Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 48

“Mubenga Batukuvu”

“Mubenga Batukuvu”

“Mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna.”​—1 PEET. 1:15.

OLUYIMBA 34 Okutambulira mu Bugolokofu

OMULAMWA *

1. Kubuulirira ki omutume Peetero kwe yawa Bakristaayo banne, era lwaki okubuulirira okwo kuyinza okulabika nga kwe tutasobola kukolerako?

KA TUBE nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi, ffenna tusobola okuganyulwa mu kwekenneenya okubuulirira omutume Peetero kwe yawa Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kyasa ekyasooka. Yagamba nti: “Mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna ng’Oyo eyabayita bw’ali Omutukuvu, kubanga kyawandiikibwa nti: ‘Mubenga batukuvu, kubanga ndi mutukuvu.’” (1 Peet. 1:15, 16) Ebigambo ebyo biraga nti tusobola okukoppa Yakuwa, Oyo ataddewo ekyokulabirako ekisingayo mu kuba omutukuvu. Tusobola era tuteekeddwa okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe. Ekyo kiyinza okulabika ng’ekitasoboka olw’okuba tetutuukiridde. Peetero kennyini yakola ensobi eziwerako, naye ekyokulabirako kye kiraga nti tusobola ‘okuba abatukuvu.’

2. Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kuddamu ebibuuzo bino: Obutukuvu kye ki? Kiki Bayibuli ky’etuyigiriza ku butukuvu bwa Yakuwa? Tuyinza tutya okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe? Era kakwate ki akaliwo wakati w’obutukuvu n’enkolagana yaffe ne Yakuwa?

OBUTUKUVU KYE KI?

3. Abantu bangi bwe balowooza ku muntu omutukuvu, kifaananyi ki ekibajjira, naye kiki ekisobola okutuyamba okumanya kye kitegeeza okuba omutukuvu?

3 Abantu bangi bwe balowooza ku muntu omutukuvu, ekifaananyi ekibajjira kye ky’omuntu atali musanyufu, ayambadde ebyambalo bya bannaddiini, era ataliiko kamwenyumwenyu konna ku maaso. Naye ekyo si kituufu. Bayibuli eraga nti Yakuwa Katonda mutukuvu era ‘musanyufu.’ (1 Tim. 1:11) Abaweereza be nabo basanyufu. (Zab. 144:15) Yesu yavumirira abo abaali bambala ebyambalo eby’enjawulo era abaakoleranga eby’obutuukirivu mu maaso g’abantu basobole okulabibwa. (Mat. 6:1; Mak. 12:38) Abakristaayo ab’amazima Bayibuli ebayamba okumanya kye kitegeeza okuba omutukuvu. Tuli bakakafu nti Yakuwa Katonda waffe omutukuvu era atwagala tayinza kutuwa kiragiro kye tutasobola kugondera. N’olwekyo Yakuwa bw’atugamba nti, “Mubenga batukuvu,” tetuba na kubuusabuusa kwonna nti tusobola okugondera ekiragiro ekyo. Kyokka okusobola okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe, tulina okusooka okutegeera kye kitegeeza okuba omutukuvu.

4. Ekigambo “obutukuvu” kitegeeza ki?

4 Obutukuvu kye ki? Mu Bayibuli, ekigambo “obutukuvu” kitegeeza okuba omuyonjo mu mpisa ne mu kusinza. Ate era ekigambo ekyo kirina n’amakulu ag’okwawulibwawo okuweereza Katonda. Mu ngeri endala, tutwalibwa nti tuli batukuvu bwe tuba nga tuli bayonjo mu mpisa, nga tusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima, era nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye. Tukwatibwako nnyo okukimanya nti wadde nga Yakuwa mutukuvu nnyo, akkiriza ffe abantu abatatuukiridde okuba mikwano gye.

