EKITUNDU EKY’OKUSOMA 53
Ab’oluganda Abato—Mufuuke Abasajja Abakulu mu by’Omwoyo
“Beera muvumu era wa maanyi.”—1 BASSEK. 2:2.
OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’
OMULAMWA a
1. Kiki omusajja Omukristaayo ky’alina okukola okusobola okutuuka ku buwanguzi mu bulamu?
KABAKA Dawudi yagamba Sulemaani nti: “Beera muvumu era wa maanyi.” (1 Bassek. 2:1-3) Abasajja Abakristaayo bonna leero basaanidde okukolera ku magezi ago. Okusobola okutuuka ku buwanguzi, balina okuyiga okugondera amateeka ga Katonda n’okukolera ku misingi gya Bayibuli mu mbeera zaabwe zonna ez’obulamu. (Luk. 2:52) Lwaki kikulu nnyo ab’oluganda abakyali abato okufuuka abasajja abakulu mu by’omwoyo?
2-3. Lwaki kikulu buli wa luganda omuto okukula mu by’omwoyo?
2 Omusajja Omukristaayo alina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi bw’alina okutuukiriza mu maka ne mu kibiina. Ab’oluganda abato, muyinza okuba nga mulowooza ku buvunaanyizibwa bwe muyinza okufuna mu biseera eby’omu maaso. Muyinza okuba nga mulowooza ku kuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, okukola ng’abaweereza mu kibiina, n’oluvannyuma okuweereza ng’abakadde mu kibiina. Muyinza n’okuba nga gye bujja mujja kwagala okuwasa n’okuzaala abaana. (Bef. 6:4; 1 Tim. 3:1) Okusobola okutuuka ku biruubirirwa ebyo n’okutuuka ku buwanguzi, mulina okuba Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. b
3 Kiki ekiyinza okubayamba okukula mu by’omwoyo? Waliwo ebintu ebikulu bye musaanidde okuyiga n’okukugukamu. Kiki kye muyinza okukola musobole okweteekerateekera obuvunaanyizibwa bwe muyinza okufuna mu biseera eby’omu maaso?
EBINAABAYAMBA OKUKULA MU BY’OMWOYO
4. Wa w’oyinza okuggya ebyokulabirako ebirungi by’osobola okukoppa? (Laba n’ekifaananyi.)
4 Koppa abo abassaawo ekyokulabirako ekirungi. Bayibuli eyogera ku bavubuka bangi abassaawo ekyokulabirako ekirungi. Abavubuka abo abaaliwo mu biseera eby’edda baali baagala nnyo Yakuwa, era baatuukiriza obuvunaanyizibwa obutali bumu nga balabirira abantu be. Osobola n’okukoppa ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo abali mu kibiina kyo ne mu maka gy’obeera. (Beb. 13:7) Ate era osobola okukoppa Yesu eyassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi. (1 Peet. 2:21) Nga weekenneenya ebikwata ku baweereza ba Yakuwa abo, lowooza ku ngeri zaabwe ennungi. (Beb. 12:1, 2) Oluvannyuma salawo engeri gy’oyinza okubakoppamu.
5. Oyinza otya okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, era lwaki ekyo kikulu nnyo? (Zabbuli 119:9)
5 Kulaakulanya “obusobozi bw’okulowooza obulungi” era obukuume. (Nge. 3:21) Omusajja alina obusobozi bw’okulowooza obulungi afumiitiriza ku bintu ebitali bimu nga tannabaako ky’akolawo. N’olwekyo, fuba nnyo okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi era obukuume. Lwaki? Kubanga abavubuka abasinga obungi mu nsi basalawo nga basinziira ku ndowooza yaabwe ne ku nneewulira yaabwe. (Nge. 7:7; 29:11) Ate era n’emikutu gy’eby’empuliziganya girina kinene kye giyinza okukola ku ngeri gy’olowoozaamu ne ku ebyo by’okola. Naye oyinza otya okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi? Okusookera ddala, yiga emisingi gya Bayibuli era ofumiitirize ku nsonga lwaki gya muganyulo. Oluvannyuma kozesa emisingi egyo okukuyamba okusalawo mu ngeri esanyusa Yakuwa. (Soma Zabbuli 119:9.) Bw’okulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, kijja kukuyamba nnyo okufuuka Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo. (Nge. 2:11, 12; Beb. 5:14) Lowooza ku ngeri obusobozi bw’okulowooza obulungi gye bujja okukuyambamu mu bintu bino bibiri: (1) engeri gy’okolaganamu ne bannyinaffe, ne (2) engeri gy’oyambalamu ne gye weekolako.
