Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 48

OLUYIMBA 97 Obulamu Bwaffe Bwesigamye ku Kigambo kya Katonda

Bye Tuyigira ku Kyamagero eky’Emigaati

Bye Tuyigira ku Kyamagero eky’Emigaati

“Nze mmere ey’obulamu. Buli ajja gye ndi talirumwa njala n’akatono.”YOK. 6:35.

EKIGENDERERWA

Tugenda kwekenneenya ebyo ebiri mu Yokaana essuula 6 ebikwata ku kyamagero Yesu kye yakola bwe yaliisa abantu nkumi na nkumi, ng’akozesa emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri.

1. Emigaati abantu baagitwalanga batya mu biseera eby’edda?

 EMIGAATI gyali gitwalibwa nga mmere nkulu nnyo mu biseera eby’edda. (Lub. 18:6; Luk. 9:3) Oluusi Bayibuli ekozesa ekigambo “emigaati” okutegeeza emmere. (1 Bassek. 17:​11, 12) Ate era ku byamagero Yesu bye yakola, bibiri ku byo yaliisa abantu emigaati. (Mat. 16:​9, 10) Ekimu ku byamagero ebyo tukisomako mu Yokaana essuula 6. Nga twetegereza ebikwata ku kyamagero ekyo, tugenda kulaba ebyo bye tuyiga n’engeri gye tuyinza okubikolerako leero.

2. Ddi abantu enkumi n’enkumi lwe baali beetaaga emmere?

2 Oluvannyuma lw’abatume ba Yesu okukomawo nga bava okubuulira, baali beetaaga okuwummula era bwe kityo baalinnya eryato n’abatwala emitala w’ennyanja y’e Ggaliraaya. (Mak. 6:​7, 30-32; Luk. 9:10) Baatuuka mu kifo ekyali kyesudde, mu kitundu ky’e Besusayida. Kyokka waayita ekiseera kitono, abantu nkumi na nkumi ne bajja ne bakuŋŋaanira we baali. Yesu teyagoba bantu abo. Mu kifo ky’ekyo, yabayigiriza ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda era n’awonya abalwadde. Obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa baatandika okwebuuza wa abantu abo gye bandiggye eky’okulya. Oboolyawo abamu ku bantu abo baalinawo eby’okulya ebitonotono, naye abasinga obungi kyali kibeetaagisa okugenda mu byalo ebyali biriraanyeewo okugula eky’okulya. (Mat. 14:15; Yok. 6:​4, 5) Kiki Yesu kye yakola?

YESU YALIISA ABANTU MU NGERI EY’EKYAMAGERO

3. Kiki Yesu kye yagamba abatume be okukola? (Laba ku ddiba.)

3 Yesu yagamba abatume nti: “Tekibeetagisa kugenda; mmwe mubawe eky’okulya.” (Mat. 14:16) Ekyo kyali kizibu kubanga waaliwo abasajja nga 5,000. Era bw’oba ng’obaliddeko abakazi n’abaana, wayinza okuba nga waaliwo abantu nga 15,000 abaali beetaaga eky’okulya. (Mat. 14:21) Andereya yagamba nti: “Wano waliwo omulenzi alina emigaati gya ssayiri etaano n’obwennyanja bubiri. Naye bino binaagasa ki ku bantu abangi bwe bati?” (Yok. 6:9) Emigaati gya ssayiri gy’ateranga okuliibwa abantu, era ebyennyanja ebyo biyinza okuba nga byali byassibwamu omunnyo ne bikazibwa. Naye ebyennyanja ebyo n’emigaati omulenzi oyo bye yalina byali tebisobola kumala bantu abo.

