Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

‘Yakuwa Atukoledde eby’Ekisa’

‘Yakuwa Atukoledde eby’Ekisa’

NZE ne mukyala wange, Danièle, bwe twali twakatuuka ku wooteeri, oyo eyali ayaniriza abagenyi yaŋŋamba nti, “Ssebo, kubiri poliisi y’oku nsalo essimu.” Waali waakayita essaawa ntono nga tutuuse e Gabon, ensi esangibwa mu bugwanjuba bwa Afirika, omulimu gwaffe gye gwali guwereddwa mu myaka gya 1970.

Olw’okuba mukyala wange Danièle yali mujagujagu, yaŋŋamba mu kaama nti, “Totegana kukubira poliisi, yatuuse dda!” Emabega waffe twalaba emmotoka ng’esimba mu maaso ga wooteeri. Waayita eddakiika ntono ffembi abasirikale ne batukwata. Naye olw’okuba Danièle yali andabudde, nnasobola okubaako ebiwandiiko ebimu bye nkwasa ow’oluganda omu eyaliwo.

Bwe baali batutwala ku poliisi, nnakiraba nti nnali nneesiimye okuba n’omukyala omuvumu era ayagala ennyo Yakuwa n’ekibiina kye. Guno gwe gumu ku mirundi emingi nze ne Danièle gye twakolera awamu nga ttiimu. Ka mbabuulire ekyatuleetera okugendanga okukyalira ensi ezitali zimu omulimu gwaffe gye gwabanga gukugirwa.

YAKUWA YANDAGA EKISA N’ANZIBULA AMAASO

Nnazaalibwa mu 1930 mu kabuga Croix aka Bufalansa mu maka Amakatuliki. Tetwayosanga kugenda mu mmisa buli wiiki era taata wange yalina obuvunaanyizibwa obutali bumu ku kkereziya. Naye bwe nnali nnaatera okuweza emyaka 14, waliwo ekintu ekyaliwo ekyanzibula amaaso ne ndaba obunnanfuusi obwali mu kkereziya.

Mu kiseera kya Ssematalo ow’okubiri Bufalansa yalimu amagye ga Bugirimaani. Faaza bwe yabanga abuulira ku kituuti, yatukubirizanga okuwagira gavumenti ya Vichy eyali ewagira Abanazi. Bye yayogeranga tebyatusanyusanga. Okufaananako abalala bangi mu Bufalansa, twawulirizanga leediyo ya BBC mu bubba, eyabangako amawulire agakwata ku ggye eryegatta awamu okulwanyisa Abanazi. Naye lwakya lumu faaza ne yeekyusa n’ateekateeka mmisa ey’okwebaza Katonda olw’obuwanguzi amagye agaali galwanyisa Abanazi bwe gaali gatuuseeko mu Ssebutemba 1944. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo. Nnalekera awo okwesiga abakulu b’amadiini.

Nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’olutalo, taata yafa. Olw’okuba mwannyinaze omukulu, Simone, yali yamala ddala okufumbirwa era ng’abeera mu Bubirigi, nnakiraba nga kati nze nnalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira maama. Nnafuna omulimu mu kkolero ly’engoye. Mukama wange ku mulimu ne batabani be baali Bakatuliki bakuukuutivu. Wadde ng’omulimu ogwo gwali mulungi, mu kiseera ekitali kya wala nnali ŋŋenda kwolekagana n’ekigezo.

Mwannyinaze Simone, eyali afuuse Omujulirwa wa Yakuwa, yajja okutukyalira mu 1953. Ng’akozesa Bayibuli, yatulaga nti enjigiriza z’Abakatuliki gamba ng’ey’omuliro ogutazikira, katonda ali mu busatu, n’omwoyo ogutafa, nkyamu. Mu kusooka nnamuwakanya ne mmugamba nti yali takozesa Bayibuli y’Abakatuliki, naye oluvannyuma nnakiraba nti bye yali aŋŋamba ge mazima. Nga wayise ekiseera yandeetera magazini z’Omunaala gw’Omukuumi enkadde, zonna ne nzisoma ekiro mu kisenge kyange. Nnakiraba nti nnali nzudde amazima, naye nnatya nti singa nsalawo okufuuka Omujulirwa wa Yakuwa nnandifiiriddwa omulimu gwange.