YAKUWA “MUTUKUVU, MUTUKUVU, MUTUKUVU”

5. Kiki kye tumanyi ku bamalayika ba Yakuwa abeesigwa?

5 Yakuwa mulongoofu era muyonjo mu mbeera zonna. Ekyo tukimanyira ku ekyo basseraafi, nga bano be bamalayika ababeera okumpi n’entebe ya Yakuwa, kye baamwogerako. Abamu ku bo baagamba nti: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Yakuwa ow’eggye.” (Is. 6:3) Kya lwatu nti okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda waabwe omutukuvu, bamalayika nabo balina okuba abatukuvu. Era ddala batukuvu. Mu butuufu, malayika wa Yakuwa omu bw’aba mu kifo ekimu ku nsi kifuula kifo ekyo okuba ekitukuvu. Ekyo kye kyaliwo Musa bwe yali okumpi n’ekisaka ekyali kyaka omuliro.​—Kuv. 3:2-5; Yos. 5:15.

Ebigambo “Obutukuvu bwa Yakuwa” ebyali ku kabaati akamasamasa aka zzaabu akaali ku kiremba kya kabona asinga obukulu (Laba akatundu  6-7)

6-7. (a) Okusinziira ku Okuva 15:1, 11, Musa yakyoleka atya nti Yakuwa mutukuvu? (b) Abayisirayiri bonna baakimanya batya nti Yakuwa mutukuvu? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

6 Oluvannyuma lwa Musa okukulemberamu Abayisirayiri ne bayita mu Nnyanja Emmyufu, yakyoleka bulungi nti Yakuwa Katonda waabwe Mutukuvu. (Soma Okuva 15:1, 11.) Abamisiri abaali basinza bakatonda abalala tebaali batukuvu. Abakanani nabo baali basinza bakatonda ab’obulimba era tebaali batukuvu. Okusinza kwabwe kwali kuzingiramu okusaddaaka abaana n’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Leev. 18:3, 4, 21-24; Ma. 18:9, 10) Kyokka Yakuwa wa njawulo ku bakatonda abo. Tasobola kugamba baweereza be kukola kintu kyonna kibi. Mutukuvu mu mbeera zonna. Ekyo kyeyolekera bulungi mu bigambo ebyali byoleddwa ku kabaati aka zzaabu akaabanga ku kiremba kabona asinga obukulu kye yeesibanga. Akabaati ako kaaliko ebigambo bino: “Obutukuvu bwa Yakuwa.”​—Kuv. 28:36-38.

7 Ebigambo ebyo byandibaddenga biyamba buli eyabirabanga okukimanya nti Yakuwa mutukuvu nnyo. Ate kyali kitya eri Omuyisirayiri eyabanga tasobola kulaba kabaati ako olw’okuba yali tasobola kutuuka awaali kabona asinga obukulu? Naye yandibadde asobola okukimanya nti Yakuwa mutukuvu? Yee, kubanga Abayisirayiri bonna nga mw’otwalidde abasajja, abakazi, n’abaana, baawulirizanga obubaka obwo Amateeka bwe gaabanga gabasomerwa. (Ma. 31:9-12) Singa waliyo, wandibadde owulira ebigambo bino nga bisomebwa: “Nze Yakuwa Katonda wammwe . . . mubenga batukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu.” “Munaabanga batukuvu gye ndi kubanga nze Yakuwa ndi mutukuvu.”​—Leev. 11:44, 45; 20:7, 26.

