EKITUNDU EKY’OKUSOMA 51
Weenyumiririze mu Ssuubi Eritamalaamu Maanyi
“Essuubi terimalaamu maanyi.”—BAR. 5:5.
OLUYIMBA 142 Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe
OMULAMWA a
1. Lwaki Ibulayimu yali mukakafu nti yandifunye omwana?
YAKUWA yasuubiza mukwano gwe Ibulayimu nti amawanga gonna ag’omu nsi gandiweereddwa omukisa okuyitira mu zzadde lye. (Lub. 15:5; 22:18) Olw’okuba Ibulayimu yalina okukkiriza okw’amaanyi, yali mukakafu nti ekisuubizo kya Katonda ekyo kyandituukiridde. Wadde kyali kityo, Ibulayimu ne bwe yali nga wa myaka 100 ate nga mukyala we wa myaka 90, baali tebannafuna mwana. (Lub. 21:1-7) Kyokka Bayibuli egamba nti: “[Ibulayimu] yalina essuubi era yali akkiriza nti ajja kufuuka kitaawe w’amawanga amangi.” (Bar. 4:18) Oteekwa okuba ng’okimanyi bulungi nti ekyo Ibulayimu kye yasuubizibwa kyatuukirira. Yazaala omwana gwe yali amaze ekiseera ekiwanvu ng’alindirira era ng’omwana oyo ye Isaaka. Ibulayimu yasinziira ku ki okuba omukakafu nti ekyo Katonda kye yamusuubiza kyandituukiridde?
2. Lwaki Ibulayimu yali mukakafu nti ekyo Yakuwa kye yamusuubiza kyandituukiridde?
2 Olw’okuba Ibulayimu yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa, “yali mukakafu ddala nti Katonda yali asobola okutuukiriza kye yasuubiza.” (Bar. 4:21) Yakuwa yasiima Ibulayimu era n’amuyita omutuukirivu olw’okukkiriza kwe. (Yak. 2:23) Nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 4:18, okukkiriza kwa Ibulayimu n’essuubi lye yalina byalina akakwate. Kati ka tulabe ebyo omutume Pawulo bye yayogera ku ssuubi nga bwe biragibwa mu Abaruumi essuula 5.
3. Kiki Pawulo kye yayogera ku ssuubi?
3 Pawulo yalaga ensonga lwaki tusobola okuba abakakafu nti ‘essuubi lye tulina terimalaamu maanyi.’ (Bar. 5:5) Ate era yatuyamba okumanya engeri essuubi lyaffe gye liyinza okweyongera okuba erinywevu. Nga twekenneenya ebyo Pawulo bye yayogera mu Abaruumi 5:1-5, weekebere. Ekyo kiyinza okukuyamba okukiraba nti ekiseera bwe kigenze kiyitawo, essuubi ly’olina lyeyongedde okuba ekkakafu. Ate era kijja kukuyamba okulaba ebyo by’osobola okukola okunyweza essuubi ly’olina kati. Kati ka tusooke twekenneenye ebikwata ku ssuubi ery’ekitiibwa Pawulo lye yagamba nti terimalaamu maanyi.
ESSUUBI ERY’EKITIIBWA
4. Kiki ekyogerwako mu Abaruumi 5:1, 2?
4 Soma Abaruumi 5:1, 2. Ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiikira ekibiina ky’e Rooma. Ab’oluganda ne bannyinaffe mu kibiina ekyo baali baayiga ebikwata ku Yakuwa ne ku Yesu, nga boolese okukkiriza, era nga bafuuse Abakristaayo. Era olw’ensonga eyo Katonda ‘yabayita batuukirivu olw’okukkiriza,’ n’abafukako omwoyo omutukuvu. Baafuna essuubi ery’ekitalo era ekkakafu.
5. Ssuubi ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta lye balina?
5 Oluvannyuma Pawulo yawandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta mu kibiina ky’e Efeso n’ababuulira ebikwata ku ssuubi lye baayitirwa. Essuubi eryo lyali lizingiramu okufuna eky’obusika ekyaterekerwa abatukuvu. (Bef. 1:18) Pawulo era yabuulira Abakristaayo mu Kkolosaayi wa gye bandifunidde empeera yaabwe gye baali basuubira. Yagamba nti ‘essuubi eryo lyali libaterekeddwa mu ggulu.’ (Bak. 1:4, 5) N’olwekyo, essuubi Abakristaayo abaafukibwako amafuta lye balina lya kuzuukira bafune obulamu mu ggulu gye bajja okufugira awamu ne Kristo.—1 Bas. 4:13-17; Kub. 20:6.
