Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 52

Bannyinaffe Abato—Mufuuke Abakazi Abakulu mu by’Omwoyo

Bannyinaffe Abato—Mufuuke Abakazi Abakulu mu by’Omwoyo

“Abakazi nabo basaanidde okuba . . . nga balina empisa ezisaana, era nga beesigwa mu bintu byonna.”​—1 TIM. 3:11.

OLUYIMBA 133 Weereza Yakuwa ng’Okyali Muvubuka

OMULAMWA a

1. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okukula mu by’omwoyo?

 TWEWUUNYA nnyo okukiraba nti omwana akula mu bwangu n’afuuka omuntu omukulu. Era kirabika tateekamu kufuba kwonna mu kukula okwo. Kyokka, omuntu okusobola okukula mu by’omwoyo kyetaagisa okufuba. b (1 Kol. 13:11; Beb. 6:1) Okusobola okukula mu by’omwoyo, tulina okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa. Ate era twetaaga omwoyo omutukuvu nga tukulaakulanya engeri ennungi, nga tukuguka mu bintu ebitali bimu, era nga tweteekerateekera obuvunaanyizibwa bwe tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso.​—Nge. 1:5.

2. Kiki kye tuyiga mu Olubereberye 1:​27, era kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

2 Yakuwa bwe yatonda abantu yatonda omusajja n’omukazi. (Soma Olubereberye 1:27.) Kya lwatu nti abasajja n’abakazi ba njawulo mu kikula, naye era ba njawulo ne mu bintu ebirala. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yatonda abasajja n’abakazi nga balina okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’enjawulo. N’olwekyo beetaaga okukulaakulanya engeri ennungi, n’okufuna obukugu obutali bumu okusobola okubayamba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. (Lub. 2:18) Mu kitundu kino, tugenda kulaba ekyo mwannyinaffe omuto ky’asobola okukola okufuuka omukazi omukulu mu by’omwoyo. Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ekyo ab’oluganda abato kye basobola okukola okufuuka abasajja abakulu mu by’omwoyo.

KULAAKULANYA ENGERI ENNUNGI

Okukoppa engeri z’abakazi nga Lebbeeka, Eseza, ne Abbigayiri kijja kukuyamba okufuuka omukazi omukulu mu by’omwoyo (Laba akatundu 3-4)

3-4. Bannyinaffe abato bayinza kufuna wa abo abassaawo ekyokulabirako ekirungi kye bayinza okukoppa? (Laba n’ekifaananyi.)

3 Bayibuli eyogera ku bakazi bangi abaali baagala ennyo Yakuwa era abaamuweereza n’obwesigwa. (Laba ekitundu “Abakazi Aboogerwako mu Bayibuli​—Biki Bye Tuyinza Okubayigirako?” ku jw.org/lg) Ng’ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino bwe kiraga, ‘baalina empisa ezisaana’ era baali “beesigwa mu bintu byonna.” Ne mu bibiina byaffe mulimu bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo, bannyinaffe abato be basobola okukoppa.

4 Bannyinaffe abato, mulinayo bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo be mumanyi be musobola okukoppa? Mwetegereze engeri ennungi ze booleka. Oluvannyuma mulowooze ku ngeri nammwe gye muyinza okwoleka engeri ezo. Mu butundu obuddako, tugenda kulabayo engeri ssatu ezeetaagisa okusobola okuba abakazi abakulu mu by’omwoyo.

5. Lwaki kikulu omukazi omukulu mu by’omwoyo okuba omwetoowaze?

5 Okusobola okuba Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo kyetaagisa okuba omwetoowaze. Omukazi bw’aba omwetoowaze aba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa awamu n’abalala. (Yak. 4:6) Ng’ekyokulabirako, omukazi ayagala Yakuwa awagira enteekateeka y’obukulembeze Yakuwa gye yassaawo. (1 Kol. 11:3) Enteekateeka eyo ekola mu kibiina ne mu maka. c

6. Kiki bannyinaffe abato kye bayigira ku bwetoowaze bwa Lebbeeka?

6 Lowooza ku Lebbeeka. Yali mukazi mugezi eyasalawo ebintu ebitaali byangu mu bulamu bwe era eyamanyanga eky’okukola na ddi lwe yandibadde akikola. (Lub. 24:58; 27:​5-17) Wadde kyali kityo, yali assaamu abalala ekitiibwa era yali muwulize. (Lub. 24:​17, 18, 65) Bw’owagira enteekateeka ya Yakuwa nga Lebbeeka bwe yakola, ojja kuba kyakulabirako kirungi eri ab’omu maka mw’obeera ne mu kibiina.

