Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 51

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe

Amaziga Go ga Muwendo Nnyo eri Yakuwa

Amaziga Go ga Muwendo Nnyo eri Yakuwa

“Amaziga gange gakuŋŋaanyize mu nsawo yo ey’eddiba. Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?”ZAB. 56:8.

EKIGENDERERWA

Tugenda kulaba nti Yakuwa amanyidde ddala engeri gye twewuliramu ka tube nga twolekagana na kizibu ki, era nti atuwa obuyambi bwe tuba twetaaga okusobola okufuna obuweerero.

1-2. Mbeera ki eziyinza okutuleetera okukaaba?

 FFENNA twali tukaabyeko. Oluusi bwe waabaawo ekintu ekitusanyusizza ennyo, tuyinza okukaaba. Oboolyawo wakaaba, bwe walaba omwana wo eyali yaakazaalibwa, bwe wajjukira ekintu ekirungi ennyo, oba bwe walaba mukwano gwo gwe wali oludde ennyo okulaba.

2 Kyokka emirundi mingi, amaziga ge tukaaba gaba gooleka obulumi bwe tuba nabwo ku mutima. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okukaaba nga waliwo omuntu atuyisizza obubi. Oba tuyinza okukaaba olw’obulumi bwe tuba nabwo olw’okufiirwa omuntu waffe oba olw’obulwadde obuba butuluma. Mu biseera ng’ebyo, tuyinza okuwulira nga nnabbi Yeremiya bwe yawulira ng’Abababulooni bazikirizza Yerusaalemi. Yagamba nti: “Emigga gy’amazzi gikulukuta okuva mu maaso gange . . . Amaaso gange gakaaba awatali kulekera awo, awatali kuwummulamu.”—Kung. 3:​48, 49.

3. Yakuwa awulira atya bw’alaba abaweereza be nga babonaabona? (Isaaya 63:9)

3 Yakuwa amanyi emirundi gye tukaabye mu bulamu bwaffe olw’ebintu ebituleetera obulumi. Bayibuli etukakasa nti Yakuwa amanyi embeera zonna enzibu abaweereza be ze bayitamu era nti awuliriza bwe bamusaba okubayamba. (Zab. 34:15) Naye Yakuwa takoma ku kutulaba bulabi na kutuwuliriza buwuliriza. Okufaananako omuzadde ayagala abaana be, akwatibwako nnyo bw’atulaba nga tukaaba era aba ayagala nnyo okutuyamba.—Soma Isaaya 63:9.

4. Bantu ki aboogerwako mu Bayibuli be tugenda okulaba, era biki bye tugenda okuyiga ku ngeri Yakuwa gye yabayambamu?

4 Mu Kigambo kye, Yakuwa atulaga engeri gye yawuliramu ng’abaweereza be bakaaba era n’engeri gye yabayambamu. Ekyo tusobola okukiraba nga twekenneenya ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa Kaana, Dawudi, ne Kabaka Keezeekiya. Kiki ekyabaleetera okukaaba? Yakuwa yakolawo ki bwe baamwegayirira abayambe? Era ebyo bye tusoma ku bantu abo biyinza bitya okutuzzaamu amanyi nga tukaaba amaziga olw’ennaku, olw’okuliibwamu olukwe, oba olw’okuwulira nti tetukyalina ssuubi?

AMAZIGA AG’ENNAKU

5. Embeera Kaana gye yali ayitamu yamuleetera kuwulira atya?

5 Kaana yayolekagana n’ebizibu ebiwerako ebyamuleetera okukaaba amaziga ag’ennaku. Ekimu ku bizibu bye yalina kyali nti omwami we yalina omukazi omulala eyali ayitibwa Penina, era omukazi oyo yalinga anyooma Kaana. Ng’oggyeeko ekyo, Kaana yali tazaala, ate nga ye Penina alina abaana abawerako. (1 Sam. 1:​1, 2) Penina yayeeyanga Kaana olw’obutazaala. Wandiwulidde otya singa ggwe wali mu mbeera eyo? Kaana yawulira bubi nnyo ne kiba nti ‘yakaabanga era n’alemwa n’okulya.’ Ate era “yali munakuwavu nnyo.”—1 Sam. 1:​6, 7, 10.