6. Obusobozi bw’okulowooza buyamba butya ow’oluganda omuvubuka okussa ekitiibwa mu bannyinaffe?
6 Obusobozi bw’okulowooza obulungi bujja kukuyamba okussa ekitiibwa mu bakazi. Si kikyamu ow’oluganda akyali omuvubuka okufuula mwannyinaffe mukwano gwe. Naye ow’oluganda alina obusozi bw’okulowooza obulungi tajja kugamba oba kuwandiikira mwannyinaffe kintu kyonna ekiyinza okumuleetera okulowooza nti ayagala kumwogereza bw’aba nga ddala talina kigendererwa kya kumuwasa. (1 Tim. 5:1, 2) Bw’aba ng’alina mwannyinaffe gw’ayogereza, amussaamu ekitiibwa nga yeewala okubeera yekka ne naye nga tewali muntu mulala.—1 Kol. 6:18.
7. Obusobozi bw’okulowooza obulungi buyamba butya ow’oluganda akyali omuvubuka okusalawo obulungi ku ngeri gy’ayambalamu n’engeri gye yeekolako?
7 Engeri endala ow’oluganda gy’akiragamu nti akulaakulanyizza obusobozi bw’okulowooza obulungi, kwe kusalawo obulungi mu ngeri gy’ayambalamu ne gye yeekolako. Emirundi mingi emisono gy’engoye n’okwekolako giyiiyizibwa oba gitumbulwa abantu abatassa kitiibwa mu mitindo gya Yakuwa oba abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. N’olwekyo, engoye ze bayiiya ziba zikwata nnyo omuntu oba zireetera abasajja okulabika ng’abakazi. Ow’oluganda akyali omuvubuka afuba okukula mu by’omwoyo bw’aba alondawo engoye ez’okwambala, akolera ku misingi gya Bayibuli era alowooza ku abo abassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kibiina. Ayinza okwebuuza nti: ‘Engeri gye nnyambalamu ne gye nneekolako eraga nti nnina endowooza ennuŋŋamu era nti nfaayo ku balala? Engeri gye nnyambalamu ekifuula kyangu eri abalala okukiraba nti nneemalidde ku kuweereza Katonda?’ (1 Kol. 10:31-33; Tit. 2:6) omuvubuka akulaakulanyizza obusobozi bw’okulowooza obulungi, bakkiriza banne baba bamussaamu ekitiibwa era ne Kitaawe ow’omu ggulu amussaamu ekitiibwa.
8. Ow’oluganda omuvubuka ayinza atya okufuuka omuntu eyeesigika?
8 Beera muntu eyeesigika. Omuvubuka eyeesigika aba afuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna bw’aba nabwo. (Luk. 16:10) Lowooza ku kyokulabirako ekirungi ennyo Yesu kye yassaawo. Yesu teyabeerako mulagajjavu. Yatuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna Yakuwa bwe yamuwa, ne bwe kitaabanga kyangu. Yali ayagala nnyo abantu, naddala abayigirizwa be, era kyeyagalire yawaayo obulamu bwe ku lwabwe. (Yok. 13:1) Koppa Yesu ng’ofuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obukuweebwa. Bw’oba nga tomanyi ngeri ya kubutuukirizaamu, beera mwetoowaze osabe ab’oluganda abakulu mu by’omwoyo okukuyamba. Tokola kutuukiriza butuukiriza luwalo. (Bar. 12:11) Mu kifo ky’ekyo, fuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwo ‘ng’akolera Yakuwa so si abantu.’ (Bak. 3:23) Kya lwatu nti totuukiridde; n’olwekyo beera mwetoowaze okkirize ensobi z’oba okoze.—Nge. 11:2.
