Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Okusobola okuyamba abaana baabwe mu by’omwoyo, lwaki abazadde abagwira basaanidde okufumiitiriza ennyo ku nsonga y’olulimi?

Emirundi mingi olulimi olwogerwa mu kitundu abaana baluyigira ku ssomero oba mu kitundu mwe mubeera. Omwana bw’amanya olulimi olusukka mu lumu kisobola okumuganyula. Abazadde basaanidde okumanya kibiina kya lulimi ki abaana mwe banaasobola okutegeerera obulungi amazima. Abazadde Abakristaayo bakulembeza embeera y’abaana baabwe ey’eby’omwoyo, mu kifo ky’ebyo bye baagala.​—w17.05, lup. 9-11.

Yesu bwe yabuuza Peetero nti: “Onjagala okusinga bino?” kiki kye yali ayogerako? (Yok. 21:15)

Kirabika Yesu yali ayogera ku byennyanja ebyali awo, oba ku mulimu gw’okuvuba. Yesu bwe yamala okufa, Peetero yaddayo okukola omulimu gwe yakolanga edda, ogw’okuvuba. Abakristaayo basaanidde okukuumira emirimu gyabwe mu kifo ekituufu.​—w17.05, lup. 22-23.

Lwaki Ibulayimu yagamba mukyala we okumuyita mwannyina? (Lub. 12:10-13)

Ekituufu kiri nti Saala yali mwana wa kitaawe wa Ibulayimu. Singa Saala yagamba nti yali mukyala wa Ibulayimu, oboolyawo Ibulayimu yandibadde attibwa n’atazaala zzadde Yakuwa lye yali amusuubizza.​—wp17.3, lup. 14-15.

Nkola ki Elias Hutter gye yatandikawo okuyamba abo abaali baagala okuyiga Olwebbulaniya?

Yatandikawo enkola esobola okuyamba omuntu okulaba enjawulo wakati w’ebigambo ebikulu eby’Olwebbulaniya ebikozesebwa mu Bayibuli n’ennukuta ezibikookerwako. Ekyo okusobola okukikola ebigambo ebikulu yabiwandiika mu nnukuta enkwafu ate ennukuta ezikookerwako n’aziwandiika nga si nkwafu. Enkola eyo yakozesebwa mu bugambo obwa wansi mu New World Translation of the Holy Scriptures​—With References.​—wp17.4, lup. 11-12.

Bintu ki ebisobola okuyamba Omukristaayo okusalawo obulungi bwe kituuka ku kuba n’emmundu ey’okwekuumisa?

Ebimu ku byo bye bino: Obulamu Yakuwa abutwala nga butukuvu. Yesu teyakubiriza bagoberezi be kubeera na byakulwanyisa eby’okwekuumisa. (Luk. 22:36, 38) Ebitala byaffe tusaanidde okubifuula enkumbi. Obulamu bwa muwendo okusinga ebintu. Tufaayo ku muntu ow’omunda ow’abalala, era twagala okussaawo ekyokulabirako ekirungi. (2 Kol. 4:2)​—w17.07, lup. 31-32.

Lwaki ebyo Matayo ne Lukka bye boogera ku bulamu bwa Yesu ng’akyali muto byawukana?

Matayo essira alissa ku Yusufu. Ng’ekyokulabirako, ayogera ku ngeri Yusufu gye yawuliramu nga Maliyamu amugambye nti ali lubuto, ku kirooto kye yafuna Malayika bwe yamugamba okutwala ab’omu maka ge e Misiri, n’oluvannyuma bwe yamugamba okuddayo ku butaka. Ate ye Lukka essira alissa ku Maliyamu. Ng’ekyokulabirako, ayogera ku ky’okuba nti Maliyamu yakyalira Erizabeesi ne ku ngeri Maliyamu gye yawuliramu nga Yesu asigadde mu yeekaalu.​—w17.08, lup. 32.

Ebimu ku bintu ebitasobodde kusaanyaawo Bayibuli bye biruwa?

Amakulu g’ebigambo ebyakozesebwa mu Bayibuli gazze gakyuka. Enkyukakyuka mu by’obufuzi zizze zikyusa olulimi olusinga okwogerwa abantu abangi. Wabaddewo abantu abagezezzaako okuziyiza omulimu gw’okuvvuunula Bayibuli mu nnimi abantu ba bulijjo ze bategeera.​—w17.09, lup. 19-21.

Buli omu ku ffe alina malayika we amukuuma?

Nedda. Yesu yagamba nti bamalayika b’abagoberezi be bulijjo babeera mu maaso ga Katonda. (Mat. 18:10) Yali ategeeza nti bamalayika bafaayo ku bagoberezi be, so si nti buli omu ku bagoberezi be alina malayika we amukuuma mu ngeri ey’ekyamagero.​—wp17.5, lup. 5.

Okwagala okusingayo obukulu kwe kuliwa?

Kwe kwagala okuyitibwa, a·gaʹpe okwesigamiziddwa ku misingi. Kuyinza n’okuzingiramu okwoleka omukwano. Oyo ayoleka okwagala okwo akolera ku misingi egya waggulu era yeefiiriza okusobola okuyamba abalala.​—w17.10, lup. 7.