Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 51

Osobola Okuba n’Emirembe mu Biseera Ebizibu

Osobola Okuba n’Emirembe mu Biseera Ebizibu

“Emitima gyammwe ka gireme kweraliikirira oba kutya.”​—YOK. 14:27.

OLUYIMBA 112 Yakuwa, Katonda ow’Emirembe

OMULAMWA a

1. “Emirembe gya Katonda” kye ki, era tuganyulwa tutya mu kuba nagyo? (Abafiripi 4:6, 7)

 WALIWO emirembe abantu mu nsi gye batamanyi. Ng’egyo gye ‘mirembe gya Katonda,’ kwe kugamba, okuba n’emirembe mu mutima olw’okuba tulina enkolagana ennungi ne Kitaffe ow’omu ggulu. Bwe tuba nga tulina emirembe gya Katonda tuwulira nga tulina obukuumi. (Soma Abafiripi 4:6, 7.) Tuba n’enkolagana ennungi n’abantu abalala abamwagala. Ate era tuba n’enkolagana ey’okulusegere ne “Katonda ow’emirembe.” (1 Bas. 5:23) Bwe tuba nga tumanyi Kitaffe ow’omu ggulu, nga tumwesiga, era nga tumugondera, emirembe gya Katonda gisobola okukkakkanya emitima gyaffe bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu.

2. Lwaki tuli bakakafu nti tusobola okufuna emirembe gya Katonda?

2 Ddala kisoboka okuba n’emirembe gya Katonda bwe tuba nga twolekagana n’ebizibu, gamba ng’ebyo ebijjawo nga wabaluseewo ekirwadde, nga waguddewo akatyabaga, nga waliwo obutabanguko, oba nga tuyigganyizibwa? Ebizibu ng’ebyo biyinza okutuleetera okutya. Kyokka, Yesu yagamba abagoberezi be nti: “Emitima gyammwe ka gireme kweraliikirira oba kutya.” (Yok. 14:27) Eky’essanyu, waliwo baganda baffe ne bannyinaffe bangi abakoledde ku kubuulirira kwa Yesu okwo. Yakuwa abayambye okufuna emirembe mu mutima nga boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi.

ENGERI GYE TUYINZA OKUBA N’EMIREMBE NGA WABALUSEEWO EKIRWADDE

3. Bwe wabalukawo ekirwadde, kiyinza kitya okutumalako emirembe?

3 Bwe wabalukawo ekirwadde, tuyinza okukosebwa ennyo. Lowooza ku ngeri ekirwadde kya COVID-19 gye kikosezzaamu obulamu bw’abantu bangi. Mu kunoonyereza okumu okwakolebwa, kyazuulibwa nti abantu 50 ku buli 100 tebeebakanga bulungi mu kiseera ky’ekirwadde. Ekirwadde ekyo kyaleetera abantu bangi okweyongera okweraliikirira, okwennyamira, okunywa ennyo omwenge, okukozesa ebiragalalagala, okuba n’obutabanguko mu maka, era n’okugezaako okwetta. Bwe wabalukawo ekirwadde mu kitundu gy’obeera, kiki ekinaakuyamba obuteeraliikirira nnyo n’okuba n’emirembe gya Katonda?

4. Okumanya obunnabbi bwa Yesu obukwata ku nnaku ez’enkomerero kituyamba kitya okuba n’emirembe?

4 Yesu yagamba nti mu nnaku ez’enkomerero wandibaddewo endwadde ez’amaanyi “mu bifo ebitali bimu.” (Luk. 21:11) Ekyo okukimanya kituyamba kitya okuba n’emirembe? Ekirwadde bwe kibalukawo tekitwewuunyisa. Tuba tukimanyi nti ekyo kituukiriza ebyo Yesu bye yayogera. Bwe kityo, tukolera ku magezi Yesu ge yawa abagoberezi be abandibaddewo mu nnaku ez’enkomerero. Yabagamba nti: “Temutyanga.”​—Mat. 24:6.

Okuwuliriza Bayibuli eyasomebwa kisobola okukuyamba okuba n’emirembe mu mutima nga wabaluseewo ekirwadde (Laba akatundu 5)

5. (a) Okusinziira ku Abafiripi 4:8, 9, kiki kye tusaanidde okusaba Yakuwa nga wabaluseewo ekirwadde? (b) Okuwuliriza Bayibuli eyasomebwa, kiyinza kutuganyula kitya?

