Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 52

Yamba Abalala Okugumiikiriza mu Biseera Ebizibu

Yamba Abalala Okugumiikiriza mu Biseera Ebizibu

“Tommanga kirungi abo b’ogwanidde okukiwa, bw’oba ng’osobola okubayamba.”​—NGE. 3:27.

OLUYIMBA 103 Abasumba Birabo

OMULAMWA a

1. Emirundi mingi Yakuwa addamu atya okusaba kw’abaweereza be?

 OBADDE okimanyi nti Yakuwa asobola okukukozesa okuddamu okusaba kw’omuntu omulala? Yakuwa asobola okukukozesa k’obe ng’oli mukadde, muweereza, payoniya, oba ng’oli mubuulizi mu kibiina. Ate era Abakristaayo bonna basobola okuyamba abalala ka babe bato oba bakulu, oba ka babe ba luganda oba bannyinaffe. Omuweereza wa Yakuwa bw’amukoowoola amuyambe, emirundi mingi Yakuwa akozesa abakadde oba abaweereza be abalala abeesigwa ‘okuzzaamu amaanyi’ omuweereza we oyo. (Bak. 4:11) Nga nkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa ne bakkiriza bannaffe mu ngeri eyo! Ekyo tusobola okukikola nga wabaluseewo ekirwadde, nga waguddewo akatyabaga, oba nga waliwo okuyigganyizibwa.

YAMBA ABALALA NGA WABALUSEEWO EKIRWADDE

2. Lwaki kiyinza obutaba kyangu kuyamba balala bwe waba nga wabaluseewo ekirwadde?

2 Bwe wabalukawo ekirwadde, kiyinza okutubeerera ekizibu okuyambagana. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwagala okugenda abalala gye bali naye nga tutya okukwatibwa ekirwadde oba okukisaasaanya. Tuyinza okwagala okusembeza abo abali obubi ennyo mu by’enfuna okujja okuliirako awamu naffe, naye nga nakyo tekisoboka. Tuyinza okwagala okuyamba abalala naye nga kizibu gye tuli bwe kiba nti n’ab’omu maka gaffe tebali bulungi. Wadde kiri kityo, twagala okuyamba bakkiriza bannaffe era kisanyusa nnyo Yakuwa bwe tukola kyonna kye tusobola okubayamba. (Nge. 3:27; 19:17) Kiki kye tusobola okukola?

3. Kiki kye tuyigira ku bakadde b’omu kibiina kya Desi? (Yeremiya 23:4)

3 Abakadde kye basobola okukola. Bw’oba ng’oli mukadde, fuba okumanya obulungi embeera bakkiriza banno gye balimu. (Soma Yeremiya 23:4.) Mwannyinaffe Desi, eyayogerwako mu kitundu ekyayita agamba nti, “Abakadde b’omu kibinja kyange eky’obuweereza baateranga okubuulirako awamu nange era baabangawo bwe twabanga twesanyusaamu.” b Ekyo kyakifuula kyangu eri abakadde abo okuyamba Desi ng’ekirwadde kya COVID-19 kibaluseewo, era nga kisse abamu ku b’eŋŋanda ze.

4. Lwaki abakadde baasobola okuyamba Desi, era tubayigirako ki?

4 Desi agamba nti: “Olw’okuba abakadde baali mikwano gyange, kyannyanguyira okubabuulira engeri gye nnali mpuliramu n’ebyo ebyali binneeraliikiriza.” Kiki abakadde kye bayigamu? Mufube okuzzaamu bakkiriza bannammwe amaanyi ng’ekizibu tekinnagwawo. Mubafuule mikwano gyammwe. Bwe wabaawo ekirwadde ekibalemesa okubakyalira, muwuliziganye nabo mu ngeri endala. Desi agamba nti: “Ebiseera ebimu abakadde ab’enjawulo bankubiranga essimu era bampeerezanga mesegi ku lunaku lwe lumu. Ebyawandiikibwa bye bampanga byankwatangako nnyo wadde nga nnali mbimanyi bulungi.”

