Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Nnina Essuubi mu Katonda”

“Nnina Essuubi mu Katonda”

“Adamu ow’oluvannyuma yafuuka omwoyo oguwa obulamu.”​—1 KOL. 15:45.

ENNYIMBA: 151, 147

1-3. (a) Ekimu ku bintu ebikulu bye tukkiririzaamu kye kiruwa? (b) Lwaki enjigiriza ekwata ku kuzuukira nkulu nnyo? (Laba ekifaananyi waggulu.)

SINGA omuntu akubuuza nti, ‘Ezimu ku njigiriza enkulu mu ddiini yo ze ziruwa?’ Omuntu oyo wandimuzzeemu otya? Kya lwatu wandimugambye nti Yakuwa ye yatonda ebintu byonna era ye Nsibuko y’obulamu. Era oboolyawo wandimugambye nti okkiririza mu Yesu, eyawaayo obulamu bwe ku lwaffe. Era oboolyawo wandimugambye nti ensi egenda kufuulibwa olusuku lwa Katonda, abantu ba Katonda bagibeereko emirembe gyonna. Naye wandyogedde ne ku kuzuukira?

2 Waliwo ensonga kwe tusinziira okutwala okuzuukira ng’emu ku njigiriza zaffe enkulu ne bwe kiba nti tulina essuubi nti tujja kuyita mu kibonyoobonyo ekinene tubeere ku nsi emirembe gyonna. Omutume Pawulo yalaga ensonga lwaki enjigiriza ekwata ku kuzuukira nkulu nnyo. Yagamba nti: “Bwe kiba nti ddala teri kuzuukira, ne Kristo aba teyazuukizibwa.” Singa Yesu teyazuukira, teyandibadde Kabaka waffe, era twandibadde tuteganira bwereere okubuulira abalala ebikwata ku bufuzi bwe. (Soma 1 Abakkolinso 15:12-19.) Naye tukimanyi nti Yesu yazuukira. Era twawukana ku Basaddukaayo abaali batakkiriza nti abafu basobola okuzuukira. Abantu ne bwe batusekerera, tusigala tuli bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira.​—Mak. 12:18; Bik. 4:2, 3; 17:32; 23:6-8.

3 Pawulo bwe yamenya “enjigiriza ezisookerwako ezikwata ku Kristo,” yazingiramu ‘n’enjigiriza ekwata ku kuzuukira kw’abafu.’ (Beb. 6:1, 2) Era Pawulo yakiraga nti yali akkiririza mu kuzuukira. (Bik. 24:10, 15, 24, 25) Okuba nti enjigiriza ekwata ku kuzuukira y’emu ku njigiriza ezisookerwako, tekitegeeza nti enjigiriza eyo nnyangu. (Beb. 5:12) Lwaki?

4. Bibuuzo ki ebikwata ku kuzuukira bye tuyinza okwebuuza?

4 Abantu abasinga obungi bwe baba baakatandika okuyiga Bayibuli, basoma ku byawandiikibwa ebyogera ku kuzuukira okwaliwo mu biseera eby’edda, gamba ng’okuzuukira kwa Laazaalo. Era bayiga nti Ibulayimu, Yobu, ne Danyeri baali bakakafu nti wajja kubaawo okuzuukira mu biseera eby’omu maaso. Naye bukakafu ki obulaga nti okuzuukira kusobola okubaawo ne bwe waba nga wayise ebbanga ddene nnyo bukya kusuubizibwa? Bayibuli eraga ekiseera okuzuukira lwe kulibeererawo? Eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo bijja kunyweza okukkiriza kwaffe.

OKUZUUKIRA OKWALIWO NGA WAYISE EMYAKA MINGI

5. Kiki kye tugenda okusooka okwetegereza ekikwata ku kuzuukira?

5 Kyangu okukkiriza nti omuntu asobola okuzuukira nga wayise ebbanga ttono ng’amaze okufa. (Yok. 11:11; Bik. 20:9, 10) Naye kyangu okukkiriza nti omuntu asobola okuzuukira nga wayise emyaka mingi oba ebyasa by’emyaka bukya afa? Osobola okukkiririza mu kisuubizo ky’okuzuukira ka kibe nti wayise ebbanga ttono oba ddene bukya omuntu afa? Ekituufu kiri nti waliwo okuzuukira okwasuubizibwa, ne wayita emyaka bikumi na bikumi ne kulyoka kubaawo, era okuzuukira okwo okukkiririzaamu. Kuzuukira ki okwo? Era kukwata kutya ku ssuubi ly’olina erikwata ku kuzuukira okugenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso?

6. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 118 byatuukirira bitya ku Yesu?

6 Kati ka tulabe okuzuukira okwayogerwako mu bunnabbi naye ne kutwala emyaka mingi nga tekunnabaawo. Zabbuli 118, abamu gye bagamba nti yawandiikibwa Dawudi, erimu ebigambo ebigamba nti: “Ai Yakuwa, tukwegayiridde tulokole! . . . Aweereddwa omukisa oyo ajjira mu linnya lya Yakuwa.” Abantu baajuliza ebigambo ebyo Yesu bwe yayingira mu Yerusaalemi nga yeebagadde endogoyi ku lunaku lwa Nisaani 9, ng’ebula ennaku ntono attibwe. (Zab. 118:25, 26; Mat. 21:7-9) Naye Zabbuli 118 yayogera etya ku kuzuukira okwandibaddewo emyaka mingi mu maaso? Lowooza ne ku bigambo bino ebiri mu zabbuli eyo: “Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.”​—Zab. 118:22.

‘Abazimbi baagaana’ Masiya (Laba akatundu 7)

7. Abayudaaya “baagaana” batya Yesu?

7 ‘Abazimbi abaagaana’ Masiya be bakulembeze b’Abayudaaya. Baagaana okukkiriza nti Yesu ye Kristo. Era Abayudaaya bangi baatuuka n’okusaba Piraato atte Yesu. (Luk. 23:18-23) Abayudaaya abo nabo baaliko omusango ogw’okutta Yesu.

Yesu yazuukizibwa n’afuuka “ejjinja ekkulu ery’oku nsonda” (Laba akatundu 8, 9)

8. Yesu yandisobodde atya okufuuka “ejjinja ekkulu ery’oku nsonda”?

8 Bwe kiba nti Abayudaaya baagaana okukkiririza mu Yesu era ne bamutta, Yesu yandisobodde atya okufuuka “ejjinja ekkulu ery’oku nsonda”? Ekyo okusobola okubaawo, Yesu yalina okuzuukizibwa. Ekyo ne Yesu yakyoleka kaati mu lugero lwe yagera olukwata ku balimi abaayisa obubi abantu mukama waabwe be yabasindikiranga, nga n’Abayisirayiri bwe baayisa obubi bannabbi Yakuwa be yabasindikiranga. Mu lugero olwo Yesu yalaga nti oluvannyuma nnannyini nnimiro yabasindikira omwana we era omusika. Omwana we ye bamukkiriza? Nedda. Abalimi baasalawo okutta omwana oyo. Yesu bwe yamala okugera olugero olwo, yajuliza obunnabbi obuli mu Zabbuli 118:22. (Luk. 20:9-17) Omutume Peetero naye yajuliza obunnabbi obwo bwe yali ayogera eri ‘abafuzi, abakadde, n’abawandiisi b’Abayudaaya abaali bakuŋŋaanidde mu Yerusaalemi.’ Yabagamba nti ‘Yesu Kristo Omunnazaaleesi, gwe mwakomerera ku muti Katonda yamuzuukiza mu bafu.’ Oluvannyuma yabagamba nti: “Lino ‘lye jjinja mmwe abazimbi lye mwanyooma erifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.’”​—Bik. 3:15; 4:5-11; 1 Peet. 2:5-7.

9. Kintu ki ekikulu Zabbuli 118:22 kye yasongako?

9 Obunnabbi obuli mu Zabbuli 118:22 bwasonga ku kuzuukira okwandibaddewo nga wayise emyaka mingi bukya kusuubizibwa. Abantu bandibadde bagaana Masiya era ne bamutta, naye oluvannyuma yandizuukiziddwa okuba ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. Yesu bwe yamala okuzuukizibwa ye yekka eyaweebwa erinnya “eriweereddwa abantu mwe tuyinza okufunira obulokozi.”​—Bik. 4:12; Bef. 1:20.