BAAKO EBINTU BY’OKUGUKAMU
9. Lwaki ow’oluganda omuvubuka asaanidde okubaako ebintu by’akugukamu?
9 Okusobola okufuuka omusajja omukulu mu by’omwoyo, kijja kukwetaagisa okubaako ebintu by’okugukamu. Ebintu ebyo bijja kukuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa mu kibiina, okukola omulimu ogunaakuyamba okweyimirizaawo oba okulabirira ab’omu maka, n’okuba n’enkolagana ennungi n’abalala. Ka tulabeyo ebimu ku byo.
10-11. Ow’oluganda omuvubuka bw’ayiga okusoma n’okuwandiika obulungi kimuganyula kitya era kiganyula kitya ekibiina? (Zabbuli 1:1-3) (Laba n’ekifaananyi.)
10 Yiga okusoma n’okuwandiika obulungi. Bayibuli egamba nti omuntu omusanyufu era atuuka ku buwanguzi asoma Ekigambo kya Katonda buli lunaku era n’akifumiitirizaako. (Soma Zabbuli 1:1-3.) Okusoma Bayibuli buli lunaku kimuyamba okumanya endowooza ya Yakuwa, era ekyo kimusobozesa okulowooza obulungi n’okuyiga okukolera ku Byawandiikibwa. (Nge. 1:3, 4) Abasajja ng’abo beetaagibwa mu kibiina. Lwaki?
11 Ab’oluganda ne bannyinnaffe beetaaga obuyambi bw’abasajja abasobola okubawa amagezi okuva mu Byawandiikibwa. (Tit. 1:9) Bw’oba osobola okusoma n’okuwandiika obulungi oba osobola okutegeka emboozi n’eby’okuddamu ebizimba era ebinyweza okukkiriza kw’abalala. Oba osobola n’okubaako by’owandiika ebitegeerekeka obulungi nga weesomesa oba ng’owuliriza emboozi mu nkuŋŋaana ennene n’entono. Ebyo by’owandiika byongera okunyweza okukkiriza kwo, era osobola n’okubikozesa okuzzaamu abalala amaanyi.
12. Kiki ekinaakuyamba okuwuliziganya obulungi n’abalala?
12 Yiga okuwuliziganya obulungi n’abalala. Omusajja Omukristaayo alina okuyiga okuwuliziganya obulungi n’abalala. Awuliriza bulungi abalala era afuba okutegeera endowooza yaabwe n’enneewulira yaabwe. (Nge. 20:5) Asobola okuyiga okumanya embeera omuntu gy’alimu ng’asinziira ku ddoboozi ly’omuntu, endabika ye ku maaso, n’engeri gy’akozesaamu ebitundu bye eby’omubiri. Ekyo toyinza kukiyiga nga towaayo biseera kubeerako wamu n’abantu. Bw’oba nga buli kiseera okozesa ssimu oba kompyuta okuwuliziganya n’abalala, kiyinza okukuzibuwalira okuwuliziganya obulungi n’abalala maaso ku maaso. N’olwekyo, fuba okuwuliziganya n’abalala maaso ku maaso.—2 Yok. 12.
