Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 49

OLUYIMBA 147 Katonda Atusuubizza Obulamu Obutaggwaawo

Kiki ky’Osaanidde Okukola Okufuna Obulamu Obutaggwaawo?

Kiki ky’Osaanidde Okukola Okufuna Obulamu Obutaggwaawo?

“Buli muntu ategeera Omwana n’amukkiririzaamu [ajja kufuna] obulamu obutaggwaawo.”YOK. 6:40.

EKIGENDERERWA

Mikisa ki ab’endiga endala n’abaafuukibwako amafuta gye bajja okufuna okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu Kristo.

1. Lwaki abantu bangi balowooza nti tekisoboka kubeerawo mirembe gyonna?

 ABANTU bangi bafuba okulya obulungi n’okukola dduyiro basobole okuba abalamu obulungi. Wadde kiri kityo, baba bakimanyi nti okukola ebintu ebyo tekiremesa muntu kukaddiwa oba okufa. Oboolyawo balowooza nti tekisoboka kubaawo mirembe gyonna. Kyokka mu Yokaana 3:16 ne 5:​24, Yesu yalaga nti abantu basobola okufuna “obulamu obutaggwaawo.”

2. Yokaana essuula 6 eyogera ki ku bulamu obutaggwaawo? (Yokaana 6:​39, 40)

2 Yesu yakola eky’amagero n’aliisa abantu nkumi na nkumi emigaati n’ebyennyanja. a Ekyamagero ekyo kyali kyewuunyisa nnyo. Naye Yesu kye yagamba abantu enkumi n’enkumi abaamugoberera e Kaperunawumu okumpi n’ennyanja y’e Ggaliraaya ku lunaku olwaddako kyali kyewuunyisa nnyo n’okusingawo. Yabagamba nti yali ajja kuzuukiza abantu abaafa era nti bandifunye obulamu obutaggwaawo. (Soma Yokaana 6:​39, 40.) Lowooza ekyo kye kitegeeza eri ab’eŋŋanda zo ne mikwano gyo abaafa. Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti abantu bangi abaafa bajja kuzuukira era nti ggwe n’ab’eŋŋanda zo musobola okubeerawo emirembe gyonna! Kyokka ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana essuula 6 byazibuwalira bangi okutegeera, era ne leero bizibuwalira bangi okuteegera. Ka twetegereze ebyo bye yayogera.

3. Kiki Yesu kye yayogera mu Yokaana 6:51?

3 Oluvannyuma lwa Yesu okuliisa abantu mu ngeri ey’ekyamagero, abantu abo baalowooza ku mmaanu Yakuwa gye yawa Abayisirayiri bwe baali mu ddungu. Mu butuufu, Ebyawandiikibwa bwe biba byogera ku mmaanu, bigiyita ‘emmere eyava mu ggulu.’ (Zab. 105:40; Yok. 6:31) Yesu yakozesa ekyokulabirako ky’emmaanu okubaako ekintu ekirala ky’ayigiriza abantu abaali bamuwuliriza. Wadde nga Katonda ye yali awadde abantu emmaanu mu ngeri ey’ekyamagero, oluvannyuma abantu abo baafa. (Yok. 6:49) Okwawukana ku mmaanu eyo, Yesu yeeyogerako nga ‘emmere eya ddala eva mu ggulu,’ “emmere eva ewa Katonda,” era ‘emmere ey’obulamu.’ (Yok. 6:​32, 33, 35) Yesu yalaga enjawulo eriwo wakati we n’emmaanu eyo. Yagamba nti: “Nze mmere ennamu eyava mu ggulu. Omuntu yenna bw’alya ku mmere eno ajja kubeerawo emirembe gyonna.” (Soma Yokaana 6:51.) Abayudaaya bwe baawulira ebigambo ebyo baasoberwa. Baali tebategeera nsonga lwaki Yesu yali yeeyita ‘emmere eyava mu ggulu’ era nti emmere eyo yali esinga emmaanu Katonda gye yawa bajjajjaabwe mu ngeri ey’ekyamagero? Oluvannyuma Yesu yagamba nti: ‘Emmere gye nnaagaba gwe mubiri gwange.’ Kiki kye yali ategeeza? Kikulu okumanya kye yali ategeeza, kubanga ekyo kye yaddamu kiraga engeri ffe n’ab’eŋŋanda zaffe gye tusobola okufuna obulamu obutaggwaawo. Ka tulabe ekyo kye yali ategeeza.