6. Kiki Kaana kye yakola okusobola okufuna obuweerero?

6 Kiki Kaana kye yakola okusobola okufuna obuweerero? Ekimu ku ebyo ebyamuyamba kiri nti yagenda ku weema entukuvu okusinza Yakuwa. Ng’ali eyo, oboolyawo okumpi n’omulyango ogwali guyingira mu luggya lwa weema, “yatandika okusaba Yakuwa n’okukaaba ennyo.” Yagamba Yakuwa nti: ‘Tunuulira ennaku y’omuweereza wo era onzijukire.’ (1 Sam. 1:10b, 11) Kaana yategeeza Yakuwa engeri gye yali awuliramu. Yakuwa ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo bwe yalaba muwala we oyo ng’akaaba!

7. Kaana yawulira atya oluvannyuma lw’okutegeeza Yakuwa ebizibu bye?

7 Kaana yawulira atya oluvannyuma lw’okutegeeza Yakuwa engeri gye yali awuliramu, n’oluvannyuma lwa Eli, Kabona Asinga Obukulu, okumugumya nti Yakuwa yandizzeemu okusaba kwe? Bayibuli egamba nti: “Omukazi ne yeddirayo, n’alya, era n’alekera awo okuba omunakuwavu.” (1 Sam. 1:​17, 18) Wadde ng’ebizibu bya Kaana byali tebinnavaawo, yafuna obuweerero. Omugugu gwe yali agutisse Yakuwa. Yakuwa yalaba amaziga ge yali akaaba, yawuliriza okusaba kwe, era oluvannyuma yamusobozesa okuzaala.—1 Sam. 1:​19, 20; 2:21.

8-9. Okusinziira ku Abebbulaniya 10:​24, 25, lwaki tusaanidde okukola kyonna kye tusobola okubangawo mu nkuŋŋaana? (Laba n’ekifaananyi.)

8 Bye tuyiga. Olina ekizibu eky’amaanyi ennyo ekikuleetera okukaaba amaziga? Oboolyawo olina obulumi obw’amaanyi olw’okufiirwa omu ku b’eŋŋanda zo oba mukwano gwo. Mu kiseera ng’ekyo, kya bulijjo okuwulira nti oyagala kubeera wekka. Naye nga Kaana bwe yazzibwamu amaanyi ng’agenze ku weema entukuvu, naawe osobola okuzzibwamu amaanyi ng’ogenze mu nkuŋŋaana zaffe, k’obe ng’owulira nti oli mukoowu oba nti olina ennaku nnyingi. (Soma Abebbulaniya 10:​24, 25.) Bwe tuwuliriza Ebyawandiikibwa nga bisomebwa mu nkuŋŋaana, Yakuwa asobola okutuyamba ne tussa ebirowoozo byaffe ku bintu ebirungi mu kifo ky’okubissa ku bintu ebimalamu amaanyi. Ekyo kisobola okutuyamba okufuna obuweerero, ekizibu kye tuba nakyo ne bwe kiba nga kikyaliwo.

9 Mu nkuŋŋaana, bakkiriza bannaffe batuzzaamu amaanyi, bakiraga nti batwagala nnyo, era tuwulira bulungi nga tuli nabo. (1 Bas. 5:​11, 14) Lowooza ku w’oluganda omu aweereza nga payoniya ow’enjawulo eyafiirwa mukyala we. Agamba nti: “Na buli kati nkyakaaba. Ebiseera ebimu nkaaba nnyo olw’okulowooza ku mukyala wange, era mba mpulira nga njagala kuba nzekka. Naye enkuŋŋaana zinzizaamu nnyo amaanyi. Ebyo bakkiriza bannange bye boogerako nange n’ebyo bye baddamu mu nkuŋŋaana bindeetera okufuna obuweerero. Ne bwe mba nga mpulira ennaku ey’amaanyi nga sinnagenda mu nkuŋŋaana, we nviirayo mba mpulira bulungi.” Bwe tuba mu nkuŋŋaana zaffe, Yakuwa asobola okukozesa bakkiriza bannaffe okutuyamba.