Yesu yakola ku byetaago by’abantu eby’omubiri n’eby’omwoyo (Laba akatundu 3)


4. Biki bye tuyiga mu Yokaana 6:​11-13? (Laba n’ebifaananyi.)

4 Olw’okuba Yesu yali ayagala okukolera abantu abo ekintu ekirungi, yabalagira batuule wansi ku muddo nga bali mu bibinja. (Mak. 6:​39, 40; soma Yokaana 6:​11-13.) Bayibuli eraga nti oluvannyuma Yesu yasaba nga yeebaza Kitaawe olw’emigaati egyo n’ebyennyanja. Kyali kituukirawo okwebaza Katonda kubanga ye yali abasobozesezza okufuna eky’okulya ekyo. Kikulu naffe okukoppa Yesu ne tusaba nga tugenda okulya, ka wabe nga waliwo abantu oba nga tewali. Oluvannyuma Yesu yalagira abatume be okugabira abantu emmere eyo, era bonna baalya ne bakkuta ne wabaawo n’emmere efikka. Emmere eyafikka Yesu yali tayagala eyonoonebwe, bwe kityo yagamba abayigirizwa be okugikuŋŋaanya esobole okuliibwa mu kiseera ekirala. Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku ngeri gye tukozesaamu ebintu byaffe. Bw’oba oli muzadde, oyinza okusomera wamu n’abaana bo ebikwata ku kyamagero kino era ne mukubaganya ebirowoozo ku ebyo bye muyigamu ebikwata ku kusaba, ku kukolera abantu abalala ebirungi, ne ku kubeera abagabi.

Weebuuze, ‘Nkoppa Yesu nga bwe mba ŋŋenda okulya nsooka kusaba?’ (Laba akatundu 4)


5. Kiki abantu kye baakola oluvannyuma lw’okulaba ebyo Yesu bye yakola, era Yesu yakolawo ki?

5 Abantu baakwatibwako nnyo olw’engeri Yesu gye yali ayigirizaamu n’olw’ebyamagero bye yakola. Olw’okuba baali bakimanyi nti Musa yali agambye nti waliwo nnabbi ow’enjawulo Katonda gwe yali agenda okussaawo, bayinza okuba nga baali beebuuza nti, ‘Kyandiba nti Yesu ye nnabbi oyo?’ (Ma. 18:​15-18) Oboolyawo muli baalowooza nti Yesu yandibadde mufuzi mulungi nnyo eyandibadde asobozesa abantu bonna mu Isirayiri okufuna emmere. Bwe kityo baayagala ‘okukwata Yesu bamufuule kabaka.’ (Yok. 6:​14, 15) Singa Yesu yakkiriza okufuulibwa kabaka, yandibadde yeenyigira mu by’obufuzi by’Abayudaaya abaali bafugibwa Abaruumi. Naye ekyo teyakikola. Bayibuli eraga nti yabaviira “n’addayo ku lusozi.” N’olwekyo, wadde ng’abalala baagezaako okumupikiriza okwenyigira mu by’obufuzi, teyakkiriza. Tumuyigirako ki?

6. Tuyinza tutya okukiraga nti twagala okukoppa ekyokulabirako kya Yesu? (Laba n’ekifaananyi.)

6 Kya lwatu, abalala tebajja kutugamba kubawa migaati oba kuwonya balwadde mu ngeri ey’ekyamagero, era tebajja kugezaako kutufuula bakabaka oba abakulembeze b’eggwanga. Naye bayinza okutukubiriza okwenyigira mu by’obufuzi nga batugamba okubaako gwe tulonda, oba okubaako engeri gye tuwagira omuntu gwe bawulira nti ajja kutereeza embeera. Naye ekyokulabirako Yesu kye yassaawo kitegeerekeka bulungi. Yagaana okwenyigira mu by’obufuzi era oluvannyuma yagamba nti: “Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno.” (Yok. 17:14; 18:36) Abakristaayo leero basaanidde okukoppa eky’okulabirako Yesu kye yassaawo. Tuwagira Bwakabaka bwa Katonda, tubuwaako obujulirwa, era tusaba bujje. (Mat. 6:10) Kati ka tuddemu okwekenneenya ebyo Bayibuli by’eyogera ebikwata ku kyamagero Yesu kye yakola ekikwata ku kuliisa abantu emigaati, era tulabe ebirala bye tusobola okuyigamu.

