Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oli Mwetegefu ‘Okusikira Ensi’?

Oli Mwetegefu ‘Okusikira Ensi’?

YESU yagamba nti: “Balina essanyu abateefu, kubanga balisikira ensi.” (Mat. 5:5) Ffenna twesunga ekiseera ekisuubizo ekyo lwe kirituukirira. Abaafukibwako amafuta bajja kusikira ensi nga bafugira wamu ne Yesu nga bakabaka mu ggulu. (Kub. 5:10; 20:6) Abakristaayo ab’amazima abasinga obungi beesunga okusikira ensi bagibeereko emirembe gyonna nga batuukiridde, nga bali mu mirembe, era nga basanyufu. Ekyo okusobola okukituukako, bajja kuba n’emirimu mingi egy’okukola. Ng’ekyokulabirako, bajja kuyambako mu kufuula ensi olusuku lwa Katonda, okufunira abo abanaaba bazuukiziddwa bye banaaba beetaaga, era n’okubayigiriza. Kati ka tulabe ebintu bye tusobola okukola kati okulaga nti naffe twagala okukola ebintu ebyo mu nsi empya.

OLI MWETEGEFU OKUFUULA ENSI OLUSUKU LWA KATONDA?

Yakuwa bwe yagamba abantu ‘okujjuza ensi n’okuba n’obuyinza ku yo,’ yakiraga nti oluvannyuma ensi yonna yandifuuse olusuku lwa Katonda. (Lub. 1:28) Abo abanaabeera ku nsi emirembe gyonna, ekyo kye bajja okukola. Mu kusooka ensi tejja kuba lusuku lwa Katonda, kubanga olusuku Edeni terukyaliwo. Wajja kubaawo eby’okukola bingi nnyo okusobola okulongoosa ebifo kati ebyayonoonebwa.

Ekyo kitujjukiza emirimu Abayisirayiri gye baalina okukola nga bazzeeyo mu nsi yaabwe okuva e Babulooni. Ensi yaabwe yali tebeeramu bantu okumala emyaka 70. Naye nnabbi Isaaya yagamba nti Yakuwa yandibayambye ne baddamu okulongoosa ensi eyo. Yawandiika nti: “Eddungu lyakyo alirifuula nga Edeni n’ensenyi zaakyo alizifuula ng’olusuku lwa Yakuwa.” (Is. 51:3) Yakuwa yayamba Abayisirayiri ne baddamu okufuula ensi yaabwe ekifo ekirabika obulungi. N’abo abanaasikira ensi Yakuwa ajja kubayamba basobole okugifuula ekifo ekirabika obulungi ennyo. Ne mu kiseera kino osobola okukiraga nti oyagala okubeera omu ku abo abaneenyigira mu mulimu gw’okulongoosa ensi.

Engeri emu gy’oyinza okukikolamu kwe kukuuma w’obeera nga wayonjo era nga wategeke bulungi. Ekyo osobola okukikola ne bwe kiba nti baliraanwa bo tebafaayo ku buyonjo. Ate era osobola okuyambako mu kulongoosa n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka awamu n’ekizimbe ekituuza enkuŋŋaana ennene. Embeera zo bwe ziba nga zikusobozesa, osobola okujjuzaamu foomu ey’okuyambako mu kudduukirira abo bakoseddwa obutyabaga. Bw’okola bw’otyo, oba okiraga nti oli mwetegefu okuyambako bwe waba nga waliwo obwetaavu. Ate era oyinza okubaako emirimu gy’ofunamu obumanyirivu bw’onookozesa ng’otuuse mu nsi empya.

OLI MWETEGEFU OKULABIRIRA ABO ABANAAZUUKIZIBWA?

Yesu bwe yali yaakamala okuzuukiza muwala wa Yayiro, yagamba bazadde be okufunira omuwala oyo eky’okulya. (Mak. 5:42, 43) Kiyinza okuba nga tekyali kizibu okulabirira omwana oyo eyali ow’emyaka 12. Naye teeberezaamu emirimu egijja okwetaagisa okukolebwa nga Yesu atuukirizza ekisuubizo kye ekigamba nti abo ‘bonna abali mu ntaana baliwulira eddoboozi lye ne bavaamu.’ (Yok. 5:28, 29) Wadde nga Bayibuli tetubuulira byonna ebinaabaawo, tusuubira nti abo abanaazuukizibwa bajja kwetaaga obuyambi okufuna emmere, aw’okusula, n’eby’okwambala. Ne mu kiseera kino osobola okukiraga nti oli mwetegefu okuyamba abalala. Mu ngeri ki? Oyinza okulowooza ku bibuuzo nga bino:

Biki by’osobola okukola kati, okukiraga nti oli mwetegefu okusikira ensi?