7. Bannyinaffe abato bayinza batya okukoppa Eseza?

7 Engeri endala Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo gye basaanidde okwoleka kwe kumanya obusobozi bwabwe we bukoma. Bayibuli egamba nti “abeetoowaze baba ba magezi.” (Nge. 11:2) Eseza yali amanyi obusobozi bwe we bukoma. Wadde nga yafuuka nnaabakyala teyeetulinkirizaako. Yayoleka engeri eyo bwe yakolera ku magezi agaamuweebwa Moluddekaayi. (Es. 2:​10, 20, 22) Okufaananako Eseza, naawe osobola okukiraga nti omanyi obusobozi bwo we bukoma, ng’onoonya amagezi amalungi era ng’ogakolerako.​—Tit. 2:​3-5.

8. Okusinziira ku 1 Timoseewo 2:​9, 10, bannyinaffe bayinza batya okusalawo obulungi bwe kituuka ku nnyambala n’okwekolako?

8 Eseza yakyoleka nti yali amanyi obusobozi bwe we bukoma ng’assa ekitiibwa mu ndowooza z’abalala. Wadde nga “yali yakula bulungi era ng’alabika bulungi nnyo”; teyagezaako kuleetera balala kumussaako birowoozo. (Es. 2:​7, 15) Abakazi Abakristaayo bayinza batya okukoppa ekyokulabirako ekirungi Eseza kye yassaawo? Engeri emu gye bayinza okukikolamu eragibwa mu 1 Timoseewo 2:​9, 10. (Soma.) Omutume Pawulo yakubiriza abakazi Abakristaayo okwambala mu ngeri esaana era eraga nti bawa abalala ekitiibwa. Okusobola okukola ekyo, omukyala Omukristaayo alina okwambala mu ngeri eraga nti afaayo ku nneewulira ne ku ndowooza z’abalala. Mazima ddala tusiima nnyo bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo olw’okwambala mu ngeri eraga nti bassa mu balala ekitiibwa!

9. Kiki kye tuyigira ku Abbigayiri?

9 Okutegeera ye ngeri endala Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo gye basaanidde okwoleka. Okutegeera kuzingiramu okwawula ekituufu ku kikyamu era n’osalawo okukola ekituufu. Lowooza ku Abbigayiri. Omwami we yasalawo mu ngeri etaali ya magezi era ng’ekyo kyali kigenda kukosa ab’omu maka ge bonna. Abbigayiri yabaako ky’akolawo mu bwangu. Olw’okuba yasalawo bulungi, kyataasa obulamu bw’abantu. (1 Sam. 25:​14-23, 32-35) Okutegeera era kutuyamba okumanya ddi lwe tusaanidde okwogera na ddi lwe tusaanidde okusirika. Kituyamba obutagwa lubege bwe kituuka ku kufaayo ku balala.​—1 Bas. 4:11.

BAAKO EBINTU BY’OKUGUKAMU

Oganyuddwa otya mu kuyiga okusoma n’okuwandiika obulungi? (Laba akatundu 11)

10-11. Okuyiga okusoma n’okuwandiika obulungi kiyinza kitya okukuganyula era n’okuganyula abalala? (Laba n’ekifaananyi.)

10 Omukazi Omukristaayo asaanidde okubaako ebintu by’akugukamu. Ebintu ebimu omwana omuwala by’ayiga ng’akyali muto bimuganyula obulamu bwe bwonna. Ka tulabeyo ebimu ku byo.