5. Abakadde bayinza batya okumanya obuyambi bakkiriza bannaabwe bwe beetaaga, basobole okubayamba?

5 Engeri emu gy’osobola okumanyaamu ebyo bakkiriza banno bye beetaaga kwe kubabuuza mu ngeri ey’amagezi. (Nge. 20:5) Balina emmere emala, eddala, oba ebintu ebirala bye beetaaga? Baafiirwa emirimu gyabwe oba bayinza okulemererwa okufuna ssente ez’okupangisa ennyumba? Beetaaga okuyambibwako okusobola okufuna obuyambi bwa gavumenti? Ab’oluganda mu kibiina kya Desi baamuyambako okufuna ebyetaago by’omubiri. Naye okwagala abakadde kwe baamulaga n’obuyambi obw’eby’omwoyo bwe baamuwa, bye byasinga okumuyamba mu bizibu bye yali ayolekagana nabyo. Agamba nti: “Abakadde baasabiranga wamu nange. Wadde nga sijjukira bigambo byennyini bye baakozesanga mu ssaala, nzijukira engeri gye nnawulirangamu. Yakuwa yali ng’aŋŋamba nti, ‘Toli wekka.’”​—Is. 41:10, 13.

Ow’oluganda akubiriza olukuŋŋaana nga musanyufu okuwuliriza abo abaddamu, nga mwe muli n’ow’oluganda omulwadde eyeenyigira mu nkuŋŋaana ng’akozesa enkola ya videoconference (Laba akatundu 6)

6. Kiki abalala mu kibiina kye basobola okukola okuyamba abo ababa beetaaga obuyambi? (Laba ekifaananyi.)

6 Abalala kye bayinza okukola. Tukimanyi nti abakadde be balina okuwoma omutwe mu kuzzaamu abalala mu kibiina amaanyi. Naye Yakuwa ayagala ffenna tuzzeemu abalala amaanyi era tubayambe. (Bag. 6:10) Ne bwe tukola ekintu ekitono okuyamba omuntu omulwadde kimuzzaamu nnyo amaanyi. Omwana omuto asobola okuweereza ow’oluganda oba mwannyinaffe kkaadi oba ekifaananyi ky’akubye ne kimuzzaamu amaanyi. Ate omuvubuka asobola okuyambako ow’oluganda oba mwannyinaffe okumugulira ebintu. Ate era tusobola okufumbira omulwadde emmere ne tugimutwalira. Kyo kituufu nti bwe wabalukawo ekirwadde, buli omu mu kibiina aba yeetaaga okuzzibwamu amaanyi. Oboolyawo tusobola okukyalirako baganda baffe ne bannyinaffe oba okwogera nabo nga tukozesa enkola ya videoconference. Abakadde nabo beetaaga okuzzibwamu amaanyi. Baba n’eby’okukola bingi nnyo, nnaddala nga wabaluseewo ekirwadde. Bwe kityo, ababuulizi abamu babaweereza amabaluwa nga babasiima. Nga kiba kirungi nnyo bwe tufuba ‘okuzziŋŋanamu amaanyi era n’okuzimbagana’!​—1 Bas. 5:11.

YAMBA ABALALA NGA WAGUDDEWO AKATYABAGA

7. Bizibu ki ebiyinza okujjawo olw’akatyabaga?

7 Akatyabaga kasobola okukyusa obulamu bw’omuntu mu kaseera buseera. Omuntu asobola okufiirwa ebintu bye, ennyumba ye, era oluusi ayinza n’okufiirwa abantu be. Obutyabaga ng’obwo tebutaliza baweereza ba Yakuwa. Kiki kye tusobola okukola, okuyamba abalala?

8. Kiki abakadde n’emitwe gy’amaka kye basobola okukola ng’akatyabaga tekannagwawo?

8 Abakadde kye basobola okukola. Abakadde, muyambe bakkiriza bannammwe okweteekateeka ng’akatyabaga tekannagwawo. Mukakase nti buli omu mu kibiina amanyi eby’okukola okusobola okwekuuma n’okuwuliziganya n’abakadde. Margaret, eyayogerwako mu kitundu ekyayita, agamba nti: “Mu kitundu ky’ebyetaago by’ekibiina, abakadde baatulabula nti ekitundu kyaffe kyali kikyasobola okukwata omuliro. Baatugamba nti singa ab’obuyinza batugamba okuva mu kitundu oba singa tukiraba nti obulamu bwaffe buli mu kabi, tusaanidde okwamuka ekitundu amangu ddala.” Okulabula okwo kwajjira mu kiseera ekituufu kubanga oluvannyuma lwa wiiki ttaano zokka, omuliro ogw’amaanyi gwaddamu okukwata mu kitundu kyaffe. Mu kusinza kw’amaka, emitwe gy’amaka basobola okwogera ku buli omu ky’anaakola nga waguddewo akatyabaga. Ggwe n’abaana bo bwe muneeteekateeka nga bukyali, kijja kubayamba okusigala nga muli bakkakkamu ng’akatyabaga kaguddewo.