Okumala emyezi egiwerako, nneesomesanga nzekka Bayibuli awamu ne magazini z’Omunaala gw’Omukuumi. Oluvannyuma nnasalawo okugenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Okwagala kwe bandaga mu kibiina kwankwatako nnyo. Oluvannyuma lw’okuyiga Bayibuli okumala emyezi mukaaga n’ow’oluganda omu, nnabatizibwa mu Ssebutemba 1954. Era waayita ekiseera kitono maama ne mwannyinaze omuto nabo ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

OKWESIGA YAKUWA MU BUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA

Eky’ennaku, mu 1958 maama yafa ng’ebula wiiki ntono olukuŋŋaana olunene olwali mu New York lutuuke. Olukuŋŋaana olwo nnalugendamu. Bwe nnakomawo okuva ku lukuŋŋaana olwo nnali sikyalina buvunaanyizibwa bwa kulabirira maama era bwe ntyo nnalekayo omulimu gwe nnali nkola ne ntandika okuweereza nga payoniya. Nnatandika okwogereza payoniya omunyiikivu ayitibwa Danièle Delie, era twafumbiriganwa mu Maayi 1959.

Danièle yatandika okuweereza nga payoniya mu kyalo ekiyitibwa Brittany, ekyali ewala ennyo okuva ewaabwe. Kyali kimwetaagisa okuba omuvumu okubuulira mu kitundu ekyo ekyali kijjuddemu Abakatuliki n’okuvuga eggaali okugenda okubuulira mu bitundu ebyesudde. Okufaananako nze, naye yabuuliranga n’obunyiikivu ng’akiraba nti enkomerero yali esembedde. (Mat. 25:13) Omwoyo ogw’okwefiiriza gwe yalina gwatuyamba okunywerera mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

Nga wayise ennaku ntono nga tumaze okufumbiriganwa, nnalondebwa okukola omulimu ogw’okukyalira ebibiina. Twayiga okubeerawo nga tetulina bintu bingi. Ekibiina kye twasooka okukyalira kyalimu ababuulizi 14, era ab’oluganda abo baali baavu nnyo. Bwe kityo, twasula wansi ku mufaliso mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Wadde ng’obuliri ng’obwo si bwe twandyagadde okusulako, bwali bulungi eri emigongo gyaffe!

Twakyaliranga ebibiina nga tukozesa akamotoka kaffe

Wadde nga twabanga n’eby’okukola bingi nnyo, Danièle yamanyiira omulimu ogw’okukyalira ebibiina. Emirundi mingi yannindanga mu mmotoka yaffe nga nnina enkuŋŋaana n’abakadde ezaagwanga obugwi, naye teyeemulugunyanga. Twamala emyaka ebiri gyokka mu mulimu ogw’okukyalira ebibiina era okukola omulimu ogwo kyatuyigiriza nti kikulu nnyo abafumbo okuba n’empuliziganya ennungi n’okukolera awamu nga ttiimu.​—Mub. 4:9.

TWAWEEBWA ENKIZO ENDALA

Mu 1962 twayitibwa okugenda mu Brooklyn, New York mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 37 eryamala emyezi kkumi. Mu bayizi 100 abaali mu ssomero eryo mwalimu emigogo gy’abafumbo 13; n’olwekyo twagiraba nga nkizo ya maanyi nze ne mukyala wange okugenda mu ssomero eryo. Kinsanyusa nnyo buli lwe ndowooza ku kadde ke twamalanga n’ab’oluganda abeesigwa, gamba nga Frederick Franz, Ulysses Glass, ne Alexander H. Macmillan.

Twasanyuka nnyo okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ffembi!

Bwe twali mu ssomero baatukubiriza okukulaakulanya obusobozi bwaffe obw’okwetegereza ebintu. Oluusi n’oluusi ku Lwomukaaga olweggulo baatutwalanga okulambula ebitundu ebitali bimu eby’ekibuga New York. Ku Bbalaza baatugambanga tuwandiike ebyo bye twabanga tulabye. We twakomerangawo akawungeezi ku Lwomukaaga, twabanga tukooye, naye Omubeseri eyatulambuzanga yatubuuzanga ebibuuzo okutuyamba kujjukira bye tunaawandiika ku Bbalaza. Lumu ku Lwomukaaga olweggulo twatambula okwetooloola ekibuga New York. Twagenda mu kifo we bekkaanyiza ebifa mu bwengula ne batubuulira ebikwata ku gayinza agagwa okuva mu bwengula agayitibwa meteors ne meteorites. Ate bwe twagenda mu myuziyamu twayiga enjawulo eriwo wakati wa goonya eyitibwa alligator n’eyo eyitibwa crocodile. Bwe twaddayo ku Beseri, Omubeseri eyatulambuza yatubuuza nti, “Njawulo ki eriwo wakati wa meteor ne meteorite?” Olw’okuba Danièle yali akooye nnyo, yaddamu nti, “Meteorites zirina amannyo mawanvu!”

