Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu mwaka guno? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Yakobo 5:11 watukakasa ki bwe wagamba nti Yakuwa alina “okwagala kungi era musaasizi”?

Tukimanyi nti olw’okuba Yakuwa musaasizi, mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe. Yakobo 5:11 watukakasa nti atwagala nnyo era mwetegefu okutuyamba. Tusaanidde okumukoppa.​—w21.01, lup. 21.

Lwaki Yakuwa yassaawo enteekateeka y’obukulembeze?

Ekyo yakikola olw’okuba atwagala. Enteekateeka eyo eyamba abaweereza be okuba mu mirembe, era n’okukola ebintu mu ngeri entegeke obulungi. Buli maka agagoberera enteekateeka eyo gamanyi oyo alina obuvunaanyizibwa okusalawo eky’enkomeredde mu maka, era n’okulaba nti ekyo ekisaliddwawo kissibwa mu nkola.​—w21.02, lup. 3.

Lwaki Abakristaayo basaanidde okwegendereza ennyo nga baliko obubaka bwe baweereza abalala oba bwe bafuna okuva eri abalala?

Omuntu bw’asalawo okuweereza obubaka oba okubufuna okuva eri abalala, asaanidde okwegendereza ennyo abo b’akolagana nabo. Ekyo tekiba kyangu bw’oba n’abantu bangi abakuweereza obubaka era nga naawe obaweereza. (1 Tim. 5:13) Ate era oyinza okwesanga ng’oweerezza abalala ebintu ebitannakakasibwa obanga bituufu oba okwogera ku nsonga ezikwata ku bya bizineesi ku mukutu kwe twandibadde tukolera ebintu eby’omwoyo.​—w21.03, lup. 31.

Ezimu ku nsonga lwaki Katonda yaleka Yesu okubonaabona era n’okufa ze ziruwa?

Emu ku nsonga eri nti Yesu okuwanikibwa ku muti kyasobozesa Abayudaaya okusumululwa okuva mu kikolimo. (Bag. 3:10, 13) Ensonga ey’okubiri eri nti Yakuwa yali amutendeka asobole okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe nga Kabona Asinga Obukulu. N’ensonga ey’okusatu eri nti Yesu okusigala nga mwesigwa okutuukira ddala okufa, kyalaga nti abantu basobola okusigala nga beesigwa eri Yakuwa wadde nga boolekagana n’ebigezo eby’amaanyi. (Yob. 1:9-11)​—w21.04, lup. 16-17.

Kiki ky’oyinza okukola bwe kiba nti mu kitundu ky’obuuliramu abantu totera kubasanga waka?

Osobola okugezaako okubuulira mu biseera ebirala we bayinza okubeerera awaka. Ate era osobola okugezaako okubuulira mu kitundu ekirala. Era osobola n’okugezaako enkola endala ez’okubuulira, gamba ng’okuwandiika amabaluwa.​—w21.05, lup. 15-16.

Kiki omutume Pawulo kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “Okuyitira mu mateeka nnafa eri amateeka”? (Bag. 2:19)

Amateeka ga Musa gaalaga nti abantu tebatuukiridde, era gaakulembera Abayisirayiri okubatuusa ku Kristo. (Bag. 3:19, 24) Ekyo kyayamba Pawulo okukkiriza Kristo. Mu kukola bw’atyo, Pawulo ‘yafa eri amateeka’; yali takyali wansi waago.​—w21.06, lup. 31.

Yakuwa atuteereddewo atya ekyokulabirako ekirungi mu kuba abagumiikiriza?

Yakuwa agumiikirizza ekivume ekireeteddwa ku linnya lye, okuwakanya obufuzi bwe, obujeemu bw’abamu ku baana be, obulimba bwa Sitaani, okubonaabona kw’abaweereza be, okufa kw’abamu ku baweereza be abeesigwa, okubonaabona kw’abantu, era n’okwonoonebwa kw’obutonde.​—w21.07, lup. 9-12.

Yusufu yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kuba abagumiikiriza?

Yagumiikiriza baganda be bwe baamuyisa mu ngeri etaali ya bwenkanya. Ekyo kyamuleetera okuwaayirizibwa era n’okusibibwa mu kkomera e Misiri okumala emyaka mingi.​—w21.08, lup. 12.

Kaggayi 2:6-9, 20-22 woogera ku kukankanyizibwa ki okw’akabonero?

Okutwalira awamu, amawanga tegakkiriza mawulire malungi ag’Obwakabaka, naye abantu bangi bakkirizza amazima. Mu kiseera ekitali kya wala, amawanga gajja kukankanyizibwa nga gazikirizibwa.​—w21.09, lup. 15-19.

Lwaki tetusaanidde kulekera awo kubuulira mawulire malungi?

Yakuwa alaba okufuba kwaffe era asanyuka nnyo. Bwe tutaggwaamu maanyi, tujja kufuna obulamu obutaggwaawo.​—w21.10, lup. 25-26.

Eby’Abaleevi essuula 19 eyinza etya okutuyamba okukolera ku kubuulirira okugamba nti: “Mubeerenga batukuvu mu nneeyisa yammwe yonna”? (1 Peet. 1:15)

Olunyiriri olwo luyinza okuba nga lujuliza ebigambo ebiri mu Eby’Abaleevi 19:2. Essuula 19 erimu ebyokulabirako bingi ebiraga engeri gye tuyinza okukolera ku kubuulirira okuli mu 1 Peetero 1:15 mu bulamu bwaffe obwa bulijjo.​—w21.12, lup. 3-4.