Yesu yateerawo abagoberezi be ekyokulabirako ekirungi nga yeewala okwenyigira mu by’obufuzi by’Abayudaaya oba eby’Abaruumi (Laba akatundu 6)


‘AMAKULU G’EKYAMAGERO EKY’EMIGAATI’

7. Kiki Yesu kye yakola, era abatume baakwatibwako batya? (Yokaana 6:​16-20)

7 Oluvannyuma lwa Yesu okuliisa abantu, yagamba abatume be basaabale bagende e Kaperunawumu era ye n’addayo ku lusozi, bw’atyo ne yeewala abantu okumufuula kabaka. (Soma Yokaana 6:​16-20.) Abatume bwe baali basaabala, omuyaga ogw’amaanyi gwatandika okukunta era ennyanja n’efuukuuka. Oluvannyuma Yesu yajja gye bali ng’atambulira ku mazzi, era n’agamba omutume Peetero okukola kye kimu. (Mat. 14:​22-31) Yesu bwe yalinnya eryato, omuyaga gwakkakkana. Abatume baawuniikirira nnyo era ne bagamba nti: “Mazima ddala oli Mwana wa Katonda.” a (Mat. 14:33) Wadde kyali kityo, baali tebalaba kakwate kaliwo wakati w’ekyamagero ekyo n’ekyo kye yali akoze eky’okuliisa abantu emigaati. Ng’ayogera ku kyamagero ekyo kye kimu, Makko yagamba nti: “[Abatume] ne bawuniikirira nnyo, kubanga baali tebategedde makulu g’ekyamagero eky’emigaati, era mu mitima gyabwe baasigala tebategedde.” (Mak. 6:​50-52) Abatume abo baali tebannategeera nti Yakuwa yali awadde Yesu amaanyi okukola ebyamagero bingi ebisinga ne ku kuliisa abantu emigaati. Kyokka waayita ekiseera kitono, Yesu n’addamu okwogera ku kyamagero eky’okuliisa abantu emigaati, era n’abaako ekintu ekirala ky’atuyigiriza.

8-9. Lwaki abantu baanoonya Yesu? (Yokaana 6:​26, 27)

8 Abantu Yesu be yaliisa baali beemalidde ku kukussa byetaago byabwe eby’omubiri n’ebyo bye baali beegomba. Mu ngeri ki? Enkeera bwe bajja mu kifo Yesu we yali abaweeredde emigaati, baakiraba nti ye n’abatume be tebaaliwo. Bwe kityo baalinya amaato agaali gava e Tiberiyo, ne basaabala okugenda e Kaperunawumu okumunoonya. (Yok. 6:​22-24) Ekyo baakikola olw’okuba baali baagala okuyiga ebikwata ku Bwakabaka? Nedda. Okusingira ddala baali baagala Yesu ayongere okubawa emigaati. Ekyo tukimanya tutya?

9 Weetegereze ekyo ekyaliwo abantu bwe baasanga Yesu okumpi n’e Kaperunawumu. Yesu yabagamba kaati nti baali bamunoonyezza olw’okuba baali baagala abawe eky’okulya. Wadde nga baali balidde emigaati ne bakkuta, Yesu yabagamba nti emigaati egyo gyali giggwaawo, era yabakubiriza balye “emmere etaggwaawo ereeta obulamu obutaggwaawo.” (Soma Yokaana 6:​26, 27.) Yesu yabagamba nti Kitaawe yali asobola okubawa emmere eyo. Abantu bateekwa okuba nga beewuunya nti emmere eyo yali eyinza okubasobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo! Mmere ki eyali eyinza okukola ekyo, era abo abaali bawuliriza Yesu bandigifunye batya?