Twanyumirwa nnyo okukyalira baganda baffe ne bannyinaffe abeesigwa mu Afirika

Kyatwewuunyisa nnyo bwe twasindikibwa okuweereza ku ttabi lya Bufalansa, gye twaweerereza awamu okumala emyaka 53. Mu 1976, nnalondebwa okuweereza ng’Omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi era nnalondebwa n’okukyalira ensi z’omu Afirika n’ez’omu Buwalabu omulimu gwaffe gye gwali guwereddwa oba gukugiddwa. Omulimu ogwo gwe gwatutuusa e Gabon, nga bwe nnalaze ku ntandikwa. Ekituufu kiri nti oluusi nnawuliranga nga sirina busobozi kutuukiriza buvunaanyizibwa obwampeebwanga. Naye Danièle yannyamba nnyo ne mpulira nga nsobola okukola omulimu gwonna ogwabanga gumpeereddwa.

Nga ntaputa emboozi y’Ow’oluganda Theodore Jaracz ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Paris mu 1988

TWOLEKAGANA N’EKIZIBU EKY’AMAANYI

Okuviira ddala ku ntandikwa, twanyumirwa nnyo okuweereza ku Beseri. Danièle, eyali ayize Olungereza mu myezi etaano gyokka nga tetunnagenda mu Gireyaadi, yafuuka omuvvuunuzi omulungi ow’ebitabo byaffe. Twafuna essanyu lingi mu kuweereza ku Beseri, era okwenyigira mu mirimu gy’ekibiina nakyo kyayongera ku ssanyu lyaffe. Nzijukira lumu ekiro nze ne Danièle twalinnya eggaali y’omukka okudda eka nga tuli bakoowu naye nga tuli basanyufu olw’okuba twali tuva kuyigiriza abayizi ba Bayibuli abaali bakulaakulana. Naye eky’ennaku, embeera y’obulamu bwa Danièle yakyuka mu ngeri gye twali tutasuubira, n’aba nga takyasobola kuweereza nga bwe yandyagadde.

Mu 1993 Danièle baamukebera ne bamuzuulamu kookolo w’omu mabeere. Obujjanjabi obwamuweebwa tebwali bwangu. Bwazingiramu okumulongoosa n’okuweebwanga eddagala ery’amaanyi. Nga wayise emyaka 15, Danièle baddamu ne bamuzuulamu kookolo omulala eyali omubi ennyo n’okusingawo. Naye olw’okuba yali ayagala nnyo omulimu ogw’okuvvuunula bwe yatereerangamu yaddangamu okukola.

Wadde ng’obulwadde bwa Danièle bwali bwa maanyi, tetwalowoozaako ku kya kuva ku Beseri. Kyokka era okuweereza ku Beseri ng’oli mulwadde nakyo kirimu okusoomooza, naddala singa abalala baba tebategeera bulungi mbeera gy’oyitamu. (Nge. 14:13) Danièle ne bwe yali asussizza emyaka 75 yali akyalabika bulungi era olw’okuba yateekangako akamwenyumwenyu kyabanga kizibu okutegeera obulumi bwe yali ayitamu. Teyeekubagizanga. Mu kifo ky’ekyo, essira yalissanga ku kuyamba abo abaabanga boolekagana n’ebizibu. Yafubanga okubawuliriza. (Nge. 17:17) Danièle teyeetwalanga kuba muwi wa magezi, naye yakozesa embeera gye yalimu okuyamba bannyinaffe bangi obutatya kookolo.

Ate era twalina okukyuka n’embeera. Danièle bwe yali takyasobola kukola buli lunaku, yafuba okunnyamba mu ngeri endala. Yafuba nnyo okumpewula ku mirimu egimu, era ekyo kyansobozesa okuweereza ng’omukwanaganya w’Akakiiko k’Ettabi okumala emyaka 37. Ng’ekyokulabirako, yafubanga okutegeka buli kimu tusobole okuliira awamu eky’emisana mu nnyumba yaffe n’okuwummulirako awamu buli lunaku.​—Nge. 18:22.

