EKITUNDU EKY’OKUSOMA 50
Wuliriza Eddoboozi ly’Omusumba Omulungi
“Zijja kuwulira eddoboozi lyange.”—YOK. 10:16.
OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe
OMULAMWA *
1. Lwaki Yesu yageraageranya abagoberezi be ku ndiga?
YESU yageraageranya enkolagana eriwo wakati we n’abagoberezi be ku nkolagana ey’oku lusegere ebaawo wakati w’omusumba n’endiga ze. (Yok. 10:14) Ekyo kituukirawo. Endiga ziba zimanyi omusumba waazo, era ziwuliriza eddoboozi lye. Omulambuzi omu ekyo yakiraba. Yagamba nti: “Waliwo endiga ze twagezaako okuyita zitusemberere tusobole okuzikuba ebifaananyi. Naye tezaatusemberera kubanga zaali tezimanyi ddoboozi lyaffe. Kyokka omulenzi eyali azirunda bwe yajja, yaziyita omulundi gumu gwokka zonna ne zimugoberera.”
2-3. (a) Abagoberezi ba Yesu bayinza batya okulaga nti bawuliriza eddoboozi lye? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino n’ekiddako?
2 Omulambuzi oyo bye yayogera bitujjukiza ebigambo Yesu bye yayogera ku ndiga ze, oba ku bayigirizwa be. Yagamba nti: “Zijja kuwulira eddoboozi lyange.” (Yok. 10:16) Naye Yesu ali mu ggulu; kati olwo abagoberezi be bawuliriza batya eddoboozi lye? Engeri enkulu gye tulagamu nti tuwuliriza eddoboozi lya Mukama waffe, kwe kukolera ku ebyo bye yayigiriza.—Mat. 7:24, 25.
3 Mu kitundu kino n’ekiddako, tujja kulaba ezimu ku njigiriza za Yesu. Nga bwe tugenda okulaba, Yesu yatuyigiriza nti waliwo ebintu ebimu bye tulina okulekera awo okukola, ne bye tulina okukola. Ka tusooke tulabe ebintu bibiri omusumba omulungi bye yatulagira okulekera awo okukola.
“MULEKERE AWO OKWERALIIKIRIRA”
4. Okusinziira ku Lukka 12:29, kiki ekiyinza okutuleetera “okweraliikirira”?
4 Soma Lukka 12:29. Yesu yakubiriza abagoberezi be ‘okulekera awo okweraliikirira’ ku bikwata ku byetaago byabwe eby’omubiri. Tukimanyi nti bulijjo kya magezi okukolera ku kubuulirira okwo Yesu kwe yatuwa. Naye oluusi tuyinza okukisanga nga kizibu okukukolerako. Lwaki?
5. Lwaki abamu bayinza okweraliikirira ku bikwata ku byetaago byabwe eby’omubiri?
5 Abamu bayinza okweraliikirira ebikwata ku byetaago byabwe eby’omubiri, gamba ng’emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Bayinza okuba nga babeera mu nsi etali bulungi mu bya nfuna. Era kiyinza okuba nga kibazibuwalira okufuna ssente ezimala okulabirira ab’omu maka gaabwe. Oba eyali alabirira amaka ayinza okuba nga yafa, era nga kati ab’omu maka ago tebasobola kwetuusaako byetaago byabwe eby’omubiri. Ekirwadde kya COVID-19 kiyinza okuba nga kiviiriddeko abamu okufiirwa emirimu gyabwe. (Mub. 9:11) Bwe tuba nga twolekagana n’ekimu ku bizibu ebyo oba ebirala, tuyinza tutya okukolera ku kubuulirira kwa Yesu ne tulekera awo okweraliikirira?