10. Kiki abantu kye baalina okukola okusobola okufuna “obulamu obutaggwaawo”?

10 Oboolyawo, Abayudaaya abo bayinza okuba nga baali balowooza nti waliwo ekintu kye baalina okukola okusobola okufuna emmere eyo. Bayinza okuba baali balowooza nti baalina kukola ebyo ebyali mu Mateeka ga Musa. Naye Yesu yabagamba nti: “Kino Katonda ky’ayagala, mmwe okukkiririza mu oyo gwe yatuma.” (Yok. 6:​28, 29) Abantu abo okusobola okufuna “obulamu obutaggwaawo” kyali kibeetaagisa okukkiririza mu oyo Katonda gwe yatuma era ekyo Yesu yali yakyogerako emabega. (Yok. 3:​16-18, 36) Naye waliwo ebirala bye yali agenda okwogera ku ngeri gye tusobola okufunamu obulamu obutaggwaawo.—Yok. 17:3.

11. Abayudaaya baakiraga batya nti ebirowoozo byabwe baali bakyabimalidde ku kuweebwa mmere? (Zabbuli 78:​24, 25)

11 Abayudaaya abo baali tebakkiriza nti ekintu ekipya Katonda kye yali abeetaagisa kwe kukkiririza mu Yesu. Baamubuuza nti: “Kati olwo, kyamagero ki ky’onookola, tukirabe tulyoke tukukkirize?” (Yok. 6:30) Baagamba nti bajjajjaabwe mu biseera bya Musa, baali baweereddwa emmaanu, emmere gye baalyanga buli lunaku. (Nek. 9:15; soma Zabbuli 78:​24, 25.) Kyeyoleka lwatu nti Abayudaaya abo ebirowoozo baali bakyabimalidde ku kuweebwa mmere. Yesu bwe yayogera ku ‘mmere eya ddala eva mu ggulu’ eyandibasozesezza okufuna obulamu, tebaamubuuza kye yali ategeeza. (Yok. 6:32) Baali beemalidde nnyo ku byetaago byabwe eby’omubiri ne kiba nti tebaawuliriza ekyo Yesu kye yali agezaako okubayigiriza ekikwata ku ngeri gye bandifunyeemu obulamu obutaggwaawo. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo?

KYE TUSAANIDDE OKUTWALA NG’EKISINGA OBUKULU

12. Yesu yalaga atya ekisinga obukulu?

12 Ekimu ku bintu ebikulu bye tuyiga mu Yokaana essuula 6 kye kino: Ebintu eby’omwoyo bye tusaanidde okukulembeza. Kijjukire nti Sitaani bwe yali akema Yesu, Yesu yakiraga nti okugondera Yakuwa kikulu nnyo okusinga okulya emmere. (Mat. 4:​3, 4) Ate bwe yali ku lusozi ng’abuulira, yakiraga nti kikulu nnyo okumanya obwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo. (Mat. 5:3) Tusaanidde okwebuuza, ‘Engeri gye ntambuzaamu obulamu bwange eraga nti okukola ku bwetaavu bwange obw’eby’omoyo nkitwala nga kikulu okusinga okukola ku byetaago byange eby’omubiri?’

13. (a) Lwaki si kikyamu okwagala emmere? (b) Kulabula ki kwe tusaanidde okussaako ennyo omwoyo? (1 Abakkolinso 10:​6, 7, 11)