OKWOLEKAGANA N’EBITWERALIIKIRIZA BULI LUNAKU

Danièle yali muntu ataggwaamu ssuubi. Naye yafuna kookolo omulundi ogw’okusatu. Twawulira ng’ekyo kitusukkiriddeko. Eddagala ery’amaanyi lye baamuwanga awamu n’okukalirirwa byamumalamu nnyo amaanyi n’aba nga takyasobola kutambula. Kyannakuwaza nnyo okulaba mukyala wange eyali omuvvuunuzi omulungi nga kati azibuwalirwa okwogera.

Ne bwe twali tuwulira nga tuweddemu amaanyi, tweyongera okunyiikira okusaba, nga tuli bakakafu nti Yakuwa yali tasobola kutuleka kugezesebwa kusukka ku ekyo kye twali tuyinza okugumira. (1 Kol. 10:13) Twafubanga okusiima obuyambi Yakuwa bwe yatuwanga okuyitira mu Kigambo kye, mu basawo b’oku Beseri, ne mu bakkiriza bannaffe.

Twasabanga Yakuwa atuwe obulagirizi ku bujjanjabi bwa ngeri ki bwe twandikkirizza. Waliwo ekiseera we kyatuuka nga Danièle talina bujjanjabi bwonna bw’afuna. Omusawo eyali amujjanjabye okumala emyaka 23 yali tategeera nsonga lwaki yazirikanga buli luvannyuma lw’okukubwa eddagala. Yali talina ggezi ddala. Twawulira ng’abaali ku lwaffe era nga twebuuza ki ekinnaddirira. Mu kiseera ekyo omusawo omulala yakkiriza okujjanjaba Danièle. Twakiraba nti Yakuwa yali atuteereddewo obuddukiro okusobola okutuyamba okwaŋŋanga embeera eyo eyali etweraliikiriza.

Twafuba okwewala okweraliikirira eby’enkya. Nga Yesu bwe yagamba, “buli lunaku luba n’emitawaana egirumala.” (Mat. 6:34) Okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okusaagako nabyo byatuyamba. Ng’ekyokulabirako, Danièle bwe yamala emyezi ebiri nga takubwa ddagala, yaŋŋamba nga bw’amwenya nti, “Okimanyi? Siwulirangako bulungi bwe nti!” (Nge. 17:22) Wadde nga yali ayita mu bulumi bwa maanyi, yanyumirwanga nnyo okwegeza mu nnyimba z’Obwakabaka empya mu ddoboozi ery’omwanguka.

Endowooza ennuŋŋamu Danièle gye yalina yannyamba obutaggwaamu maanyi. Amazima gali nti mu myaka 57 gye nnamala naye, yankoleranga kumpi buli kimu. Yali tayagala na kundaga ngeri gye basiikamu magi! Naye bwe yalwala n’aba ku ndiri, nnalina okuyiga okwoza ebintu, okwoza engoye n’okuzigolola, n’okufumba emmere ennyangu. Nnayasa amagiraasi agawerako, naye nnanyumirwa okukola emirimu egyo okumusanyusa. *

NSIIMA NNYO YAKUWA OLW’OKUNDAGA EKISA EKITAJJULUKUKA

Nnina ebintu bye nnayigira ku bizibu bye twayitamu olw’obulwadde n’olw’okukaddiwa. Ekisooka, bannaffe mu bufumbo tulina okubatwala nga ba muwendo. Tulina okukozesa obulungi emyaka mwe tuba nga tukyalina amaanyi okulabirira abaagalwa baffe. (Mub. 9:9) Eky’okubiri, obuntu obutonotono tebusaanidde kutweraliikiriza kisukkiridde kubanga ekyo kiyinza okutuviirako okubuusa amaaso emikisa emingi gye tufuna buli lunaku.​—Nge. 15:15.

Bwe ndowooza ku bbanga nze ne mukyala wange lye twamala mu buweereza obw’ekiseera kyonna, nkiraba nti Yakuwa yatuwa emikisa mingi nnyo. Mpulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Yakuwa ankoledde eby’ekisa.”​—Zab. 116:7.

^ lup. 32 Mwannyinaffe Danièle Bockaert yafa ng’ekitundu kino kikyategekebwa. Yalina emyaka 78.