Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 49

Bye Tuyiga mu Eby’Abaleevi ku Ngeri Gye Tusaanidde Okuyisaamu Abalala

Bye Tuyiga mu Eby’Abaleevi ku Ngeri Gye Tusaanidde Okuyisaamu Abalala

“Oyagalanga munno nga bwe weeyagala.”​—LEEV. 19:18.

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

OMULAMWA *

1-2. Biki bye twalaba mu kitundu ekyayita, era biki bye tugenda okulaba mu kitundu kino?

MU KITUNDU ekyayita, twalaba amagezi og’omuganyulo agali mu Eby’Abaleevi essuula 19. Ng’ekyokulabirako, twalaba mu lunyiriri olw’okusatu nti Yakuwa yakubiriza Abayisirayiri okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe. Twalaba engeri gye tuyinza okukolera ku kubuulirira okwo leero nga tufaayo ku byetaago bya bazadde baffe eby’omubiri, eby’omwoyo, era nga tufaayo ku nneewulira yaabwe. Mu lunyiriri olwo lwe lumu, abantu ba Katonda bajjukizibwa obukulu bw’okukwata Ssabbiiti. Twalaba nti wadde nga tetukyakwata tteeka lya Ssabbiiti leero, omusingi ogulirimu gutuyamba okuwangayo ebiseera okwenyigira mu bintu eby’omwoyo obutayosa. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tukiraga nti tufuba okuba abatukuvu nga bwe tukubirizibwa mu Eby’Abaleevi 19:2 ne 1 Peetero 1:15.

2 Mu kitundu kino, tugenda okweyongera okwekenneenya Eby’Abaleevi essuula 19. Biki bye tuyiga mu ssuula eno ku ngeri y’okuyisaamu abo abaliko obulemu, ku ngeri gye tusaanidde okuba abeesigwa nga tukola bizineesi, ne ku ngeri gye tusaanidde okulaga bantu bannaffe okwagala. Olw’okuba twagala okuba abatukuvu nga Katonda waffe, ka twekenneenye ebintu ebyo mu ssuula eno.

OKUFAAYO KU ABO ABALIKO OBULEMU

Eby’Abaleevi 19:14 watukubiriza kuyisa tutya bakiggala oba bamuzibe? (Laba akatundu 3-5) *

3-4. Okusinziira ku Eby’Abaleevi 19:14, bakiggala ne bamuzibe baalina kuyisibwa abatya?

3 Soma Eby’Abaleevi 19:14. Yakuwa yali yeetaagisa abantu be okufaayo ku abo abaaliko obulemu. Ng’ekyokulabirako, tebaalina kukolimira bakiggala. Okukolima okwo kwali kuyinza okuba okutiisatiisa omuntu oba okumwogerako ekintu ekibi. Kyali kibi nnyo okukola ekintu ng’ekyo ku muntu atawulira! Olw’okuba yali tayinza kuwulira ebyali bimwogerwako, yali tasobola kwerwanako.

4 Olunyiriri 14 lulaga nti abantu ba Katonda tebaalina kuteeka ‘nkonge mu maaso ga muzibe.’ Ekitabo ekimu kyogera bwe kiti ku bantu abaabangako obulemu: “Mu mawanga ga Buwalabu abantu ng’abo baayisibwanga mu ngeri etaali ya bwenkanya era baatulugunyizibwanga.” Oboolyawo abantu abaali beefaako bokka baateekanga enkonge mu maaso ga muzibe olw’okwagala okumulumya oba olw’okwagala okuseka. Ekyo nga kyali kikolwa kya ttima! Ekiragiro ekyo Yakuwa kye yawa Abayisirayiri kyabayamba okukimanya nti baalina okufaayo ku bantu abaaliko obulemu.