6. Nnyonnyola ekyatuuka ku mutume Peetero.
6 Lumu omutume Peetero n’abatume abalala bwe baali mu lyato ku Nnyanja y’e Ggaliraaya ng’omuyaga gukunta, baalaba Yesu ng’atambulira ku mazzi. Peetero yagamba Yesu nti: “Mukama waffe, bw’oba nga ye ggwe ndagira ntambulire ku mazzi nzije gy’oli.” Yesu bwe yamuyita okugenda gy’ali, Peetero yava mu lyato ‘n’atambulira ku mazzi okugenda eri Yesu.’ Naye weetegereze ekyaddirira. “Bwe yatunuulira omuyaga n’atya, n’atandika okubbira, era n’aleekaana nti: ‘Mukama wange, nnyamba!’” Yesu yagolola omukono gwe n’amukwata, n’amuwonya okubbira. Weetegereze nti Peetero yasobola okutambulira ku nnyanja eyali efuukuuse, bwe yakuumira Mat. 14:24-31.
amaaso ge ku Yesu. Naye bwe yajja amaaso ge ku Yesu n’atandika okutunuulira omuyaga, yafuna okutya okw’amaanyi n’okubuusabuusa, n’atandika okubbira.—7. Kiki kye tuyigira ku ekyo ekyatuuka ku Peetero?
7 Waliwo bye tusobola okuyigira ku Peetero. Peetero bwe yava mu lyato n’atandika okutambulira ku mazzi, yali tasuubira nti ayinza okuwugulibwa n’okubbira. Yalina ekiruubirirwa eky’okutambulira ku mazzi atuuke awaali Yesu. Naye yawugulibwa n’alemererwa okutuuka ku kiruubirirwa kye. Kyo kituufu nti tetusobola kutambulira ku mazzi, naye ffenna tulina ebigezesa okukkiriza kwaffe. Bwe tuggya ebirowoozo byaffe ku Yakuwa ne ku bisuubizo bye, okukkiriza kwaffe kuyinza okunafuwa ne tutandika okubbira mu by’omwoyo. Ka tube nga twolekagana na bizibu ki, tulina okukuumira ebirowoozo byaffe ku Yakuwa, era n’okweyongera okuba abakakafu nti ajja kutuyamba. Ekyo tuyinza kukikola tutya?
8. Kiki ekisobola okutuyamba obuteeraliikirira nnyo ku bikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri?
8 Mu kifo ky’okweraliikirira olw’ebizibu bye twolekagana nabyo, tusaanidde okwesiga Yakuwa. Kijjukire nti Yakuwa Kitaffe atwagala nnyo, era atukakasa nti bwe tukulembeza eby’omwoyo, ajja kukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. (Mat. 6:32, 33) Bulijjo abaddenga alabirira abaweereza be. (Ma. 8:4, 15, 16; Zab. 37:25) Bwe kiba nti Yakuwa alabirira ebinyonyi n’ebimuli, tetusaanidde kweraliikirira bikwata ku kye tunaalya, oba kye tunaayambala. (Mat. 6:26-30; Baf. 4:6, 7) Ng’okwagala bwe kuleetera abazadde okulabirira abaana baabwe, okwagala kuleetera Kitaffe ow’omu ggulu okukola ku byetaago by’abantu be eby’omubiri. Tusaanidde okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira.