Bakkiriza bannaffe basobola okutubudaabuda (Laba akatundu 8-9)


10. Tuyinza tutya okukoppa Kaana bwe tuba nga tulina ennaku ey’amaanyi?

10 Kaana era yazzibwamu amaanyi bwe yasaba Yakuwa n’amutegeeza engeri gye yali awuliramu. Naawe osobola ‘okukwasa Yakuwa byonna ebikweraliikiriza,’ ng’oli mukakafu nti akuwuliriza. (1 Peet. 5:7) Mwannyinaffe omu ababbi gwe battira omwami we, agamba nti: “Nnawulira ng’omutima gwange gwe baali basazeemu obufiififi era nti gwali tegusobola kuwona. Okusaba Yakuwa Kitange ow’omu ggulu kye kyannyamba okufuna obuweerero. Oluusi nnalemererwanga okufuna ebigambo ebituufu eby’okumugamba, naye yantegeeranga. Bwe nnawuliranga obubi ennyo, nnamusabanga ampe emirembe. Nnawulinga emirembe era ne nsobola okukola bye nnabanga nnina okukola olunaku olwo.” Bw’okabirira Yakuwa n’omutegeeza ebikuleetera obulumi, akwatibwako nnyo era ategeera engeri gy’oba owuliramu. Ekikuleetera obulumi ne bwe kiba nga kikyaliwo, Yakuwa asobola okukubudaabuda n’akuyamba okuba n’emirembe ku mutima. (Zab. 94:19; Baf. 4:​6, 7) Ate era ajja kukuwa emikisa olw’okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali.—Beb. 11:6.

AMAZIGA GE TUKAABA OLW’OKULIIBWAMU OLUKWE

11. Dawudi yawulira atya abalala bwe baamuyisa obubi?

11 Dawudi yafuna ebizibu bingi mu bulamu bwe ebyamuleetera okukaaba. Abantu abamu baamukyawa, ate abalala be yali yeesiga baamulyamu olukwe. (1 Sam. 19:​10, 11; 2 Sam. 15:​10-14, 30) Lumu yagamba nti: “Nkooye olw’okusinda; ekiro kyonna ekitanda kyange nkitobya amaziga; obuliri bwange mbutotobaza nga nkaaba.” Kiki ekyaleetera Dawudi okuwulira bw’atyo? Yagamba nti: “Olw’abo bonna abambonyaabonya.” (Zab. 6:​6, 7) Abalala bwe baamukola ebintu ebibi ennyo, yawulira obulumi obw’amaanyi era n’akaaba.

12. Okusinziira ku Zabbuli 56:​8, Dawudi yali mukakafu ku ki?

12 Wadde nga Dawudi yafuna ebizibu eby’amaanyi, yali mukakafu nti Yakuwa yali amwagala. Yagamba nti: “Yakuwa ajja kuwulira okukaaba kwange.” (Zab. 6:8) Ku mulundi omulala, yayogera ebigambo ebituzzaamu ennyo amaanyi ebiri mu Zabbuli 56:8. (Soma.) Ebigambo ebyo bikyoleka bulungi nti Yakuwa atwagala era atufaako. Dawudi yawulira nga Yakuwa eyali akuŋŋaanyiza amaziga ge mu nsawo ey’eddiba oba eyali agawandiika mu kitabo. Yali mukakafu nti Yakuwa yali alaba obulumi bwe yali ayitamu era nti yali abujjukira. Dawudi era yali mukakafu nti Kitaawe ow’omu ggulu yali alaba ebizibu bye yali ayitamu n’engeri gye byali bimuleetera okuwuliramu.

