Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

BY’OYINZA OKWESOMESA

Abantu Abeesigwa Batuukiriza Obweyamo Bwabwe

Abantu Abeesigwa Batuukiriza Obweyamo Bwabwe

Soma Ekyabalamuzi 11:​30-40 olabe by’osobola okuyigira ku Yefusa ne muwala we ebikwata ku kutuukiriza obweyamo.

Manya ebiri mu nnyiriri ezeetooloddewo. Abayisirayiri abeesigwa baatwalanga batya ebyo bye beeyamanga mu maaso ga Yakuwa? (Kubal. 30:2) Yefusa ne muwala we, baakyoleka batya nti baalina okukkiriza okw’amaanyi?—Balam. 11:​9-11, 19-24, 36.

Noonyereza ku bintu ebyogerwako. Kiki Yefusa ky’ayinza okuba nga yali alowoozaako bwe yali nga yeeyama? (w16.04 7 ¶12) Biki Yefusa ne muwala we bye beefiiriza okusobola okutuukiriza obweyamo obwo? (w16.04 7-8 ¶14-16) Bintu ki Abakristaayo leero bye beeyama?—w17.04 5-8 ¶10-19.

Lowooza ku ebyo by’oyigamu era obikolereko. Weebuuze:

  • ‘Kiki ekiyinza okunnyamba okutuukiriza obweyamo bwe nnakola nga nneewaayo eri Yakuwa?’ (w20.03 13 ¶20)

  • ‘Biki bye nnyinza okwefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu?’

  • ‘Kiki ekiyinza okunnyamba okutuukiriza obweyamo bwe nnakola eri munnange mu bufumbo?’ (Mat. 19:​5, 6; Bef. 5:​28-33)