9. Kiki ky’oyigidde ku byaliwo mu bulamu bw’ow’oluganda omu ne mukyala we?
9 Lowooza ku kyokulabirako kino ekiraga engeri Yakuwa gy’asobola okukola ku byetaago byaffe eby’omubiri. Ow’oluganda omu ne mukyala we abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, baavuga emmotoka yaabwe eyali enkadde olugendo lwa ssaawa ezisukka mu emu okunona bannyinaffe abaali babeera mu nkambi y’abanoonyi b’obubudamu babatwale mu nkuŋŋaana. Ow’oluganda agamba nti: “Olukuŋŋaana bwe lwaggwa, twayita bannyinaffe abo mu maka gaffe tuliireko wamu nabo. Naye oluvannyuma twajjukira nti twali tetulinaawo mmere yonna.” Kiki kye baakola? Ow’oluganda agamba nti: “Bwe twatuuka awaka, twasanga ebitereke by’emmere bibiri ku mulyango gw’ennyumba yaffe. Tetwamanya yatuleetera mmere eyo. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yatulabirira.” Oluvannyuma lw’ekiseera emmotoka yaabwe yayonooneka, ate nga baali bagyetaaga nnyo mu buweereza. Kyokka tebaalina ssente za kugikanika. Bwe baatwala emmotoka ku galagi okumanya ssente ezaali zeetaagisa okugikanika, waliwo omusajja eyajja n’abuuza nti: “Emmotoka eno y’ani?” Ow’oluganda yamuddamu nti yali yiye era nti yali yeetaaga kukanikibwa. Omusajja oyo yamuddamu nti: “Ekyo tekirina buzibu. Mukyala wange ayagala emmotoka ng’eno yennyini era ng’eri mu langi eno. Ngikuweemu ssente mmeka?” Ow’oluganda yafuna ssente ezaali zimumala okugula emmotoka endala. Oluvannyuma yagamba nti: “Twawulira essanyu eritagambika ku lunaku olwo. Twakimanya nti ekyo tekyajjawo buzzi. Yakuwa ye yatuyamba.”
10. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:5 bituyamba bitya obuteeraliikirira ku bikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri?
10 Bwe tuwuliriza omusumba omulungi era Zabbuli 37:5; 1 Peet. 5:7) Lowooza ku mbeera ezoogeddwaako mu katundu 5. Yakuwa ayinza okuba ng’abadde akozesa omutwe gw’amaka oba omuntu omulala okukola ku byetaago byaffe ebya buli lunaku. Naye omutwe gw’amaka bw’aba nga takyasobola kutulabirira, oba nga twafiirwa omulimu gwaffe, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira mu ngeri endala. Kati ka tulabe ekintu ekirala omusumba omulungi ky’atugamba okulekera awo okukola.
ne tulekera awo okweraliikirira ekisukkiridde ku bikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutulabirira. (Soma“MULEKERE AWO OKUSALIRA ABALALA OMUSANGO”
11. Okusinziira ku Matayo 7:1, 2, kiki Yesu kye yatugamba okulekera awo okukola, era lwaki ekyo kiyinza okutubeerera ekizibu?
11 Soma Matayo 7:1, 2. Yesu yali akimanyi nti abantu abatatuukiridde batera okunoonya ensobi mu balala. Eyo ye nsonga lwaki yagamba nti: “Mulekere awo okusalira abalala omusango.” Tuyinza okuba nga tufuba obutasalira bakkiriza bannaffe musango. Naye ffenna tetutuukiridde. Bwe twesanga ng’oluusi tunoonya ensobi mu balala, kiki kye tusaanidde okukola? Tusaanidde okuwuliriza Yesu, ne tulekera awo okusalira abalala omusango.
12-13. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yatwalamu Kabaka Dawudi kiyinza kitya okutuyamba okulekera awo okusalira abalala omusango?
12 Tusobola okuganyulwa bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako Yakuwa ky’assaawo. Yakuwa abantu abanoonyaamu birungi. Ekyo tukirabira ku ngeri gye yakolaganamu ne Kabaka Dawudi, omusajja eyakola ebibi eby’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, yayenda ku Basu-seba, era n’akola olukwe omwami wa Basu-seba n’attibwa. (2 Sam. 11:2-4, 14, 15, 24) Ekyo Dawudi kye yakola tekyakosa ye yekka, wabula kyakosa n’ab’omu maka ge nga mw’otwalidde ne bakazi be. (2 Sam. 12:10, 11) Ku mulundi omulala, Dawudi yalemererwa okukiraga nti yali yeesigira ddala Yakuwa bwe yalagira nti abasajja abaali mu ggye lya Isirayiri babalibwe, ng’ate Yakuwa yali tamugambye kubabala. Ekyo ayinza okuba nga yakikola olw’okuba yafuna amalala, era olw’okuba yali yeesiga eggye lye eryali eddene. Kiki ekyavaamu? Yakuwa yaleeta ekirwadde ekyatta Abayisirayiri 70,000.—2 Sam. 24:1-4, 10-15.
