Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Ebyawandiikibwa biraga bitya nti Katonda atulumirirwa?

Abayisirayiri bwe baali mu buddu e Misiri, Katonda yali alaba okubonaabona kwe baali bayitamu era ng’abalumirirwa. (Kuv. 3:7; Is. 63:9) Twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda, era naffe tusobola okulumirirwa abalala. Katonda atulumirirwa ne bwe tuba nga tulowooza nti tasobola kutwagala.​—wp18.3, lup. 8-9.

Ebyo Yesu bye yayigiriza byayamba bitya abantu okweggyamu obusosoze?

Abayudaaya bangi abaaliwo mu kiseera kya Yesu baalimu obusosoze. Yesu yakubiriza abantu okuba abeetoowaze n’okwewala okusosola mu mawanga. Yakubiriza abagoberezi be buli omu okutwala munne nga muganda we.​—w18.06, lup. 9-10.

Okuba nti Katonda teyakkiriza Musa kuyingira mu Nsi Ensuubize kituyigiriza ki?

Musa yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. (Ma. 34:10) Abayisirayiri bwe baali bamaze emyaka nga 40 mu ddungu, baddamu okwemulugunya omulundi ogw’okubiri olw’obutaba na mazzi. Katonda yagamba Musa okwogera eri olwazi. Mu kifo ky’ekyo, Musa yakuba olwazi. Yakuwa ayinza okuba nga yanyiiga olw’okuba Musa teyagoberera biragiro bye yali amuwadde oba olw’okuba Musa teyamuwa kitiibwa olw’ekyamagero ekyo kye yali akoze. (Kubal. 20:6-12) Ekyo kituyigiriza nti kikulu okugondera Yakuwa n’okumuweesa ekitiibwa.​—w18.07, lup. 13-14.

Lwaki tekiba kya magezi kulamula balala nga tusinziira ku ndabika yaabwe ey’okungulu?

Abantu batera okulamula abalala nga basinziira ku bintu bino ebisatu: eggwanga lyabwe, embeera yaabwe ey’eby’enfuna, n’emyaka gyabwe. Kikulu nnyo okutunuulira abalala nga Katonda atasosola bw’abatunuulira! (Bik. 10:34, 35)​—w18.08, lup. 8-12.

Ebimu ku bintu Abakristaayo abakuze mu myaka bye bayinza okukola okuyamba abalala bye biruwa?

Omukristaayo akuze mu myaka eyaggibwako obuvunaanyizibwa obumu aba akyali wa muwendo mu maaso ga Katonda era alina bingi by’asobola okukola okuyamba abalala. Asobola okuyamba abaami ba bannyinaffe abatali bakkiriza, okuyamba abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo, okuyigiriza abantu Bayibuli, n’okugaziya ku buweereza bwe.​—w18.09, lup. 8-11.

Ebintu Abakristaayo bye bakozesa okuyigiriza bye biruwa?

Bakozesa bukaadi n’obupapula obuyita abantu mu nkuŋŋaana. Era bakozesa tulakiti munaana awamu ne magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Zuukuka! Mu bintu ebyo era mulimu brocuwa ezimu, obutabo bubiri obukulu, ne vidiyo nnya enkulu, nga mwe muli n’eyo erina omutwe Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli?​—w18.10, lup. 16.

Omukristaayo ayinza atya ‘okugula amazima,’ nga bwe kigambibwa mu Engero 23:23?

Tetusasula ssente okusobola okugula amazima. Naye tulina okuwaayo ebiseera n’okufuba ennyo okusobola okugafuna.​—w18.11, lup. 4.

Kiki kye tuyigira ku ngeri Koseya gye yayisaamu mukazi we, Gomeri?

Gomeri yayenda enfunda n’enfunda, naye Koseya n’amusonyiwa era n’asigala naye mu bufumbo. Omwami oba mukyala w’Omukristaayo bw’ayenda, Omukristaayo aba asobola okumusonyiwa. Oyo aba tayenze bw’addamu okwegatta ne munne aba ayenze, baba tabakyalina we basinziira mu Byawandiikibwa kugattululwa.​—w18.12, lup. 13.