8. Lwaki tusaanidde okwekenneenya ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:2 ne 1 Peetero 1:14-16?

8 Kati ka twekenneenye ebimu ku bigambo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:2 ebyasomerwa Abayisirayiri bonna. Yakuwa yagamba Musa nti: “Yogera n’ekibiina kyonna eky’Abayisirayiri obagambe nti, ‘Mubenga batukuvu kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe ndi mutukuvu.’” Peetero ayinza okuba nga yali ajuliza ebigambo ebyo bwe yakubiriza Abakristaayo ‘okuba abatukuvu.’ (Soma 1 Peetero 1:14-16.) Kya lwatu nti tetuli wansi w’Amateeka ga Musa. Wadde kiri kityo, ebyo Peetero bye yawandiika biraga ekyo kye tuyiga mu Eby’Abaleevi 19:2. Mu lunyiriri olwo tuyiga nti Yakuwa mutukuvu era nti abo abamusinza balina okufuba okuba abatukuvu. Ekyo kirina okuba bwe kityo ka tube nga tulina ssuubi lya kugenda mu ggulu oba lya kubeera ku nsi.​—1 Peet. 1:4; 2 Peet. 3:13.

“MUBEERENGA BATUKUVU MU NNEEYISA YAMMWE YONNA”

9. Tunaaganyulwa tutya mu kwekenneenya Eby’Abaleevi essuula 19?

9 Olw’okuba twagala okusanyusa Katonda waffe omutukuvu, twagala nnyo okumanya engeri gye tuyinza okuba abatukuvu. Yakuwa atubuulira ebintu bye tusaanidde okukola okusobola okuba abatukuvu. Ebimu ku byo bisangibwa mu Eby’Abaleevi 19. Omwekenneenya wa Bayibuli Omuyudaaya ayitibwa Marcus Kalisch yagamba nti: “Essuula eno ayinza okuba nga y’esingayo obukulu mu kitabo ky’Eby’Abaleevi ne mu bitabo bya Bayibuli ebitaano ebisooka.” Kijjukire nti Eby’Abaleevi essuula 19 etandika n’ebigambo, “Mubenga batukuvu.” Kati tugenda kwekenneenya ennyiriri ezitali zimu mu ssuula eyo ezituyamba okumanya engeri gye tuyinza okuba abatukuvu mu bulamu bwaffe obwa bulijjo.

Ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:3 ebyogera ku bazadde, byandireetedde Omukristaayo okufumiitiriza ku ki? (Laba akatundu 10-12) *

10-11. Kiki kye tulina okukola okusobola okuba abatukuvu ekyogerwako mu Eby’Abaleevi essuula 19:3, era obulagirizi obwo tusaanidde kubutwala tutya?

10 Oluvannyuma lw’okugamba Abayisirayiri nti baalina okuba abatukuvu, Yakuwa yagattako nti: “Buli omu ku mmwe assengamu nnyina ne kitaawe ekitiibwa . . . Nze Yakuwa Katonda wammwe.”​—Leev. 19:2, 3.

11 Mazima ddala tusaanidde okugondera ekiragiro kya Yakuwa ekikwata ku kussaamu bazadde baffe ekitiibwa. Lumu omusajja omu yabuuza Yesu nti: “Kirungi ki kye nteekwa okukola nsobole okufuna obulamu obutaggwaawo?” Mu ebyo Yesu bye yamuddamu mwe mwali n’eky’okugondera kitaawe ne nnyina. (Mat. 19:16-19) Mu butuufu, Yesu yavumirira Abafalisaayo n’abawandiisi abaali beekwasa obusongasonga okusobola okwewala okulabirira bazadde baabwe. Mu kukola bwe batyo, ‘baadibya ekigambo kya Katonda.’ (Mat. 15:3-6) “Ekigambo kya Katonda” kyali kizingiramu etteeka ery’okutaano mu Mateeka Ekkumi awamu n’ebyo bye tusoma mu Eby’Abaleevi 19:3. (Kuv. 20:12) Kijjukire nti etteeka eriri mu Eby’Abaleevi 19:3 eritulagira okussaamu bazadde baffe ekitiibwa, liddirira ebigambo “Mubenga batukuvu kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe ndi mutukuvu.”