9. Kiki abakadde kye basobola okukola ng’akatyabaga tekannagwawo, era n’oluvannyuma nga kaguddewo?

9 Bw’oba ng’oli mulabirizi w’ekibinja ky’obuweereza, kakasa nti olina endagiriro n’ennamba z’essimu ez’abo bonna abali mu kibinja kyo ng’akatyabaga tekannagwawo. Kola olukalala lw’endagiriro n’ennamba z’essimu era buli luvannyuma lw’ekiseera okakasenga nti bye bituufu. Bw’onookola bw’otyo, akatyabaga bwe kanaagwawo, ojja kusobola okuwuliziganya na buli mubuulizi omanye obuyambi bwe yeetaaga. Olukalala olwo luweereze omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde, ajja okuwuliziganya n’omulabirizi akyalira ebibiina. Ffenna bwe tukolera awamu, tusobola okuyambagana mu ngeri esingako obulungi. Oluvannyuma lw’omuliro okukwata mu kitundu Mwannyinaffe Margaret gye yali abeera, omulabirizi w’ekitundu yamala essaawa 36 ng’akolera wamu n’abakadde okusobola okuyamba ababuulizi abasukka mu 450 abaali badduse mu maka gaabwe. (2 Kol. 11:27) Bwe kityo, abo bonna abaali beetaaga aw’okubeera baayambibwa.

10. Lwaki abakadde bakitwala nti kikulu nnyo okuzzaamu bakkiriza bannaabwe amaanyi? (Yokaana 21:15)

10 Egimu ku mirimu abakadde gye bakola mu kibiina kwe kuyamba bakkiriza bannaabwe mu by’omwoyo n’okubazzaamu amaanyi. (1 Peet. 5:2) Akatyabaga bwe kagwawo, abakadde basaanidde okusooka okukakasa nti obulamu bwa buli omu ku bakkiriza bannaabwe tebuli mu kabi, era nti alina emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Naye nga wayiseewo emyezi egiwera oluvannyuma lw’akatyabaga, ababa bawonyeewo baba beetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo n’okuzzibwamu amaanyi. (Soma Yokaana 21:15.) Ow’Oluganda Harold, ali ku Kakiiko k’Ettabi era asisinkanye ab’oluganda ne bannyinaffe bangi abaakosebwa akatyabaga, agamba nti: “Abo ababa bakoseddwa batwala ekiseera kiwanvu nga tebannaba kutereera. Oluvannyuma lw’ekiseera bagenda batereera, naye balwawo nnyo nga bakyajjukira abantu baabwe abaafa, ebintu byabwe eby’omuwendo bye baafiirwa, oba n’eky’okuba nti baawonera watono nnyo okufa. Okujjukira ebintu ng’ebyo kiyinza okubaleetera okuddamu okuwulira ennaku ey’amaanyi. Kya bulijjo okuba n’enneewulira ng’eyo, era tekitegeeza nti baba tebalina kukkiriza.”

11. Buyambi ki ab’omu maka bwe bayinza okwetaaga oluvannyuma lw’akatyabaga?

11 Abakadde basaanidde ‘okukaabira wamu n’abo abakaaba.’ (Bar. 12:15) Abo ababa bakoseddwa akatyabaga baba beetaaga okukakasibwa nti Yakuwa abaagala nnyo, era nti ne Bakristaayo bannaabwe babaagala nnyo. Abakadde basaanidde okuyamba ab’omu maka ababa bakoseddwa akatyabaga okunywerera ku nteekateeka yaabwe ey’eby’omwoyo, gamba ng’okusaba, okwesomesa, okubaawo mu nkuŋŋaana, era n’okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Abakadde era basaanidde okukubiriza abazadde okuyamba abaana baabwe okussa ebirowoozo byabwe ku bintu obutyabaga bye butasobola kusaanyaawo. Abazadde, mujjukize abaana bammwe nti Yakuwa ajja kweyongera okubeera mukwano gwabwe era nti ajja kubayambanga. Ate era mubajjukize nti balina baganda baabwe ne bannyinaabwe mu nsi yonna, era beetegefu okubayamba.​—1 Peet. 2:17.

