Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekyokulabirako

Ekyokulabirako

Okulaga Abantu Aba Buli Ngeri Obusaasizi

Mwannyinaffe omu abeera mu New Zealand yalaba vidiyo erina omutwe, Have . . . Concern for One Another.” Vidiyo eyo eraga nti Yakuwa musaasizi era nti obusaasizi abwoleka mu bikolwa. (Is. 63:​7-9) Mwannyinaffe oyo yasalawo okukolera ku bye yayiga ng’abaako omuntu gw’ayamba. Ku olwo bwe yali agenze okugula ebintu, yasanga omukazi omu atalina w’abeera era n’amusaba amugulireyo eky’okulya. Omukazi oyo yakkiriza. Mwannyinaffe bwe yamuleetera eky’okulya, yasalawo amubuulire ku ebyo ebiri mu Bayibuli, ng’akozesa tulakiti Okubonaabona Kuliggwaawo?

Omukazi oyo yatulika n’akaaba. Yagamba mwannyinaffe oyo nti yakulira mu maka ga Bajulirwa ba Yakuwa naye nti yali yava mu mazima emyaka mingi emabega. Kyokka gye buvuddeko awo, yali asabye Yakuwa amuyambe okudda gy’ali. Mwannyinaffe oyo yawa omukazi oyo Bayibuli era ne bakola enteekateeka okuddamu okuyiga. a

Naffe tusobola okukoppa Yakuwa ne twoleka obusaasizi eri abantu abalala, nga mw’otwalidde ab’eŋŋanda zaffe wamu ne bakkiriza bannaffe mu kibiina. Ate era tusobola okwoleka obusaasizi nga tukozesa buli kakisa ke tufuna okubuulira abalala ku ebyo ebiri mu Bayibuli.

a Okumanya engeri gy’oyinza okuyamba omubuulizi eyaggwaamu amaanyi, laba ekitundu “Mudde Gye Ndi” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjuuni 2020.