Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
“Bamalayika abalonde” aboogerwako mu 1 Timoseewo 5:21 be baani?
Omutume Pawulo yawandiikira mukadde munne Timoseewo nti: “Nkukuutira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu ne bamalayika abalonde okukolera ku bulagirizi buno nga teweekubiira wadde okusaliriza.”—1 Tim. 5:21.
Ka tusooke tulabe baani abatayinza kuba nga be bamalayika abo. Bamalayika abo si be Bakristaayo 144,000. Pawulo we yawandiikira Timoseewo, okuzuukira kw’abo abagenda mu ggulu, kwe kugamba, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, kwali tekunnabaawo. Abatume n’abalala abaafukibwako amafuta baali tebannafuuka bitonde bya mwoyo. N’olwekyo tebayinza kuba nga be bamalayika abalonde.—1 Kol. 15:50-54; 1 Bas. 4:13-17; 1 Yok. 3:2.
Ate era “bamalayika abalonde” tebayinza kuba nga be bamalayika abaajeema mu biseera by’amataba. Bamalayika abo beegatta ku Sitaani ne bafuuka badayimooni era balabe ba Yesu. (Lub. 6:2; Luk. 8:30, 31; 2 Peet. 2:4) Mu biseera eby’omu maaso bajja kusuulibwa mu bunnya babeereyo okumala emyaka 1,000, era oluvannyuma bajja kuzikirizibwa wamu n’Omulyolyomi.—Yud. 6; Kub. 20:1-3, 10.
“Bamalayika abalonde” bateekwa okuba nga be bamalayika abali mu ggulu abeesigwa eri “Katonda ne Kristo Yesu,” aboogerwako mu lunyiriri olwo lwe lumu.
Bamalayika abeesigwa bali mitwalo na mitwalo. (Beb. 12:22, 23) Tetusaanidde kulowooza nti bonna bakola omulimu gwe gumu mu kiseera kye kimu. (Kub. 14:17, 18) Kijjukire nti lumu malayika omu yaweebwa omulimu gw’okuzikiriza abasirikale Abaasuli 185,000. (2 Bassek. 19:35) Bamalayika abawerako bayinza okuba nga baaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuggya mu “Bwakabaka [bwa Yesu] ebintu byonna ebyesittaza n’abantu abakola eby’obujeemu.” (Mat. 13:39-41) Bamalayika abalala bayinza okuweebwa omulimu ogw’okukuŋŋaanya “abalonde” okubatwala mu ggulu. (Mat. 24:31) Ate abalala baaweebwa omulimu ‘gw’okutukuuma mu makubo gaffe gonna.’—Zab. 91:11; Mat. 18:10; geraageranya Matayo 4:11; Lukka 22:43.
“Bamalayika abalonde” aboogerwako mu 1 Timoseewo 5:21 kirabika baali bamalayika abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’enjawulo obulina akakwate n’abantu ba Katonda. Mu nnyiriri eziriraanyewo Pawulo yawa okubuulirira okulungi okukwata ku bakadde, abasaanidde okussibwamu ekitiibwa bakkiriza bannaabwe mu bibiina. Abakadde basaanidde okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe ‘nga tebeekubiira wadde okusaliriza’ era basaanidde okwekenneenya obulungi ensonga nga tebannasalawo. Ensonga endala ebaleetera okukolera ku kubuulirira kwa Pawulo eri nti “Katonda ne Kristo Yesu ne bamalayika abalonde” balaba engeri gye balabiriramu ekibiina. N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti bamalayika abamu baaweebwa obuvunaanyizibwa obukwata ku bibiina, gamba ng’okubikuuma, okulabirira omulimu gw’okubuulira, n’okutegeeza Yakuwa bye balaba.—Mat. 18:10; Kub. 14:6.