EMMERE ENNAMU N’OMUBIRI GWE

4. Lwaki abamu beesisiwala olw’ebigambo Yesu bye yayogera?

4 Abamu ku abo abaali bawuliriza Yesu beesisiwala bwe yagamba nti: “Emmere gye nnaagaba ku lw’obulamu bw’ensi gwe mubiri gwange.” Oboolyawo baali balowooza nti yali ayagala kubawa mubiri gwe gyennyini balye. (Yok. 6:52) Kyokka Yesu yabagamba ebigambo ebirala ebyayongera okubeesisiwaza. Yagamba nti: “Okuggyako nga mulidde omubiri gw’Omwana w’omuntu era ne munywa n’omusaayi gwe, temulina bulamu.”—Yok. 6:53.

5. Lwaki tuli bakakafu nti Yesu yali tagamba bantu kunywa musaayi gwe gwennyini?

5 Mu biseera bya Nuuwa, Katonda yagaana abantu okulya omusaayi. (Lub. 9:​3, 4) Ate era mu Mateeka ge yawa Abayisirayi, yabalagira obutalya musaayi. Oyo yenna eyandiridde omusaayi yandibadde ‘attibwa.’ (Leev. 7:27) Yesu yakubiriza Abayisirayiri okukwata amateeka gonna Katonda ge yali abawadde. (Mat. 5:​17-19) N’olwekyo tayinza kuba nga yali akubiriza abantu abaali bamuwuliriza okulya omubiri gwe gwennyini oba okunywa omusaayi gwe. Naye bwe yayogera ebigambo ebyo, yali ayagala kubayigiriza ekyo kye baalina okukola okusobola okufuna “obulamu obutaggwaawo.”—Yok. 6:54.

6. Lwaki tugamba nti Yesu yali akozesa lulimi lwa kabonero bwe yayogera ku kulya omubiri gwe n’okunywa omusaayi gwe?

6 Kiki Yesu kye yali ategeeza? Kyeyoleka lwatu nti yali akozesa lulimi lwa kabonero nga bwe yakola ng’ayogera n’omukazi Omusamaliya. Yamugamba nti: “Buli anywa ku mazzi ge nnaamuwa, taliddamu kulumwa nnyonta, naye amazzi ago ge nnaamuwa gajja kufuuka mu ye ensulo eneevangamu amazzi agawa obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 4:​7, 14) b Yesu yali tategeeza nti omukazi oyo yandifunye obulamu obutaggwaawo ng’abaako amazzi g’anywa okuva mu luzzi olumu. Mu ngeri y’emu, yali tategeeza nti abantu be yali ayogera nabo ng’ali e Kaperunawumu bandifunye obulamu obutaggwaawo nga balya omubiri gwe gwennyini era nga banywa n’omusaayi gwe.

OMULUNDI OMULALA YESU LWE YAKOZESA OLULIMI OLW’AKABONERO

7. Abamu boogera ki ku bigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 6:53?

7 Abantu abamu bagamba nti Yesu bwe yayogera ebigambo ebiri mu Yokaana 6:53 yali alaga ekyo abantu kye balina okukola nga bakwata omukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Boogera batyo kubanga ku mukolo ogwo yakozesa ebigambo ebyagala okufaanana n’ebyo bye yayogera mu Yokaana 6:53. (Mat. 26:​26-28) Bagamba nti abo bonna ababaawo ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe balina okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo ebiba ku mukolo ogwo. Naye ekyo kituufu? Kikulu nnyo okumanya eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo, kubanga buli mwaka abantu bukadde na bukadde bakuŋŋaana wamu naffe okukwata omukolo ogwo. Tugenda kukiraba nti ebyo Yesu bye yayogera mu Yokaana 6:53 byalina amakulu ga njawulo ku ebyo bye yayogera ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe.

8. Njawulo ki eyaliwo wakati w’ebyo Yesu bye yayogera mu Yokaana 6:53 n’ebyo bye yayogera ng’atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukawa Waffe? (Laba n’ebifaananyi.)

