Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 50

“Oliba Nange mu Lusuku lwa Katonda”

“Oliba Nange mu Lusuku lwa Katonda”

“Mazima nkugamba leero nti, oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”​—LUK. 23:43.

OLUYIMBA 145 Ekisuubizo ky’Olusuku lwa Katonda

OMULAMWA a

1. Yesu bwe yali tannafa, kiki kye yagamba omumenyi w’amateeka eyali akomereddwa okumpi naye? (Lukka 23:39-43)

 YESU, awamu n’abamenyi b’amateeka ababiri abaali bakomereddwa okumpi naye, baali mu bulumi bwa maanyi nnyo. (Luk. 23:32, 33) Abamenyi b’amateeka abo bombi baasooka kwogera bubi ku Yesu, ekiraga nti tebaali bayigirizwa be. (Mat. 27:44; Mak. 15:32) Naye omu ku bo yakyusa endowooza ye. Yagamba Yesu nti: “Yesu, onzijukiranga ng’otuuse mu Bwakabaka bwo.” Yesu yamuddamu nti: “Mazima nkugamba leero nti, oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.” (Soma Lukka 23:39-43.) Tewali kiraga nti omumenyi w’amateeka oyo yali akkirizza obubaka obukwata ku ‘Bwakabaka obw’omu ggulu’ Yesu bwe yabuuliranga. Ate era ne Yesu teyagamba nti omusajja oyo yandibadde mu Bwakabaka bwa Katonda mu ggulu. (Mat. 4:17) Yesu yali ayogera ku Lusuku lwa Katonda olujja okubaawo mu biseera eby’omu maaso wano ku nsi. Lwaki tugamba bwe tutyo?

Biki bye tuyinza okwogera ku mumenyi w’amateeka eyayogera ne Yesu era ne ku ebyo bye yali amanyi? (Laba akatundu 2-3)

2. Biki ebiraga nti omumenyi w’amateeka eyeenenya yali Muyudaaya?

2 Kirabika omumenyi w’amateeka oyo eyeenenya yali Muyudaaya. Yagamba munne nti: “Totya Katonda n’akatono nga ate naawe oli ku kibonerezo kye kimu?” (Luk. 23:40) Abayudaaya baasinzanga Katonda omu, naye abantu ab’amawanga amalala baasinzanga bakatonda bangi. (Kuv. 20:2, 3; 1 Kol. 8:5, 6) Singa abamenyi b’amateeka abo baali ba mawanga malala, omumenyi w’amateeka eyeenenya yandibuuzizza munne nti, “Totya bakatonda n’akatono?” Ate era Yesu teyatumibwa eri abantu ab’amawanga, wabula yatumibwa eri “endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.” (Mat. 15:24) Katonda yali yategeeza Abayisirayiri nti yandizuukizizza abafu. Omumenyi w’amateeka eyeenenya ekyo ayinza okuba nga yali akimanyi, era ng’ebigambo bye bwe biraga, yali asuubira nti Yakuwa yandizuukizizza Yesu n’afuga mu Bwakabaka bwa Katonda. Ate era omusajja oyo ayinza okuba nga yali asuubira nti naye Katonda yandimuzuukizza.

3. Biki omumenyi w’amateeka by’ayinza okuba nga yalowoozaako, Yesu bwe yayogera ku Lusuku lwa Katonda? Nnyonnyola. (Olubereberye 2:15)

3 Olw’okuba yali Muyudaaya, omumenyi w’amateeka eyeenenya ayinza okuba nga yali amanyi ebikwata ku Adamu ne Kaawa era ne ku Lusuku Edeni Yakuwa mwe yabateeka. N’olwekyo, omumenyi w’amateeka oyo ayinza okuba nga yali akimanyi nti Olusuku lwa Katonda Yesu lwe yayogerako, lwandibadde wano ku nsi.​—Soma Olubereberye 2:15.

4. Ebigambo Yesu bye yagamba omu ku bamenyi b’amateeka bisaanidde kutuleetera kukola ki?

4 Ebigambo Yesu bye yagamba omumenyi w’amateeka bisaanidde okutuleetera okufumiitiriza ku ngeri obulamu gye bulibeeramu, mu Lusuku lwa Katonda. Ate era, bwe tulowooza ku bufuzi bwa Kabaka Sulemaani obwalimu emirembe, bulina kye butuyigiriza ku Lusuku lwa Katonda. Tuli bakakafu nti Yesu, oyo asinga Sulemaani, ajja kukolera wamu n’abo b’anaafuga nabo, okufuula ensi ekifo ekirabika obulungi ennyo era ekirimu emirembe. (Mat. 12:42) ‘Ab’endiga’ endala basaanidde okumanya ebyo bye balina okukola okusobola okubeera mu Lusuku lwa Katonda.​—Yok. 10:16.