5 Ekirwadde bwe kibalukawo tuyinza okuwulira nga tutidde nnyo era ne tusoberwa. Ekyo kye kyatuuka ku mwannyinaffe ayitibwa Desi. b Oluvannyuma lwa taata we omuto, mwannyina, n’omusawo eyali abajjanjaba, bonna okufa ekirwadde kya COVID-19, yatya nnyo nti naye obulwadde obwo bwandimukutte era n’abusiiga maama we akaddiye. Ate era yali yeeraliikirira nti yandifiiriddwa omulimu gwe era nga yeebuuza engeri gye yandifunyeemu ssente ez’okugula emmere n’okupangisa ennyumba. Ebintu ebyo byamweraliikirizanga nnyo era teyeebakanga kiro. Naye Desi yaddamu okufuna emirembe gye yalina. Kiki ekyamuyamba? Yasaba Yakuwa amuyambe okusigala nga mukkakkamu era n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu. (Soma Abafiripi 4:8, 9.) Bwe yawulirizanga Bayibuli eyasomebwa, yawuliranga nga Yakuwa “ayogera” naye. Yagamba nti, “Engeri ennungi abasomi gye basomamu yannyamba okukkakkana n’okukijjukira nti Yakuwa wa kisa.”​—Zab. 94:19.

6. Okwesomesa n’okubaawo mu nkuŋŋaana binaakuyamba bitya?

6 Ekirwadde bwe kibalukawo, tuyinza obutakola bintu byonna nga bwe tubadde tubikola, naye tokikkiriza kutaataaganya nteekateeka yo ey’okwesomesa oba okubaawo mu nkuŋŋaana. Waliwo ebyokulabirako bingi ebya bakkiriza banno ebiba mu vidiyo ne mu bitabo byaffe, ebijja okukuyamba okukijjukira nti basobodde okugumiikiriza wadde nga nabo boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. (1 Peet. 5:9) Okubangawo mu nkuŋŋaana kijja kukuyamba okulowoozanga ku bintu eby’omwoyo ebizzaamu amaanyi. Ate era, kijja kukuwa akakisa okuzzaamu abalala amaanyi era naawe okuzzibwamu amaanyi. (Bar. 1:11, 12) Bw’onoofumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayambamu abaweereza be nga balwadde, nga balina ebibeeraliikiriza, oba nga bennyamivu, okukkiriza kwo kujja kweyongera okunywera era ojja kuba mukakafu nti naawe ajja kukuyamba.

7. Kiki ky’oyigira ku mutume Yokaana?

7 Fuba okuwuliziganyanga ne bakkiriza bano. Ekirwadde bwe kibalukawo, kiyinza okutwetaagisa obutasemberera balala ne bwe tuba nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe. Mu biseera ng’ebyo, oyinza okuwulira ng’omutume Yokaana bwe yawulira. Yali ayagala okulaba ku mukwano gwe Gayo maaso ku maaso. (3 Yok. 13, 14) Naye yali akimanyi nti mu kiseera ekyo yali tasobola kulaba Gayo. Yakola kye yali asobola; yawandiikira Gayo ebbaluwa. Bwe kiba nga kizibu okukyalira bakkiriza bano, fuba okuwuliziganya nabo ng’okozesa essimu oba ng’obaweereza mesegi. Bw’owuliziganya nabo, ojja kuwulira nga toli wekka era ojja kufuna emirembe mu mutima. Yogerako n’abakadde, naddala bw’oba owulira ng’oli mweraliikirivu nnyo, era kkiriza obuyambi bwe bakuwa.​—Is. 32:1, 2.

OKUFUNA EMIREMBE NGA WAGUDDEWO AKATYABAGA

8. Akatyabaga kayinza katya okutumalako emirembe?

8 Bw’oba nga wali okoseddwako akatyabaga, gamba ng’amataba, musisi, oba omuliro, oyinza okuba nga wamala ekiseera kiwanvu ng’oli mweraliikirivu. Bw’oba nga wafiirwa abantu bo oba ng’ebintu byo byasaanawo, oyinza okuba nga wawulira ennaku ey’amaanyi ennyo, waggwamu amaanyi, era nga wawulira obusungu. Ekyo tekitegeeza nti oyagala nnyo ebintu oba nti tolina kukkiriza. Wayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi era oluusi kisuubirwa nti oyinza okuba n’enneewulira eyo. (Yob. 1:11) Naye ne bw’oba ng’oyolekagana n’ebizibu eby’amaanyi osobola okufuna emirembe. Mu ngeri ki?

