EKITUNDU EKY’OKUSOMA 52
Engeri Gye Tuyinza Okwaŋŋanga Ebintu Ebimalamu Amaanyi
“Omugugu gwo gutikke Yakuwa, era naye anaakuwaniriranga.”—ZAB. 55:22.
OLUYIMBA 33 Omugugu Gwo Gukwase Yakuwa
OMULAMWA *
1. Kiki ekiyinza okututuukako bwe tuba nga tuweddemu amaanyi?
BULI lunaku twolekagana n’ebizibu ebitali bimu, era tukola kyonna kye tusobola okubyaŋŋanga. Naye si kituufu nti kitwanguyira okwaŋŋanga ebizibu bye tufuna bwe tuba nga tetuweddemu maanyi? N’olwekyo, okuggwaamu amaanyi tusobola okukutunuulira ng’omubbi asobola okutunyagako obumalirivu, obuvumu, n’essanyu. Engero 24:10 n’obugambo obuli wansi wagamba nti: “Bw’oterebuka mu kiseera ekizibu, amaanyi go gajja kuba matono.” N’olwekyo bwe tuggwaamu amaanyi, kisobola okutunafuya ne tuba nga tetusobola kwaŋŋanga bizibu bye twolekagana nabyo.
2. Bintu ki ebisobola okutumalamu amaanyi, era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?
2 Waliwo ebintu bingi ebisobola okutumalamu amaanyi; ebimu biva munda mu ffe ate ebirala biva ku mbeera ezitwetoolodde. Ebimu ku bitumalamu amaanyi mwe muli obutali butuukirivu bwaffe, obunafu bwaffe, n’obulwadde. Ate era obutafuna nkizo gye tubadde twagala mu kibiina kya Yakuwa oba okubuulira mu kitundu omuli abantu abalabika ng’abatawuliriza nakyo kisobola okutumalamu amaanyi. Mu kitundu kino tugenda kulaba bye tusobola okukola bwe tuba nga twolekagana n’ebintu ebimalamu amaanyi.
OBUTALI BUTUUKIRIVU N’OBUNAFU BWAFFE
3. Kiki ekisobola okutuyamba okutunuulira obunafu bwaffe mu ngeri entuufu?
3 Kyangu nnyo okuba n’endowooza etali ntuufu ku butali butuukirivu bwaffe n’obunafu bwaffe. Tuyinza okutandika Bar. 3:23) Naye Yakuwa tabeera awo nga buli kiseera atunoonyaamu nsobi era tatusuubira kuba batuukiridde. Ye Kitaffe atwagala ennyo era mwetegefu okutuyamba. Ate era mugumiikiriza. Alaba engeri gye tufubamu okulwanyisa obunafu bwaffe n’endowooza etali nnungi gye twerinako, era mwetegefu okutuyamba.—Bar. 7:18, 19.
okulowooza nti olw’ensobi ze tukola, Yakuwa talitukkiriza kubeera mu nsi empya. Endowooza ng’eyo ya kabi nnyo. Tusaanidde kutunuulira tutya obutali butuukirivu bwaffe? Bayibuli eraga nti, ng’oggyeeko Yesu Kristo, abantu bonna “baayonoona.” (4-5. Ebigambo ebiri mu 1 Yokaana 3:19, 20, byayamba bitya bannyinaffe babiri okwaŋŋanga ekintu ekimalamu amaanyi?
4 Lowooza ku Deborah ne Maria. * Deborah bwe yali omuto, emirundi mingi abalala baamufeebyanga. Emirundi egisinga teyasiimibwanga. Ekyo kyamuviirako okwenyooma ng’akuze. Bwe yakolanga ensobi entono, yawuliranga nga talina kintu kituufu ky’asobola kukola. Maria naye yalina ekizibu kye kimu. Ab’eŋŋanda ze baamufeebyanga. Ekyo kyamuviirako okuwulira nti talina mugaso. Ne bwe yamala okuyiga amazima, yawulira nti tasaana kuyitibwa linnya lya Katonda!
