Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abavubuka, Omutonzi Wammwe Ayagala Mube Basanyufu

Abavubuka, Omutonzi Wammwe Ayagala Mube Basanyufu

“Akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bwonna.”​—ZAB. 103:5.

ENNYIMBA: 135, 39

1, 2. Bwe tuba tweteerawo ebiruubirirwa mu bulamu, lwaki kya magezi okuwuliriza Omutonzi waffe? (Laba ebifaananyi waggulu.)

BW’OBA okyali muvubuka, oyinza okuba ng’oweereddwa amagezi mangi agakwata ku biseera byo eby’omu maaso. Abasomesa, abawi b’amagezi, oba abantu abalala bayinza okuba nga bakukubirizza okuluubirira obuyigirize obwa waggulu oba omulimu ogusasula ssente ennyingi. Naye Yakuwa ye akuwa magezi malala. Kyo kituufu nti Yakuwa ayagala okole n’obunyiikivu ku ssomero osobole okweyimirizaawo oluvannyuma lw’okusoma. (Bak. 3:23) Naye bw’oba osalawo ku bintu by’okulembeza mu bulamu, ayagala osalewo ng’osinziira ku misingi egituukana n’ekigendererwa kye n’ekyo ky’ayagala tukole mu nnaku zino ez’enkomerero.​—Mat. 24:14.

2 Kijjukire nti Yakuwa amanyi buli kimu. Amanyi ekyo ekigenda okutuuka ku nsi mu biseera eby’omu maaso era amanyi nti mangu ddala enkomerero egenda kutuuka. (Is. 46:10; Mat. 24:3, 36) Ate era atumanyi bulungi. Amanyi ebisobola okutuleetera essanyu erya nnamaddala n’ebyo ebisobola okutumalako essanyu. N’olwekyo, amagezi abantu ge bawa ne bwe gaba nga galabika ng’amalungi, bwe gaba nga gakontana n’Ekigambo kya Katonda tegaba malungi.​—Nge. 19:21.

“TEWAYINZA KUBAAWO MAGEZI . . . MU KUWAKANYA YAKUWA”

3, 4. Okukolera ku magezi amabi kyakwata kitya ku Adamu ne Kaawa n’abaana baabwe?

3 Sitaani ye yasooka okuwa abantu amagezi amabi, edda mu lusuku Edeni. Yagamba Kaawa nti ye n’omwami we bandifunye essanyu erisingawo bwe banditandise okwesalirawo ku lwabwe. (Lub. 3:1-6) Naye ekituufu kiri nti Sitaani yali yeenoonyeza bibye. Yali ayagala Adamu, Kaawa, n’abaana be bandizadde okuba wansi w’obuyinza bwe n’okumusinza mu kifo ky’okusinza Yakuwa. Naye ddala kiki Sitaani kye yali abakoledde? Yakuwa ye yali abawadde buli kimu kye baalina. Ye yali yabatonda, ye yali yabawa olusuku olulungi lwe baalimu, era ye yali yabawa obulamu obutuukiridde nga basobola okubaawo emirembe gyonna.

4 Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, bwe kityo ne bamwekutulako. Ebyavaamu tebyali birungi n’akamu. Okufaananako ebimuli ebiba bikutuddwa ku kimera ne bigenda nga biwotoka, mpolampola baakaddiwa era ne bafa. Abaana baabwe nabo baasikira ekibi. (Bar. 5:12) Wadde kiri kityo, ne leero abantu abasinga obungi basalawo obutawuliriza Katonda. Baagala kwetwala bokka. (Bef. 2:1-3) Ebivuddemu bikiraze nti “tewayinza kubaawo magezi . . . mu kuwakanya Yakuwa.”​—Nge. 21:30.

5. Bwesige ki Katonda bwe yalina mu bantu, era yali mutuufu okubeesiga?

5 Naye era Yakuwa yakimanya nti abantu abamu nga mw’otwalidde n’abavubuka bandimunoonyezza era ne bamuweereza. (Zab. 103:17, 18; 110:3) Mazima ddala Yakuwa ayagala nnyo abantu ng’abo! Oli omu ku bo? Bwe kiba kityo, oteekwa okuba ng’olina “ebintu ebirungi” bingi Katonda by’akuwadde ebikuleetera essanyu. (Soma Zabbuli 103:5; Nge. 10:22) Nga bwe tugenda okulaba, ebintu ebyo “ebirungi” bizingiramu emmere ennyingi ey’eby’omwoyo, emikwano emirungi, ebiruubirirwa ebirungi, n’eddembe erya nnamaddala.