5. Tuyinza tutya okulaga nti tufaayo ku abo abaliko obulemu?

5 Yesu yafaangayo ku abo abaaliko obulemu. Mu bubaka bwe yaweereza Yokaana Omubatiza yagamba nti: “Abazibe b’amaaso balaba, abalema batambula, abagenge bawona ne balongooka, bakiggala bawulira, abafu bazuukizibwa.” Abantu bwe baalaba ebyamagero Yesu bye yakola, ‘bonna baatendereza Katonda.’ (Luk. 7:20-22; 18:43) Olw’okuba Abakristaayo baagala okukoppa Yesu mu ngeri gye yayisangamu abo abaliko obulemu, balaga abantu ng’abo ekisa, babafaako era babagumiikiriza. Kyo kituufu nti Yakuwa tatuwadde maanyi kukola byamagero, naye tulina enkizo okubuulira balala nga mwe muli n’abo abatalaba oba abazibye amaaso mu by’omwoyo amawulire amalungi agakwata ku lusuku lwa Katonda abantu bonna mwe balibeera nga batuukiridde era nga balina enkolagana ennungi ne Katonda. (Luk. 4:18) Abantu bangi kati batendereza Katonda olw’amawulire ago amalungi.

OKUBA ABEESIGWA NGA TUKOLA BIZINEESI

6. Ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi essuula 19, bituyamba bitya okutegeera obulungi ebyogerwako mu Biragiro Ekkumi?

6 Ennyiriri ezimu mu Eby’Abaleevi essuula  19 zongera okugaziya ku ebyo ebyayogerwako mu Mateeka Ekkumi. Ng’ekyokulabirako, etteeka ery’omunaana ligamba bugambi nti: “Tobbanga.” (Kuv. 20:15) Omuntu ayinza okugamba nti kasita aba nga tatutte kintu kyonna kitali kikye, aba agondera ekiragiro ekyo. Kyokka ayinza okuba ng’abba mu ngeri endala.

7. Omusuubuzi ayinza atya okumenya etteeka ery’omunaana erikwata ku kubba?

7 Omusuubuzi ayinza okugamba nti tatwalangako kintu kitali kikye. Naye bulijjo aba mwesigwa ng’akola bizineesi ye? Nga bwe kiragibwa mu Eby’Abaleevi 19:35, 36, Yakuwa yagamba nti: “Temukozesanga bipimo bitali bituufu okupima obuwanvu bw’ebintu, obuzito bw’ebintu, n’obungi bw’ebintu. Mukozesanga minzaani entuufu, amayinja ag’okupimisa amatuufu, efa entuufu ne yini entuufu.” N’olwekyo omusuubuzi akozesa minzaani oba ebipimo ebitali bituufu okusobola okubuzaabuza bakasitoma be, aba ababba. Ennyiriri endala mu Eby’Abaleevi essuula 19 nazo zooleka bulungi ekintu ekyo.

Nga bwe kiragibwa mu Eby’Abaleevi 19:11-13, biki Omukristaayo by’asaanidde okwebuuza ku ngeri gy’akolamu bizineesi? (Laba akatundu 8-10) *

8. Ebiri mu Eby’Abaleevi 19:11-13 byayamba bitya Abayisirayiri okumanya omusingi oguli emabega w’etteeka ery’omunaana, era biyinza bitya okutuyamba leero?

8 Soma Eby’Abaleevi 19:11-13. Eby’Abaleevi 19:11 lutandika n’ekigambo: “Temubbanga.” Olunyiriri 13 lukwataganya okubba n’obutaba mwesigwa mu bizineesi. Lugamba nti: “Tokumpanyanga munno.” N’olwekyo, obukumpanya mu bya bizineesi bukwataganyizibwa n’okubba n’okunyaga. Etteeka ery’omunaana lyali ligaana okubba. Naye ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi byayamba Abayisirayiri okumanya emisingi egiri emabega w’etteeka eryo, kwe kugamba, baalina okuba abeesigwa mu buli kintu kyonna. Tuganyulwa nnyo bwe tulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu obutali bwesigwa n’okubba. Oyinza okwebuuza nti: Okusinziira mu ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:11-13, waliwo kye sikola bulungi? Nnina we nneetaaga okukyusaamu ku ngeri gye nkolamu bizineesi oba gye nkolamu emirimu gyange?’