5 Naye bannyinaffe abo ababiri tebaalekera awo kuweereza Yakuwa. Lwaki? Baasaba Yakuwa ne bamutikka emigugu gyabwe. (Zab. 55:22) Baakitegeera nti Kitaffe ow’omu ggulu atwagala nnyo era akimanyi nti ebyo bye twayitamu bisobola okutuleetera okwetunuulira mu ngeri etali nnungi. Era baakitegeera nti alaba ebirungi mu mutima gwaffe, ffe bye tuyinza okuba nga tetwerabamu.—Soma 1 Yokaana 3:19, 20.
6. Omuntu ayinza kuwulira atya singa addamu okukola ekibi ky’azze alwanyisa?
6 Omuntu azze alwanyisa omuze ogumu ayinza okuwulira ng’aweddemu amaanyi singa addamuko okugwenyigiramu. Kya lwatu nti si kikyamu omutima okutulumiriza nga tukoze ekibi. (2 Kol. 7:10) Naye tetusaanidde kugukkiriza kutulumiriza kisukkiridde ne tutuuka n’okulowooza nti ffe tetulina kituufu kye tusobola kukola era nti Yakuwa tasobola kutusonyiwa. Endowooza ng’eyo si ntuufu era esobola n’okutuleetera okulekera awo okuweereza Yakuwa. Kijjukire nti Engero 24:10 walaga nti bwe tuterebuka, amaanyi gaffe gaba matono. N’olwekyo, ‘tereeza ensonga’ wakati wo ne Yakuwa ng’omutuukirira mu kusaba era ng’omwegayirira akusaasire. (Is. 1:18) Bw’akulaba nga weenenyezza mu bwesimbu, ajja kukusonyiwa. Ate era tuukirira abakadde. Bajja kukuyamba okuddamu okutereeza enkolagana yo ne Yakuwa.—Yak. 5:14, 15.
7. Lwaki tetusaanidde kuggwaamu maanyi bwe tuba nga tulina obunafu bwe tulwanyisa?
Bar. 7:21-25) N’olwekyo, bw’oba olina obunafu bw’olwanyisa, tokitwala nti tokyalina mugaso. Kijjukire nti tewali n’omu ku ffe asobola kuba mutuukirivu ku bubwe mu maaso ga Katonda. Ffenna twetaaga okulagibwa ekisa kya Katonda eky’ensusso okuyitira mu kinunulo.—Bef. 1:7; 1 Yok. 4:10.
7 Omukadde omu ow’omu Bufalansa ayitibwa Jean-Luc agamba bw’ati abo abalina obunafu bwe balwanyisa: “Omuntu omutuukirivu mu maaso ga Yakuwa, si y’oyo atakola nsobi yonna, wabula ye muntu anakuwalira ensobi ze era eyeenenya.” (8. Bwe tuba nga tuweddemu amaanyi, baani be tuyinza okusaba okutuyamba?
8 Baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina basobola okutuzzaamu amaanyi! Basobola okutuwuliriza nga twagala okwogera ebituli ku mutima era basobola okutugamba ebigambo ebizzaamu amaanyi. (Nge. 12:25; 1 Bas. 5:14) Mwannyinaffe Joy, abeera mu Nigeria, eyayolekagana n’embeera eyamumalamu amaanyi, agamba nti: “Nnandibadde wa awatali bakkiriza bannange? Mazima ddala baganda bange ne bannyinaze bukakafu obulaga nti Yakuwa addamu okusaba kwange. Nnina bingi bye mbayigiddeko ebisobola okunnyamba okuzzaamu abalala amaanyi.” Naye tusaanidde okukijjukira nti, oluusi bakkiriza bannaffe bayinza obutakimanya nti twetaaga okuzzibwamu amaanyi. N’olwekyo kiyinza okutwetaagisa okutuukirira mukkiriza munnaffe akuze mu by’omwoyo ne tumugamba nti twetaaga obuyambi.