13 Si kikyamu okusaba Yakuwa okutuwa ebyetaago byaffe eby’omubiri era n’okubyeyagaliramu. (Luk. 11:3) Bayibuli eraga nti kirungi omuntu ‘okulya n’okunywa’ n’okweyagalira mu ebyo by’ateganidde okukola, era nti ekyo “kiva mu mukono gwa Katonda ow’amazima.” (Mub. 2:24; 8:15; Yak. 1:17) Wadde kiri kityo, tusaanidde okwegendereza tuleme kutwala bintu nti bye bisinga obukulu mu bulamu bwaffe. Ekyo omutume Pawulo yakyogerako bwe yali awandiikira Abakristaayo abaaliwo ng’enteekateeka y’Ekiyudaaya eneetera okutuuka ku nkomerero yaayo. Yayogera ku bintu ebyaliwo mu byafaayo by’Abayisirayiri, omwali n’ebyo ebyaliwo nga bali kumpi n’Olusozi Sinaayi. Yalabula Abakristaayo okwewala “okwegomba ebintu ebibi nga [Abayisirayiri] bwe baakola.” (Soma 1 Abakkolinso 10:​6, 7, 11.) Yakuwa yali awadde Abayisirayiri abo emmere mu ngeri ey’ekyamagero. Naye olw’okuba baalina omululu, emmere eyo yabafuukira ‘ekintu ekibi.’ (Kubal. 11:​4-6, 31-34) Ate era ne bwe baali basinza akayana aka zzaabu, baalya, ne banywa, era ne basanyuka. (Kuv. 32:​4-6) Pawulo yalaga nti ebyo ebyaliwo byali birabula Abakristaayo abaaliwo ng’enteekateeka y’Ekiyudaaya eneetera okuzikirizibwa mu mwaka 70 E.E. Okubuulirira kwa Pawulo okwo tusaanidde okukutwala nga kukulu nnyo, kubanga naffe tuli mu kiseera ng’enkomererero y’enteekateeka y’ebintu eno eneetera okujja.

14. Bayibuli eyogera ki ku mmere eneebeera mu nsi empya?

14 Yesu bwe yatugamba okusaba “emmere yaffe eya leero,” era yayogera ku kiseera ebyo Katonda by’ayagala lwe byandibadde bikolebwa “mu nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.” (Mat. 6:​9-11) Ensi eneeba etya ng’ekiseera ekyo kituuse? Bayibuli eraga nti ebyo Katonda by’ayagala okuba nga bikolebwa ku nsi, bizingiramu n’okuba nti ensi ejja kubaako emmere ennungi. Ekyo kikwatagana bulungi n’ebyo bye tusoma mu Isaaya 25:​6-8, awalaga nti ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga wajja kubaawo emmere nnyingi nnyo. Zabbuli 72:16 wagamba nti: “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.” Weesunga okufumba emmere gy’osinga okwagala oba eyo gy’otolyangako? Ate era ojja kulya ebibala by’onooba olimye. (Is. 65:​21, 22) Abantu bonna ku nsi bajja kweyagalira mu bintu ebyo.

15. Biki abo abanaazuukizibwa bye banaayiga? (Yokaana 6:35)

15 Soma Yokaana 6:35. Lowooza nate ku bantu abaalya emigaati n’ebyennyanja Yesu bye yabawa mu ngeri ey’ekyamagero. Oyinza okusisinkana abamu ku bo bwe banaaba bazuukidde. Wadde nga mu biseera eby’emabega baali tebakkiririza mu Yesu, bayinza okuzuukizibwa. (Yok. 5:​28, 29) Naye bajja kuba balina okuyiga amakulu g’ebigambo bya Yesu bino: “Nze mmere ey’obulamu. Buli ajja gye ndi talirumwa njala n’akatono.” Bajja kuba beetaaga okukkiriza nti Yesu yawaayo obulamu bwe ku lwabwe. Mu kiseera ekyo wajja kubaawo enteekateeka ey’okuyigiriza abo abanaaba bazuukidde n’abaana abanaazaalibwa, ebikwata ku Yakuwa ne ku bigendererwa bye. Ejja kuba nkizo ya maanyi okwenyigira mu nteekateeka eyo ey’okuyigiriza! Okuyamba abalala okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa kijja kutuleetera essanyu lingi nnyo okusinga eryo lye tunaafuna nga tulidde emmere ennungi eneeba mu nsi empya.

16. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

16 Tulabye ebimu ku ebyo ebyogerwako mu Yokaana essuula 6. Naye waliwo ebirala Yesu bye yayigiriza ku ‘bulamu obutaggwaawo.’ Abayudaaya abo baali basaanidde okussaayo omwoyo ku bintu ebyo era naffe tusaanidde okukola kye kimu. Mu kitundu ekiddako tujja kweyongera okwekenneenya ebirala ebiri mu Yokaana essuula 6.

OLUYIMBA 20 Wawaayo Omwana Wo gw’Oyagala Ennyo