8 Ka twetegereze enjawulo ezaaliwo mu bigambo Yesu bye yayogera. Esooka, ddi era wa Yesu gye yayogerera ebigambo ebiri mu Yokaana 6:​53-56? Ebigambo ebyo yabigamba ekibiina ky’Abayudaaya mu Ggaliraaya mu mwaka gwa 32 E.E. Ekyo kyaliwo ng’ebula omwaka nga gumu alyoke atandikewo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe mu Yerusaalemi. Ey’okubiri, ebigambo ebyo yabigamba baani? Abasinga obungi ku abo abaali bamuwuliriza mu Ggaliraaya baali basinga kwagala kukola ku byetaago byabwe eby’omubiri mu kifo ky’ebyetaago byabwe eby’omwoyo. (Yok. 6:26) Mu butuufu, Yesu bwe yayogera ekintu ekyabazibuwalira okutegeera, mangu ddala baalekera awo okumukkiririzaamu. N’abamu ku bayigirizwa be baalekera awo okumugoberera. (Yok. 6:​14, 36, 42, 60, 64, 66) Abantu abo baali ba njawulo nnyo ku batume abeesigwa 11 abaaliwo nga Yesu atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe mu mwaka gwa 33 E.E. Ku olwo abatume abo 11 baali naye wadde nga baali tebategedde ebimu ku ebyo bye yali abayigiriza. Wadde kyali kityo, okwawukana ku bantu abasinga obungi ku abo abaali mu Ggaliraaya, abatume abo abeesigwa baali bakakafu nti Yesu ye Mwana wa Katonda eyava mu ggulu. (Mat. 16:16) Yabagamba nti: “Mmwe abatanjabulidde nga ngezesebwa.” (Luk. 22:28) Enjawulo zino ebbiri ziraga nti Yesu bwe yayogera ebigambo ebiri mu Yokaana 6:53 yali talaga ekyo ekyalina okukolebwa ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Waliwo n’ebirala ebikakasa ekyo.

Yokaana essuula 6 eyogera ku ebyo Yesu bye yayogera eri ekibiina ky’Abayudaaya mu Ggaliraaya (ku kkono). Nga wayise omwaka nga gumu, yayogera n’abatume be abeesigwa mu Yerusaalemi (ku ddyo) (Laba akatundu 8)


EBIGAMBO BYA YESU BIRINA MAKULU KI GY’OLI?

9. Ebigambo Yesu bye yayogera ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe bikwata ku baani?

9 Ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe, Yesu yawa abatume be omugaati ogutaali muzimbulukuse era n’agamba nti gwali gukiikirira omubiri gwe. Oluvannyuma yabawa envinnyo era n’abagamba nti yali ekiikirira ‘omusaayi ogw’endagaano.’ (Mak. 14:​22-25; Luk. 22:20; 1 Kol. 11:24) Ekyo kikulu nnyo, kubanga endagaano eyo empya tekolebwa na bantu bonna, wabula ekolebwa na ‘b’annyumba ya Isirayiri ow’omwoyo’ abajja okufuga mu “Bwakabaka bwa Katonda.” (Beb. 8:​6, 10; 9:15) Ekyo abatume tebaakitegeera mu kiseera ekyo. Naye mu kiseera kitono baali bagenda kufukibwako omwoyo omutukuvu, bayingire mu ndagaano empya okusobola okufugira awamu ne Yesu mu ggulu.—Yok. 14:​2, 3.

10. Ebyo Yesu bye yayogera ng’ali e Ggaliraaya byali byawukana bitya ku ebyo bye yayogera ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe? (Laba n’ekifaananyi.)

10 Weetegereze nti ebyo Yesu bye yayogera ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe byali bikwata ku ‘b’ekisibo ekitono.’ Abatume be abeesigwa abaali naye ku mukolo ogwo be baasooka okuba mu kisibo ekitono. (Luk. 12:32) Abatume abo n’abalala abandyegasse ku kisibo ekyo be baalina okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo. Bano be bajja okufugira awamu ne Yesu mu ggulu. Eno ye njawulo endala eriwo wakati w’ebyo Yesu bye yayogera ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe n’ebyo bye yayogera eri ekibiina ky’abantu mu Ggaliraaya. Ebyo bye yayogera ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe byali bikwata ku bantu batono. Ate ebyo bye yayogera ng’ali e Kaperunawumu byali bikwata ku bantu bangi nnyo.

Abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo balondemu abatonotono, kyokka omuntu yenna akkiririza mu Yesu asobola okufuna obulamu obutaggwaawo (Laba akatundu 10)


11. Kiki Yesu kye yayogera ng’ali mu Ggaliraaya ekiraga nti yali tayogera ku bantu batono abalondemu?

11 Yesu bwe yali mu Ggaliraaya mu mwaka gwa 32 E.E., okusingira ddala yali ayogera eri Abayudaaya abaali baagala abawe emmere. Naye yagezaako okubayamba okutegeera ekintu ekisinga emmere obukulu, era ng’ekintu ekyo kyandibasobozesezza okufuna obulamu obutaggwaawo. Ate era yagamba nti abafu bandizuukiziddwa ku lunaku olw’enkomerero babeerewo emirembe gyonna. Wano Yesu yali tayogera ku bantu batonotono nga bwe kyali ng’atandikawo omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Mu kifo ky’ekyo, yali alaga omukisa abantu bonna gwe basobola okufuna. Mu butuufu, yagamba nti: “Omuntu yenna bw’alya ku mmere eno ajja kubeerawo emirembe gyonna . . . emmere gye nnaagaba ku lw’obulamu bw’ensi gwe mubiri gwange.”—Yok. 6:51. c