NGA TULI BALWADDE
9. Ebiri mu Zabbuli 41:3 ne 94:19 bituzzaamu bitya amaanyi?
9 Saba Yakuwa akuyambe. Bwe tuba nga tetwewulira bulungi oba nga tulwalidde ebbanga ddene, kiyinza okutumalamu amaanyi. Wadde nga Yakuwa tatuwonya mu ngeri ya kyamagero, atubudaabuda era asobola okutuwa amaanyi ge twetaaga okusobola okugumiikiriza. (Soma Zabbuli 41:3; 94:19.) Ng’ekyokulabirako, ayinza okukozesa bakkiriza bannaffe okutuyambako ku mirimu gy’awaka oba okubaako bye batugulira. Oba ayinza okuleetera bakkiriza bannaffe okusabira awamu naffe. Oba ayinza okutuleetera okujjukira ebintu ebizzaamu amaanyi ebiri mu Kigambo kye, gamba ng’essuubi ery’ekitalo ery’okubeera mu nsi empya nga tetukyalwala era nga tetubonaabona.—Bar. 15:4.
10. Lwaki Isang teyasigala nga yennyamidde oluvannyuma lw’okufuna akabenje?
10 Isang, abeera mu Nigeria, yafuna akabenje akaamuviirako okusannyalala. Omusawo yamugamba nti yali tajja kuddamu kutambula. Isang agamba nti: “Nnawulira nga mpeddemu amaanyi era nnennyamira.” Naye yasigala yennyamidde? Nedda! Kiki ekyamuyamba? Agamba nti: “Nze ne mukyala wange tetwalekera awo kusaba Yakuwa na kusoma Kigambo kye. Ate era twali bamalirivu okussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebirungi Yakuwa by’atuwadde, omuli n’essuubi ery’okuba abalamu obulungi mu nsi empya.”
11. Cindy yasobola atya okusigala nga musanyufu ng’alina obulwadde obw’amaanyi?
11 Cindy, abeera mu Mexico, yazuulwamu obulwadde obw’amaanyi ennyo. Yasobola atya okwaŋŋanga embeera eyo? Bwe yali ng’ajjanjjabibwa, yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okuwa obujulirwa buli lunaku. Agamba nti: “Okukola ekyo, kyannyamba okussa ebirowoozo byange ku balala mu kifo ky’okubissa ku bujjanjabi bwe nnali ŋŋenda okuweebwa ne ku bulumi bwe nnalina. Nnakolanga bwe nti: Bwe nnabanga nnyumyako n’abasawo, nnababuuzanga ebikwata ku b’omu maka gaabwe. Oluvannyuma nnababuuzanga lwaki baasalawo okukola omulimu ng’ogwo ogutali mwangu. Ekyo kyannyambanga Nge. 15:15.
okumanya ebintu ebyali bisobola okubakwatako. Bangi baagamba nti tekyali kya bulijjo omulwadde okubabuuza ebikwata ku bulamu bwabwe. Era bangi banneebaza olw’okubafaako. Abamu bampa ne nnamba zaabwe ez’essimu. N’olwekyo, mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo mu bulamu bwange, Yakuwa yampa essanyu ku mutima nange eryanneewuunyisa!”—12-13. Ab’oluganda abamu abalwadde oba abalina obulemu basobodde batya okweyongera okubuulira, era biki ebivuddemu?
12 Abalwadde oba abalina obulemu bayinza okuwulira nga baweddemu amaanyi olw’okuba tebasobola kukola kinene mu buweereza. Wadde kiri kityo, bangi basobodde okweyongera okuwa obujulirwa. Mwannyinaffe Laurel, eyali abeera mu Amerika, yamala emyaka 37 ng’ali mu kyuma ekyali kimuyamba okussa! Yalina kookolo, yalongoosebwa emirundi egiwera, era yalina endwadde z’olususu. Wadde nga yali ayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi bwe bityo, ekyo tekyamulemesa kubuulira. Yabuuliranga abasawo abajjanga awaka we okumujjanjaba. Biki ebyavaamu? Yayamba abantu nga 17 okuyiga amazima! *
13 Omukadde ayitibwa Richard, abeera mu Bufalansa, alina amagezi g’awa abo abatasobola kuva waka oba ababeera mu bifo awalabiririrwa bannamukadde. Agamba nti: “Mbakubiriza okubaako we bateeka ebitabo byaffe abantu basobole okubiraba. Ekyo kireetera abantu okwagala okumanya ebibirimu era kiba kyangu okutandika okunyumya nabo emboozi. Ekyo kisobola okuzzaamu ennyo amaanyi baganda baffe abo abatakyasobola kugenda kubuulira nnyumba ku nnyumba.” Abo abatakyasobola kuva waka era basobola okwenyigira mu kubuulira nga bawandiika amabaluwa oba nga bakuba essimu.