13. Bintu ki ebirala omuvubuka by’alina okuyiga? (1 Timoseewo 5:8) (Laba n’ekifaananyi.)
13 Yiga okweyimirizaawo. Omusajja omukulu mu by’omwoyo alina okuba ng’asobola okweyimirizaawo era ng’asobola okulabirira ab’omu maka ge. (Soma 1 Timoseewo 5:8.) Mu nsi ezimu, ab’oluganda abavubuka bayigira ku bataata baabwe oba ku b’eŋŋanda zaabwe emirimu egy’okweyimirizaawo. Mu nsi endala, emirimu egyo abavubuka bagiyigira mu matendekero oba mu masomero. K’obe ng’oyigidde ku muntu oba mu ttendekero, kirungi okubaako ekintu ky’okugukamu ekinaakuyamba okufuna omulimu gw’okweyimirizaawo. (Bik. 18:2, 3; 20:34; Bef. 4:28) Fuba okulaba nti omanyibwa ng’omukozi omunyiikivu afuba okukola omulimu okutuusa lw’agumaliriza. Bw’omanyibwa bw’otyo, kiba kyangu okufuna omulimu n’okugukuuma. Engeri ze twogeddeko mu kitundu kino era n’ebintu by’osaanidde okukugukamu, bisobola okukuyamba okukula mu by’omwoyo n’oba mwetegefu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’ojja okufuna mu biseera eby’omu maaso. Ka tulabeyo obumu ku bwo.
WEETEEKETEEKERE OBUVUNAANYIZIBWA BW’ONOOFUNA MU BISEERA EBY’OMU MAASO
14. Ow’oluganda omuvubuka ayinza atya okweteekerateekera obuweereza obw’ekiseera kyonna?
14 Obuweereza obw’ekiseera kyonna. Ab’oluganda bangi abakulu mu by’omwoyo baayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna nga bakyali bato. Okuweereza nga payoniya kiyamba ow’oluganda omuvubuka okuyiga okukolera awamu n’abantu ab’enjawulo. Ate era kimuyamba okuyiga okukozesa obulungi ssente. (Baf. 4:11-13) Engeri ennungi ey’okutandikamu obuweereza obw’ekiseera kyonna kwe kuweereza nga payoniya omuwagizi. Bangi baweereza nga bapayoniya abawagizi okumala ekiseera, era ekyo kibayamba okweteekateeka okuweereza nga bapayoniya aba bulijjo. Bw’otandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo, oluvannyuma oyinza okuyitibwa mu buweereza obulala, gamba ng’okuyambako mu mulimu gw’okuzimba oba okuweereza ku Beseri.
15-16. Ow’oluganda omuvubuka asobola atya okutuukiriza ebisaanyizo okuweereza ng’omukadde oba omuweereza mu kibiina?
15 Okukola ng’omuweereza oba omukadde mu kibiina. Abasajja Abakristaayo basaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okutuukiriza ebisaanyizo by’okuweereza ng’abakadde mu kibiina. Bayibuli egamba nti abasajja abafuba okutuukiriza ebisaanyizo ebyo baba ‘beegomba omulimu omulungi.’ (1 Tim. 3:1) Ow’oluganda bw’aba tannatandika kuweereza ng’omukadde, alina okusooka okutuukiriza ebisaanyizo by’okukola ng’omuweereza. Abaweereza mu kibiina bayamba abakadde mu ngeri nnyingi. Abakadde n’abaweereza mu kibiina baweereza bakkiriza bannaabwe era bakola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira. Ab’oluganda abavubuka basobola okufuuka abaweereza ne bwe baba nga bakyali batiini. Ate omuweereza atuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwe asobola okulondebwa okuweereza ng’omukadde ne bw’aba nga yaakasussaamu katono mu myaka 20.
16 Oyinza otya okutuukiriza ebisaanyizo okuweereza ng’omukadde oba omuweereza? Ebisaanyizo ebyo byonna biri mu ku Byawandiikibwa, era byesigamiziddwa ku kwagala Yakuwa, ku kwagala ab’omu maka go, ne ku kwagala ab’oluganda mu kibiina. (1 Tim. 3:1-13; Tit. 1:6-9; 1 Peet. 5:2, 3) Fuba okutegeera obulungi buli kimu ku bisaanyizo ebyo. Saba Yakuwa akuyambe okubituukiriza. c