9. Yesu yatuyamba atya okweteekerateekera obutyabaga?

9 Jjukira ebyo Yesu bye yayogera ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe. Wadde nga abantu abamu mu nsi tebasuubira nti obutyabaga buyinza okugwawo mu bitundu byabwe nabo ne bakosebwa, ffe tusuubira nti obutyabaga bujja kweyongera era naffe tuyinza okukosebwa. Yesu yagamba abagoberezi be nti wandibaddewo “musisi ow’amaanyi” n’obutyabaga obulala bungi ng’enkomerero tennatuuka. (Luk. 21:11) Ate era yagamba nti wandibaddewo “okweyongera kw’obujeemu,” era ekyo tukirabira ku bumenyi bw’amateeka, ebikolwa eby’obukambwe, n’ebikolwa bya bannalukalala ebyeyongedde ennyo leero. (Mat. 24:12) Yesu teyagamba nti ebizibu ebyo byandituuse ku abo bokka abataweereza Yakuwa. Mu butuufu, abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa bakoseddwa obutyabaga. (Is. 57:1; 2 Kol. 11:25) Yakuwa ayinza obutatukuuma mu ngeri ey’ekyamagero tuleme kukosebwa butyabaga, naye ajja kutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu era nga tulina emirembe.

10. Lwaki okweteekerateekera akatyabaga kiraga nti tulina okukkiriza? (Engero 22:3)

10 Singa tweteekerateekera obutyabaga nga bukyali, kijja kutubeerera kyangu okusigala nga tuli bakkakkamu ng’akatyabaga kaguddewo. Naye, okweteekateeka kitegeeza nti tetulina kukkiriza kunywevu? Si bwe kiri. Mu butuufu, okweteekerateekera obutyabaga kiraga nti tukkiriza nti Yakuwa asobola okutuwa obulagirizi. Lwaki tugamba bwe tutyo? Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okweteekateeka nga bukyali. (Soma Engero 22:3.) Ate era, okuyitira mu bitundu ebifulumira mu magazini zaffe, mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu birango, ekibiina kya Yakuwa kitukubiriza enfunda n’enfunda okweteekerateekera obutyabaga. c Bwe tuba nga twesiga Yakuwa, tujja kugoberera obulagirizi bw’atuwa kati ng’akatyabaga tekannagwawo.

Okweteekateeka nga bukyali kisobola okukuyamba okuwona akatyabaga (Laba akatundu 11) d

11. Kiki kye tuyigira ku Margaret?

11 Lowooza ku mwannyinaffe ayitibwa Margaret. Yagambibwa okuva mu kitundu kye yalimu amangu ddala kubanga omuliro gwali gukutte mu kitundu ekyo. Olw’okuba abantu bangi baali bava mu kitundu ekyo mu kiseera kye kimu, enguudo zaalimu akalippagano k’ebidduka. Ekitundu kyakwata omukka mungi era Margaret yali tasobola na kuva mu motoka ye. Kyokka yawonawo olw’okuba yali yeeteekateeka dda. Yalina mmaapu gye yakozesa okufuna ekkubo eddala ery’okuyitamu okuva mu kitundu ekyo. Yali yayitako mu kkubo eryo nga bukyali, kimuyambe okulikozesa nga waguddewo akatyabaga. Okweteekateeka nga bukyali kyamuyamba okuwona akatyabaga ako.