OBULAMU BULIBA BUTYA MU LUSUKU LWA KATONDA?

5. Olowooza obulamu buliba butya mu nsi Empya?

5 Kiki ekikujjira mu birowoozo bw’ofumiitiriza ku ngeri obulamu gye bulibeeramu mu Lusuku lwa Katonda? Oboolyawo okuba akafaananyi ng’oli mu kifo ekirabika obulungi ennyo ng’Olusuku Edeni. (Lub. 2:7-9) Oyinza okujjukira ebigambo nnabbi Mikka bye yawandiika ebigamba nti: “Buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe.” (Mi. 4:3, 4) Ate era, oyinza okujjukira ebyawandiikibwa ebiraga nti wajja kubaawo emmere nnyingi nnyo mu nsi empya. (Zab. 72:16; Is. 65:21, 22) N’olwekyo, oyinza okukuba akafaananyi ng’oli mu kifo ekirabika obulungi ennyo, ng’olya emmere ewooma era nga n’empewo gy’ossa erimu obuwoowo bw’ebimuli obuwunya obulungi. Ate era oyinza okukuba akafaananyi ng’olaba ab’omu maka go ne mikwano gyo, nga mw’otwalidde n’abo abanaaba bazuukiziddwa, nga baseka era nga banyumirwa okubeerako awamu. Ebyo byonna si birooto bulooto. Eyo ye mbeera yennyini ejja okubeera ku nsi. Naye era mu nsi empya wajja kubaayo okukola emirimu egituleetera essanyu.

Tujja kuba n’omulimu omukulu ogw’okuyigiriza abo abanaazuukizibwa (Laba akatundu 6)

6. Kiki kye tunaakola mu nsi Empya? (Laba ekifaananyi.)

6 Yakuwa yatutonda nga tulina obusobozi bw’okunyumirwa emirimu gye tukola. (Mub. 2:24) Tujja kuba n’eby’okukola bingi nnyo mu kiseera ky’Obufuzi bwa Yesu obw’Emyaka Olukumi. Abo abanaawonawo ku kibonyoobonyo ekinene, awamu n’abalala bukadde na bukadde abanaazukizibwa, bajja kwetaaga eby’okwambala, emmere, n’aw’okusula. Okusobola okukola ku bw’etaavu obwo, kijja kutwetaagisa okukola ennyo. Nga Adamu ne Kaawa bwe baagambibwa okulima olusuku Edeni n’okululabirira, naffe tujja kuba n’enkizo ey’okufuula ensi Olusuku lwa Katonda. Ate era lowooza ku ssanyu lye tunaafuna nga tuyamba abantu bukadde na bukadde abanaazuukizibwa okumanya ebikwata ku Yakuwa n’ebigendererwa bye, era nga tuyamba n’abaweereza ba Yakuwa abaaliwo nga Yesu tannajja ku nsi, okumanya ebyaliwo nga bamaze okufa.

7. Tuli bakakafu ku ki era lwaki?

7 Tuli bakakafu nti obulamu mu nsi Empya bujja kubaamu emirembe, nga buli omu ali bulungi, era nga buli kimu kikolebwa mu ngeri entegeke obulungi. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga Yakuwa atulazeeko engeri obulamu gye bulibaamu ku nsi wansi w’obufuzi bw’Omwana we. Ekyo tukirabira ku ebyo bye tusoma ku bufuzi bwa Kabaka Sulemaani.

OBUFUZI BWA SULEMAANI BUTUYAMBA OKUMANYA ENGERI OBULAMU GYE BULIBAAMU MU NSI EMPYA

8. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:10, 11, 29 byatuukirira bitya oluvannyuma lwa Kabaka Dawudi okubiwandiika? (Laba ekitundu, “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekiri mu magazini eno.)