YAKUWA AKUWA EMMERE EY’EBY’OMWOYO

6. Lwaki osaanidde okufaayo ku bwetaavu bwo obw’eby’omwoyo era bintu ki Yakuwa by’akuwadde okubukolako?

6 Obutafaananako nsolo, ggwe olina obwetaavu obw’eby’omwoyo era ng’Omutonzi wo yekka y’asobola okukuyamba okubukolako. (Mat. 4:4) Bw’owuliriza Katonda ojja kufuna okutegeera, amagezi, n’essanyu. Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Mat. 5:3) Katonda akola ku bwetaavu bwo obw’eby’omwoyo okuyitira mu Kigambo kye ne mu bitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45) Ate era emmere eyo agireeta mu ngeri nnyingi!​—Is. 65:13, 14.

7. Egimu ku miganyulo egiri mu kulya emmere ey’eby’omwoyo Katonda gy’atuwa gye giruwa?

7 Emmere ey’eby’omwoyo Katonda gy’atuwa ekusobozesa okufuna amagezi n’obusobozi bw’okulowooza ebikukuuma mu ngeri ezitali zimu. (Soma Engero 2:10-14.) Ng’ekyokulabirako, ebintu ebyo bikuyamba okwewala enjigiriza ez’obulimba, gamba ng’eyo egamba nti Katonda taliiyo. Bikukuuma n’olema kutwalirizibwa ndowooza egamba nti ssente n’ebintu bye bireetera omuntu okuba omusanyufu. Ate era bikuyamba okwewala okutwalirizibwa okwegomba okubi n’emize emibi. N’olwekyo, weeyongere okunoonya amagezi n’obusobozi bw’okulowooza era bitwale nga bya muwendo nnyo! Gy’okoma okufuna amagezi n’obusobozi bw’okulowooza, gy’okoma okukiraba nti Yakuwa akwagala nnyo era nti akwagaliza ekisingayo obulungi.​—Zab. 34:8; Is. 48:17, 18.

8. Lwaki osaanidde okusemberera Katonda kati, era ekyo kinaakuganyula kitya mu biseera eby’omu maaso? 

8 Mu kiseera ekitali kya wala, ensi ya Sitaani egenda kuzikirizibwa era Yakuwa yekka y’ajja okusobola okutukuuma. Mu butuufu, ekiseera kiyinza okutuuka ne kiba nga Yakuwa gwe tulina okutunuulira okusobola okufuna emmere yaffe eddako! (Kaab. 3:2, 12-19) Kino kye kiseera okweyongera okusemberera Kitaawo ow’omu ggulu n’okweyongera okumwesiga. (2 Peet. 2:9) Bw’onookola bw’otyo, ka kibe ki ekibaawo, ojja kuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, eyagamba nti: “Yakuwa mmuteeka mu maaso gange bulijjo. Olw’okuba ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.”​—Zab. 16:8.

YAKUWA AKUWA EMIKWANO EGISINGAYO OBULUNGI

9. (a) Okusinziira ku Yokaana 6:44, kiki Yakuwa ky’akola? (b) Njawulo ki eriwo ng’osisinkanye Omujulirwa wa Yakuwa n’omuntu atali Mujulirwa wa Yakuwa?

9 Abo abafuuka ab’omu maka ga Yakuwa, Yakuwa y’abasembeza gy’ali n’abayamba okufuuka abaweereza be. (Soma Yokaana 6:44.) Bw’osisinkana omuntu atali Mujulirwa wa Yakuwa, biki by’oba omumanyiiko? Ng’oggyeeko okumanya erinnya lye n’engeri gy’afaananamu tewabaawo kirala ky’oba omumanyiiko. Naye bwe kityo si bwe kiba ng’osisinkanye omuntu amanyi Yakuwa era amwagala. Omuntu oyo ne bw’aba nga yakulira mu mbeera ya njawulo ku yiyo, ng’ava mu nsi ndala, oba nga wa ggwanga ddala, oba omumanyiiko ebintu bingi era naye aba akumanyiiko ebintu bingi!

Yakuwa ayagala tube n’emikwano egisingayo obulungi era ayagala tweteerewo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo (Laba akatundu 9-12)

10, 11. Kiki Abajulirwa ba Yakuwa bonna kye bafaanaganya, era ekyo kituganyula kitya?

10 Ng’ekyokulabirako, okimanyirawo nti omuntu oyo ayogera olulimi naawe lw’oyogera, nga luno lwe ‘lulimi olulongoofu’ oba amazima. (Zef. 3:9) Bwe kityo, buli omu ku mmwe aba amanyi munne by’akkiririzaamu ebikwata ku Katonda, emitindo gy’empisa, essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso, n’ebirala. Ebyo bye bintu ebisinga obukulu bye twetaaga okumanya ku muntu kubanga bituyamba okumwesiga. Ate era bitusobozesa okukola emikwano emirungi era egya nnamaddala.