12. Kiki kye tulina okukola okusobola kufuna obulamu obutaggwaawo?

12 Yesu yagamba abantu abaali mu Ggaliraaya nti omukisa ogwo gwali gusobola okufunibwa buli muntu eyali abaddewo oba eyandizaaliddwa. Abo bokka ‘abalya ku mmere eyo,’ kwe kugamba, abakkiririza mu Yesu, be bandifunye omukisa ogwo. Abantu bangi abeeyita Abakristaayo balowooza nti bajja kulokolebwa bwe bagamba obugambi nti bakkiririza mu Yesu ng’omulokozi waabwe. (Yok. 6:29) Naye ekyo tekimala. Waliwo bangi mu Ggaliraaya abaali bakkiririza mu Yesu naye oluvannyuma ne bamuvaako. Lwaki?

13. Kiki ekyetaagisa okusobola okufuuka omuyigirizwa wa Yesu ow’amazima?

13 Abantu abasinga obungi ku abo Yesu be yaliisa mu ngeri ey’ekyamagero baali bamugoberera lwa kwagala kubawa bye baali baagala. Baali baagala abawonye mu ngeri ey’ekyamagero, abawe emmere ey’obwereere, oba abayigirize ebyo bye baali baagala okuwulira. Naye Yesu yalaga nti waliwo ebirala ebisuubirwa mu bayigirizwa be ab’amazima. Yakyoleka kaati nti teyajja ku nsi kukola bukozi ebyo abantu bye baali baagala. Abantu baalina ‘okujja gy’ali,’ kwe kugamba, nga bamuwuliriza era nga bamugoberera.—Yok. 5:40; 6:44.

14. Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu mubiri n’omusaayi gwa Yesu?

14 Yesu yabayigiriza nti bwe yandiwaddeeyo omubiri gwe n’omusaayi gwe nga ssaddaaka, kyandibasobozesezza okufuna obulamu obutaggwaawo. Ekyo abantu abo baalina okukikkiriza, era naffe tulina okukikkiriza. (Yok. 6:40) Mu butuufu, nga bwe kiragibwa mu Yokaana 6:​53, ffe okusobola okuganyulwa mu mubiri n’omusaayi gwa Yesu, tulina okukkiririza mu kinunulo. Abantu bangi nnyo basobola okuganyulwa mu kinunulo.—Bef. 1:7.

15-16. Bintu ki ebikulu bye tuyiga mu Yokaana essuula 6?

15 Ebyo bye tusoma mu Yokaana essuula 6 bikulu nnyo gye tuli n’eri abantu bonna. Biraga nti Yesu afaayo nnyo ku bantu. Bwe yali mu Ggaliraaya, yawonya abalwadde, yayigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka, era yabawa eby’okulya. (Luk. 9:11; Yok. 6:​2, 11, 12) N’ekisinga obukulu, yabayigiriza nti ye ye ‘mmere ey’obulamu.’—Yok. 6:​35, 48.

16 Ab’endiga endala tebalina kulya ku mugaati n’envinnyo ebiba ku mukolo ogw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe ogukwatibwa buli mwaka. (Yok. 10:16) Naye balya ku mmere ey’obulamu mu ngeri ey’akabonero. Ekyo bakikola nga bakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu Kristo ne mu bintu eby’ekitalo by’esobozesa okubaawo. (Yok. 6:53) Ate abo abalya ku mugaati era abanywa ku nvinnyo bakyoleka nti bali mu ndagaano empya era nti balina essuubi ery’okufuga mu Bwakabaka obw’omu ggulu. N’olwekyo, ka tube nga twafukibwako amafuta oba nga tuli ba ndiga ndala, ebyo bye tusoma mu Yokaana essuula 6 bya makulu nnyo gye tuli. Biraga nti kikulu nnyo okukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo.

OLUYIMBA 150 Noonya Katonda Akununule

a Ebyo ebiri mu Yokaana 6:​5-35 byayogerwako mu kitundu ekyayita.

b Amazzi Yesu ge yayogerako gakiikirira enteekateeka Yakuwa z’akoze okusobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo.

c Yokaana essuula 6 ekozesa ebigambo nga, “oyo yenna,” “oyo,” ne “buli muntu” ng’eyogera ku abo abasobola okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yok. 6:​35, 40, 47, 54, 56-58.