Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 50

OLUYIMBA 135 Yakuwa Akugamba: ‘Ba wa Magezi, Mwana Wange’

Abazadde​—⁠Muyambe Abaana Bammwe Okunyweza Okukkiriza Kwabwe

Abazadde​—⁠Muyambe Abaana Bammwe Okunyweza Okukkiriza Kwabwe

“Mwekakasize ekyo Katonda ky’ayagala, ekirungi, ekisiimibwa, era ekituukiridde.”BAR. 12:2.

EKIGENDERERWA

Mu kitundu kino abazadde bagenda kuyiga engeri gye basobola okwogera n’abaana baabwe ebikwata ku Katonda ne ku Bayibuli, babayambe okunyweza okukkiriza kwabwe.

1-2. Abazadde basaanidde kutwala batya ebibuuzo abaana baabwe bye babuuza ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu?

 BANGI bakkiriza nti okuba omuzadde buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo. Bw’oba oli omuzadde ng’olina omwana omuto, osiimibwa nnyo olw’okumuyamba okunyweza okukkiriza kwe. (Ma. 6:​6, 7) Omwana wo bw’agenda akula, ayinza okutandika okubuuza ebibuuzo ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu, omuli n’emitindo gya Bayibuli egy’empisa.

2 Mu kusooka oyinza okweraliikirira olw’ebyo omwana wo by’abuuza. Oyinza n’okulowooza nti ebibuuzo by’abuuza biraga nti okukkiriza kwe kunafuye. Naye ekituufu kiri nti abaana bwe bagenda bakula beetaaga okubuuza ebibuuzo okusobola okunyweza okukkiriza kwabwe. (1 Kol. 13:11) N’olwekyo tosaanidde kweraliikirira. Ebibuuzo byonna omwana wo by’abuuza mu bwesimbu ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu, oyinza okubitwala ng’ebikuwa akakisa okumuyamba okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri abazadde gye basobola okuyamba abaana baabwe (1) okunyweza okukkiriza kwabwe, (2) okusiima emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa, ne (3) okunnyonnyola abalala ebyo bye bakkiririzaamu. Ate era tugenda kulaba ensonga lwaki kirungi abaana okubuuza ebibuuzo, era n’ebyo abazadde bye basobola okukolera awamu n’abaana baabwe ebiyinza okuyamba abazadde okwogerako n’abaana baabwe ebikwata ku ebyo bye tukkiririzaamu.

YAMBA OMWANA WO OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWE

4. Bibuuzo ki omwana by’ayinza okwebuuza, era lwaki?

4 Abazadde Abakristaayo bakimanyi nti okuba nti bakkiririza mu Katonda tekitegeeza nti n’abaana baabwe balina okuba nga bamukkiririzaamu. Tewazaalibwa ng’okkiririza mu Yakuwa. Bwe kityo bwe kiri n’eri omwana wo. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omwana wo ayinza okutandika okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Mmanya ntya nti Katonda gy’ali? Ddala ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu?’ Bayibuli etukubiriza okukozesa ‘obusobozi bwaffe obw’okulowooza’ era ‘n’okwekenneenya ebintu byonna.’ (Bar. 12:1; 1 Bas. 5:21) Naye oyinza otya okuyamba omwana wo okunyweza okukkiriza kwe?

5. Kiki abazadde kye basobola okukola okuyamba abaana baabwe okweyongera okwesiga Bayibuli? (Abaruumi 12:2)

5 Yamba omwana wo okwekakasiza nti ebyo by’akkiririzaamu ge mazima. (Soma Abaruumi 12:2.) Omwana wo bw’akubuuza ebibuuzo, kozesa akakisa ako okumulaga engeri gy’ayinza okufuna eby’okuddamu ng’akozesa ebintu bye tukozesa okunoonyereza, gamba nga “Watch Tower Publications Indexn’Ekitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza. Mu Kitabo Ekiyamba Abajulirwa ba Yakuwa Okunoonyereza, wansi w’omutwe “Bayibuli,” ayinza okwekenneenya ebyo ebiri wansi w’omutwe omutono, “Yaluŋŋamizibwa Katonda,” okulaba obukakafu obulaga nti Bayibuli si kitabo butabo ekirungi ekyawandiikibwa abantu, wabula nti ‘kigambo kya Katonda.’ (1 Bas. 2:13) Ng’ekyokulabirako, ayinza okwekenneenya ebyo ebikwata ku kibuga Nineeve eky’edda ekyali ekya Bwasuli. Edda abo abawakanya ebiri mu Bayibuli baali bagamba nti tewabangawo kibuga kiyitibwa Nineeve. Naye mu myaka gya 1850, abo abayiikuula ebintu eby’edda baayiikuula amatongo g’ekibuga ekyo, ne kikakasa nti ekyo Bayibuli ky’eyogera kituufu. (Zef. 2:​13-15) Okusobola okumanya engeri okuzikirizibwa kwa Nineeve gye kwatuukirizaamu obunnabbi bwa Bayibuli, ayinza okusoma ebyo ebiri mu kitundu “Obadde Okimanyi?” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 2021. Omwana wo bw’anaageraageranya ebyo ebitabo byaffe bye byogera n’ebyo ebitabo ebirala ebirimu ebyafaayo bye byogera, kijja kumuyamba okweyongera okuba omukakafu nti ebyo Bayibuli by’eyogera bituufu.

6. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.)

6 Yamba omwana wo okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza. Abazadde basobola okukozesa embeera ezitali zimu okunyumyako n’abaana baabwe ebikwata ku Bayibuli oba ebikwata ku Katonda. Ng’ekyokulabirako, osobola okwogerako n’omwana wo ku bintu ebyo ng’ogenzeeko naye mu bifo eby’obulambuzi, gamba nga mu myuziyamu oba nga mugenzeeko ku Beseri. Oba oyinza okumulaga engeri ebifaananyi ebiragibwa mu bitabo oba mu vidiyo, oba ebintu ebirala ebyogerwako mu byafaayo gye bikwataganamu n’ebintu ebyogerwako mu Bayibuli. Ekyo kisobola okumuyamba okuba omukakafu nti ddala Bayibuli by’eyogera bituufu. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukubaganya naye ebirowoozo ku ebyo ebikwata ku jjinja erimu eryayolwako ebigambo, eriyitibwa Moabite Stone. Ejjinja eryo liweza emyaka 3000, era liriko erinnya lya Katonda. Ejjinja eryo lisangibwa mu myuziyamu emu mu Bufalansa. Ggwe n’omwana wo musobola okwekenneenya ebifaananyi by’ebintu eby’edda, gamba ng’ekya Moabite Stone nga mukozesa Intaneeti oba nga mukozesa ebitabo byaffe. Mu myuziyamu eri ku kitebe kyaffe ekikulu mu Warwick, New York, eriyo ejjinja lye baakola nga bakoppa erya Moabite Stone, era ejjinja eryo lisangibwa mu kitundu awali ebyo ebyogerwa ku Bayibuli n’erinnya lya Katonda. Ebiri ku jjinja eryo biraga nti Kabaka Mesa owa Mowaabu yajeemera Isirayiri. Ekyo kikwatagana n’ekyo Bayibuli ky’egamba. (2 Bassek. 3:​4, 5) Omwana wo bwe yeerabirako kennyini obukakafu obulaga nti Bayibuli by’eyogera bituufu, okukkiriza kwe kweyongera okunywera.—Geraageranya 2 Ebyomumirembe 9:6.

Yamba omwana wo okunyweza okukkiriza kwe nga mukubaganya ebirowoozo ku bimu ku bintu ebyogerwako mu byafaayo ebikakasa nti ddala ebiri mu Bayibuli bituufu? (Laba akatundu 6)


7-8. (a) Okuba nti ebitonde byakula bulungi nnyo era mu ngeri eyeewuunyisa, kituyigiriza ki? Waayo ekyokulabirako. (Laba n’ekifaananyi.) (b) Bibuuzo ki ebiyinza okuyamba omwana wo okweyongera okuba omukakafu nti ddala Katonda gy’ali?

7 Yamba omwana wo okufumiitiriza ku butonde. Bw’oba ng’otambulako n’omwana wo mu bifo ebimu oba nga muli mu nnimiro mulima, muyambe okufumiitiriza ku bitonde ebyewuunyisa bye tulaba. Ebitonde ebyo bukakafu bwa maanyi obulaga nti waliyo omukugu eyabikola era nti wa magezi nnyo. Ng’ekyokulabirako, bannassaayansi bamaze emyaka mingi nga beekenneenya ebitonde ebirina dizayini efaananako eggongolo eryezinze oba ekibbo ekirukibwa. Waliwo ebitonde bingi ebirina dizayini ng’eyo, gamba ng’ebimu ku bibinja by’emmunyeenye, amasonko g’amakovu agamu, ebikoola by’ebimera ebimu, n’ebimuli ebimu. a