8 Kabaka Dawudi yaluŋŋamizibwa okuwandiika engeri obulamu gye bulibaamu ku nsi, nga Kabaka ow’amagezi era omwesigwa y’afuga. (Soma Zabbuli 37:10, 11, 29.) Tutera okusomera abantu Zabbuli 37:11, nga tubabuulira ebikwata ku Lusuku lwa Katonda olugenda okujja wano ku nsi mu biseera eby’omu maaso. Tuba batuufu okukola bwe tutyo, kubanga mu kuyigiriza kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yajuliza ebigambo ebiri mu lunyiriri olwo. Ekyo kiraga nti ebigambo ebyo byandituukiriziddwa ne mu biseera eby’omu maaso. (Mat. 5:5) Naye ebigambo bya Dawudi era byalaga engeri obulamu gye bwandibaddemu mu bufuzi bwa Kabaka Sulemaani. Sulemaani bwe yali nga y’afuga Isirayiri, abantu ba Katonda baali mu mirembe mingi nnyo mu nsi “ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.” Katonda yali yabagamba nti: “Bwe muneeyongera okutambulira mu mateeka gange . . . , nja kuleeta emirembe mu nsi, era mujja kugalamira awatali n’omu abatiisa.” (Leev. 20:24; 26:3, 6) Ekisuubizo ekyo kyatuukirira mu kiseera ky’obufuzi bwa Sulemaani. (1 Byom. 22:9; 29:26-28) Ate era Yakuwa yasuubiza nti abantu ababi “tebalibaawo.” (Zab. 37:10) N’olwekyo, ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:10, 11, 29 byatuukirira mu biseera eby’edda, naye era bijja kutuukirira ne mu biseera eby’omu maaso.

9. Kabaka omukazi owe Seba yayogera ki ku bufuzi bwa Kabaka Sulemaani?

9 Amawulire agakwata ku mirembe n’obulamu obulungi Abayisirayiri bwe baalimu mu bufuzi bwa Sulemaani gaatuuka ku Kabaka omukazi ow’e Seba. Kabaka oyo eyali ava mu nsi ey’ewala yatindigga olugendo n’agenda e Yerusaalemi okwerabirako ebyo bye yali awulira obuwulizi. (1 Bassek. 10:1) Bwe yamala okukakasa ebyo ebyali bimugambibwa, yagamba nti: “Tebambuulira byonna. . . . Abasajja bo beesiimye, n’abaweereza bo abayimirira mu maaso go bulijjo ne bawuliriza amagezi go nabo beesiimye!” (1 Bassek. 10:6-8) Naye embeera ennungi abantu gye baalimu mu bufuzi bwa Sulemaani, kwali kulozaako buloza ku ebyo Yakuwa by’ajja okukolera abantu wansi w’obufuzi bw’Omwana we Yesu.

10. Mu ngeri ki Yesu gy’asinga Sulemaani?

10 Yesu asinga Sulemaani mu bintu byonna. Sulemaani yali muntu atatuukiridde era yakola ensobi ez’amaanyi, ezaaviirako abantu ba Katonda okubonaabona. Ku luuyi olulala, Yesu atuukiridde era takola nsobi yonna. (Luk. 1:32; Beb. 4:14, 15) Yesu yasigala mwesigwa wadde nga Sitaani yamuleetera ebigezo eby’amaanyi ennyo. Kristo talikola kibi oba ekintu kyonna ekinaaleetera abo b’anaafuga okubonaabona. Nkizo ya maanyi nnyo okuba nti ye Kabaka waffe.

11. Baani abanaayambako Yesu okufuga ensi?

11 Yesu ajja kukolera wamu n’abantu 144,000 b’anaafuga nabo okulabirira abantu abanaabeera ku nsi, n’okutuukiriza ekigendererwa kya Yakuwa. (Kub. 14:1-3) Abantu abo bwe baali bakyali ku nsi nabo baayita mu bigezo bingi era baabonaabona. N’olwekyo, bajja kuba bafuzi ba kisa. Biki abo abanaafuga ne Yesu bye bajja okukola?

BIKI ABO ABAAFUKIBWAKO AMAFUTA BYE BAJJA OKUKOLA?

12. Mulimu ki Yakuwa gw’anaawa abaafukibwako amafuta emitwalo 144,000?

12 Obuvunaanyizibwa obwaweebwa Yesu n’abo abanaafuga naye bwa maanyi nnyo okusinga obwo obwaweebwa Kabaka Sulemaani. Abantu Kabaka Sulemaani be yali afuga baali mu nsi emu yokka, era tebaali bangi nnyo. Kyokka abo abanaafuga mu Bwakabaka bwa Katonda, bajja kulabirira abantu buwumbi na buwumbi mu nsi yonna. Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo Yakuwa gye yawa abaafukibwako amafuta 144,000!