17. Ow’oluganda omuvubuka ayinza atya okweteekateeka okuba omwami era omutwe gw’amaka? (Laba n’ekifaananyi.)
17 Okufuuka omwami era omutwe gw’amaka. Nga Yesu bwe yalaga, abamu ku basajja Abakristaayo basalawo obutawasa. (Mat. 19:12) Naye bw’osalawo okuwasa, ojja kufuna obuvunaanyizibwa obulala obw’okubeera omwami era omutwe gw’amaka. (1 Kol. 11:3) Yakuwa asuubira omwami okwagala mukyala we n’okufaayo ku byetaago bye eby’omubiri n’eby’omwoyo, era n’okufaayo ku nneewulira ye. (Bef. 5:28, 29) Engeri ezoogeddwako mu kitundu kino awamu n’ebintu by’osaanidde okukugukamu bijja kukuyamba okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, okussa ekitiibwa mu bakazi, okuba omuntu eyeesigika, n’okuba omwami omulungi. Era bijja kukuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’onooba nabwo ng’omwami era omutwe gw’amaka.
18. Ow’oluganda akyali omuvubuka ayinza atya okweteekateeka okufuuka taata?
18 Okufuuka taata. Oluvannyuma lw’okuwasa, oyinza okufuuka taata. Kiki ky’oyigira ku Yakuwa ku kuba taata omulungi? Waliwo bingi by’osobola okumuyigirako. (Bef. 6:4) Yakuwa yagamba Omwana we, Yesu, mu lujjudde nti amwagala era nti amusiima. (Mat. 3:17) Bw’onoofuuka taata, fuba okulaba nti ogambanga abaana bo nti obaagala. Basiimenga olw’ebirungi bye banaabanga bakoze. Bataata abakoppa Yakuwa, bayamba abaana baabwe okufuuka abantu abakulu mu by’omwoyo. Osobola okweteekateeka okuba taata omulungi ng’olaga okwagala abo b’obeera nabo awamu ne bakkiriza banno kibiina, era ng’obagambanga nti obaagala era nti osiima bye bakola. (Yok. 15:9) Ekyo kijja kukuyamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’onoofuna mu biseera eby’omu maaso ng’omwami era nga taata. Ne mu kiseera kino ojja kuba wa muwendo nnyo eri Yakuwa, eri abo b’obeera nabo awaka, n’eri ekibiina.
KIKI KY’OLINA OKUKOLA KATI?
19-20. Kiki ekisobola okuyamba ab’oluganda abavubuka okufuuka abasajja abakulu mu by’omwoyo? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)
19 Abavubuka, temujja kufuuka basajja bakulu mu by’omwoyo nga temulina kye mukozeewo. Mulina okukoppa abo abassaawo ekyokulabirako ekirungi, okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza obulungi, okubeera abantu abeesigika, okubaako ebintu bye mukugukamu, n’okweteekerateekera obuvunaanyizibwa bwe munaafuna mu biseera eby’omu maaso.
20 Oluusi bwe mulowooza ku bintu ebyo bye mulina okukolako, muyinza okuwulira nti bibasukkiriddeko. Naye musobola okubikolako. Mukijjukire nti Yakuwa ayagala nnyo okubayamba. (Is. 41:10, 13) Bakkiriza bannammwe nabo bajja kubayamba. Bwe munaafuba okukula mu by’omwoyo, mujja kufuna essanyu lingi. Ab’oluganda abato, tubaagala nnyo! Yakuwa ka yeeyongere okubawa emikisa nga mufuba okufuuka abasajja abakulu mu by’omwoyo.—Nge. 22:4.
OLUYIMBA 65 Weeyongere mu Maaso!
a Abasajja abakulu mu by’omwoyo beetaagibwa mu kibiina. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri mmwe ab’oluganda abato gye muyinza okufuuka abasajja abakulu mu by’omwoyo.
b Laba “Ebigambo Ebinnyonnyolwa” mu kitundu ekyayita.
c Laba akatabo, Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala, essomo 5-6.