BWE TUBA NGA TETUWEEREDDWA NKIZO GYE TWAGALA
14. Kyakulabirako ki ekirungi Kabaka Dawudi kye yassaawo?
14 Waliwo ebintu bingi ebiyinza okutuviirako obutaweebwa nkizo ezimu mu kibiina, gamba ng’obukadde, obulwadde, oba embeera endala. Ku nsonga eyo, waliwo kye tuyinza okuyigira ku Kabaka Dawudi. Bwe yagambibwa nti yali talondeddwa kuzimba yeekaalu ya Katonda, wadde ng’ekyo yali akyagala nnyo, yawagira mu bujjuvu oyo Katonda gwe yali alonze okukola omulimu ogwo. Dawudi yawaayo n’ebintu bingi ebyandikozeseddwa mu kuzimba yeekaalu. Nga yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo!—2 Sam. 7:12, 13; 1 Byom. 29:1, 3-5.
15. Kiki ekyayamba Hugues bwe yali awulira ng’aweddemu amaanyi?
15 Ow’oluganda ayitibwa Hugues, abeera mu Balam. 8:4.
Bufalansa, yalekera awo okuweereza ng’omukadde olw’obulwadde bwe yalina, era yatuuka n’okuba nga takyasobola kwekolera bulimu obutonotono awaka. Agamba nti: “Mu kusooka, nnawulira nga mpeddemu amaanyi era nga sirina mugaso. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakiraba nti kikulu okulekera awo okussa ebirowoozo byange ku bintu bye nnali sikyasobola kukola mu buweereza bwange eri Yakuwa, era nnabissa ku bintu bye nnali nkyasobola okukola, ne kinnyamba okuddamu okuba omusanyufu. Ndi mumalirivu obutaggwaamu maanyi. Okufaananako Gidiyoni n’abasajja be ebisatu, bonna abaali bakooye, nja kweyongera okulwana!”—16. Kiki kye tuyigira ku bamalayika?
16 Bamalayika abeesigwa batuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Akabu, Yakuwa yagamba bamalayika okuwa endowooza yaabwe ku ngeri y’okubuzaabuzaamu kabaka oyo eyali omubi. Bamalayika abawerako baawa endowooza yaabwe. Naye Yakuwa yalondamu malayika omu n’agamba nti ekirowoozo kye yali awadde kyali kijja kukola. (1 Bassek. 22:19-22) Bamalayika abalala abeesigwa baggwaamu amaanyi, oboolyawo ne bagamba nti, ‘Kale tutawaanidde ki?’ Kya lwatu nedda. Bamalayika beetoowaze nnyo era baagala ettendo lyonna lidde eri Yakuwa.—Balam. 13:16-18; Kub. 19:10.
17. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba nga tuwulira bubi olw’obutaweebwa nkizo emu gye tubadde twagala?
17 Lowoozanga ku nkizo ey’ekitalo gye tulina ey’okuyitibwa erinnya lya Yakuwa n’ey’okulangirira Obwakabaka bwe. Enkizo zijja ne zigenda naye si ze zitufuula okuba ab’omu muwendo mu maaso ga Yakuwa. Okuba abeetoowaze kye kitufuula ab’omuwendo eri Yakuwa n’eri bakkiriza bannaffe. N’olwekyo, saba Yakuwa akuyambe okusigala ng’oli mwetoowaze. Fumiitiriza ku bantu abaali abeetoowaze aboogerwako mu Kigambo kye. Bulijjo beeranga mwetegefu okuweereza baganda bo mu ngeri yonna gy’osobola.—Zab. 138:6; 1 Peet. 5:5.
EKITUNDU KY’OBUULIRAMU BWE KIBA NGA KIRABIKA NG’EKITAVAAMU BIBALA
18-19. Oyinza otya okufuna essanyu mu buweereza bwo, ekitundu ky’obuuliramu ne bwe kiba nga kirabika ng’ekitavaamu bibala?