12. Tuyinza tutya okukolera ku kiragiro ekiri mu Eby’Abaleevi 19:3?

12 Bwe tulowooza ku kiragiro kya Yakuwa ekikwata ku kussaamu bazadde baffe ekitiibwa, tuyinza okwebuuza nti, ‘Nzisaamu bazadde bange ekitiibwa?’ Bw’okiraba nti waliwo w’otaakola bulungi mu nsonga eno mu biseera eby’emabega, osobola okusalawo kati okulongoosaamu. Tosobola kukyusa by’emabega, naye osobola okusalawo kati okwongera okuwa bazadde bo ebiseera ebisingawo n’okubayamba. Oboolyawo osobola okwongera okubafaako mu by’omubiri ne mu by’omwoyo, era n’okufaayo ku nneewulira yaabwe. Bw’okola bw’otyo, oba ogondera ekiragiro ekiri mu Eby’Abaleevi 19:3.

13. (a) Kubuulirira ki okulala okuli mu Eby’Abaleevi 19:3? (b) Nga bwe kiragibwa mu Lukka 4:16-18, tuyinza tutya okukoppa Yesu?

13 Waliwo ekintu ekirala kye tuyiga mu Eby’Abaleevi 19:3 ekikwata ku kuba abatukuvu. Olunyiriri olwo lwogera ne ku kukwata Ssabbiiti. Abakristaayo tetuli wansi w’Amateeka ga Musa; n’olwekyo tetukwata ssabbiiti eya buli wiiki. Wadde kiri kityo, waliwo bingi bye tuyigira ku ngeri Abayisirayiri gye baakwatangamu Ssabbiiti, n’engeri gye tuyinza okuganyulwamu. Ssabbiiti kyabanga kiseera kya kuwummula mirimu egya buli lunaku n’okussaayo omwoyo ku bintu eby’omwoyo. * Ne Yesu yagendanga mu kkuŋŋaaniro ly’omu kabuga k’ewaabwe ku Ssabbiiti n’asoma Ekigambo kya Katonda. (Kuv. 31:12-15; soma Lukka 4:16-18.) Ekiragiro Katonda kye yawa ekikwata ku kukwata Ssabbiiti ekiri mu Eby’Abaleevi 19:3 kyandituleetedde okufissangawo ebiseera buli lunaku ne twenyigira mu bintu eby’omwoyo. Waliwo we weetaaga okulongoosaamu mu nsonga eno? Bw’ofissaawo ebiseera ne weenyigira mu bintu eby’omwoyo obutayosa, ojja kufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, era ekyo kijja kukusobozesa okuba omutukuvu.

NYWEZA ENKOLAGANA YO NE YAKUWA

14. Kintu ki ekikulu ekyogerwako enfunda n’enfunda mu Eby’Abaleevi 19?

14 Enfunda n’enfunda, Eby’Abaleevi essuula 19 eyogera ku kintu ekikulu ekisobola okutuyamba okusigala nga tuli batukuvu. Ebigambo ebisembayo mu lunyiriri 4 bigamba nti: “Nze Yakuwa Katonda wammwe.” Ebigambo ebyo oba ebirala ebibifaanana bisangibwa emirundi 16 mu ssuula eyo. Ekyo kituleetera okulowooza ku tteeka erisooka erigamba nti: “Nze Yakuwa Katonda wo . . . Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze.” (Kuv. 20:2, 3) Buli Mukristaayo ayagala okuba omutukuvu alina okukakasa nti tewali muntu yenna oba kintu kyonna ky’atwala nti kikulu okusinga enkolagana ye ne Katonda we. Ate era olw’okuba tuyitibwa erinnya lya Yakuwa, tuli bamalirivu obutakola kintu kyonna kiyinza kuleeta kivume ku linnya lya Katonda ettukuvu.​—Leev. 19:12; Is. 57:15.

15. Ebyo bye tusoma mu nnyiriri eziri mu Eby’Abaleevi essuula 19 ezoogera ku kuwaayo ssaddaaka byandituleetedde kukola ki?