13. Obuvunaanyizibwa bw’abo abanaafugira awamu ne Yesu bunaazingiramu ki?

13 Okufaananako Yesu, abaafukibwako amafuta 144,000 bajja kuweereza nga bakabaka era bakabona. (Kub. 5:10) Abayisirayiri bwe baali bakyali wansi w’Amateeka ga Musa, bakabona baakakasanga nti abantu baba balamu bulungi era nga balina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Amateeka ‘gaali kisiikirize eky’ebintu ebirungi ebigenda okujja.’ N’olwekyo, tusobola okugamba nti abo abanaafugira awamu ne Yesu bajja kuba n’obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abantu ba Katonda mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. (Beb. 10:1) Mu kiseera kino tetumanyi ngeri bakabaka abo ne bakabona abo gye banaawuliziganyangamu n’abantu abanaabeera ku nsi. Naye tuli bakakafu nti abo abanaabeera ku nsi bajja kufuna obulagirizi bwe beetaaga.​—Kub. 21:3, 4.

BIKI ‘AB’ENDIGA ENDALA’ BYE BALINA OKUKOLA OKUSOBOLA OKUBEERA MU LUSUKU LWA KATONDA?

14. Nkolagana ki eriwo wakati ‘w’ab’endiga endala’ ne baganda ba Kristo?

14 Yesu bwe yali ayogera ku abo abanaafugira awamu naye, yabayita “ekisibo ekitono.” (Luk. 12:32) Ate era yayogera ne ku kibinja eky’okubiri kye yayita “endiga endala.” Ebibinja ebyo ebibiri bikola ekisibo kimu ekiri obumu. (Yok. 10:16) Ne mu kiseera kino, ebibinja ebyo ebibiri bikolera wamu era kijja kuba bwe kityo ne mu nsi empya. Mu kiseera ekyo, abali mu “kisibo ekitono” bajja kuba mu ggulu, ate ‘ab’endiga endala’ bajja kuba n’essuubi ery’okunyumirwa obulamu ku nsi emirembe gyonna. Naye waliwo ebintu ab’endiga endala bye balina okukola kati okusobola okubeera mu nsi empya.

Ne mu kiseera kino tuyinza okukiraga nti tweteekerateekera okubeera mu Lusuku lwa Katonda (Laba akatundu 15) b

15. (a) ‘Ab’endiga endala’ bakolera batya awamu ne baganda ba Kristo? (b) Tuyinza tutya okukoppa ow’oluganda alagiddwa mu kifaananyi? (Laba ekifaananyi.)

15 Omumenyi w’amateeka eyeenenya, yafa nga tafunye kakisa kulaga mu bujjuvu nti asiima ebyo Kristo bye yamukolera. Ku luuyi olulala, ffe ‘ab’endiga endala’ tulina emikisa mingi okulaga nti tusiima ekyo Yesu kye yatukolera. Ng’ekyokulabirako, tukiraga nti twagala nnyo Yesu okuyitira mu ngeri gye tukolaganamu ne baganda be abaafukibwako amafuta. Yesu yagamba nti ajja kulamula abantu okuba endiga ng’asinziira ku ngeri ennungi gye baayisaamu baganda be abaafukibwako amafuta. (Mat. 25:31-40) Tusobola okuyamba baganda ba Kristo nga twenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu bayigirizwa n’obunyiikivu. (Mat. 28:18-20) N’olwekyo, tusaanidde okukozesa obulungi ebyo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli, gamba ng’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! Bw’oba ng’obadde tonnafuna muntu yenna gw’oyigiriza Bayibuli, kifuule kiruubirirwa kyo okufuna abantu b’oyigiriza Bayibuli.

16. Biki bye tusaanidde okukola kati, okusobola okweteekerateekera obulamu mu nsi empya?

16 Tetulina kulinda kutuuka mu nsi empya ne tulyoka tweyisa ng’abantu Yakuwa baayagala babeereyo. Ne mu kiseera kino tusaanidde okwogera amazima era n’okweyisa obulungi. Ate era tusaanidde okuba abeesigwa eri Yakuwa, eri munnaffe mu bufumbo, n’eri Bakristaayo bannaffe. Bwe tunaafuba okukolera ku mitindo gya Yakuwa nga tukyali mu nsi eno embi, kijja kutubeerera kyangu okugikolerako mu nsi empya. Ate era tusaanidde okukulaakulanya engeri ennungi, n’okubaako ebintu bye tuyiga okukola nga tweteekerateekera obulamu mu Lusuku lwa Katonda. Laba ekitundu ekirina omutwe, “Oli Mwetegefu ‘Okusikira Ensi’?” ekiri mu magazini eno.