13. Abalala bwe bakola ebintu ebitulumya oba bwe batulyamu olukwe, kiki kye tusaanidde okujjukira? (Laba n’ekifaananyi.)

13 Bye tuyiga. Owulira obulumi obw’amaanyi olw’okuba omuntu gwe wali weesiga yakukola ekintu ekibi oba yakulyamu olukwe? Oboolyawo owulira obulumi olw’okuba omuntu gwe wali oyogerezeganye naye yabisazaamu, oba olw’okuba obufumbo bwo bwasasika nga tokisuubira, oba olw’okuba omuntu gwe wali oyagala yalekera awo okuweereza Yakuwa. Ow’oluganda eyalina mukyala we eyayenda era n’amulekawo, yagamba nti: “Nnali sikikkiriza nti ekintu ng’ekyo kyali kintuuseeko. Nnawulira obulumi n’obusungu, era nnali mpulira nti sirina mugaso.” Bwe kiba nti waliwo omuntu eyakulyamu olukwe oba eyakukola ekintu ekibi, kijjukire nti Yakuwa tasobola kukwabulira. Ow’oluganda oyo yagamba nti: “Nkirabye nti abantu be twagala basobola okutwabulira, naye Yakuwa lwe Lwazi lwaffe. Ka kibe ki ekibaawo, tasobola kwabulira baweereza be abeesigwa.” (Zab. 37:28) Ate era kikulu okukijjukira nti okwagala Yakuwa kw’alina gye tuli kusingira wala okw’abantu. Omuntu bw’akulyamu olukwe kiruma nnyo, naye ekyo tekikyusa ngeri Yakuwa gy’akutwalamu. Oli wa muwendo gy’ali. (Bar. 8:​38, 39) Ekintu ky’osaanidde okujjukira kiri nti, abantu ka babe nga bakuyisizza batya, Kitaawo ow’omu ggulu akwagala nnyo.

Bye tusoma mu kitabo kya Zabbuli bitukakasa nti Yakuwa aba kumpi n’abo ababa n’omutima ogumenyese (Laba akatundu 13)


14. Ebyo bye tusoma mu Zabbuli 34:18 bitukakasa ki?

14 Bwe tuba nga tulina obulumi olw’okuba waliwo eyatulyamu olukwe, tusobola okuzzibwamu amaanyi bwe tufumiitiriza ku bigambo bya Dawudi ebiri mu Zabbuli 34:18. (Soma.) Okusinziira ku bugambo obuli wansi obuli ku lunyiriri olwo, ekitabo ekimu kigamba nti abo “abaweddemu amaanyi” bayinza okuba “abo abatalina kirungi kyonna kye beesunga.” Yakuwa akolawo ki bw’alaba abo abawulira bwe batyo? Yakuwa “ali kumpi” naffe. Alinga omuzadde asitula omwana we aba akaaba n’amubudaabuda. Bwe tuba nga tulina obulumi olw’okuba waliwo omuntu eyatulyamu olukwe oba eyatulekawo, ategeera obulumi bwe tubaamu era abaako ky’akolawo mu bwangu okutuyamba. Ayagala nnyo okutubudaabuda bwe tuba nga tulina obulumi ku mutima oba nga tuwulira nti tetuli ba mugaso. Atusuubizza ebirungi bingi mu biseera eby’omu maaso, era bwe tubirowoozaako tusobola okugumira ebizibu bye tuba nabyo.—Is. 65:17.

AMAZIGA GE TUKAABA BWE TUBA NGA TUWULIRA NTI TETULINA SSUUBI

15. Mbeera ki eyaleetera Keezeekiya okukaaba?

15 Kabaka Keezeekiya owa Yuda bwe yali wa myaka 39, yakitegeera nti obulwadde bwe yalina bwali bugenda kumutta. Nnabbi Isaaya yamutegeeza obubaka obwali buva eri Yakuwa nti yali agenda kufa. (2 Bassek. 20:1) Keezeekiya yawulira nga takyalina ssuubi lyonna, era yakaaba nnyo olw’amawulire ago. Yasaba nnyo Yakuwa amuyambe.—2 Bassek. 20:​2, 3.

16. Yakuwa yakolawo ki Keezeekiya bwe yakaaba era n’amwegayirira amuyambe?

16 Yakuwa yawulira okusaba kwa Keezeekiya era yalaba amaziga ge yakaaba. Yamusaasira era n’amugamba nti: “Mpulidde essaala yo era ndabye amaziga go. Ŋŋenda kukuwonya.” Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yamugamba nti yali agenda kwongezaayo ekiseera ky’obulamu bwe era nti yali agenda kununula Yerusaalemi kireme okuwambibwa Abaasuli.—2 Bassek. 20:​4-6.