Bwe wagwawo akatyabaga mu kitundu kyo, osobola okuyambako mu kudduukirira abo ababa bakoseddwa? (Laba akatundu 12) e

12. Biki abalala bye basobola okukola, okuyambako mu kudduukirira abo ababa bakoseddwa obutyabaga? (Laba ekifaananyi.)

12 Abalala bye bayinza okukola. Akatyabaga bwe kagwawo okumpi n’ekitundu kyammwe, saba abakadde bakubuulire ngeri gy’oyinza okuyambako mu kudduukirira abo ababa bakoseddwa. Oboolyawo abamu ku abo abadduse mu maka gaabwe oba abo abayambako mu mulimu gw’okuduukirira abakoseddwa oyinza okubasuza mu maka go okumala ekiseera. Oba oyinza okuyambako okutwalira abo abali mu bwetaavu emmere n’ebintu ebirala bye beetaaga. Akatyabaga bwe kagwawo mu kitundu eky’ewala, era osobola okuyambako. Mu ngeri ki? Ng’osabira abo ababa bakoseddwa. (2 Kol. 1:8-11) Ate era osobola okuyambako ng’owaayo ssente okuwagira omulimu gw’ensi yonna. (2 Kol. 8:2-5) Bw’oba ng’sobola okugenda mu kitundu eky’ewala okuyambako, saba abakadde bakubuulire eky’okukola. Bwe bakuyita, oyinza okutendekebwa kikusobozese okuyambako awasinga okuba obwetaavu, era mu ngeri esingako obulungi.

YAMBA ABALALA OKUGUMIRA OKUYIGGANYIZIBWA

13. Kusoomoozebwa ki baganda baffe ne bannyinaffe kwe boolekagana nakwo mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa?

13 Mu nsi omulimu gwaffe gye gwawerebwa, okuyigganyizibwa kuleetera obulamu bw’ab’oluganda okukaluba ennyo. Ab’oluganda ababeera mu nsi ezo nabo boolekagana n’ebizibu ebirala, gamba ng’ebizibu by’eby’enfuna, okulwala, n’okufiirwa abantu baabwe. Kyokka olw’okuba omulimu gwaffe guba gwawerebwa, abakadde bayinza obutasobola kukyalira abo abeetaaga okuzzibwamu amaanyi, oba okuwuliziganya nabo kyere. Ekyo kye kyatuuka ku Andrei, eyayogerwako mu kitundu ekyayita. Mwannyinaffe omu eyali mu kibinja kye eky’obuweereza yagwa ku kabenje, era nga yeetaaga obuyambi bwa ssente ez’okumujjanjaba. Yali yeetaaga okulongoosebwa, kyokka nga takola. Wadde nga waliwo okuwerebwa n’ekirwadde kya COVID-19, ab’oluganda baakola kye basobola okumuyamba era ekyo kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Yakuwa.

14. Abakadde bayinza batya okulaga nti beesiga Yakuwa?

14 Abakadde kye basobola okukola. Andrei yasaba Yakuwa era n’akola kye yali asobola. Yakuwa yaddamu atya okusaba kwe? Yakozesa ab’oluganda abalala mu kibiina. Abamu baatwala mwannyinaffe mu ddwaliro, ate abalala baamuwa ssente. Yakuwa yabaleetera okukola kye baali basobola, era yabawa omukisa olw’okwoleka obuvumu ne bakolera wamu okuyamba mukkiriza munnaabwe. (Beb. 13:16) Abakadde, omulimu gwaffe bwe guba nga gukugirwa mu kitundu kyammwe, obuvunaanyizibwa obumu mubukwase abalala. (Yer. 36:5, 6) N’ekisinga obukulu, mwesige Yakuwa. Asobola okubayamba okukola ku byetaago bya bakkiriza bannammwe.

15. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tuli bumu nga waliwo okuyigganyizibwa?

15 Abalala kye basobola okukola. Omulimu gwaffe bwe guwerebwa, tuba tulina okukuŋŋaanira mu bubinja obutonotono. Mu kiseera ng’ekyo kiba kikulu nnyo okuba n’enkolagana ennungi ne bakkiriza bannaffe. Mulwanyise Sitaani so si bakkiriza bannammwe. Fuba okubuusa amaaso ensobi z’abalala, era mufube okugonjoola obutakkaanya amangu ddala nga bwe kisoboka. (Nge. 19:11; Bef. 4:26) Mubeere beetegefu okuyambagana. (Tit. 3:14) Ababuulizi bwe baakolera awamu okuyamba mukkiriza munnaabwe eyali mu bwetaavu, ekibinja ky’obuweereza kyonna kyaganyulwa. Baafuuka ng’ab’omu maka gamu.​—Zab. 133:1.