10. (a) Kiki Zabbuli 16:10 kye yayogerako? (b) Lwaki tuli bakakafu nti Zabbuli 16:10 teyatuukirira ku Dawudi?

10 Lowooza ku lunyiriri olulala olwasonga ku kuzuukira okwandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Lwawandiikibwa ng’ebula emyaka egisukka mu lukumi okuzuukira okwo kubeewo, era lutuyamba okwongera okuba abakakafu nti okuzuukira kusobola okubaawo wadde nga wayise ebbanga ddene bukya kusuubizibwa. Mu Zabbuli 16, Dawudi yagamba nti: “Tolindeka magombe. Tolireka mwesigwa wo kulaba kinnya.” (Zab. 16:10) Mu kwogera ebigambo ebyo, Dawudi yali tategeeza nti teyandifudde oba nti teyandigenze magombe. Ekigambo kya Katonda kiraga lwatu nti Dawudi yakaddiwa era n’afa. Bwe yamala okufa ‘yagalamizibwa wamu ne bajjajjaabe n’aziikibwa mu Kibuga kya Dawudi.’ (1 Bassek. 2:1, 10) Kati olwo Zabbuli 16:10 eyogera ku ani?

11. Ddi Peetero lwe yannyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Zabbuli 16:10?

11 Nga wayise emyaka egisukka mu lukumi bukya Dawudi awandiika ebigambo ebyo, Peetero yalaga ani Zabbuli 16:10 gwe yali esongako. Nga wayise wiiki ntono oluvannyuma lwa Yesu okufa era n’azuukizibwa, Peetero yayogera eri Abayudaaya awamu n’abakyufu bangi. (Soma Ebikolwa 2:29-32.) Yabajjukiza nti Dawudi yali yafa era n’aziikibwa. Abo abaali bawuliriza Peetero ekyo baali bakimanyi bulungi. Era Bayibuli teraga nti waliwo eyawakana, Peetero bwe yagamba nti Dawudi “yamanya ebiribaawo era n’ayogera ku kuzuukira” kwa Masiya.

12. Obunnabbi obuli mu Zabbuli 16:10 bwatuukirizibwa butya, era ekyo kitukakasa ki ku kisuubizo eky’okuzuukiza abantu mu biseera eby’omu maaso?

12 Peetero yeeyongera okukkaatiriza ensonga eyo ng’ajuliza ebigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 110:1. (Soma Ebikolwa 2:33-36.) Peetero yakozesa Ebyawandiikibwa okuyamba abantu okukiraba nti Yesu ye “Mukama waffe era Kristo.” Abantu baakitegeera nti Zabbuli 16:10 yatuukirira Yesu bwe yazuukizibwa. Oluvannyuma omutume Pawulo naye yakozesa ekyawandiikibwa ekyo ng’annyonnyola Abayudaaya abaali mu kibuga Antiyokiya eky’omu Pisidiya. Bye yayogera byabakwatako nnyo ne baagala okuwulira ebisingawo. (Soma Ebikolwa 13:32-37, 42.) Okuba nti obunnabbi obwo obukwata ku kuzuukira kwa Masiya bwatuukirira wadde nga waali wayise emyaka mingi bukya bwogerwa kinyweza nnyo okukkiriza kwaffe.

OKUZUUKIRA KULIBAAWO DDI?

13. Bibuuzo ki ebikwata ku kuzuukira bye tuyinza okwebuuza?

13 Kituzzaamu amaanyi okukimanya nti okuzuukira kusobola okubaawo nga wayise emyaka mingi bukya kusuubizibwa. Naye era omuntu ayinza okwebuuza nti: ‘Ekyo kitegeeza nti nnina okulindirira okumala ekiseera kiwanvu okusobola okuddamu okulaba abantu bange abaafa? Okuzuukira kwe nsuubira kulibaawo ddi?’ Yesu yagamba abatume be nti waliwo ebintu bye baali batamanyi era bye baali batayinza kumanya. Waliwo ebintu ebikwata ku ‘biseera oba ebiro Katonda by’atadde mu buyinza bwe.’ (Bik. 1:6, 7; Yok. 16:12) Kyokka ekyo tekitegeeza nti tetulina kye tumanyi ku kiseera okuzuukira we kulibeererawo.