9. Ekiragiro ekiri mu Eby’Abaleevi 19:13 kyayambanga kitya abapakasi?

9 Waliwo ekintu ekirala ekikwata ku bwesigwa Omukristaayo akola bizineesi ky’asaanidde okulowoozaako. Ebigambo ebisembayo mu Eby’Abaleevi 19:13 bigamba nti: “Empeera y’omupakasi togiremeranga ekiro kyonna okutuusa enkeera.” Mu Isirayiri abantu abasinga baalinga balimi, era abapakasi baalinanga okusasulwa ku nkomerero y’olunaku. Obutawa mupakasi ssente ze yabanga akoleredde kyamulemesanga okufunira ob’omu maka ge emmere ey’okulya olunaku olwo. Yakuwa yagamba nti: “Ali mu bwetaavu, era empeera ye y’eyimirizaawo obulamu bwe.”​—Ma. 24:14, 15; Mat. 20:8.

10. Kiki kye tuyiga mu Eby’Abaleevi 19:13?

10 Leero abakozi bangi tebabasasula buli lunaku, wabula babasasula omulundi gumu oba ebiri buli mwezi. Naye omusingi oguli mu Eby’Abaleevi 19:13 gukyakola. Abantu abamu basasula abo be bakozesa ssente ntono nnyo ku ezo ze bandigwanidde okubasasula. Bakimanyi nti ekyo abakozi abo tebalina kya kukikolera era nti bajja kweyongera okukola wadde nga basasulwa obusente butono nnyo. Mu mbeera eyo abakozesa abo baba ‘ng’abalemera empeera y’omupakasi.’ Omukristaayo alina b’akozesa alina okukakasa nti aba mwenkanya gye bali. Kati ka tulabe ekirala kye tuyiga mu Eby’Abaleevi essuula 19.

OKWAGALA BANTU BANAFFE NGA BWE TWEYAGALA

11-12. Kiki Yesu kye yakkaatiriza bwe yajuliza Eby’Abaleevi 19:17, 18?

11 Katonda tayagala tukome bukomi ku kwewala kukola ebirumya abalala. Eby’Abaleevi 19:17, 18 (Soma) walaga ensonga eyo. Weetegereza ekiragiro kino ekitegeerekeka obulungi: “Oyagalanga munno nga bwe weeyagala.” Buli Mukristaayo ayagala okusanyusa Katonda ekyo alina okukikola.

12 Weetegereze engeri Yesu gye yalaga obukulu bw’ekiragiro ekyo ekiri mu Eby’Abaleevi 19:18. Lumu Omufalisaayo yamubuuza nti: “Tteeka ki erisinga obukulu mu Mateeka?” Yesu yamugamba nti ‘etteeka erisinga obukulu era erisooka’ kwe kwagala Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu bwaffe bwonna, n’amagezi gaffe gonna. Oluvannyuma Yesu yajuliza Eby’Abaleevi 19:18, n’agamba nti: “‘Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.’” (Mat. 22:35-40) Waliwo engeri nnyingi ze tuyinza okulagamu bannaffe okwagala. Ezimu ku ngeri ezo zoogerwako mu Eby’Abaleevi essuula 19.

13. Tuyinza tutya okukolera ku ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:18 bwe twetegereza ebyo ebyogerwa ku Yusufu?

13 Engeri emu gye tulagamu bantu bannaffe okwagala kwe kukolera ku kubuulirira okuli mu Eby’Abaleevi 19:18, awagamba nti: “Towooleranga ggwanga wadde [okusiba ekiruyi].” Bangi ku ffe twali tulabyeko abantu abaasibira bakozi bannaabwe, bayizi banaabwe, abeŋŋanda zaabwe oba ab’omu maka gaabwe ekiruyi okumala emyaka mingi! Jjukira baganda ba Yusufu abaamusibira ekiruyi era ku nkomerero ne bamukola ekintu ekyali ekibi ennyo. (Lub. 37:2-8, 25-28) Naye ye Yusufu teyabayisa bubi! Bwe yali ng’alina obuyinza era ng’asobola okwesasuza baganda be teyakikola, wabula yabalaga ekisa. Yusufu teyasibira baganda be kiruyi, wabula yakolera ku ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:18.​—Lub. 50:19-21.