11 N’olwekyo, bw’oba oweereza Yakuwa, osaanidde okukimanya nti olina emikwano egisingayo obulungi egiri mu nsi yonna, naye lwa kuba nti mingi ku gyo tonnagisisinkana busisinkanyi! Ekyo tokisanga walala okuggyako mu Bajulirwa ba Yakuwa.

YAKUWA AKUYAMBA OKUBA N’EBIRUUBIRIRWA EBIRUNGI

12. Biruubirirwa ki eby’omwoyo by’osobola okweteerawo?

12 Soma Omubuulizi 11:9–12:1. Olina ebiruubirirwa eby’omwoyo bye weeteerawo? Oboolyawo ofuba okusoma Bayibuli buli lunaku. Oba oyinza okuba ng’ofuba okulongoosa mu ngeri gy’oddamu mu nkuŋŋaana oba gy’oyigirizaamu. Ka kibe kiruubirirwa ki ky’oba weeteereddewo, owulira otya bw’olaba ebirungi ebivaamu oba abalala bwe bakiraba nti olongoosezza mu kintu ekimu? Tewali kubuusabuusa owulira essanyu. Lwaki? Kubanga oba okola ebyo Yakuwa by’ayagala era oba okoppa Yesu.​—Zab. 40:8; Nge. 27:11.

13. Lwaki okuweereza Katonda kisinga okuluubirira ebintu by’ensi?

13 Bwe weemalira ku kuweereza Yakuwa, oba okola ekintu ekikuleetera essanyu era ekikuyamba okuba n’ekigendererwa mu bulamu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Munywere, temusagaasagana, bulijjo mube n’eby’okukola bingi mu mulimu gwa Mukama waffe, nga mukimanyi nti okutegana kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.” (1 Kol. 15:58) Naye omuntu bwe yeemalira ku kuluubirira ebintu by’ensi, gamba ng’okufuna ssente ennyingi oba okwefunira ettutumu, tasobola kuba musanyufu. (Luk. 9:25) Ebyo bye tusoma ku Kabaka Sulemaani bikakasa ekyo.​—Bar. 15:4.

14. Kiki ky’oyigira ku Sulemaani?

14 Sulemaani, eyali omu ku basajja abasingayo obugagga n’okuba n’ekitiibwa, alina ekintu kye yagezesa. Yagamba nti: “Kale nno ka ngezeeko eby’amasanyu ndabe ebirungi ebivaamu.” (Mub. 2:1-10) Yazimba amayumba, yasimba ennimiro, era n’akola buli kyonna kye yayagalanga okukola. Oluvannyuma yawulira atya? Yawulira ng’alina essanyu era nga mumativu? Tetwetaaga kuteebereza, kubanga Sulemaani kennyini yagamba nti: “Bwe nnafumiitiriza ku byonna emikono gyange bye gyali gikoze . . . , nnalaba nga byonna butaliimu . . . Tewaali kintu kyonna kya mugaso.” (Mub. 2:11) Ekyo nga kya kuyiga kikulu! Onookijjukiranga?

15. Lwaki kikulu okuba n’okukkiriza, era okusinziira ku Zabbuli 32:8 miganyulo ki egivaamu?

15 Abantu abamu bamala kukola nsobi ne bafuna ebizibu eby’amaanyi ne balyoka bayiga. Ekyo Yakuwa tayagala kikutuukeko. Ayagala omuwulirize era omugondere. Ekyo kyetaagisa okukkiriza, naye ekyo bw’okikola tojja kwejjusa. Yakuwa tasobola kwerabira ‘okwagala kw’olaga erinnya lye.’ (Beb. 6:10) N’olwekyo fuba nnyo okunyweza okukkiriza kwo, era bw’onookola bw’otyo ojja kukiraba nti Kitaawo ow’omu ggulu akwagaliza ekisingayo obulungi.​—Soma Zabbuli 32:8.

KATONDA AKUWA EDDEMBE ERYA NNAMADDALA

16. Lwaki eddembe lye tulina tusaanidde okulitwala nga lya muwendo n’okulikozesa obulungi?

16 Pawulo yagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa we guba wabaawo eddembe.” (2 Kol. 3:17) Yakuwa ayagala eddembe, era yatonda abantu nga nabo baagala okuba n’eddembe. Naye eddembe eryo ayagala olikozese bulungi kubanga ekyo kya bukuumi gy’oli. Oboolyawo olinayo abavubuka b’omanyi abalaba ebifaananyi eby’obuseegu, abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, abazannya emizannyo egissa obulamu bwabwe mu kabi, abakozesa ebiragalalagala, oba abeekamirira omwenge. Kyo kituufu nti bayinza okulabika ng’abanyumirwa obulamu, naye emirundi mingi bafuna ebizibu eby’amaanyi, gamba ng’endwadde, okufuuka abaddu b’emize emibi, oba oluusi n’okufiirwa obulamu bwabwe. (Bag. 6:7, 8) Abavubuka ng’abo bayinza okulowooza nti balina eddembe, naye ekituufu kiri nti tebalirina.​—Tit. 3:3.