17. Tusaanidde okuggwaamu amaanyi olw’ebibi bye twakola mu biseera eby’emabega? Nnyonnyola.

17 Ate era tusaanidde okwewala okulumirizibwa ennyo omuntu waffe ow’omunda, olw’ebibi eby’amaanyi bye twakola mu biseera eby’emabega. Kyo kituufu nti ekinunulo tetusaanidde kukifuula ekintu eky’okwekwasa ‘okukola ekibi mu bugenderevu.’ (Beb. 10:26-31) Naye bwe twenenya ebibi byaffe ne tunoonya obuyambi okuva eri abakadde, era ne tukyusa enneeyisa yaffe, tusaanidde okuba bakakafu nti Yakuwa atusonyiyidde ddala. (Is. 55:7; Bik. 3:19) Jjukira ebigambo Yesu bye yagamba Abafalisaayo nti: “Sajja kuyita batuukirivu wabula aboonoonyi.” (Mat. 9:13) Ssaddaaka y’ekinunulo ya maanyi nnyo era esobola okubikka ku bibi byaffe byonna.

OSOBOLA OKUBA OMULAMU EMIREMBE GYONNA MU LUSUKU LWA KATONDA

18. Kiki kye wandyagadde okwogerako n’omumenyi y’amateeka eyakomererwa okumpi ne Yesu?

18 Kuba akafaananyi ng’oli mu nsi empya era ng’oyogera n’omumenyi w’amateeka, eyakomererwa okumpi ne Yesu. Awatali kubuusabuusa, mmwembi muba mujja kukiraga nti musiima ssaddaaka ya Yesu. Oyinza okumusaba akubuulire ku byaliwo mu ssaawa ezaasembayo nga Yesu tannafa, era n’engeri gye yawuliramu nga Yesu amugambye nti ajja kubeera mu Lusuku lwa Katonda. Ate ye ayinza okukubuuza embeera nga bwe yali mu nsi ya Sitaani mu nnaku ez’enkomerero. Ejja kuba nkizo ya maanyi nnyo okuyigiriza omuntu ng’oyo Ekigambo kya Katonda!​—Bef. 4:22-24.

Mu kiseera ky’obufuzi bwa Yesu obw’emyaka 1,000, ow’oluganda anyumirwa okukuguka mu kintu kye yali yeesunga okukola (Laba akatundu 19)

19. Lwaki obulamu mu nsi empya tebujja kututama? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

19 Obulamu mu Lusuku lwa Katonda tebujja kututama. Tujja kuba n’abantu bangi ab’okulaba, era n’emirimu mingi egy’okukola egituleetera essanyu. N’ekisinga obukulu, buli lunaku tujja kuba tweyongera okumanya ebikwata ku Kitaffe ow’omu ggulu era n’okunyumirwa ebyo by’atuteekeddeteekedde. Tetuliyiga bimukwatako ne tubimalayo, era wajja kubaawo ebintu bingi eby’okuyiga ebikwata ku bitonde bye. Gye tunaakoma okubeera mu nsi empya, okwagala kwe tulina eri Katonda gye kujja okukoma okweyongera. Tusiima nnyo Yakuwa ne Yesu Kristo olw’okutuwa essuubi ery’okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna!

OLUYIMBA 22 Obwakabaka Bwassibwawo​—Ka Bujje!

a Otera okufumiitiriza ku ngeri obulamu gye bulibaamu mu nsi empya? Kizzaamu nnyo amaanyi bwe tubufumiitirizaako. Gye tukoma okufumiitiriza ku ebyo Yakuwa bye yatusuubiza, gye tujja okukoma okwogera n’ebbugumu nga tuyigiriza balala ebikwata ku nsi empya. Ekitundu kino kigenda kutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe mu kisuubizo kya Yesu eky’Olusuku lwa Katonda.

b EKIFAANANYI: Ow’oluganda alina essuubi ery’okuyigiriza abantu abanaazuukizibwa mu nsi empya, ne mu kiseera kino ayigiriza abalala ebikwata ku Yakuwa.