6. Kiki ow’oluganda omu eyafukibwako amafuta kye yayogera ku ssuubi lye yalina?
6 Essuubi eryo Abakristaayo abaafukibwako amafuta balitwala nga lya muwendo nnyo. Omu ku bo yali ow’Oluganda Frederick Franz. Ow’oluganda oyo yayogera ku ngeri gye yali atwalamu essuubi eryo bwe yagamba nti: “Essuubi lyaffe kkakafu ddala; buli omu ku ffe 144,000 ajja kufuna ekyo Katonda kye yatusuubiza. Empeera yaffe ejja kuba esingira wala nnyo ebintu byonna bye tulina.” Oluvannyuma lw’okuweereza Katonda n’obwesigwa okumala emyaka mingi, mu 1991 Ow’oluganda Franz yagamba nti: “Essuubi lyaffe tukyalitwala nga lya muwendo nnyo. . . . Gye tukoma okulindirira gye tukoma okusiima. Tuli beetegefu okulindirira okutuusa ekyo kye tulinda lwe kinaatuukirira ne bwe kiba nti kitegeeza okulindirira okumala emyaka kakadde kalamba. Essuubi eryo nditwala nga lya muwendo nnyo okusinga bwe nnali nditwala edda.”
7-8. Abasinga obungi ku baweereza ba Yakuwa balina ssuubi ki? (Abaruumi 8:20, 21)
7 Abasinga obungi ku baweereza ba Yakuwa leero essuubi lye balina lya njawulo. Essuubi lye balina ly’eryo Ibulayimu lye yalina, kwe kugamba, okufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi nga bafugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Beb. 11:8-10, 13) Pawulo yayogera ku ssuubi eryo ery’ekitalo. (Soma Abaruumi 8:20, 21.) Bwe wasooka okumanya ebintu ebirungi Bayibuli by’esuubiza okubaawo mu biseera eby’omu maaso, kiki ekyasinga okukukwatako? Okubeera omuntu atuukiridde nga tokyalina kibi? Oba okukimanya nti abantu bo abaafa bajja kuddamu babeere balamu wano ku nsi ng’efuuse Olusuku lwa Katonda? Olw’essuubi eryo Katonda lye yatuwa, olina ebintu bingi nnyo bye weesunga mu biseera eby’omu maaso.
8 Ka kibe nti tusuubira okufuna obulamu obutaggwaawo mu ggulu oba wano ku nsi, essuubi eryo lya kitiibwa era tulyenyumiririzaamu nnyo. Era essuubi ly’olina lisobola okweyongera okuba erinywevu. Ekyo Pawulo ky’addako okuwandiika kiraga engeri ekyo gye kiyinza okubaawo. Kati ka tulabe ebyo bye yawandiika ku ssuubi lye tulina. Ebintu ebyo bijja kutuyamba okweyongera okuba abakakafu nti ebyo bye tusuubira ddala bijja kutuukirira.
ENGERI ESSUUBI GYE LYEYONGERA OKUBA ERINYWEVU
9-10. Ng’ekyokulabirako ky’omutume Pawulo bwe kiraga, kiki Abakristaayo kye basuubira? (Abaruumi 5:3) (Laba n’ekifaananyi.)
9 Soma Abaruumi 5:3. Pawulo yagamba nti bwe tubonaabona essuubi lyaffe lisobola okweyongera okuba erinywevu. Ekyo kiyinza okutwewuunyisa. Kyokka ekituufu kiri nti abagoberezi ba Kristo bonna basuubira okubonaabona mu ngeri emu oba endala. Lowooza ku Pawulo. Yagamba Abakristaayo mu kibiina ky’e Ssessalonika nti: “Bwe twali nammwe twababuulirirawo nti tulina okubonaabona, era ekyo kyennyini kye kibaddewo.” (1 Bas. 3:4) Ate yagamba ab’omu kibiina ky’e Kkolinso nti: “Twagala mumanye okubonaabona kwe twayolekagana nakwo. . . . Twali tetumanyi nti tusobola okusigala nga tuli balamu.”—2 Kol. 1:8; 11:23-27.
10 Ne leero Abakristaayo basuubira okubonaabona mu ngeri emu oba endala. (2 Tim. 3:12) Naawe oyigganyizibwa olw’okubeera omugoberezi wa Kristo? Mikwano gyo n’ab’eŋŋanda zo bayinza okuba nga bakujerega. Bayinza n’okuba nga bakuyisa mu ngeri ey’obukambwe. Ofunye ebizibu ku mulimu olw’okufuba okusigala ng’oli mwesigwa mu bintu byonna? (Beb. 13:18) Ab’obuyinza mu kitundu kyo bakuvunaana olw’okubuulira abalala amawulire amalungi? Kyokka ka kube kubonaabona kwa ngeri ki kwe twolekagana nakwo, Pawulo yagamba nti tusaanidde okusanyuka. Lwaki?