16. Okusinziira ku Abakkolosaayi 4:3, 18, tuyinza tutya okuyamba bakkiriza bannaffe abayigganyizibwa?

16 Waliwo baganda baffe ne bannyinaffe nkumi na nkumi abaweereza Yakuwa wadde nga gavumenti z’ensi mwe babeera zibakugira. Abamu baasibibwa mu makomera olw’okukkiriza kwabwe. Tusobola okubasabira, okusabira ab’omu maka gaabwe, era n’okusabira abo bonna abeewaayo okuyamba bakkiriza bannaabwe abo mu by’omubiri, mu by’omwoyo, era ne mu by’amateeka. c (Soma Abakkolosaayi 4:3, 18.) Kijjukirenga nti okusaba kwo kuyamba nnyo baganda baffe ne bannyinaffe abo!​—2 Bas. 3:1, 2; 1 Tim. 2:1, 2.

Oyinza otya okuyamba ab’omu maka go okweteekerateekera okuyigganyizibwa? (Laba akatundu 17)

17. Muyinza mutya okweteekerateekera okuyigganyizibwa?

17 Ggwe n’ab’omu maka go musobola okweteekerateekera kati okuyigganyizibwa. (Bik. 14:22) Temusaanidde kulowooza ku bintu byonna ebibi ebiyinza okubaawo. Mu kifo ky’ekyo, munyweze enkolagana yammwe ne Yakuwa, era muyambe n’abaana bammwe okukola kye kimu. Oluusi bw’owulira nga weeraliikiridde, saba Yakuwa omutegeeze engeri gye weewuliramu. (Zab. 62:7, 8) Mukubaganye ebirowoozo ng’amaka, ku nsonga lwaki musobola okwesiga Yakuwa. d Bwe weeteekateeka nga bukyali era n’okiraga nti weesiga Yakuwa, kijja kuyamba abaana bo okuba abavumu n’okufuna emirembe.

18. Kiki kye twesunga mu biseera eby’omu maaso?

18 Emirembe Katonda gy’atuwa gituleetera okuwulira nga tulina obukuumi. (Baf. 4:6, 7) Yakuwa bw’atuwa emirembe egyo tuba bakkakkamu wadde nga wabaluseewo ekirwadde, nga waguddewo akatyabaga, oba nga waliwo okuyigganyizibwa. Akozesa abakadde abakola ennyo okutuzzaamu amaanyi. Ate era ffenna atuwa enkizo ey’okuyamba abalala. Tusobola okukozesa emirembe gye tulina kati okweteekerateekera ebigezo ebijja mu maaso, nga mwe muli ‘n’ekibonyoobonyo ekinene.’ (Mat. 24:21) Mu kiseera ekyo kijja kutwetaagisa okukuuma emirembe gye tulina, era n’okuyamba abalala okukola kye kimu. Naye oluvannyuma lw’ekiseera ekyo, tetujja kuddamu kwolekagana na bizibu ebituleetera okweraliikirira. Kyaddaaki tujja kunyumirwa emirembe egy’olubeerera Yakuwa gy’atwagaliza.​—Is. 26:3, 4.

OLUYIMBA 109 Yoleka Okwagala Okuviira Ddala ku Mutima

a Emirundi mingi Yakuwa akozesa abaweereza be abeesigwa okuyamba abo aboolekagana n’ebizibu. Asobola okukukozesa okuzzaamu bakkiriza banno amaanyi. Ka tulabe ebyo bye twetaaga okukola okuyamba abo abeetaaga obuyambi.

b Amannya agamu gakyusiddwa.

c Ofiisi y’ettabi oba ekitebe kyaffe ekikulu tekisobola kuweereza mabaluwa gaffe eri baganda baffe ne bannyinaffe abali mu makomera.

d Laba ekitundu ekirina omutwe, “Weeteekereteekere Kati Okuyigganyizibwa” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjulaayi 2019.

e EKIFAANANYI: Abafumbo nga baleetedde ab’omu maka abakoseddwa akatyabaga emmere.