8 Omwana wo bwe yeeyongera okuyiga ebyo bye bayigiriza mu ssaayansi ku ssomero, ajja kukiraba nti waliwo amateeka agafuga enkula y’ebitonde ebitali bimu. Ng’ekyokulabirako, emiti egisinga gikula mu ngeri y’emu. Gisooka kuba na nduli, oluvannyuma enduli emerako amatabi, ate amatabi ago nago ne gamerako amatabi amalala. Enkula eyo asangibwa ne mu bitonde ebirala bingi. Ani yassaawo amateeka agasobozesa ebitonde okukula mu ngeri eyo eyeewuunyisa? Omwana wo bw’afumiitiriza ku kibuuzo ng’ekyo kisobola okumuyamba okuba omukakafu nti Katonda ye yatonda ebintu byonna. (Beb. 3:4) Bwe muba mukubaganya ebirowoozo, oyinza okumubuuza ekibuuzo kino, “Bwe kiba nti Katonda ye yatutonda, tolaba nga kikola amakulu okugamba nti yatuteerawo amateeka agakwata ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu tusobole okuba abasanyufu?” Oluvannyuma oyinza okumugamba nti amateeka ago gasangibwa mu Bayibuli.

NASA, ESA, and the Hubble Heritage (STScl/AURA)-ESA/Hubble Collaboration

Ani yatonda ebintu ebirabika obulungi ennyo bye tulaba? (Laba akatundu 7-8)


YAMBA OMWANA WO OKUSIIMA EMITINDO GYA BAYIBULI EGIKWATA KU MPISA

9. Kiki ekiyinza okuviirako omwana wo okwebuuza obanga ng’ebyo Bayibuli by’eyogera ku gimu ku mitindo egikwata ku mpisa bituufu?

9 Omwana wo bw’aba alina by’abuusabuusa ku mitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa, gezaako okumanya ensonga lwaki abyebuuza. Ddala takkiriziganya n’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mitindo egikwata ku mpisa, oba yeebuuza ebibuuzo ebyo olw’okuba tamanyi ngeri ya kunnyonnyolamu balala by’akkiririzaamu? Ka kibe ki ekiba kimuviiriddeko okubuuza, osobola okumuyamba okusiima emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa ng’osoma naye ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! b

10. Oyinza otya okuyamba omwana wo okufumiitiriza ku nkolagana ye ne Yakuwa?

10 Yamba omwana wo okutwala enkolagana ye ne Yakuwa nga ya muwendo. Bw’oba oyiga n’omwana wo, gezaako okumanya ky’alowooza ng’okozesa ebibuuzo n’ebifaananyi ebiri mu kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! (Nge. 20:5) Ng’ekyokulabirako, mu ssuula 8 Yakuwa ageraageranyizibwa ku w’omukwano omulungi atujjukiza ebintu ebituyamba obutatuukibwako kabi era ebituganyula. Oluvannyuma lw’okukubaganya naye ebirowoozo ku 1 Yokaana 5:​3, oyinza okumubuuza nti, “Okukimanya nti Yakuwa atwagala nnyo, kyandituleetedde kutwala tutya ebyo by’atulagira?” Ekibuuzo ekyo kiyinza okulabika ng’ekyangu, naye bw’okibuuza omwana wo kisobola okumuyamba okukiraba nti Katonda yatuwa amateeka ge olw’okuba atwagala.—Is. 48:​17, 18.

11. Oyinza otya okuyamba omwana wo okweyongera okusiima emisingi gya Bayibuli? (Engero 2:​10, 11)

11 Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri okukolera ku misingi gya Bayibuli gye kituganyula. Bwe musomera awamu Bayibuli oba ekyawandiikibwa eky’olunaku, mukubaganye ebirowoozo ku ngeri emisingi gya Bayibuli gye giyambye amaka gammwe. Ng’ekyokulabirako, omwana wo alaba emiganyulo egiri mu kuba omukozi omunyiikivu era omwesigwa? (Beb. 13:18) Era oyinza okumulaga engeri okukolera ku misingi gya Bayibuli gye kituyambamu okuba abasanyufu era abalamu obulungi. (Nge. 14:​29, 30) Okukubaganya ebirowoozo ku misingi ng’egyo kiyinza okumuyamba okweyongera okusiima amagezi agali mu Bayibuli.—Soma Engero 2:​10, 11.

