esatu. Ndi mukakafu nti ekyo Yakuwa ye yakikola.

Mu 1950, nze nnali nsingayo obuto ku Beseri. Naye kati nze ne mukyala wange ffe tusingayo obukulu ku Beseri. Ssejjusa kuba nti nnagoberera Mukama waffe. Wadde nga bazadde bange bangoba awaka, Yakuwa ampadde oluganda olw’ensi yonna. Sirina kubuusabuusa kwonna nti Yakuwa atuwa buli kimu kye twetaaga, ka tube nga tuli mu buweereza bwa ngeri ki. Nze ne Nora twebaza nnyo Yakuwa olw’ebyo byonna by’atukoledde era tukubiriza n’abalala okumugezesa.​—Mal. 3:10.

Lumu Yesu yagamba Matayo Leevi, eyali omusolooza w’omusolo nti: “Beera mugoberezi wange.” Kiki Matayo kye yakola? ‘Yaleka buli kimu, n’ayimuka n’agoberera Yesu.’ (Luk. 5:27, 28) Nnange nkoppye ekyokulabirako kya Matayo, era nkubiriza abalala okukola kye kimu basobole okufuna emikisa gya Yakuwa.

Kindeetera essanyu okuba nti nkyeyongera okuwagira omulimu gw’okubuulira mu Philippines

^ lup. 6 Bwakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa naye kati tebukyakubibwa.