11. Lwaki twetaaga okuba abamalirivu okugumira ekigezo kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo?
11 Tusobola okuba abasanyufu nga tubonaabona olw’okuba tukimanyi nti okubonaabona kutusobozesa okukulaakulanya emu ku ngeri enkulu ennyo. Abaruumi 5:3 wagamba nti: “Okubonaabona kuleeta obugumiikiriza.” Okuva bwe kiri nti Abakristaayo bonna basuubira okubonaabona ekiseera kyonna, bonna balina okuba abagumiikiriza. Tulina okuba abamalirivu okugumira ekigezo kyonna kye tuyinza okwolekagana nakyo. Okusobola okufuna ebyo bye tusuubira, tulina okuba abagumiikiriza ne tweyongera okuweereza Katonda n’obwesigwa. Tetwagala kuba ng’abo Yesu be yageraageranya ku nsigo ezaagwa ku lwazi. Mu kusooka bakkiriza n’essanyu ekigambo kyokka ‘bwe waabaawo okubonaabona oba okuyigganyizibwa’ beesittala. (Mat. 13:5, 6, 20, 21) Kyo kituufu si kyangu okugumira okuyigganyizibwa oba ebizibu ebirala, naye bwe tugumiikiriza kivaamu emiganyulo mingi. Miganyulo ki?
12. Tuganyulwa bwe tugumiikiriza nga twolekagana n’ebizibu?
12 Omuyigirizwa Yakobo yalaga emiganyulo egiri mu kugumiikiriza nga twolekagana n’ebigezo. Yagamba nti: “Muleke obugumiikiriza butuukirize omulimu gwabwo, mulyoke mubeere abatuukiridde era abakola obulungi mu byonna nga temulina kibabulako mu buli kintu kyonna.” (Yak. 1:2-4) Yakobo yalaga nti obugumiikiriza bulina omulimu gwe bulina okutuukiriza. Mulimu ki ogwo? Busobola okutuyamba okukulaakulanya engeri gamba ng’okukkiriza n’okwesiga Katonda. Naye waliwo omuganyulo omulala oguva mu kugumiikiriza.
13-14. Obugumiikiriza buvaamu ki, era ekyo kikwatagana kitya n’essuubi lye tulina? (Abaruumi 5:4)
13 Soma Abaruumi 5:4. Pawulo yagamba nti okugumiikiriza kuvaamu “okusiimibwa.” Naye ekyo tekitegeeza nti Yakuwa asanyuka bw’alaba ng’oyolekagana n’ebizibu, wabula kitegeeza nti akusiima olw’okugumiikiriza. Mazima ddala obugumiikiriza bukuviirako okusiimibwa. Eyo nga nkizo ya kitalo!—Zab. 5:12.
14 Kijjukire nti Ibulayimu yagumiikiriza ebizibu era ekyo ne kimuviirako okusiimibwa mu maaso ga Katonda. Yakuwa yamutwala nga mukwano gwe era n’amuyita omutuukirivu. (Lub. 15:6; Bar. 4:13, 22) Naffe Yakuwa asobola okututwala bw’atyo. Enkizo ze tulina oba obungi bw’ebyo bye tukola mu buweereza si bye bituleetera okusiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa wadde nga twolekagana n’ebizibu, ekyo ky’asinziirako okutusiima. Era ka tube nga tuli ba myaka emeka, nga tuli mu mbeera ki, oba nga tulina busobozi ki, ffenna tusobola okugumiikiriza. Olina ekizibu ky’oyolekagana nakyo mu kiseera kino era ng’ogumiikiriza? Bwe kiba kityo, kimanye nti Katonda akusiima. Bwe tukimanya nti Katonda atusiima essuubi lyaffe lyeyongera okuba ekkakafu.
ESSUUBI ERINYWEVU
15. Kiki ekirala Pawulo kye yayogerako, era lwaki kiyinza okwewuunyisa abamu?
15 Nga Pawulo bwe yalaga, Yakuwa atusiima bwe tusigala nga tuli beesigwa nga twolekagana n’ebizibu. Weetegereze ekyo Pawulo kye yaddako okwogera. Yagamba nti: “Okusiimibwa kuleeta essuubi, era essuubi terimalaamu maanyi.” (Bar. 5:4, 5) Ekyo abamu bayinza okukyewuunya. Lwaki? Nga Pawulo bwe yagamba mu Abaruumi 5:2, Abakristaayo ab’omu Rooma baali baatandika dda okuba ‘n’essuubi ery’ekitiibwa kya Katonda.’ N’olwekyo, abamu bayinza okubuuza nti, ‘Bwe kiba nti Abakristaayo abo baalina essuubi, lwaki Pawulo ate yaddamu okwogera ku ssuubi?’