15 Abayisirayiri baakiraganga nti Yakuwa ye Katonda waabwe nga bakwata amateeka ge. Eby’Abaleevi 18:4 wagamba nti: “Mugobererenga ebiragiro byange era mukwatenga amateeka gange era mugatambulirengamu. Nze Yakuwa Katonda wammwe.” Essuula 19 eraga agamu ku ‘mateeka’ Abayisirayiri ge baalina okukwata. Ng’ekyokulabirako, olunyiriri 5-8, 21, 22 zoogera ku mateeka agakwata ku ssaddaaka z’ensolo. Ssaddaaka ezo zaalina okuweebwangayo mu ngeri ‘etajolonga kintu kya Yakuwa ekitukuvu.’ Okusoma ennyiriri ezo kyandituleetedde okwagala okusanyusa Yakuwa n’okuwaayo gy’ali ssaddaaka ey’okutendereza ekkirizibwa, nga bwe tukubirizibwa mu Abebbulaniya 13:15.

16. Musingi ki oguli mu Eby’Abaleevi essuula 19 ogutuyamba okukijjukira nti walina okubaawo enjawulo wakati w’abo abaweereza Katonda n’abo abatamuweereza?

16 Okusobola okuba abatukuvu, tulina okuba abeetegefu okuba ab’enjawulo ku balala. Ekyo kiyinza obutaba kyangu. Oluusi bayizi bannaffe, bakozi bannaffe, ab’eŋŋanda zaffe abatali baweereza ba Yakuwa, oba abalala, bayinza okugezaako okutulemesa okusinza Yakuwa mu ngeri gy’ayagala tumusinzeemu. Ekyo bwe kibaawo, tuba tulina ekintu ekikulu eky’okusalawo. Kiki ekiyinza okutuyamba okusalawo obulungi? Lowooza ku musingi guno oguli mu Eby’Abaleevi 19:19, awagamba nti: “Temwambalanga byambalo ebirukiddwa mu wuzi ez’ebika ebibiri eby’enjawulo.” Etteeka eryo lyayambako mu kwawula Abayisirayiri ku mawanga agaali gabeetoolodde. Leero si kikyamu okwambala olugoye olukoleddwa mu wuzi ez’ebika eby’enjawulo, gamba ng’eza ppamba, eza nayiloni, ez’ebyoya by’endiga, n’ez’ebintu ebirala. Naye twewala okweyisa ng’abantu abakola ebintu ebikontana n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza, ka kibe nti abantu abo bayizi bannaffe, bakozi bannaffe, oba ba ŋŋanda zaffe. Kya lwatu nti twagala nnyo ab’eŋŋanda zaffe, era tulaga n’abantu abalala okwagala. Kyokka ebyo bye tusalawo mu bulamu biraga nti tugondera Yakuwa, ka kibe nti ekyo kitwawula ku bantu abalala ababa batwetoolodde. Ekyo kikulu nnyo kubanga bwe tuba nga twagala okuba abatukuvu, tulina okuba nga twawuddwawo okuba aba Katonda.​—2 Kol. 6:14-16; 1 Peet. 4:3, 4.

Kiki abantu ba Katonda kye bayinza okuba nga baayiga mu ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:23-25, era kiki ky’oyiga mu nnyiriri ezo? (Laba akatundu 17-18) *

17-18. Biki bye tuyiga mu Eby’Abaleevi 19:23-25?