17. Yakuwa atuyamba atya bwe tuba nga tulina obulwadde obw’amaanyi? (Zabbuli 41:3) (Laba n’ekifaananyi.)

17 Bye tuyiga. Kiki ky’osaanidde okukola bw’oba ng’olina obulwadde obukuluma era nga kirabika nti tebusobola kuwona? Tegeeza Yakuwa engeri gye weewuliramu. Ajja kukuwuliriza ne bwe kiba nti omusaba okaaba. Bayibuli etukakasa nti “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna” ajja kutubudaabuda mu bizibu byonna bye tufuna. (2 Kol. 1:​3, 4) Leero tetusuubira Yakuwa kuggyawo bizibu byonna bye tufuna, naye bulijjo asobola okutubudaabuda. (Soma Zabbuli 41:3.) Okuyitira mu mwoyo gwe omutukuvu, asobola okutuwa amaanyi, amagezi, n’emirembe ku mutima ne tuguma. (Nge. 18:14; Baf. 4:13) Ate era atubudaabuda okuyitira mu kisuubizo ekiri mu Bayibuli ekiraga nti obulwadde bwonna bujja kuggwaawo.—Is. 33:24.

Yakuwa addamu okusaba kwaffe ng’atuwa amaanyi, amagezi, n’emirembe ku mutima (Laba akatundu 17)


18. Kyawandiikibwa ki ekikuzzaamu amaanyi bw’oba ng’oyolekagana n’embeera enzibu ennyo? (Laba akasanduuko “ Ebigambo Ebisobola Okutubudaabuda.”)

18 Ebigambo bya Yakuwa byazzaamu Keezeekiya amaanyi. Naffe Ekigambo kya Katonda kisobola okutuzzaamu amaanyi. Yakuwa yawandiisa mu Kigambo kye ebigambo ebibudaabuda ebisobola okutuzzaamu amaanyi bwe tuba nga tuyita mu mbeera enzibu ennyo. (Bar. 15:4) Mwannyinaffe omu abeera mu bugwanjuba bwa Afirika bwe yazuulwamu kookolo, emirundi mingi yakaabanga. Agamba nti: “Ekyawandiikibwa ekisinga okunzizaamu amaanyi ye Isaaya 26:3. Ne bwe kiba nti oluusi tetuba na kya maanyi kye tuyinza kukolawo ku bizibu bye tuba nabyo, olunyiriri olwo lunkakasa nti Yakuwa asobola okutuwa emirembe era asobola okutuyamba okugumira ekizibu kyonna.” Waliwo ekyawandiikibwa ekikuzzaamu amaanyi bw’oba ng’oyolekagana n’embeera ezirabika nga nzibu nnyo, oboolyawo ezikuleetera n’okuwulira nti tolina ssuubi lyonna?

19. Biki bye twesunga mu biseera eby’omu maaso?

19 Tuli wala nnyo mu nnaku ez’enkomerero, era tusuubira nti ebintu ebituleetera okukaaba bijja kweyongera bweyongezi. Naye nga bwe tulabye ebyo ebikwata ku Kaana, Dawudi, ne Kabaka Keezeekiya, Yakuwa alaba amaziga ge tukaaba era awulira bubi nnyo nga tuli mu mbeera eyo. Amaziga gaffe ga muwendo gy’ali. N’olwekyo, bwe tuba nga twolekagana n’ekizibu eky’amaanyi ennyo, tusaanidde okumusaba ne tumutegeeza engeri gye tuba twewuliramu. Era tetusaanidde kweyawula ku bakkiriza bannaffe mu kibiina. Ate era bwe tusoma Bayibuli tubudaabudibwa. Era tuli bakakafu nti bwe tweyongera okugumiikiriza n’obwesigwa, Yakuwa ajja kutuwa empeera. Empeera eyo ezingiramu ekyo ky’atusuubiza nti ekiseera kijja kutuuka aggyewo amaziga gonna ge tukaaba olw’obulumi, olw’okuliibwamu olukwe, oba olw’okuwulira nti tetulina ssuubi lyonna. (Kub. 21:4) Mu kiseera ekyo tujja kukaaba maziga ga ssanyu gokka.

OLUYIMBA 4 “Yakuwa Ye Musumba Wange”