13 Singa wali obeera mu Isirayiri mu kiseera ekyo, Dawudi wandimututte otya? Wandikitutte nti Yakuwa yali tasaana kumusonyiwa? Yakuwa teyamutwala bw’atyo. Yatunuulira ebirungi byonna Dawudi bye yali akoze, era n’eky’okuba nti Dawudi yeenenya mu bwesimbu. Eyo ye nsonga lwaki Yakuwa yasonyiwa Dawudi ebibi eby’amaanyi bye yakola. Yakuwa yali akimanyi nti Dawudi amwagala nnyo era nti ayagala okukola ebirungi. Tekikusanyusa nnyo okukimanya nti Katonda waffe atunoonyaamu ebirungi?—1 Bassek. 9:4; 1 Byom. 29:10, 17.
14. Kiki ekisobola okutuyamba obutasalira balala musango?
14 Olw’okuba Yakuwa asonyiwa abantu abatatuukiridde era n’abanoonyaamu ebirungi, naffe tusaanidde okusonyiwa abalala n’okubanoonyaamu ebirungi. Oluusi kiba kyangu okulaba ensobi abalala ze bakola era ne tubasalira omusango. Kyokka omuntu ow’eby’omwoyo asobola okulaba ensobi abalala ze bakola naye era n’akolagana bulungi nabo. Ejjinja ery’omuwendo eritawawuddwa liyinza obutalabika bulungi kungulu, naye omuntu amanyi nti lya muwendo aba akimanyi nti bwe liwawulwa lijja kulabika bulungi nnyo. Okufaananako Yakuwa ne Yesu, tetusaanidde kumalira birowoozo byaffe ku butali butuukirivu bw’abalala oba
ensobi zaabwe wabula tusaanidde okutunuulira engeri zaabwe ennungi.15. Bwe tulowooza ku mbeera abalala gye bayitamu, kiyinza kitya okutuyamba obutabasalira musango?
15 Ng’oggyeeko okutunuulira engeri z’abalala ennungi, kiki ekirala ekisobola okutuyamba obutasalira balala musango? Gezaako okulowooza ku ebyo bye bayitamu mu bulamu. Lowooza ku kyokulabirako kino. Lumu Yesu bwe yali mu yeekaalu, yalaba nnamwandu omwavu ng’asuula obusente bubiri obw’omuwendo omutono mu kasanduuko akaali kasuulibwamu ssente. Teyagamba nti: “Lwaki asuddemu obusente obwo bwokka?” Mu kifo ky’okussa ebirowoozo ku muwendo gwa ssente nnamwandu oyo ze yali awaddeyo, yabissa ku kigendererwa nnamwandu oyo kye yalina n’embeera gye yalimu, era n’amutendereza olw’okukola ekyo kye yali asobodde.—Luk. 21:1-4.
