Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Mu ngeri ki omutume Pawulo gye ‘yakwakkulibwa n’atwalibwa mu ggulu ery’okusatu’ ne “mu lusuku lwa Katonda”?​—2 Kol. 12:2-4.

Mu 2 Abakkolinso 12:2, 3, Pawulo ayogera ku musajja “eyakwakkulibwa n’atwalibwa mu ggulu ery’okusatu.” Omusajja oyo yali ani? Bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Kkolinso, Pawulo yakiggumiza nti Katonda yali amukozesa ng’omutume. (2 Kol. 11:5, 23) Era yayogera “ku kwolesebwa n’okubikkulirwa kwa Mukama waffe.” Mu nnyiriri eziriraanyeewo, Pawulo tayogera ku ba luganda balala. N’olwekyo, omusajja Pawulo gwe yayogerako eyafuna okwolesebwa n’okubikkulirwa ye Pawulo kennyini.​—2 Kol. 12:1, 5.

Pawulo ye ‘yakwakkulibwa n’atwalibwa mu ggulu ery’okusatu’ ne “mu lusuku lwa Katonda.” (2 Kol. 12:2-4) Yakozesa ekigambo “okubikkulirwa,” ekiraga nti yali abikkuliddwa ekintu ekyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso.

‘Eggulu ery’okusatu’ Pawulo lye yalaba kye ki?

Mu Bayibuli ekigambo “ggulu” oluusi kiyinza okutegeeza eggulu lye tulabako n’amaaso gaffe. (Lub. 11:4; 27:28; Mat. 6:26) Naye era ekigambo “eggulu” kisobola okuba n’amakulu amalala. Oluusi kikozesebwa okutegeeza obufuzi bw’abantu. (Dan. 4:20-22) Oba kisobola okutegeeza obufuzi bwa Katonda, gamba ng’okuyitira mu Bwakabaka bwe.​—Kub. 21:1.

Pawulo yalaba ‘eggulu ery’okusatu.’ Kiki kye yali ategeeza? Oluusi Bayibuli eddiŋŋana ekintu emirundi esatu okukkaatiriza ekintu ekyo. (Is. 6:3; Ezk. 21:27; Kub. 4:8) Mu kwogera ku “ggulu ery’okusatu,’ kirabika Pawulo yali akikkaatiriza nti obufuzi bwe yali ayogerako bwe busingayo okuba obwa waggulu. Ayinza okuba nga yali ayogera ku Bwakabaka bwa Masiya obufugibwa Yesu ne banne 144,000. (Laba Insight on the Scriptures, Omuz. 1, lup. 1059, 1062.) Ng’omutume Peetero bwe yagamba, tulindirira “eggulu eriggya” Katonda lye yasuubiza.​—2 Peet. 3:13.

Ate lwo ‘olusuku lwa Katonda’ Pawulo lwe yayogerako kye ki?

Ebigambo ‘olusuku lwa Katonda’ biyinza okutegeeza ebintu eby’enjawulo: (1) Olw’okuba abantu abaasooka baali mu lusuku lwa Katonda olwali ku nsi, ebigambo ‘olusuku lwa Katonda’ biyinza okutegeeza olusuku lwa Katonda olugenda okubeera ku nsi mu biseera eby’omu maaso. (2) Era biyinza okutegeeza embeera ennungi ey’eby’omwoyo abantu ba Katonda gye bajja okubeeramu mu nsi empya. (3) Ate era biyinza okutegeeza embeera ennungi eri mu ggulu, eyogerwako ‘ng’olusuku lwa Katonda’ mu Okubikkulirwa 2:7.​—Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 15, 2015, lup. 8. kat. 8.

N’olwekyo mu 2 Abakkolinso 12:4, Pawulo ayinza okuba nga yali ayogera ku bintu ebyo byonna ebisatu.

Mu bufunze:

‘Eggulu ery’okusatu’ eryogerwako mu 2 Abakkolinso 12:2 liyinza okuba nga litegeeza Obwakabaka bwa Masiya obufugibwa Yesu Kristo ne banne 144,000, era nga lino lye “eggulu eriggya.”​—2 Peet. 3:13.

Obwakabaka obwo buyitibwa ‘eggulu ery’okusatu’ kubanga busukkulumye ku bufuzi obulala.

‘Olusuku lwa Katonda’ Pawulo mwe yatwalibwa mu kwolesebwa kirabika lutegeeza (1) olusuku lwa Katonda olugenda okubaawo ku nsi mu biseera eby’omu maaso, (2) olusuku olw’eby’omwoyo olugenda okubaawo mu kiseera ekyo, era olujja okuba nga lusingira wala olwo oluliwo kati, ne (3) ‘olusuku lwa Katonda’ olw’omu ggulu olujja okubaawo mu kiseera kye kimu n’olw’oku nsi.

N’olwekyo, twesunga eggulu eriggya n’ensi empya. Eyo ejja kuba nteekateeka mpya, ng’ezingiramu gavumenti y’Obwakabaka obw’omu ggulu n’abantu abaweereza Yakuwa mu lusuku lwa Katonda ku nsi.