12. Lwaki tusaanidde okugoberera obulagirizi obutuweebwa okusobola okutukuuma?

12 Okusobola okutukuuma n’okulaba nti wabaawo obutebenkevu, ab’obuyinza bayinza okutugamba obutava waka, okuva mu kitundu amangu ddala, oba okubaako ebintu ebirala bye tukola. Abantu abamu tebagondera bulagirizi ng’obwo oba beekunya olw’okuba baba tebaagala kuleka bintu byabwe. Abakristaayo basaanidde kweyisa batya mu mbeera ng’eyo? Bayibuli egamba nti: “Ku lwa Mukama waffe, mugonderenga abo bonna abali mu buyinza: bw’aba kabaka, mumugondere olw’okuba alina obuyinza bungi, oba bagavana, mubagondere kubanga b’aba atumye.” (1 Peet. 2:13, 14) Ekibiina kya Yakuwa nakyo kituwa obulagirizi okusobola okutukuuma. Tutera okujjukizibwa okuwa abakadde endagiriro yaffe n’ennamba zaffe ez’amasimu, basobole okututuukako amangu nga waguddewo akatyabaga. Ekyo wamala okukikola? Ate era tuyinza okugambibwa obutava waka, okuva mu kitundu amangu ddala, okufuna obuyambi bwe twetaaga nga waguddewo akatyabaga, oba obukwata ku ngeri gye tuyinza okuyambamu abalala. Bwe tutagoberera bulagirizi ng’obwo, tuyinza okuteeka obulamu bwaffe awamu n’obw’abakadde mu kabi. Kijjukire nti abakadde batunula olw’obulamu bwo. (Beb. 13:17) Margaret yagamba nti, “Ndi mukakafu nti okugoberera obulagirizi bwe tufuna okuva eri abakadde n’eri ekibiina kya Yakuwa kyataasa obulamu bwange.”

13. Kiki ekiyambye Abakristaayo bangi abadduka mu bitundu gye baali babeera okuba basanyufu era n’okuba n’emirembe?

13 Baganda baffe ne bannyinaffe bangi abadduka mu nsi gye baali babeeramu olw’entalo, olw’akatyabaga, oba olw’obutabanguko, bafubye okumanyiira embeera gye balimu kati era n’okwenyigira mu bujjuvu mu nteekateeka ez’eby’omwoyo. Okufaananako Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka abaasaasaana olw’okuyigganyizibwa, beeyongera ‘okulangirira amawulire amalungi ag’Ekigambo kya Katonda.’ (Bik. 8:4) Okubuulira kubayamba okussa ebirowoozo byabwe ku Bwakabaka bwa Katonda, mu kifo ky’okubissa ku bizibu bye boolekagana nabyo. N’ekivuddemu, basigadde basanyufu era nga balina emirembe.

OKUBA N’EMIREMBE NGA TUYIGGANYIZIBWA

14. Okuyigganyizibwa kuyinza kutya okutumalako emirembe?

14 Okuyigganyizibwa kuyinza okutuviirako okulekera awo okukola ebintu bingi ebituyamba okuba abasanyufu. Tuba basanyufu bwe tuba nga tukuŋŋaana wamu era nga tubuulira awatali kitukugira, era nga tukola emirimu gyaffe emirala nga tetutya nti tuyinza okukwatibwa ne tusibibwa mu kkomera. Eddembe eryo bwe lituggibwako, tuyinza okutandika okweraliikirira nga tetumanyi kinaddako. Si kikyamu okuwulira bwe tutyo. Kyokka tusaanidde okwegendereza. Yesu yagamba nti okuyigganyizibwa kuyinza okuviirako abagoberezi be okwesittala. (Yok. 16:1, 2) Kati olwo tuyinza tutya okusigala nga tulina emirembe nga tuyigganyizibwa?

15. Lwaki tetusaanidde kutya kuyigganyizibwa? (Yokaana 15:20; 16:33)

15 Bayibuli egamba nti: “Abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.” (2 Tim. 3:12) Ow’oluganda ayitibwa Andrei ekyo tekyamwanguyira kukkiriza omulimu gwaffe bwe gwawerebwa mu nsi ye. Yagamba nti: ‘Abajulirwa ba Yakuwa bangi nnyo mu nsi eno. Ab’obuyinza tebayinza kutukwata ffenna.’ Naye endowooza eyo teyamuyamba kufuna mirembe, wabula yamuleetera kweraliikiriranga buli kiseera. Ab’oluganda abalala ensonga baazireka mu mikono gya Yakuwa era tebaalowooza nti bo tebasobola kukwatibwa. Baali bakimanyi nti basobola okukwatibwa, naye bo tebaali beeraliikirivu nnyo nga Andrei. Bwe kityo Andrei yasalawo okubakoppa ensonga n’azireka mu mikono gya Yakuwa. Oluvannyuma yafuna emirembe era kati awulira nga musanyufu wadde nga ayolekagana n’ebizibu. Naffe tusobola okufuna emirembe wadde nga tuyigganyizibwa. Wadde nga Yesu yatugamba nti tujja kuyigganyizibwa, era yatukakasa nti tusobola okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa.​—Soma Yokaana 15:20; 16:33.