16. Kiki kye tuyigira ku kyokulabirako kya Veronica?
16 Ekyokulabirako kya mwannyinaffe ayitibwa Veronica kisobola okutuyamba okumanya ensonga lwaki kikulu okulowooza ku mbeera abalala gye bayitamu. Mu kibiina mwannyinaffe Veronica mwe yali, mwalimu mwannyinaffe eyali obwannamunigina ne mutabani we. Veronica yagamba nti: “Bandabikira ng’abaali bateenyigira mu bujjuvu mu nteekateeka z’ekibiina. Ekyo kyandeetera okubatwala ng’abaali batafaayo nnyo ku bintu eby’omwoyo. Naye bwe nnabuulirako
ne muganda wange oyo, yambuulira obuzibu bwe yali ayitamu okulabirira mutabani we eyalina obulwadde bw’obwongo. Yali akola kyonna ky’asobola okukola ku byetaago byabwe eby’omubiri n’eby’omwoyo. Olw’obulwadde bwa mutabani we oyo, oluusi kyamwetaagisanga okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina ekirala.” Veronica yagamba nti: “Nnali simanyi nti ayita mu kusoomooza okw’amaanyi. Kati njagala nnyo muganda wange oyo, era mmuwa ekitiibwa olw’ebyo by’akola mu buweereza bwe eri Yakuwa.”17. Yakobo 2:8 watukubiriza kukola ki era ekyo tuyinza kukikola tutya?
17 Kiki kye tusaanidde okukola bwe tukitegeera nti waliwo mukkiriza munnaffe gwe twasalira omusango? Tusaanidde okukijjukira nti tulina okwagala bakkiriza bannaffe. (Soma Yakobo 2:8.) Ate era tusaanidde okusaba Yakuwa atuyambe okulekera awo okusalira abalala omusango. Tusaanidde okukolera ku kusaba kwaffe nga tunyumyako n’oyo gwe tubadde tulinako endowooza enkyamu. Ekyo kisobola okutuyamba okwongera okumumanya. Tusobola okumusaba okukolako naffe mu buweereza, oba okuliirako awamu naffe. Nga bwe tweyongera okumanya muganda waffe oyo, tusaanidde okukoppa Yakuwa ne Yesu nga tumunoonyamu ebirungi. Bwe tukola tutyo, tuba tukiraga nti tuwuliriza eddoboozi ly’omusumba omulungi eyatugamba okulekera awo okusalira abalala omusango.
18. Tuyinza tutya okulaga nti tuwuliriza eddoboozi ly’omusumba omulungi?
18 Ng’endiga bwe ziwuliriza eddoboozi ly’omusumba waazo, abagoberezi ba Yesu bawuliriza eddoboozi lye. Bwe tufuba okulekera awo okweraliikirira ku bikwata ku byetaago byaffe eby’omubiri, era n’okulekera awo okusalira abalala omusango, Yakuwa ne Yesu bajja kutuwa emikisa. Ka tube nga tuli ba ‘kisibo kitono’ oba ‘ab’endiga endala,’ ka tweyongere okuwuliriza eddoboozi ly’omusumba omulungi. (Luk. 12:32; Yok. 10:11, 14, 16) Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ebintu bibiri Yesu bye yagamba abagoberezi be okukola.
OLUYIMBA 101 Okukolera Awamu nga Tuli Bumu
^ lup. 5 Yesu bwe yagamba nti endiga ze zandiwulirizza eddoboozi lye, yali ategeeza nti abayigirizwa be bandiwulirizza enjigiriza ze era ne bazikolerako mu bulamu bwabwe. Mu kitundu kino tugenda kulaba enjigiriza za Yesu bbiri, kwe kugamba, okulekera awo okweraliikirira eby’obulamu, n’okulekera awo okusalira abalala omusango. Ate era tugenda kulaba engeri gye tuyinza okukolera ku ebyo bye yayigiriza.
^ lup. 51 EBIFAANANYI: Ow’oluganda afiiriddwa omulimu gwe talina ssente zimala kulabirira ba mu maka ge, era yeetaaga okufuna ennyumba endala aw’okusula. Bw’ateegendereza, ayinza okweraliikirira ekisukkiridde n’alemererwa okukulembeza obuweereza bwe eri Yakuwa.
^ lup. 53 EBIFAANANYI: Ow’oluganda atuuse kikeerezi mu nkuŋŋaana. Naye ayoleka engeri ennungi ng’abuulira mbagirawo, ng’ayamba nnamukadde, era nga yeenyigira mu kuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka.