Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 50

Tusobola Okuyitibwa Abatuukirivu Bwe Twoleka Okukkiriza Okuliko Ebikolwa

Tusobola Okuyitibwa Abatuukirivu Bwe Twoleka Okukkiriza Okuliko Ebikolwa

“[Yoleka] okukkiriza ng’okwo jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina.”​—BAR. 4:12.

OLUYIMBA 119 Tulina Okuba n’Okukkiriza

OMULAMWA a

1. Bwe tulowooza ku kukkiriza kwa Ibulayimu, kibuuzo ki kye tuyinza okwebuuza?

 WADDE ng’abantu bangi baali bawuliddeko ebikwata ku Ibulayimu, abasinga obungi bamumanyiiko kitono nnyo. Naye ggwe olina bingi by’omanyi ku Ibulayimu. Ng’ekyokulabirako, okimanyi nti Ibulayimu ayitibwa “kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza.” (Bar. 4:11) Kyokka oyinza okwebuuza, ‘Nsobola okukoppa Ibulayimu nange ne mba n’okukkiriza nga kwe yalina?’ Yee, osobola.

2. Lwaki kikulu okwekenneenya ekyokulabirako Ibulayimu kye yassaawo? (Yakobo 2:​22, 23)

2 Engeri emu gye tuyinza okukulaakulanyaamu okukkiriza okulinga okwa Ibulayimu kwe kwekenneenya ekyokulabirako kye yassaawo. Ibulayimu yagondera ebiragiro bya Katonda n’agenda mu nsi ey’ewala, n’abeeranga mu weema okumala emyaka mingi, era n’agezaako okuwaayo omwana we Isaaka nga ssaddaaka. Ebikolwa ebyo byayoleka okukkiriza okw’amaanyi kwe yalina. Okukkiriza n’ebikolwa bya Ibulayimu by’amuviirako okusiimibwa mu maaso ga Katonda n’okubeera mukwano gwe. (Soma Yakobo 2:​22, 23.) Naffe ffenna nga naawe mw’oli, Yakuwa ayagala tusiimibwe mu maaso ge era tubeere mikwano gye. Eyo ye nsonga lwaki yaluŋŋamya omutume Pawulo n’omuyigirizwa Yakobo okuwandiika ebikwata ku Ibulayimu. Kati ka twekenneenye ebikwata ku Ibulayimu ebyogerwako mu Abaruumi essuula 4 ne mu Yakobo essuula 2. Waliwo ekintu ekikulu ekikwata ku Ibulayimu ekyogerwako mu ssuula ezo zombi.

3. Kyawandiikibwa ki Pawulo ne Yakobo kye baajuliza?

3 Pawulo ne Yakobo bombi baajuliza ebigambo ebiri mu Olubereberye 15:​6, awagamba nti: “[Ibulayimu] n’akkiririza mu Yakuwa; n’amubala okuba omutuukirivu.” Yakuwa atwala omuntu okuba omutuukirivu omuntu oyo bw’aba ng’asiimibwa gy’ali era nga taliiko musango mu maaso ge. Kyewuunyisa okuba nti omuntu omwonoonyi era atatuukiridde, Katonda asobola okumutwala nti taliiko musango! Oteekwa okuba nga naawe oyagala Katonda akutwale bw’atyo, era kisoboka. Kati tugenda kulaba ensonga lwaki Yakuwa yayita Ibulayimu omutuukirivu era ne kye tusaanidde okukola okusobola okuyitibwa abatuukirivu.

TULINA OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUSOBOLA OKUYITIBWA ABATUUKIRIVU

4. Kiki ekiremesa abantu okuba abatuukirivu?

4 Mu bbaluwa Pawulo gye yawandiikira Abaruumi, yagamba nti abantu bonna boonoonyi. (Bar. 3:23) Kati olwo omuntu ayinza atya okutwalibwa nti mutuukirivu oba nti taliiko kya kunenyezebwa, n’aba ng’asiimibwa mu maaso ga Katonda? Okusobola okuyamba Abakristaayo bonna ab’amazima okuddamu ekibuuzo ekyo, Pawulo yajuliza ebikwata ku Ibulayimu.

5. Yakuwa yasinziira ku ki okutwala Ibulayimu nti mutuukirivu? (Abaruumi 4:​2-4)

5 Yakuwa yatwala Ibulayimu nti mutuukirivu, Ibulayimu bwe yali ng’abeera mu nsi ya Kanani. Lwaki Yakuwa yatwala Ibulayimu nti mutuukirivu? Kiri bwe kityo olw’okuba Ibulayimu yagondera Amateeka ga Musa gonna? Nedda. (Bar. 4:13) Amateeka ago gaaweebwa eggwanga lya Isirayiri nga wayise emyaka egisukka mu 400 nga Katonda amaze okugamba nti Ibulayimu mutuukirivu. Kati olwo Katonda yasinziira ku ki okuyita Ibulayimu omutuukirivu? Yasinziira ku kisa eky’ensusso kye yamulaga, kubanga Ibulayimu yayoleka okukkiriza okw’amaanyi.​—Soma Abaruumi 4:​2-4.

6. Lwaki Yakuwa asobola okutwala omuntu nti mutuukirivu?

6 Pawulo era yagamba nti omuntu bw’akkiririza mu Katonda, “abalibwa okuba omutuukirivu olw’okukkiriza kwe.” (Bar. 4:5) Ate era yagattako nti: “Dawudi ayogera ku ssanyu ly’omuntu Katonda gw’abala ng’omutuukirivu awatali bikolwa. Agamba nti: ‘Balina essanyu abasonyiyiddwa ebikolwa byabwe ebibi era abaggiddwako ebibi byabwe; alina essanyu omuntu Yakuwa gw’atalibalira kibi kye.’” (Bar. 4:​6-8; Zab. 32:​1, 2) Katonda asonyiwa oba abikka ku bibi by’abo abamukkiririzaamu. Abantu ng’abo abatwala ng’abataliiko musango era ng’abatuukirivu olw’okukkiriza kwabwe.

7. Lwaki tuyinza okugamba nti abaweereza ba Yakuwa abaaliwo mu biseera eby’edda baali batuukirivu?

7 Wadde nga Ibulayimu, Dawudi, n’abaweereza ba Yakuwa abalala abeesigwa baatwalibwa okuba abatuukirivu, baali bantu abatatuukiridde era aboonoonyi. Naye olw’okukkiriza kwabwe, Katonda yali abatwala okuba nti tebaliiko kya kunenyezebwa, naddala bwe yabageraageranya n’abantu abatamusinza. (Bef. 2:12) Nga Pawulo bwe yakyoleka obulungi mu bbaluwa ye, tuteekwa okuba n’okukkiriza okusobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Ibulayimu ne Dawudi baali mikwano gya Katonda olw’okuba baalina okukkiriza.

KAKWATE KI AKALIWO WAKATI W’OKUKKIRIZA N’EBIKOLWA?

8-9. Bintu ki ebitali bituufu abantu abamu bye boogedde ku ebyo Pawulo ne Yakobo bye baawandiika, era lwaki?

8 Okumala ebyasa bingi, wabaddewo obutakkaanya mu madiini ga Kristendomu ku kakwate akaliwo wakati w’okukkiriza n’ebikolwa. Abakulu b’amadiini abamu bayigiriza nti ekintu kyokka omuntu ky’alina okukola okusobola okulokolebwa kwe kukkiririza mu Mukama waffe Yesu Kristo. Oyinza okuba nga naawe wali obawuliddeko nga bagamba nti, “Kkiriza Yesu olokolebwe.” Abakulu b’amadiini abo bayinza n’okujuliza ebigambo bya Pawulo bino: ‘Omuntu Katonda amubala nti mutuukirivu awatali bikolwa.’ (Bar. 4:6) Kyokka abalala bagamba nti “osobola okwerokola” ng’olamaga mu bifo ekkanisa oba ekkereziya by’etwala nga bikulu era ng’okola n’ebintu ebirungi. Oboolyawo bajuliza Yakobo 2:24 awagamba nti: “Omuntu ayitibwa mutuukirivu lwa bikolwa, so si lwa kukkiriza kwokka.”

9 Olw’endowooza ezo ezaawukana, abamu ku abo abawandiika ebikwata ku ddiini bagamba nti, ebyo Pawulo ne Yakobo bye baawandiika ku kukkiriza n’ebikolwa bikontana. Abakulembeze b’amadiini bamu bagamba nti wadde nga Pawulo yali akkiriza nti omuntu ayitibwa omutuukirivu olw’okukkiriza okutaliiko bikolwa, Yakobo ye yagamba nti omuntu okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda alina okuba ng’akola ebikolwa ebirungi. Omukugu omu mu by’eddiini yagamba nti: “Yakobo yali takkiriziganya n’ekyo Pawulo kye yagamba nti omuntu ayitibwa mutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa bikolwa.” Naye Yakuwa ye yaluŋŋamya Pawulo ne Yakobo okuwandiika ebyo bye bawandiika. (2 Tim. 3:16) N’olwekyo, wateekwa okuba nga waliwo engeri ennyangu ey’okutegeeramu ebyo bye baawandiika. Tusaanidde okwekenneenya ebintu ebirala bye baawandiikako mu bbaluwa zaabwe okusobola okutegeera ebyo bye bawandiika ku kukkiriza n’ebikolwa.

Pawulo yagamba Abakristaayo Abayudaaya abaali mu Rooma nti okukkiriza kwe kwetaagisa so si okukola ebyo Amateeka ga Musa bye galagira (Laba akatundu 10) b

10. Okusingira ddala “bikolwa” ki Pawulo bye yali ayogerako? (Abaruumi 3:​21, 28) (Laba n’ekifaananyi.)

10 “Bikolwa” ki Pawulo bye yali ayogerako mu Abaruumi 3 ne 4? Okusingira ddala yali ayogera ku “ebyo amateeka bye galagira,” kwe kugamba, Amateeka ga Musa agaaweebwa Abayisirayiri ku Lusozi Sinaayi. (Soma Abaruumi 3:21, 28.) Kirabika mu kiseera kya Pawulo Abakristaayo abamu Abayudaaya baali bakaluubirirwa okukikkiriza nti Amateeka ga Musa n’ebyo ebyali byetaagisa mu Mateeka ago, byali tebikyakola. N’olwekyo, Pawulo yajuliza ekyokulabirako kya Ibulayimu okulaga nti omuntu okusobola okutwalibwa nti mutuukirivu mu maaso ga Katonda tekisinziira ku “ebyo amateeka bye galagira.” Kisinziira ku kuba n’okukkiriza. Ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi kubanga kiraga nti bwe tukkiririza mu Katonda ne Kristo tuba tusiimibwa mu maaso ga Katonda.

Yakobo yakubiriza Abakristaayo okwoleka okukkiriza kwabwe okuyitira mu “bikolwa,” gamba ng’okukolera abalala ebirungi awatali kusosola (Laba akatundu 11-12) c

11. “Bikolwa” ki Yakobo bye yayogerako?

11 Ku luuyi olulala, ‘ebikolwa’ ebyogerwako mu Yakobo essuula 2 si ‘by’ebyo amateeka bye galagira’ Pawulo bye yayogerako. Yakobo yali ayogera ku bikolwa Abakristaayo bye bakola mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Ebikolwa ebyo biraga obanga Omukristaayo alina okukkiriza okwa nnamaddala. Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri Yakobo bye yakozesa.

12. Yakobo yalaga atya akakwate akaliwo wakati w’okukkiriza n’ebikolwa? (Laba n’ekifaananyi.)

12 Mu kyokulabirako ekisooka, Yakobo yalaga nti kikulu Abakristaayo obutasosola balala. Yayogera ku muntu alaga ekisa omugagga naye n’atalaga kisa muntu mwavu. Yakobo yagamba nti omuntu ng’oyo ayinza okugamba nti alina okukkiriza naye by’akola byoleka nti talina kukkiriza. (Yak. 2:​1-5, 9) Mu kyokulabirako eky’okubiri, Yakobo yogera ku muntu alaba ‘muganda waffe oba mwannyinaffe atalina kya kwambala oba emmere emumala’ naye n’atabaako ky’akolawo kumuyamba. Omuntu ng’oyo ne bw’agamba nti alina okukkiriza, okukkiriza okwo tekuliiko bikolwa. N’olwekyo, engeri gye yeeyisaamu eraga nti talina kukkiriza. Nga Yakobo bwe yagamba, “okukkiriza bwe kutaba na bikolwa kuba kufu.”​—Yak. 2:​14-17.

13. Kyakulabirako ki Yakobo kye yakozesa okulaga nti okukkiriza kulina okubaako ebikolwa? (Yakobo 2:​25, 26)

13 Yakobo yayogera ku kyokulabirako kya Lakabu. Lakabu yayoleka okukkiriza okuyitira mu ebyo bye yakola. (Soma Yakobo 2:​25, 26.) Lakabu yawulira ebikwata ku Yakuwa era n’akiraba nti Yakuwa yali ayamba Abayisirayiri. (Yos. 2:​9-11) Ebikolwa bye byalaga nti yalina okukkiriza kubanga yakweka abakessi ba Isirayiri ababiri obulamu bwabwe bwe bwali mu kabi. N’olw’ensonga eyo, omukyala oyo eyali tatuukiridde era ataali Muyisirayiri yayitibwa mutuukirivu nga Ibulayimu bwe yali. Ekyokulabirako kye yassaawo kiraga obukulu bw’okwoleka okukkiriza mu bikolwa.

14. Lwaki tuyinza okugamba nti ebyo Pawulo ne Yakobo bye baawandiika tebikontana?

14 N’olwekyo, Pawulo ne Yakobo bannyonnyola ebikwata ku kukkiriza n’ebikolwa mu ngeri bbiri ez’enjawulo. Pawulo yali agamba Abakristaayo Abayudaaya nti baali tebasobola kusiimibwa mu maaso ga Katonda olw’okukola ebyo Amateeka ga Musa bye galagira byokka. Kyokka ye Yakobo yali alaga nti kikulu Abakristaayo bonna okwoleka okukkiriza nga bakolera abalala ebirungi.

Okukkiriza kwo kukuleetera okukola ebyo Yakuwa by’ayagala? (Laba akatundu 15)

15. Ebimu ku ebyo bye tuyinza okukola okulaga nti tulina okukkiriza bye biruwa? (Laba n’ekifaananyi.)

15 Yakuwa tatusuubira kukolera ddala ebyo Ibulayimu bye yakola okusobola okutuyita abatuukirivu. Waliwo ebintu bingi bye tusobola okukola okwoleka okukkiriza kwaffe. Tusobola okwaniriza abapya mu kibiina kyaffe, okuyamba bakkiriza bannaffe ababa mu bwetaavu, n’okukolera ab’omu maka gaffe ebirungi. Bino byonna Yakuwa abisiima era bwe tubikola atuwa emikisa. (Bar. 15:7; 1 Tim. 5:​4, 8; 1 Yok. 3:18) Ekimu ku bintu ebikulu ennyo bye tuyinza okukola okwoleka okukkiriza kwaffe kwe kubuulira n’obunyiikivu. (1 Tim. 4:16) Ffenna tusobola okukyoleka mu bikolwa byaffe nti tukkiririza mu bisuubizo bya Yakuwa, era nti amakubo ge ge gasingayo obulungi. Bwe tukola tutyo tuba bakakafu nti Katonda atutwala nti tuli batuukirivu era tufuuka mikwano gye.

ESSUUBI LITUYAMBA OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUNYWEVU

16. Kakwate ki akaliwo wakati w’essuubi Ibulayimu lye yalina n’okukkiriza kwe yalina?

16 Abaruumi essuula 4 eraga ekintu ekirala ekikulu kye tusobola okuyigira ku Ibulayimu. Essuula eyo eraga nti kikulu okuba n’essuubi. Yakuwa yasuubiza nti okuyitira mu Ibulayimu “amawanga mangi” gandiweereddwa omukisa. Lowooza ku ssuubi eryo ery’ekitalo Ibulayimu lye yalina! (Lub. 12:3; 15:5; 17:4; Bar. 4:17) Kyokka Ibulayimu ne bwe yali ng’awezezza emyaka 100 era nga ne Saala wa myaka 90, baali tebannazaala mwana eyabasuubizibwa. Mu ndaba ey’obuntu kyali tekisoboka Ibulayimu ne Saala okuzaala omwana. Ekyo kyali kigezo kya maanyi eri Ibulayimu. Kyokka “yalina essuubi era yali akkiriza nti ajja kufuuka kitaawe w’amawanga amangi.” (Bar. 4:​18, 19) Oluvannyuma Ibulayimu yafuna ekyo kye yali amaze ekiseera ekiwanvu ng’alindirira. Yazaala Isaaka.​—Bar. 4:​20-22.

17. Tumanya tutya nti Katonda asobola okututwala nti tuli batuukirivu era nti tuli mikwano gye?

17 Tusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda ne tubalibwa okuba abatuukirivu era mikwano gye nga Ibulayimu bwe yali. Mu butuufu, ekyo Pawulo kye yayogerako bwe yagamba nti: “Ekigambo ‘n’abalibwa’ tekyawandiikibwa ku [lwa Ibulayimu] yekka, naye era ne ku lwaffe abajja okubalibwa ng’abatuukirivu, kubanga tukkiriza Oyo eyazuukiza Yesu.” (Bar. 4:​23, 24) Okufaananako Ibulayimu, twetaaga okuba n’okukkiriza, okukola ebikolwa ebirungi, n’okuba abakakafu nti Katonda bye yasuubiza bijja kutuukirira. Pawulo yeeyongera okwogera ku ssuubi lye tulina mu Abaruumi essuula 5, gye tugenda okukubaganyaako ebirowoozo mu kitundu ekiddako.

OLUYIMBA 28 Okufuuka Mukwano gwa Yakuwa

a Twetaaga okusiimibwa mu maaso ga Katonda n’okutwalibwa ng’abatuukirivu mu maaso ge. Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri ekyo gye kisobokamu nga twetegereza ebyo Pawulo ne Yakobo bye baawandiika, era n’ensonga lwaki twetaaga okwoleka okukkiriza okuliko ebikolwa okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda.

b EBIFAANANYI: Pawulo yakubiriza Abakristaayo Abayudaaya okufaayo ennyo ku kukkiriza kwabwe so si ebyo “amateeka bye galagira,” gamba ng’okuteeka akawuzi aka bbulu ku lukugiro lw’ebyambalo byabwe, okukwata embaga ey’Okuyitako, n’okutuukiriza obulombolombo obukwata ku kunaaba.

c EBIFAANANYI: Yakobo yatukubiriza okwoleka okukkiriza nga tukolera abalala ebirungi, gamba ng’okuyamba abaavu.