Ekirango bwe kiyisibwa nti omulabirizi w’ekitundu agenda kukyalira ekibiina kyammwe, oba mwetegefu okumusembeza ku ky’emisana? Oyo ali mu buweereza obw’ekiseera kyonna bw’ava ku Beseri n’asindikibwa mu mulimu gw’okubuulira oba ow’oluganda abadde akola ng’omulabirizi akyalira ebibiina bw’alekera awo obuweereza obwo, osobola okumuyambako okufuna aw’okubeera? Olukuŋŋaana olunene bwe luba nga lugenda kubeera mu kitundu kyo, osobola okuwaayo erinnya lyo okuweereza nga nnakyewa ng’olukuŋŋaana terunnabaawo oba nga luwedde, oba osobola okuba omwetegefu okwaniriza abagenyi?

OLI MWETEGEFU OKUYIGIRIZA ABO ABANAAZUUKIZIBWA?

Ebikolwa 24:15, walaga nti abantu buwumbi na buwumbi bajja kuzuukizibwa. Bangi ku bo bajja kubeera abo abataafuna kakisa kumanya Yakuwa. Bwe banaamala okuzuukizibwa, bajja kuweebwa akakisa ako. a Abaweereza ba Katonda abeesigwa be bajja okuba n’omulimu gw’okuyigiriza abantu abo. (Is. 11:9) Mwannyinaffe ayitibwa Charlotte, eyabuulirako mu Bulaaya, mu South America, ne mu Afirika, yeesunga nnyo ekiseera ekyo. Agamba nti: “Nneesunga okuyigiriza abantu abanaazuukizibwa. Bwe nsoma ebikwata ku muntu eyaliwo mu biseera eby’edda, oluusi ŋŋamba nti: ‘Singa omuntu ono yali amanyi Yakuwa, obulamu bwe bandibadde bwa njawulo nnyo.’ Nneesunga nnyo okubuulira abo abanaazuukizibwa ebikwata ku Yakuwa n’engeri obulamu bwabwe gye bandibaddemu obulungi singa baamuweereza.”

N’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi bajja kuba n’ebintu bingi eby’okuyiga. Lowooza ku ssanyu lye tunaafuna nga tunnyonnyola nnabbi Danyeri okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwe yawandiika naye n’atategeera makulu gaabwo. (Dan. 12:8) Oba lowooza ku ngeri gye tuliwuliramu nga tunnyonnyola Luusi ne Nawomi engeri bazzukulu baabwe gye baali mu lunyiriri omwava Masiya. Nga kijja kuba kiseera kya ssanyu nnyo nga tuyigiriza abantu mu nsi yonna, era nga tewali kintu kyonna kitutaataaganya, ng’ebyo ebiri mu nsi eno embi!

Oyinza otya okukiraga kati nti oli mwetegefu okwenyigira mu mulimu gw’okuyigiriza abo abanaazuukizibwa? Engeri emu gy’oyinza okukikolamu kwe kufuba okulongoosa mu ngeri gy’oyigirizaamu, era n’okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okuyigiriza ogugenda mu maaso mu nsi leero. (Mat. 24:14) Ne bwe kiba nti emyaka gyo oba embeera gy’olimu tekusobozesa kukola byonna bye wandyagadde kukola mu kiseera kino, bw’onoofuba, kijja kulaga nti oli mwetegefu okuyigiriza abo abanaazuukizibwa.

Ekibuuzo ekikulu buli omu ku ffe ky’asaanidde okwebuuza kiri nti, Ndi mwetegefu okusikira ensi? Weesunga okufuula ensi olusuku lwa Katonda, awamu n’okuyamba era n’okuyigiriza abo abanaazuukizibwa? Osobola okukiraga nti oli mwetegefu ng’okozesa buli kakisa k’ofuna kati okwenyigira mu mirimu egifaananako n’egyo gy’ojja okukola ng’otuuse mu nsi empya.

a Laba ekitundu, ‘Okuyamba Abangi Okutambulira mu Kkubo ery’Obutuukirivu’ mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ssebutemba 2022.