Okyajjukira?
Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu mwaka guno? Laba oba ng’osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:
Kiki ekizingirwa mu kufuna “endowooza empya”? (Bar. 12:2)
Kisingawo ku kukola obukozi ebintu ebirungi. Kizingiramu okwekebera ekyo kye tuli munda n’okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe tusobole okutuukana n’emitindo gya Katonda.—w23.01, lup. 8-9.
Tuyinza tutya obutagwa lubege nga tutunuulira ebigenda mu maaso mu nsi?
Twagala nnyo okumanya engeri ebyo ebiriwo leero mu nsi gye bituukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli. Kyokka mu kifo ky’okuteebereza, ekiyinza okuleetawo enjawukana, tusaanidde okubikubaganyaako ebirowoozo nga tusinziira ku ebyo ebifulumiziddwa ekibiina kya Yakuwa. (1 Kol. 1:10)—w23.02, lup. 16.
Okubatizibwa kwa Yesu kwali kwawukana kutya n’okw’abagoberezi be?
Yesu yazaalibwa mu ggwanga eryali lyewaddeyo eri Katonda. N’olwekyo yali teyeetaaga okwewaayo eri Katonda nga ffe bwe tukola. Yesu yali atuukiridde era nga talina kibi. Yali teyeetaaga okwenenya bibi.—w23.03, lup. 5.
Tuyinza tutya okuyamba abalala okubaako kye baddamu mu nkuŋŋaana?
Bwe tuddamu mu bumpimpi, abalala babaako kye baddamu. Ate era tusaanidde okwewala okwogera ku nsonga nnyingi. Ekyo kijja kusobozesa abalala nabo okubaako bye boogerako.—w23.04, lup. 23.
“Ekkubo ery’Obutukuvu” eryogerwako mu Isaaya 35:8 litegeeza ki?
Ekkubo lino ery’akabonero okusooka litegeeza ekkubo Abayudaaya lye baayitamu nga bava e Babulooni okuddayo mu nsi yaabwe. Ate mu kiseera kyaffe ekkubo eryo litegeeza ki? Ng’omwaka gwa 1919 tegunnatuuka, omulimu gw’okuteekateeka ekkubo eryo gwakolebwa era gwali guzingiramu okuvvuunula n’okukuba Bayibuli mu kyapa, n’ebintu ebirala. Abantu ba Katonda babadde batambulira mu ‘Kkubo lino ery’Obutukuvu’ eribasobozesezza okutuuka mu lusuku olw’eby’omwoyo, era lijja kubatuusa mu nsi empya gye bagenda okufunira emikisa emingi.—w23.05, lup. 15-19.
Engero essuula 9 eyogera ku bakazi ki ababiri ab’akabonero?
Essuula eyo eyogera ku ‘mukazi omusirusiru’ era ng’abo baayita bagenda “magombe.” Era eyogera ne ku mukazi akiikirirwa “amagezi,” era ng’abo baayita bagenda mu “kkubo ery’okutegeera” era bafuna obulamu. (Nge. 9:1, 6, 13, 18)—w23.06, lup. 22-24.
Engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Lutti eraga etya nti si mukakanyavu era nti mwetoowaze?
Yakuwa yagamba Lutti okuva mu Sodomu addukire mu kitundu eky’ensozi. Naye Lutti bwe yeegayirira Yakuwa agende e Zowaali, Yakuwa yakkiriza kye yamusaba.—w23.07, lup. 21.
Kiki omukyala ky’asaanidde okukola omwami we bw’aba alina omuze ogw’okulaba ebifaananyi eby’obuseegu?
Asaanidde okukijjukira nti si y’avunaanyizibwa ku ekyo omwami we ky’akola. Asaanidde okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa era n’okufumiitiriza ku byokulabirako by’abakazi aboogerwako mu Bayibuli abaayolekagana n’ebizibu naye Yakuwa n’ababudaabuda. Asaanidde okuyamba omwami we okwewala embeera eziyinza okumuviirako okulaba ebifaananyi eby’obuseegu.—w23.08, lup. 14-17.
Bwe batubuuza ebibuuzo ebikwata ku nzikiriza zaffe, okukozesa amagezi kiyinza kitya okutuyamba okusigala nga tuli bakkakkamu?
Ekibuuzo omuntu ky’atubuuzizza tuyinza okukitwala ng’akakisa okumanya ky’alowooza oba ky’atwala ng’ekikulu. Ekyo kituyamba okumuddamu mu ngeri ey’obukkakkamu..— w23.09, lup. 17.
Kiki kye tuyigira ku Maliyamu bwe tuba twagala okufuna amaanyi?
Maliyamu bwe yakimanya nti ye yali agenda okuzaala Masiya, abalala baamuyamba okufuna amaanyi. Malayika Gabulyeri ne Erizabeesi bazzaamu Maliyamu amaanyi nga bakozesa Ebyawandiikibwa. Naffe bakkiriza bannaffe basobola okutuzzaamu amaanyi.—w23.10, lup. 15.
Yakuwa addamu atya essaala zaffe?
Yakuwa atusuubiza okuddamu essaala zaffe era alowooza ku ngeri gye zikwataganamu n’ekigendererwa kye. (Yer. 29:12) Essaala ze zimu ayinza okuziddamu mu ngeri ya njawulo, naye bulijjo atuyamba.—w23.11, lup. 21-22.
Bwe kiba nti Abaruumi 5:2 woogera ku “ssuubi,” ate lwaki liddamu okwogerwako mu lunyiriri olw’okuna?
Omuntu bw’awulira amawulire amalungi, afuna essuubi ery’okufuna obulamu mu lusuku lwa Katonda. Naye bw’afuna ebizibu n’agumiikiriza, era n’akiraba nti Yakuwa amusiima, essuubi lye lyeyongera okuba ekkakafu.—w23.12, lup. 12-13.