14. Kiki ekiraga nti emisingi egiri mu Eby’Abaleevi 19:18 ne leero gikyakola?

14 Abakristaayo abaagala okusanyusa Katonda basaanidde okukoppa Yusufu eyasonyiwa baganda be mu kifo ky’okubasibira ekiruyi. Era ekyo kyennyini Yesu kye yayogerako mu ssaala ey’okulabirako bwe yagamba nti tusaanidde okusonyiwa abo abatukola ebibi. (Mat. 6:9, 12) Omutume Pawulo naye yakubiriza Abakristaayo ekintu kye kimu bwe yagamba nti: “Abaagalwa, temuwooleranga ggwanga.” (Bar. 12:19) Ate era yagattako nti: “Mweyongere okugumiikirizigananga n’okusonyiwagananga omuntu yenna bw’aba n’ensonga ku munne.” (Bak. 3:13) Emisingi gya Yakuwa tegikyuka. Emisingi egiri emabega w’etteeka eriri mu Eby’Abaleevi 19:18 ne leero gikyakola.

Nga bwe kitali kirungi kubeera nga buli kiseera tukwatirira ekiwundu kye tuba tufunye, era si kirungi kubeera nga buli kiseera tulowooza ku bintu ebitulumya abalala bye baba batukoze. Tusaanidde okubyerabira (Laba akatundu 15) *

15. Kyakulabirako ki ekiraga obukulu bw’obutamalira birowoozo ku kintu ekibi abalala kye baba batukoze?

15 Lowooza ku kyokulabirako kino. Obulumi bwe tufuna nga waliwo atukoze ekintu ekibi buyinza okugeraageranyizibwa ku biwundu. Ebiwundu ebimu biba bitono ate ebirala biba binene. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba tusumulula ebbaasa olupapula luyinza okutusala ne tufuna akawundu akatono. Naye obulumi bwe tufuna tebulwawo. Oluvannyuma lw’olunaku lumu oba bbiri tuyinza n’obutajjukira wa olupapula we luba lwatusaze. Mu ngeri y’emu, ebintu ebimu abalala bye batukola biba bitono. Ng’ekyokulabirako, mukwano gwaffe ayinza okwogera oba okukola ekintu nga talowoozezza ne kitulumya, naye ne tumusonyiwa. Kyokka bwe tufuna ekiwundu ekinene, omusawo ayinza okukitunga era n’akisiba. Naye bwe tuba nga buli kiseera tukwatirira bandegi gye basibye ku kiwundu oba nga tugisunaasuna, tuba twongera kwerumya. Eky’ennaku, omuntu ayinza okuba ng’akola ekintu ekifaananako bwe kityo bwe waba nga waliwo omuntu eyamukola ekintu ekyamuluma ennyo. Ayinza okuba nga buli kiseera alowooza ku ngeri omuntu oyo gye yamulumyamu. Naye abo abasiba ekiruyi bongera kwerumya. Mazima ddala kiba kya magezi okukolera ku kubuulirira okuli mu Eby’Abaleevi 19:18!

16. Okusinziira ku Eby’Abaleevi 19:33, 34, abagwira baalina kuyisibwa batya mu Isirayiri era ekyo tukiyigirako ki?

16 Yakuwa bwe yalagira Abayisirayiri okwagala bantu bannaabwe yali tategeeza nti baalina kwagala bantu ba ggwanga lyabwe bokka oba aba langi yaabwe bokka. Baalina n’okwagala abagwira abaali babeera mu bo. Ekyo kyeyoleka bulungi mu Eby’Abaleevi 19:33, 34. (Soma.) Abayisirayiri baalina okuyisa omugwira “ng’enzaalwa,” era baalina ‘okumwagala’ nga bwe beeyagala. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri baalina okukkiriza abagwira n’abaavu okuganyulwa mu nteekateeka y’okulonderera. (Leev. 19:9, 10) Abakristaayo nabo balina okukolera ku musingi ogukwata ku kwagala abagwira. (Luk. 10:30-37) Mu ngeri ki? Okwetooloola ensi waliwo abantu bangi abavudde mu nsi zaabwe ne bagenda okubeera mu nsi endala era abamu ku bo bayinza okuba nga babeera kumpi naawe. Kikulu okuyisa obulungi abantu abo ka babe basajja, bakazi oba baana.

OMULIMU OMUKULU OGUTAYOGERWAKO MU EBY’ABALEEVI ESSUULA 19

17-18. (a) Ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:2 ne 1 Peetero 1:15 bisaanidde kutukwatako bitya? (b) Mulimu ki omukulu Peetero gwe yatukubiriza okukola?

17 Mu Eby’Abaleevi 19:2 ne 1 Peetero 1:15 abantu ba Katonda bakubirizibwa okuba abatukuvu. Ennyiriri endala nnyingi mu Eby’Abaleevi essuula 19 zituyamba okumanya kye tusaanidde okukola okusobola okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Tulabye ennyiriri ezoogera ku bimu ku bintu ebirungi bye tusaanidde okukola n’ebimu ku bintu ebibi bye tusaanidde okwewala. * Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani biraga nti Yakuwa akyayagala tukolere ku misingi egiri mu nnyiriri ezo. Naye waliwo ekintu ekirala omutume Peetero ky’agattako.

18 Tuyinza okuba nga twenyigira mu bintu eby’omwoyo obutayosa era nga tulina ebintu bingi ebirungi bye tukola. Kyokka Peetero alinayo ekintu kimu ky’anokolayo. Bwe yali tannatukubiriza okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe yonna yatugamba nti: “Muteeketeeke ebirowoozo byammwe okukola emirimu.” (1 Peet. 1:13, 15) Emirimu egyo gizingiramu ki? Peetero yagamba nti baganda ba Kristo abaafukibwako amafuta bandibadde ‘“balangirira obulungi” bw’Oyo eyabayita.’ (1 Peet. 2:9) Mu butuufu, Abakristaayo bonna leero balina enkizo ey’okukola omulimu guno oguganyula ennyo abantu okusinga omulimu omulala gwonna. Abantu ba Yakuwa abatukuvu balina enkizo ey’ekitalo ey’okwenyigira obutayosa mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza! (Mak. 13:10) Bwe tufuba okukolera ku misingi egiri mu Eby’Abaleevi essuula 19, tuba tulaga nti twagala Katonda waffe ne bantu bannaffe. Era tuba tulaga nti twagala ‘okuba abatukuvu’ mu nneeyisa yaffe yonna.

OLUYIMBA 111 Ebituleetera Essanyu

^ lup. 5 Abakristaayo tetuli wansi w’amateeka ga Musa, naye amateeka ago googera ku bintu bingi bye tusaanidde okukola ne bye tulina okwewala. Bwe twekeneenya ebintu ebyo bisobola okutuyamba okulaga abalala okwagala era n’okusanyusa Katonda. Ekitundu kino kiraga engeri gye tuyinza okuganyulwa mu bimu kw’ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi essuula 19.

^ lup. 17 Ennyiriri ezitoogeddwako mu kitundu kino zoogera ku kusosola, okuwaayiriza, okuyiwa omusaayi, okwenyigira mu by’obusamize, n’ebikolwa eby’obugwenyufu.​—Leev. 19:15, 16, 26-29, 31. Laba ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu magazini eno.

^ lup. 52 EBIFAANANYI: Ow’oluganda ng’ayamba ow’oluganda omulala kiggala okuwuliziganya n’omusawo.

^ lup. 54 EBIFAANANYI: Ow’oluganda alina bizineesi ey’okusiiga langi asasula omukozi we omusaala gwe.

^ lup. 56 EBIFAANANYI: Mwannyinaffe yeerabira mangu akawundu akatono k’afunye. Anaakola kye kimu ng’afunye ekiwundu ekinene?