12. Taata omu ayamba atya omwana we okutegeera emiganyulo egiri mu kukolera ku misingi gya Bayibuli?

12 Ow’oluganda ayitibwa Steve, abeera mu Bufalansa, alaga engeri ye ne mukyala we gye bayambamu omwana waabwe omutiini ayitibwa Ethan, okukiraba nti Yakuwa yatuwa amateeka ge olw’okuba atwagala. Agamba nti: “Tumubuuza ebibuuzo nga bino, ‘Lwaki Yakuwa ayagala tukolere ku musingi guno? Ekyo kiraga kitya nti atwagala? Kiki ekiyinza okubaawo singa tokolera ku musingi ogwo?’” Okukubaganya ebirowoozo mu ngeri eyo kiyambye Ethan okusiima emitindo gya Yakuwa egy’empisa. Steve agattako nti: “Ekigendererwa kyaffe kya kuyamba Ethan okukiraba nti amagezi agali mu Bayibuli gasingira wala ag’abantu.”

13. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukolera ku misingi gya Bayibuli? Waayo ekyokulabirako.

13 Yamba omwana wo okuyiga okukolera ku misingi gya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, omwana wo ayinza okubaako ekitabo ky’aweebwa okusoma era ng’ebikirimu bijja okukubaganyizibwako ebirowoozo ku ssomero. Ebiri mu kitabo ekyo biyinza okuba nga byogera ku bantu abakola ebintu ebivumirirwa mu Bayibuli, gamba ng’ebikolwa eby’obugwenyufu oba eby’obukambwe, naye ng’engeri gye boogerwako ereetera omuntu okwagala okubakoppa. Oyinza okukubiriza omwana wo okulowooza ku ngeri Yakuwa gy’atwalamu abantu abakola ebintu ng’ebyo. (Nge. 22:​24, 25; 1 Kol. 15:33; Baf. 4:8) Ekyo kijja kumuyamba okutegeera ensonga lwaki kya magezi okugondera Yakuwa. Era bwe banaaba bakubaganya ebirowoozo ku ebyo ebyamuweereddwa ajja kuba asobola okukozesa akakisa ako okunnyonnyola omusomesa we ne bayizi banne ebyo by’akkiririzaamu.

YAMBA OMWANA WO OKUNNYONNYOLA ABALALA BY’AKKIRIRIZAAMU

14. Kiki ekiyigirizibwa ku masomero ekizibuwalira abaana okunnyonnyola abalala, era lwaki?

14 Oluusi abaana Abakristaayo batya okunnyonnyola abalala ebyo bye bakkiririzaamu. Bayinza okutya okubuulira abalala endowooza gye balina ku njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka. Lwaki? Kubanga abasomesa baabwe bayinza okuba nga bayigiriza enjigiriza eyo mu ngeri eraga nti ntuufu. Bw’oba oli muzadde, oyinza otya okuyamba abaana bo okuba abakakafu nti ebyo bye bakkiririzaamu bituufu?

15. Kiki ekiyinza okuyamba abaana Abakristaayo okweyongera okuba abakakafu ku ebyo bye bakkiririzaamu?

15 Yamba omwana wo okweyongera okuba omukakafu nti ebyo by’akkiririzaamu bituufu. Omwana wo tasaanidde kukwatibwa nsonyi olw’okuba akkiriza nti eriyo Omutonzi. (2 Tim. 1:8) Lwaki? Kubanga waliwo bannassaayansi bangi abakkiriza nti ebintu tebyajjawo byokka. Balaba obukakafu obulaga nti eriyo Omutonzi ow’amagezi ennyo eyatonda ebintu ebiramu ebyakula mu ngeri eyeewuunyisa ennyo. Era olw’ensonga eyo tebakkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu byajjawo byokka eyigirizibwa mu masomero okwetooloola ensi. Ekintu ekimu ekisobola okuyamba omwana wo okwongera okunyweza okukkiriza kwe, kwe kumanya ekyo ekyayamba bakkiriza banne okuba abakakafu nti ebintu byatondebwa. c

16. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okunnyonnyola abalala ensonga lwaki bakkiriza nti eriyo Omutonzi? (1 Peetero 3:15) (Laba n’ekifaananyi.)