11 Yiga okusoma n’okuwandiika obulungi. Mu buwangwa obumu, tekitwalibwa nti kikulu abakazi okuyiga okusoma n’okuwandiika. Kyokka kikulu nnyo buli Mukristaayo okuyiga okusoma n’okuwandiika. d (1 Tim. 4:13) N’olwekyo, tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kuyiga kusoma na kuwandiika. Ekyo kinaakuganyula kitya? Kiyinza okukuyamba okufuna omulimu n’okugukuuma. Ate era kikuyamba okwesomesa obulungi Bayibuli n’okugiyigiriza abalala. N’ekisinga obukulu, okusoma Bayibuli n’okugifumiitirizaako kikuyamba okufuna enkolagana ey’oku lusegere naye.​—Yos. 1:8; 1 Tim. 4:15.

12. Ebyo ebiri mu Engero 31:26 biyinza bitya okukuyamba okuwuliziganya obulungi n’abalala?

12 Yiga okuwuliziganya obulungi n’abalala. Abakristaayo kibeetaagisa okuwuliziganya obulungi n’abalala. Ku nsonga eyo, omuyigirizwa Yakobo yatuwa amagezi amalungi. Yagamba nti: “Buli muntu abenga mwangu okuwuliriza, alwengawo okwogera.” (Yak. 1:19) Bw’owuliriza obulungi ng’abalala boogera, oba osobola ‘okubalumirirwa.’ (1 Peet. 3:8) Bw’oba nga totegedde bulungi ekyo omuntu ky’ayogedde oba engeri gye yeewuliramu, buuza ebibuuzo ebituukirawo. Oluvannyuma siriikiriramu nga tonnayogera. (Nge. 15:​28, obugambo obuli wansi) Weebuuze: ‘Kye ŋŋenda okwogera kituufu era kizimba? Kyoleka nti nzisaamu abalala ekitiibwa era kyoleka ekisa?’ Yigira ku bannyinaffe abakulu mu by’omwoyo abawuliziganya obulungi n’abalala. (Soma Engero 31:26.) Ssaayo omwoyo nga boogera. Gy’okoma okuwuliziganya obulungi n’abalala, enkolagana yo nabo gy’ekoma okuba ennungi.

Omukazi amanyi okulabirira awaka aba wa mugaso nnyo eri ab’omu maka ge n’eri ekibiina (Laba akatundu 13)

13. Oyinza otya okuyiga okulabirira awaka? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Yiga okulabirira awaka. Mu bitundu bingi abakazi be basinga okukola emirimu gy’awaka. Maama wo oba mwannyinaffe omulala asobola okukuyamba okuyiga emirimu egyo. Mwannyinaffe ayitibwa Cindy agamba nti: “Ekimu ku birabo ebisingayo okuba eby’omuwendo maama bye yampa kwe kunjigiriza nti okukola emirimu n’obunyiikivu kirimu essanyu lingi. Okuyiga ebintu gamba ng’okufumba, okuyonja, okutunga, n’okukozesa obulungi ssente kinnyambye nnyo era kinsobozesezza okwerabirira n’okukola ekisingawo mu buweereza bwange. Maama era yanjigiriza okusembeza abagenyi, ekintu ekinsobozesezza okumanya bakkiriza bannange bangi abalina engeri ennungi ze nsobola okukoppa.” (Nge. 31:​15, 21, 22) Omukazi akola emirimu n’obunyiikivu, asembeza abagenyi, era amanyi okulabirira awaka aba kyakulabirako kirungi mu maka ne mu kibiina.​—Nge. 31:​13, 17, 27; Bik. 16:15.

14. Kiki ky’oyigidde ku Crystal, era kiki ky’osaanidde okukulembeza?

14 Yiga okwetengerera. Ekyo kikulu nnyo eri Abakristaayo bonna abakulu mu by’omwoyo. (Baf. 4:11) Mwannyinaffe Crystal agamba nti: “Bazadde bange bannyambako okulonda amasomo agandinsobozesezza okuyiga okukola ebintu ebyandinnyambye oluvannyuma mu bulamu. Taata yankubiriza okusoma essomo erikwata ku kubalirira ssente ezikozesebwa mu kampuni era ekyo kinnyambye nnyo.” Ng’oggyeeko okuyiga ebintu ebinaakuyamba okufuna omulimu gw’okweyimirizaawo, osaanidde n’okuyiga okuba n’embalirira era n’okuginywererako. (Nge. 31:​16, 18) Osaanidde okukulembeza ebintu eby’omwoyo nga weewala amabanja agateetaagisa era ng’oba mumativu n’obutaba na bintu bingi mu bulamu.​—1 Tim. 6:8.

WEETEEKERETEEKERE OBUVUNAANYIZIBWA OBW’OMU BISEERA EBY’OMU MAASO

15-16. Bannyinaffe abali obwannamunigina baganyula batya abalala? (Makko 10:​29, 30)

15 Bw’okulaakulanya engeri ennungi era n’obaako ebintu by’okugukamu, kikuyamba okweteekerateekera obuvunaanyizibwa bw’ojja okufuna mu biseera eby’omu maaso. Ka tulabeyo ebimu ku ebyo by’oyinza okukola.

16 Osobola okusigala ng’oli bwannamunigina okumala ekiseera. Nga Yesu bwe yalaga, abakazi abamu basalawo okusigala nga si bafumbo, wadde ng’ekyo kivumirirwa mu buwangwa bwabwe. (Mat. 19:​10-12) Abalala basigala nga si bafumbo olw’embeera. Ba mukakafu nti Yakuwa ne Yesu tebakitwala nti abo abali obwannamunigina si ba mugaso. Okwetooloola ensi, bannyinaffe abali obwannamunigina ba mugaso nnyo mu bibiina byabwe. Olw’okuba bafaayo ku balala era booleka okwagala, abalala mu kibiina babatwala nga baganda baabwe era bamaama baabwe ab’eby’omwoyo.​—Soma Makko 10:​29, 30; 1 Tim. 5:2.

17. Bannyinaffe abato bayinza batya okweteekerateekera okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?

17 Osobola okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Okwetooloola ensi abakazi Abakristaayo bakola kinene nnyo mu mulimu gw’okubuulira. (Zab. 68:11) Osobola okulowooza ku ky’okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna? Oyinza okuweereza nga payoniya, okuyambako mu mulimu gw’okuzimba, oba okuweereza ku Beseri. Saba Yakuwa omutegeeze ku kiruubirirwa kyo. Yogerako n’abalala abaatuuka ku kiruubirirwa ekyo, omanye ky’osaanidde okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo. Oluvannyuma kola enteekateeka eneekusobozesa okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Bw’onooyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna, kijja kukuyamba okukola ebintu ebirala bingi mu buweereza bwo.

Bw’oba ng’olowooza ku ky’okufumbirwa, osaanidde okulonda n’obwegendereza oyo gw’oyagala okufumbirwa (Laba akatundu 18)

18. Lwaki mwannyinaffe alina okwegendereza ng’alonda oyo gw’anaafumbirwa? (Laba n’ekifaananyi.)

18 Oyinza okusalawo okufumbirwa. Engeri ze twogeddeko mu kitundu kino n’ebintu by’osaanidde okukugukamu bye twogeddeko, bijja kukuyamba okuba omukyala omulungi. Kya lwatu nti bw’oba olowooza ku ky’okufumbirwa, olina okulonda n’obwegendereza oyo gw’onoofumbirwa. Ekyo kye kimu ku bintu ebisinga obukulu by’ojja okusalawo. Kijjukire nti omusajja gw’onoofumbirwa y’ajja okuba omutwe gwo. (Bar. 7:2; Bef. 5:​23, 33) N’olwekyo weebuuze: ‘Mukulu mu by’omwoyo? Akulembeza ebintu eby’omwoyo? Asalawo mu ngeri ey’amagezi? Akkiriza ensobi ze? Assa ekitiibwa mu bakazi? Asobola okundabirira mu by’omwoyo, mu by’omubiri era n’okufaayo ku nneewulira yange? Atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe? Ng’ekyokulabirako, buvunaanyizibwa ki bw’alina mu kibiina, era abutuukiriza atya?’ (Luk. 16:10; 1 Tim. 5:8) Kya lwatu nti bw’oba oyagala okufuna omwami omulungi, naawe olina okweteekateeka okuba omukyala omulungi. 

