Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebigambo by’omutume Pawulo ebiri mu 1 Abakkolinso 15:29 bitegeeza nti Abakristaayo abamu abaaliwo mu kiseera kye baabatizibwa ku lw’abantu abafu?

Tewali wonna mu Bayibuli oba mu byafaayo we kiragibwa nti ekintu ng’ekyo kyalinga kikolebwa.

Engeri olunyiriri olwo gye lwavvuunulwamu mu Bayibuli ezimu, ereetedde abantu abamu okulowooza nti waaliwo okubatiza abantu ku lw’abafu mu kyasa ekyasooka. Ng’ekyokulabirako: New International Version egamba nti: “Bwe kiba nti teri kuzuukira, abo ababatizibwa ku lw’abafu banaakola ki?”

Naye lowooza ku ebyo abeekenneenya ba Bayibuli babiri bye baagamba. Dr. Gregory Lockwood yagamba nti: “Tewali bukakafu bwonna mu Bayibuli oba mu byafaayo obulaga nti waliwo omuntu yenna eyabatizibwa ku lw’abafu.” Ate ye Profesa Gordon D. Fee yagamba nti: “Tewali muntu ayogerwako mu Bayibuli oba mu byafaayo eyabatizibwa mu ngeri ng’eyo. Okubatizibwa ng’okwo tekulina we kwogerwako mu Ndagaano Empya, era tewaliwo bukakafu obulaga nti waliwo Omukristaayo yenna eyabatizanga abantu mu ngeri ng’eyo, oba nti amakanisa agajjawo oluvannyuma lw’okufa kw’abatume gaabatizanga mu ngeri ng’eyo.”

Bayibuli egamba nti, abagoberezi ba Yesu baali ba ‘kufuula abantu ab’omu mawanga gonna abayigirizwa, nga bababatiza, nga babayigiriza okukwata ebintu byonna bye yalagira.’ (Mat. 28:19, 20) Omuntu bwe yabanga tannafuuka muyigirizwa mubatize, yalinanga okusooka okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’Omwana we, okubakkiririzaamu, n’okubagondera. Omuntu eyali yafa edda, era ng’ali mu ntaana yali tasobola kukola bintu ebyo; era n’Omukristaayo eyali akyali omulamu yali tasobola kubimukolera.​—Mub. 9:5, 10; Yok. 4:1; 1 Kol. 1:14-16.

Kati olwo Pawulo yali ategeeza ki?

Abakkolinso abamu baali tebakkiriza nti abafu bajja kuzuukizibwa. (1 Kol. 15:12) Pawulo yakiraga nti endowooza eyo yali nkyamu. Yagamba nti, ‘buli lunaku yayolekagananga n’okufa.’ Kya lwatu Pawulo yali akyali mulamu. Naye wadde nga yayolekagananga n’ebintu ebyali biyinza okumuviirako okufa, yali mukakafu nti ne bwe yandifudde yandizuukiziddwa ng’ekitonde eky’omwoyo, eky’amaanyi, nga bwe kyali ku Yesu.​—1 Kol. 15:30-32, 42-44.

Abakkolinso baalina okukitegeera nti olw’okuba baali Bakristaayo abaafukibwako amafuta, baali bajja kwolekagana n’ebizibu buli lunaku era nti baali ba kusooka kufa nga tebannazuukizibwa. ‘Okubatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu’ kyali kizingiramu ‘okubatizibwa okuyingira mu kufa kwe.’ (Bar. 6:3) Kino kyali kitegeeza nti okufaananako Yesu, bandyolekaganye n’ebizibu ebitali bimu era ne bafa, basobole okuzuukizibwa batwalibwe mu ggulu.

Nga wayise emyaka egisukka mu ebiri nga Yesu amaze okubatizibwa mu mazzi, yagamba abatume be babiri nti: “Okubatizibwa kwe mbatizibwamu kwe mujja okubatizibwamu.” (Mak. 10:38, 39) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali tayogera ku kubatizibwa mu mazzi, wabula yali ategeeza nti okusigala nga mwesigwa eri Katonda kyandimuviiriddeko okufa. Pawulo yagamba nti abaafukibwako amafuta ‘bandibonaabonedde wamu ne Kristo basobole okugulumizibwa wamu naye.’ (Bar. 8:16, 17; 2 Kol. 4:17) Bwe kityo, nabo baalina okufa, okusobola okuzuukizibwa batwalibwe mu ggulu.

N’olwekyo, eno ye ngeri entuufu ey’okuvvuunulamu ebigambo bya Pawulo: “Abafu bwe baba nga tebajja kuzuukizibwa, abo ababatizibwa olw’ekigendererwa eky’okubeera abafu balikola ki? Lwaki babatizibwa olw’ekigendererwa eky’okubeera abafu?”