17, 18. (a) Okugondera Katonda kituyamba kitya okuba n’eddembe? (b) Mu ngeri ki eddembe Adamu ne Kaawa lye baalina mu kusooka gye lisinga eryo abantu lye balina leero?

17 Ku luuyi olulala, bantu bameka b’omanyi abaalwala olw’okukolera ku mitindo gya Bayibuli? Okugondera Yakuwa kituyamba okuba abalamu obulungi n’okuba n’eddembe erya nnamaddala. (Zab. 19:7-11) Bw’okozesa obulungi eddembe ly’olina, ng’okolera ku Mateeka ga Katonda n’emisingi gye, olaga Katonda ne bazadde bo nti weesigika. Bazadde bo bayinza n’okukwongera ku ddembe lye bakuwa. Mu butuufu, mu biseera eby’omu maaso Katonda agenda kuwa abaweereza be abeesigwa eddembe erituukiridde eryogerwako mu Bayibuli ‘ng’eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.’​—Bar. 8:21.

18 Adamu ne Kaawa baaloza ku ddembe eryo. Mu lusuku Edeni, Katonda yabawa etteeka limu lyokka. Yabagaana okulya ku muti gumu gwokka. (Lub. 2:9, 17) Oyinza okugamba nti etteeka eryo lyali libanyigiriza? Kya lwatu nedda! Geraageranya etteeka eryo ku mateeka amangi ennyo abantu ge bassaawo era ge bakaka abantu okukwata.

19. Kiki Yakuwa ne Yesu kye batuyigiriza ekituyamba okuba n’eddembe?

19 Yakuwa ye si bw’atyo bw’ayisa abaweereza be. Mu kifo ky’okutuwa olukunkumuli lw’amateeka, atuyigiriza okukwata etteeka limu, ery’okwagala. Ayagala tukolere ku misingi gye era tukyawe ekibi. (Bar. 12:9) Mu kuyigiriza kwe okw’oku Lusozi, Yesu yatuyamba okutegeera ebintu ebiviirako abantu okukola ebintu ebibi. (Mat. 5:27, 28) Nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda, Kristo ajja kweyongera okutuyigiriza mu nsi empya tusobole okuba n’endowooza ng’eyiye ku kituufu n’ekikyamu. (Beb. 1:9) Ate era ajja kutufuula abatuukiridde mu mubiri ne mu birowoozo. Kuba akafaananyi nga tokyalina kibi era nga tokyayolekagana na bizibu ebireetebwa ekibi! Kyaddaaki, ojja kufuna “eddembe ery’ekitiibwa” Yakuwa lye yasuubiza.

20. (a) Yakuwa akozesa atya eddembe lye? (b) Tuyinza tutya okumukoppa?

20 Kyo kituufu nti ne mu nsi empya, ddembe lyaffe lijja kubaako ekkomo. Mu ngeri ki? Tujja kuba nga tulikozesa mu ngeri eraga nti twagala Katonda ne bantu bannaffe. Mu butuufu, Yakuwa ayagala tumukoppe. Eddembe ly’alina teririiko kkomo, naye alikozesa mu ngeri ey’okwagala ng’akolagana n’ebitonde bye ebitegeera. (1 Yok. 4:7, 8) Kyeyoleka bulungi nti ffe okusobola okuba n’eddembe erya nnamaddala tulina okukoppa Katonda.

21. (a) Dawudi yalina ndowooza ki ku Yakuwa? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu ekiddako?

21 Osiima “ebintu ebirungi” Yakuwa by’akuwadde, gamba ng’emmere ennyingi ey’eby’omwoyo, emikwano emirungi, ebiruubirirwa ebirungi, n’essuubi ery’okufuna eddembe mu bujjuvu? (Zab. 103:5) Bwe kiba bwe kityo naawe oyinza okuba ng’owulira nga Dawudi eyasaba Katonda n’amugamba nti: “Ommanyisa ekkubo ery’obulamu. W’oli waliwo okusanyuka kungi; ku mukono gwo ogwa ddyo waliwo essanyu emirembe n’emirembe.” (Zab. 16:11) Mu kitundu ekiddako tugenda kulaba ebintu ebirala ebirungi ebiri mu Zabbuli 16. Bino bijja kwongera okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okufuna essanyu erya nnamaddala.