16. Bulagirizi ki bwe tulina okugoberera bwe waba nga waliwo okuyigganyizibwa?

16 Omulimu gwaffe ogw’okubuulira bwe guwerebwa oba bwe gukugirwa, tuyinza okufuna obulagirizi okuva eri ofiisi y’ettabi n’okuva eri abakadde. Obulagirizi obwo butuweebwa okusobola okutukuuma, okukakasa nti tufuna emmere ey’eby’omwoyo, era n’okutuyamba okweyongera okubuulira nga bwe kiba kisoboka. Fuba okukolera ku bulagirizi obuba butuweereddwa ne bwe kiba nti totegeera mu bujjuvu ensonga lwaki buweereddwa. (Yak. 3:17) Ate era, ebintu ebikwata ku baganda baffe ne bannyinnaffe oba ku mirimu gy’ekibiina, tosaanidde kubibuulira abo abatasaanidde kubimanya.​—Mub. 3:7.

Kiki ekinaakuyamba okuba n’emirembe ne mu biseera ebizibu? (Laba akatundu 17) e

17. Okufaananako abatume abaaliwo mu kyasa ekyasooka, tuli bamalirivu kukola ki?

17 Emu ku nsonga lwaki Sitaani ayigganya abantu ba Katonda eri nti ‘balina omulimu gw’okuwa obujulirwa ku Yesu.’ (Kub. 12:17) Tokkiriza Sitaani n’ensi ye kukutiisa. Okubuulira n’okuyigiriza wadde nga tuyigganyizibwa kituleetera essanyu n’emirembe. Mu kyasa ekyasooka, ab’obuyinza bwe baalagira abatume okulekera awo okubuulira, abatume baasalawo kugondera Katonda. Beeyongera okubuulira, era ekyo kyabayamba okuba abasanyufu. (Bik. 5:27-29, 41, 42) Kyo kituufu nti omulimu gwaffe bwe guba gukugirwa tusaanidde okukozesa amagezi nga tubuulira. (Mat. 10:16) Naye bwe tukola kyonna kye tusobola, tujja kufuna emirembe egiva mu kukola ebisanyusa Yakuwa era n’okubuulira abalala obubaka obuwonya obulamu.

“KATONDA OW’EMIREMBE ANAABEERANGA NAMMWE”

18. Ani asobola okutuwa emirembe gye twetaaga?

18 Beera mukakafu nti ne mu biseera ebizibu ennyo osobola okuba n’emirembe. Tusaanidde okukijjukiranga nti mu biseera eng’ebyo, tuba twetaaga emirembe gya Katonda era emirembe egyo Yakuwa yekka y’agigaba. Mwesigenga bwe wabalukawo ekirwadde, bwe wabaawo akatyabaga, oba bw’oba ng’oyigganyizibwa. Nywerera ku kibiina kye. Ebirowoozo byo bisse ku ssuubi ly’olina erikwata ku biseera eby’omu maaso. Bw’onookola bw’otyo, ‘Katonda ow’emirembe anaabeeranga naawe.’ (Baf. 4:9) Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba engeri gye tuyinza okuyamba bakkiriza bannaffe aboolekagana n’ebizibu okusobola okufuna emirembe gya Katonda.

OLUYIMBA 38 Ajja Kukuwa Amaanyi

a Yakuwa asuubiza okuwa emirembe abo abamwagala. Mirembe gya ngeri ki Katonda gy’agaba era tuyinza kugifuna tutya? Okuba ‘n’emirembe gya Katonda’ kiyinza kutuyamba kitya nga wabaluseewo ekirwadde, nga waguddewo akatyabaga, oba nga tuyigganyizibwa? Ebibuuzo ebyo bijja kuddibwamu mu kitundu kino.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

c Laba ekitundu, “By’oyinza Okukola nga Waguddewo Akatyabaga” mu Zuukuka! Na. 5 2017.

d EBIFAANANYI: Mwannyinaffe yasobola okuva amangu mu maka ge olw’okuba yali yeeteeseteese nga bukyali.

e EBIFAANANYI: Ow’oluganda abeera mu nsi omulimu gwaffe gye gukugirwa yeeyongera okubuulira n’amagezi.