14. Okuzuukira kwa Yesu kwawukana kutya ku kuzuukira okwaliwo ng’okukwe tekunnabaawo?

14 Okusobola okumanya ddi okuzuukira lwe kulibaawo, tulina okusooka okumanya okuzuukira okutali kumu Bayibuli kw’eyogerako nti kwandibaddewo. Okuzuukira okusinga obukulu Bayibuli kwe yayogerako kwe kwa Yesu. Singa Yesu teyazuukira tewali n’omu ku ffe yandibadde na ssuubi lya kuddamu kulaba bantu be abaafa. Abo abaazuukizibwa nga Yesu tannazuukizibwa, gamba ng’abo Eriya ne Erisa be baazuukiza, tebaabeerawo mirembe na mirembe. Baddamu ne bafa ne baziikibwa ne bafuuka enfuufu. Kyokka ye Yesu okuva lwe “yazuukizibwa mu bafu, takyaddamu kufa; okufa tekukyamulinako buyinza.” Mu ggulu gy’ali “mulamu emirembe n’emirembe,” tafa.​—Bar. 6:9; Kub. 1:5, 18; Bak. 1:18; 1 Peet. 3:18.

15. Lwaki Yesu ayitibwa ‘ebibala ebibereberye’?

15 Yesu yazuukizibwa ng’alina omubiri ogw’omwoyo n’agenda mu ggulu. Ye yasooka okuzuukizibwa mu ngeri eyo era okuzuukira kwe kwe kusinga obukulu. (Bik. 26:23) Naye Bayibuli eraga nti waliwo n’abalala abandizuukiziddwa nga balina omubiri ogw’omwoyo ne bagenda mu ggulu. Yesu yagamba abatume be abeesigwa nti bandifugidde wamu naye mu ggulu. (Luk. 22:28-30) Okusobola okufuna empeera eyo, kyandibadde kibeetaagisa okusooka okufa. Oluvannyuma, okufaananako Kristo, bandibadde bazuukizibwa n’omubiri ogw’omwoyo. Pawulo yagamba nti “Kristo yazuukizibwa mu bafu, era ye bye bibala ebibereberye eby’abo abaafa.” Pawulo yalaga nti wandibaddewo n’abalala abandizuukiziddwa ne bagenda mu ggulu bwe yagamba nti: “Buli omu mu kiti kye; Kristo ebibala ebibereberye, oluvannyuma abo aba Kristo mu kiseera ky’okubeerawo kwe.”​1 Kol. 15:20, 23.

16. Kiki ekituyamba okumanya ekiseera okuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu lwe kwandibaddewo?

16 Ebigambo bya Pawulo ebyo bituyamba okumanya ekiseera okuzuukira okw’abo abagenda mu ggulu lwe kwandibaddewo. Kwandibaddewo mu “kiseera ky’okubeerawo” kwa Kristo. Abajulirwa ba Yakuwa bamaze ebbanga ddene nga bakiraga okuva mu Byawandiikibwa nti “ekiseera ky’okubeerawo” kwa Kristo kyatandika mu 1914 era kikyagenda mu maaso, era nti enteekateeka y’ebintu eno embi eneetera okuzikirizibwa.

17, 18. Kiki ekijja okutuuka ku bamu ku baafukibwako amafuta abaliwo mu kiseera kino eky’okubeerawo kwa Kristo?

17 Bayibuli etubuulira ebisingawo ku kuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu. Egamba nti: “Twagala mumanye ebikwata ku abo abaafa, . . . kubanga bwe tuba nga tukkiriza nti Yesu yafa n’azuukira, n’abo abaafa nga bali bumu ne Yesu, Katonda alibazuukiza babeere wamu ne Yesu. . . . Abaliba abalamu mu ffe mu kiseera ky’okubeerawo kwa Mukama waffe tetulisooka abo abaafa; kubanga Mukama waffe alikka okuva mu ggulu ng’ayogera n’obuyinza, . . . era abo abaafa nga bali bumu ne Kristo be balisooka okuzuukira. Oluvannyuma ffe abaliba bakyali abalamu, nga tuli wamu nabo, tulikwakkulirwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; era tunaabeeranga ne Mukama waffe.”​—1 Bas. 4:13-17.