17 Ebigambo “nze Yakuwa Katonda wammwe” byandibadde bijjukiza Abayisirayiri nti enkolagana yaabwe ne Yakuwa kye kintu kye baalina okutwala nti kye kisinga obukulu mu bulamu bwabwe. Ekyo baalina kukikola batya? Eby’Abaleevi 19:23-25 walaga engeri emu gye baali bayinza okukikolamu. (Soma.) Lowooza ku ngeri Abayisirayiri gye baalina okukolera ku bigambo ebyo nga bayingidde mu Nsi Ensuubize. Omuntu bwe yasimbanga emiti egy’ebibala, teyalinanga kulya ku bibala bya miti egyo okumala emyaka esatu. Mu mwaka ogw’okuna, ebibala ebyo byalinga bya mu kifo kya Yakuwa ekitukuvu. Mu mwaka ogw’okutaano nnannyini miti lwe yalinanga okutandika okulya ku bibala byagyo. Etteeka eryo lyayamba Abayisirayiri okukimanya nti tebaalina kukulembeza byabwe. Yakuwa yali ayagala bamwesige nti yali ajja kubalabirira, era yali ayagala bakulembeze eky’okumusinza. Bwe bandikoze bwe batyo, Yakuwa yandikakasizza nti baba n’eby’okulya ebibamala. Ate era Yakuwa yabakubiriza okuwangayo ebintu mu kifo ekitukuvu gye baali bamusinziza.

18 Ebyo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:23-25 bitujjukiza ebigambo Yesu bye yayogera mu kuyigiriza kwe okw’oku lusozi. Yagamba nti: “Mulekere awo okweraliikirira . . . nti munaalya ki oba nti munaanywa ki.” Ate era yagattako nti: “Kitammwe ali mu ggulu amanyi nti ebintu ebyo byonna mubyetaaga.” Naffe Katonda ajja kutulabirira nga bw’alabirira ebinyonyi. (Mat. 6:25, 26, 32) Twesiga Yakuwa nti ajja kutuwa bye twetaaga. Era tufuba okuyamba abo ababa mu bwetaavu. Ate era tubaako kye tuwaayo okuyambako ku nsaasaanya y’ekibiina. Bwe tukola ebintu ebyo Yakuwa atulaba era ajja kutuwa emikisa. (Mat. 6:2-4) Bwe tuba abagabi tuba tulaga nti tutegeera eby’okuyiga ebiri mu Eby’Abaleevi 19:23-25.

19. Oganyuddwa otya mu ebyo bye twekenneenyeza mu zimu ku nnyiriri eziri mu Eby’Abaleevi?

19 Tulabyeyo ebintu bitonotono bye tuyiga mu Eby’Abaleevi essuula 19, ne tumanya engeri gye tuyinza okuba nga Katonda waffe omutukuvu. Tumukoppa nga tufuba ‘okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe yonna.’ (1 Peet. 1:15) Bangi abatasinza Yakuwa balabye enneeyisa yaffe eyo ennungi. Mu butuufu kiviiriddeko abamu okugulumiza Yakuwa. (1 Peet. 2:12) Naye waliwo ebirala bingi bye tusobola okuyiga mu Eby’Abaleevi essuula 19. Ekitundu ekiddako kijja kwogera ku nnyiriri endala mu ssuula eyo, era kijja kutuyamba okumanya embeera ezitali zimu mu bulamu bwaffe mwe tuyinza ‘okuba abatukuvu’ nga Peetero bye yatukubiriza.

OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”

^ lup. 5 Twagala nnyo Yakuwa era twagala okukola ebimusanyusa. Yakuwa mutukuvu, era asuubira n’abaweereza be okuba abatukuvu. Ddala abantu abatatuukiridde basobola okuba abatukuvu? Yee. Bwe twetegereza okubuulirira omutume Peetero kwe yawa Bakristaayo banne, era n’ebyo Yakuwa bye yalagira eggwanga lya Isirayiri ery’edda, kijja kutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okuba abatukuvu mu nneeyisa yaffe yonna.

^ lup. 13 Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku Ssabbiiti n’ebyo bye tugiyigirako, laba ekitundu, “Waliwo Ekiseera eky’Okukola n’Eky’Okuwummula” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 2019.

^ lup. 57 EBIFAANANYI: Omutabani ng’awaddeyo ebiseera okubeerako awamu ne bazadde be, azze ne mukyala we n’omwana we okubalabako, ate era afuba okuwuliziganya nabo.

^ lup. 59 EBIFAANANYI: Omuyisirayiri ng’atunuulira ebimu ku bibala by’emiti gye yasimba.