18 Wali owuliddeko ng’oweddemu amaanyi olw’okuba ekitundu ky’obuuliramu kirabika ng’ekitavaamu bibala oba olw’okuba abantu tebatera kubeera waka? Mu mbeera ng’eyo, kiki ky’osobola okukola okusigala ng’oli musanyufu oba okwongera okuba omusanyufu? Waliwo amagezi agaweereddwa mu kasanduuko Okwongera Okufuna Essanyu mu Buweereza.” Ate era kikulu okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku buweereza. Ekyo kizingiramu ki?
“19 Weemalire ku kulangirira erinnya lya Katonda n’Obwakabaka. Yesu yakyoleka bulungi nti abantu batono abandibadde bazuula ekkubo erigenda mu bulamu. (Mat. 7:13, 14) Bwe tuba tubuulira, tuba n’enkizo ey’okukolera awamu ne Yakuwa, ne Yesu, awamu ne bamalayika. (Mat. 28:19, 20; 1 Kol. 3:9; Kub. 14:6, 7) Yakuwa anoonya abo abaagala okumuweereza. (Yok. 6:44) N’olwekyo, omuntu bw’atawuliriza bubaka bwaffe, ayinza okubuwuliriza ku mulundi omulala.
20. Okusinziira ku Yeremiya 20:8, 9 kiki ekiyinza okutuyamba obutaggwaamu maanyi?
20 Waliwo bingi bye tuyinza okuyigira ku nnabbi Yeremiya. Yatumibwa okubuulira mu kitundu ekitaali kyangu kubuuliramu. Abantu baamuvumanga era ne bamusekereranga buli lunaku. (Soma Yeremiya 20:8, 9.) Yaggwaamu nnyo amaanyi ne kiba nti lumu yawulira ng’ayagala kulekera awo kubuulira. Naye teyalekera awo. Lwaki? “Ekigambo kya Yakuwa” kyali ng’omuliro munda mu Yeremiya, ne kiba nti yali takyasobola kusirika! Naffe ekyo kyennyini kye kitubaako bwe tujjuza Ekigambo kya Yakuwa mu birowoozo byaffe ne mu mutima gwaffe. Eyo y’emu ku nsonga lwaki tusaanidde okusomanga Bayibuli buli lunaku n’okugifumiitirizaako. Bwe tukola tutyo, tweyongera okufuna essanyu era tufuna n’ebibala mu buweereza bwaffe.—Yer. 15:16.
21. Tuyinza tutya okwaŋŋanga ebintu ebimalamu amaanyi?
21 Deborah ayogeddwako waggulu agamba nti, ‘Sitaani ayagala nnyo okutumalamu amaanyi era ekyo kye kimu ku by’okulwanyisa eby’amaanyi by’akozesa.’ Naye Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo okusinga eby’okulwanyisa bya Sitaani byonna. N’olwekyo, k’ebe nsonga ki eba ekuleetedde okuggwaamu amaanyi, saba Yakuwa akuyambe. Ajja kukuyamba okulwanyisa obutali butuukirivu bwo n’obunafu bwo. Ajja kukuyamba ng’oli mulwadde. Ajja kukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku nkizo ezifunibwa mu kibiina. Era ajja kukuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku mulimu gw’okubuulira. N’olwekyo, weeyabize Kitaawo ow’omu ggulu omubuulire ebikweraliikiriza. Ajja kukuyamba bw’onooba owulira ng’oweddemu amaanyi.
OLUYIMBA 41 Wulira Okusaba Kwange
^ lup. 5 Ffenna ebiseera ebimu tuggwaamu amaanyi. Mu kitundu kino tugenda kulabayo ebintu bye tusobola okukola bwe tuba nga tuweddemu amaanyi. Nga bwe tugenda okulaba, Yakuwa asobola okutuyamba nga tuweddemu amaanyi.
^ lup. 4 Amannya agamu gakyusiddwa.
^ lup. 12 Soma ebikwata ku Laurel Nisbet mu Awake! eya Jjanwali 22, 1993.
^ lup. 69 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe abadde aweddemu amaanyi okumala ekiseera afumiitiriza ku buweereza bwe obw’emabega era asaba Yakuwa. Mukakafu nti Yakuwa ajjukira bye yakolanga mu buweereza bwe edda ne by’akola kati.