16. Omuntu atandika atya okuba n’essuubi ekkakafu? (Laba n’ekifaananyi.)
16 Tusobola okutegeera ekyo Pawulo kye yali ategeeza bwe tukimanya nti essuubi lisobola okweyongera okuba erinywevu. Ng’ekyokulabirako: Ojjukira lwe wasooka okumanya ebintu eby’ekitalo Katonda bye yatusuubiza mu Kigambo kye? Oyinza okuba nga wakiraba nti okubeera ku nsi emirembe gyonna kintu kirungi nnyo, naye tewali mukakafu nti kisobola okutuukirira. Kyokka bwe weeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne ku bisuubizo bye ebiri mu Bayibuli, weeyongera okuba omukakafu nti ebyo bye yasuubiza ddala bijja kutuukirira.
17. Essuubi ly’olina lyeyongedde litya okuba erinywevu oluvannyuma lw’okwewaayo n’okubatizibwa?
17 N’oluvannyuma lw’okwewaayo era n’obatizibwa, weeyongera okuyiga n’okukula mu by’omwoyo era essuubi lyo ne lyeyongera okuba ekkakafu. (Beb. 5:13–6:1) Oyinza okuba ng’olabye obutuufu bw’ebyo ebiri mu Abaruumi 5:2-4. Wayolekagana n’okubonaabona okutali kumu, n’ogumiikiriza, era n’okiraba nti Yakuwa akusiima. Olw’okuba okimanyi nti Katonda akwagala era akusiima, weeyongedde okuba omukakafu nti ojja kufuna ebintu ebirungi bye yatusuubiza. Essuubi lyo lyeyongedde okuba erinywevu okusinga bwe lyali mu kusooka. Lyeyongedde okuba erya ddala gy’oli. Weeyongedde okukwatibwako ennyo olw’essuubi eryo. Likwata ku mbeera z’obulamu bwo zonna era likyusizza engeri gy’oyisaamu abo b’obeera nabo mu maka, ebyo by’osalawo, era n’engeri gy’okozesaamu ebiseera byo.
18. Bukakafu ki Yakuwa bw’atuwa?
18 Waliwo ekintu ekirala ekikulu ennyo omutume Pawulo kye yayogera ku ssuubi lye wafuna oluvannyuma lw’okukimanya nti osiimibwa mu maaso ga Katonda. Yalaga nti ebyo by’osuubira ddala bijja kutuukirira. Lwaki osobola okuba omukakafu nti ekyo kituufu? Pawulo yalaga nti Katonda kennyini y’atuwa obukakafu buno. Yagamba nti: “Essuubi terimalaamu maanyi, kubanga okwagala kwa Katonda kufukiddwa mu mitima gyaffe okuyitira mu mwoyo omutukuvu ogwatuweebwa.” (Bar. 5:5) Mazima ddala olina ensonga gy’osinziirako okuba omukakafu nti ebyo by’osuubira ddala bijja kutuukirira.
19. Bwe kituuka ku ebyo Yakuwa by’atusuubizza, oli mukakafu ku ki?
19 Lowooza ku ekyo Yakuwa kye yasuubiza Ibulayimu era n’engeri gye yamusiimamu n’amutwala nga mukwano gwe. Ekyo Ibulayimu kye yali asuubira kyatuukirira. Bayibuli egamba nti: “Ibulayimu bwe yamala okwoleka obugumiikiriza, yafuna ekisuubizo ekyo.” (Beb. 6:15; 11:9, 18; Bar. 4:20-22) Mazima ddala Ibulayimu yafuna essanyu bwe yalaba ng’ekyo kye yali asuubira kituukiridde. Naawe osobola okuba omukakafu nti bw’osigala ng’oli mwesigwa ojja kufuna ebyo Katonda bye yatusuubiza. Essuubi ly’olina lya ddala, lireeta essanyu era terimalaamu maanyi! (Bar. 12:12) Pawulo yagamba nti: “Katonda awa essuubi abajjuze essanyu era abawe emirembe olw’okumwesiga, mulyoke mweyongere okuba n’essuubi olw’amaanyi g’omwoyo omutukuvu.”—Bar. 15:13.
OLUYIMBA 139 Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya
a Mu kitundu kino tugenda kulaba essuubi Abakristaayo lye balina era n’ensonga lwaki basobola okuba abakakafu nti ebyo bye basuubira ddala bijja kutuukirira. Ate era nga bwe tugenda okulaba mu Abaruumi essuula 5, essuubi lye tulina kati lyawukana ku eryo lye twalina nga twakayiga amazima.