19. Lwaki okuba nti omukazi ayitibwa ‘muyambi’ tekimufeebya?

19 Bayibuli egamba nti omukyala omulungi aba ‘muyambi’ eri omwami we. (Lub. 2:18) Ekyo kifeebya abakazi? Nedda! Mu butuufu kya kitiibwa gye bali. Emirundi mingi, Bayibuli eyita Yakuwa “omuyambi.” (Zab. 54:4; Beb. 13:6) Omukyala aba muyambi mutuufu eri omwami we bw’aba ng’amuwagira era ng’amuyamba okutuukiriza ebyo ebiba bisaliddwawo ebikwata ku maka. Ate era olw’okuba ayagala nnyo Yakuwa, afuba okulaba nti omwami we aba n’erinnya eddungi. (Nge. 31:​11, 12; 1 Tim. 3:11) Osobola okweteekerateekera obuvunaanyizibwa obwo bw’ojja okufuna mu biseera eby’omu maaso nga weeyongera okwagala Yakuwa era ng’oyamba abalala awaka ne mu kibiina.

20. Omukyala bw’aba maama omulungi, kikwata kitya ku b’omu maka ge?

20 Osobola okufuuka maama. Oluvannyuma lw’okufumbiriganwa, gwe n’omwami wo muyinza okuzaala abaana. (Zab. 127:3) N’olwekyo, kikulu ekyo okukirowoozaako nga bukyali. Engeri z’osaanidde okukulaakulanya ze twogeddeko mu kitundu kino era n’obukugu bw’osaanidde okufuna bijja kukuyamba ng’ofumbiddwa era ng’ofuuse maama. Bw’oba ng’olaga abalala okwagala, ng’oli wa kisa, era ng’oli mugumiikiriza kijja kuyamba ab’omu maka go okuba abasanyufu, era abaana bo bajja kuwulira nga balina obukuumi.​—Nge. 24:3.

Bannyinaffe abato bangi abaayigirizibwa Ebyawandiikibwa era ne bakolera ku ebyo bye baayigirizibwa, baafuuka Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo (Laba akatundu 21)

21. Bannyinaffe mu kibiina tubatwala tutya era lwaki? (Laba ekifaananyi ku ddiba.)

21 Bannyinaffe tubaagala nnyo olw’ebyo byonna bye mukolera Yakuwa n’abantu be. (Beb. 6:10) Mufuba nnyo okukulaakulanya engeri ennungi, n’okufuna obukugu mu bintu ebitali bimu ebijja okubayamba mmwe n’abo be mubeera nabo okuba abasanyufu, era mweteekerateekera obuvunaanyizibwa bwe mujja okufuna mu biseera eby’omu maaso. Muli ba muwendo nnyo mu kibiina kya Yakuwa!

OLUYIMBA 137 Abakyala Abeesigwa, Bannyinaffe Abakristaayo

a Bannyinaffe abato muli ba muwendo nnyo mu kibiina. Musobola okukula mu by’omwoyo nga mukulaakulanya engeri ennungi, nga mubaako ebintu bye mukugukamu, era nga mweteekerateekera obuvunaanyizibwa bwe mujja okufuna mu biseera eby’omu maaso. Ekyo kijja kubasobozesa okufuna emikisa mingi mu buweereza bwammwe eri Yakuwa.

b EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Omukristaayo omukulu mu by’omwoyo aba akolera ku bulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda so si ku magezi g’ensi. Akoppa Yesu, afuba okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era alaga abalala okwagala okuzingiramu n’okwefiiriza.

d Okusobola okumanya obukulu bw’okusoma, laba ekitundu “Lwaki Okusoma Kikulu eri Abaana​—Ekitundu 1: Soma oba Laba?” ku jw.org/lg.