16 Yamba omwana wo okuba omwetegefu okunnyonnyola abalala ensonga lwaki akkiriza nti eriyo Omutonzi. (Soma 1 Peetero 3:15.) Engeri emu ekyo gy’oyinza okukikolamu kwe kwekenneenyeza awamu naye ebyo ebiri ku jw.org/lg mu kitundu, “Enjigiriza za Bayibuli,” wansi wa “Ssaayansi ne Bayibuli.” Oluvannyuma omwana wo ayinza okulondawo by’asobola okukozesa okunnyonnyola abalala nti eriyo Omutonzi, era weegezeemu naye. Mujjukize nti tasaanidde kuwakana na bayizi banne. Bwe wabaawo abeetegefu okukubaganya naye ebirowoozo, muyambe okubannyonnyola mu ngeri ennyangu era abayambe okufumiitiriza. Ng’ekyokulabirako, muyizi munne ayinza okumugamba nti: “Nze nzikiririza mu ebyo byokka bye nsobola okulaba. Katonda simulabangako.” Omwana wo ayinza okugamba muyizi munne oyo nti: “Kuba akafaananyi ng’otambula mu kibira ekiri ewala ennyo kuva awali abantu. Oba okyatambula, n’osanga oluzzi olwazimbibwa obulungi. Kiki ky’oyinza okulowooza? Wateekwa okuba nga waliwo eyalukola. Bwe kityo bwe kiri ne ku nsi n’ebintu byonna ebiramu ebigiriko. Wateekwa okuba nga waliwo eyabikola!”

Nnyonnyola bayizi banno ebyo by’okkiririzaamu mu ngeri ennyangu era ebayamba okufumiitiriza (Laba akatundu 16-17) d


17. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okukozesa buli kakisa okubuulirako abalala amazima agali mu Bayibuli? Waayo ekyokulabirako.

17 Yamba omwana wo okukozesa buli kakisa k’afuna okubuulirako abalala ebiri mu Bayibuli. (Bar. 10:10) Okufuba kw’assaamu okubuulirako abalala oyinza okukugeraageranya ku kufuba omuntu kw’assaamu ng’ayiga okukuba ekivuga ekimu. Mu kusooka, yeegezaamu ng’akuba ennyimba ennyangu. Oluvannyuma lw’ekiseera, ayanguyirwa okukuba nnyimba zonna. Mu ngeri y’emu, omwana Omukristaayo ayinza okutandika okubuulirako abalala, ng’akikola mu ngeri ennyangu. Ng’ekyokulabirako, ayinza okubuuza muyizi munne nti: “Obadde okimanyi nti ebintu bingi bayinginiya bye bakola babikoppa ku bitonde? Ka nkulageyo vidiyo emu.” Oluvannyuma lw’okumulaga emu ku vidiyo eziri mu kitundu, Kyajjawo Kyokka?, ayinza okumubuuza nti: “Bwe kiba nti bayinginiya batenderezebwa olw’ebyo bye bakola nga babikoppye ku bitonde, ani asaanidde okutenderezebwa olw’ebitonde ebyo?” Bw’abuulira muyizi munne mu ngeri ennyangu bw’etyo, kisobola okumuyamba okwagala okumanya ebisingawo.

WEEYONGERE OKUYAMBA OMWANA WO OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWE

18. Abazadde bayinza batya okuyamba abaana baabwe okunyweza okukkiriza kwabwe?

18 Ensi ejjudde abantu abatakkiririza mu Yakuwa. (2 Peet. 3:3) N’olwekyo abazadde, bwe muba muyigiriza abaana bammwe Bayibuli, mubakubirize okusoma ku bintu ebinaabayamba okweyongera okugyesiga n’emisingi egigirimu egikwata ku mpisa. Mubayambe okukulaakulanya obusobozi bw’okulowooza, nga bafumiitiriza ku bintu Yakuwa bye yatonda. Mubayambe okutegeera obunnabbi obuli mu Bayibuli obumaze okutuukirira. N’okusingira ddala, musabire wamu n’abaana bammwe, era mubasabire. Bwe mukola mutyo, musobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kubawa emikisa nga mufuba okuyamba abaana bammwe okunyweza okukkiriza kwabwe.—2 Byom. 15:7.

OLUYIMBA 133 Weereza Yakuwa ng’Okyali Muvubuka

a Okumanya ebisingawo, laba ku jw.org vidiyo erina omutwe The Wonders of Creation Reveal God’s Glory—Patterns.

b Omwana wo bw’aba nga yamala okusoma ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, oyinza okuddamu okukubaganya naye ebirowoozo ku gamu ku masomo agali mu kitundu 3 ne 4, agoogera ku mitindo gya Bayibuli.

c Laba ekitundu Why We Believe in a Creator mu Awake! eya Ssebutemba 2006, n’akatabo, The Origin of Life—Five Questions Worth Asking.” Ebyokulabirako ebirala osobola okubifuna mu vidiyo ezirina omutwe Bye Boogera ku Nsibuko y’Obulamu, eziri ku jw.org/lg.

d EKIFAANANYI: Omwana Omujulirwa wa Yakuwa ng’alaga muyizi munne ayagala ennyo obunyonyi obuyitibwa buddulooni, emu ku vidiyo eziri mu kitundu, Kyajjawo Kyokka?