18 Okuzuukira okusooka kwandibaddewo nga wayise ekiseera kitono ‘ng’okubeerawo’ kwa Kristo kutandise. Abaafukibwako amafuta abanaaba bakyali abalamu ku nsi mu kiseera ky’ekibonyoobonyo ekinene bajja ‘kukwakkulirwa mu bire.’ (Mat. 24:31) Abo abajja ‘okukwakkulibwa’ ‘tebajja kwebaka mu kufa,’ mu ngeri nti tebajja kumala kiseera kiwanvu nga bafudde. Bajja “kukyusibwa, mu kaseera buseera, ng’okutemya n’okuzibula, ekkondeere erisembayo bwe lirivuga.”​—1 Kol. 15:51, 52.

19. Kuzuukira ki “okusinga obulungi” okugenda okubaawo mu biseera eby’omu maaso?

19 Leero Abakristaayo abasinga obungi tebalina ssuubi lya kugenda mu ggulu kufugira awamu ne Kristo. Naye balindirira okuzikirizibwa kw’ensi ya Sitaani eno embi ku ‘lunaku lwa Yakuwa.’ Tewali amanyi ddi enkomerero lw’enejja, naye obukakafu bulaga nti eri kumpi. (1 Bas. 5:1-3) Oluvannyuma lw’enkomerero, wajja kubaawo okuzuukira okw’engeri endala nga kuno kwe kuzuukira kw’abo abanaaba ku nsi mu lusuku lwa Katonda. Abo abanaazuukizibwa bajja kuba balina essuubi ery’okufuuka abatuukiridde n’okubeerawo emirembe gyonna nga tebafa. Okuzuukira okwo kujja kuba ‘kulungi okusinga’ okwo okwaliwo mu biseera by’edda, ‘abakazi bwe baafuna abantu baabwe abazuukizibwa’ naye oluvannyuma abantu abo ne baddamu ne bafa.​—Beb. 11:35.

20. Lwaki tuli bakakafu nti abantu bajja kuzuukizibwa mu ngeri entegeke obulungi?

20 Ng’eyogera ku kuzuukira okw’abo abagenda mu ggulu, Bayibuli egamba nti buli omu ajja kuzuukira mu kiti kye. (1 Kol. 15:23) Tuli bakakafu nti n’okuzuukira kw’abo abanaabeera ku nsi kujja kukolebwa mu ngeri entegeke obulungi. Ekyo kiyinza okutuleetera okwebuuza nti: Abo abanaaba bafudde ng’enkomerero eneetera okutuuka be banaasooka okuzuukizibwa ku ntandikwa y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi, abantu baabwe ababamanyi basobole okubaaniriza? Kyandiba nti abasajja abeesigwa ab’edda Katonda be yakozesa okukulembera abantu be be bajja okusooka okuzuukizibwa bayambeko mu kutegeka abantu ba Katonda mu nsi empya? Ate bo abantu abataali baweereza ba Yakuwa? Balizuukizibwa ddi era wa gye balizuukirizibwa? Waliwo ebibuuzo bingi bye tusobola okwebuuza. Naye mu kiseera kino tekitwetaagisa kumalira birowoozo byaffe ku bibuuzo ng’ebyo. Kiba kirungi okulindirira Yakuwa tulabe engeri gy’anaakwatamu ensonga ezo.

21. Ssuubi ki ly’olina?

21 Nga bwe tulindirira ekiseera ekyo, tusaanidde okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe mu Yakuwa, Oyo eyatusuubiza okuyitira mu Yesu nti abafu bajja kuzuukira. (Yok. 5:28, 29; 11:23) Okusobola okutukakasa nti Yakuwa asobola okuzuukiza abafu, lumu Yesu yagamba nti Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, eri Yakuwa “bonna balamu.” (Luk. 20:37, 38) N’olwekyo, okufaananako Pawulo naffe tugamba nti: “Nnina essuubi mu Katonda . . . nti wajja kubaawo okuzuukira.”​—Bik. 24:15.