Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okyajjukira?

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu mwaka guno? Laba oba ng’osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Kyakulabirako ki Yakuwa ky’assaawo ku ngeri y’okuyisaamu abakazi?

Tasosola bakazi era abayisa mu ngeri y’emu nga bw’ayisa abasajja. Abawuliriza, afaayo ku nneewulira yaabwe, ne ku ebyo ebibeeraliikiriza. Era abeesiga nti basobola okukola omulimu gwe yabakwasa.—w24.01, lup. 15-16.

Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu Abeefeso 5:​7, awagamba nti: “Temussa kimu nabo”?

Omutume Pawulo yali atulabula obutakolagana na bantu abayinza okukifuula ekizibu gye tuli okunywerera ku mitindo gya Katonda. Abantu abo bayinza okuzingiramu abo be tukolagana nabo obutereevu oba abo be tukolagana nabo okuyitira mu mikutu emigattabantu.—w24.03, lup. 22-23.

Bulimba bwa ngeri ki bwe tusaanidde okwekuuma?

Tusaanidde okwegendereza ebintu ebitaliiko bukakafu mikwano gyaffe bye batuweereza, obubaka obutuweerezebwa abantu be tutamanyi, oba bakyewaggula abeefuula ng’abaagala okuwuliriza obubaka bwaffe.—w24.04, lup. 12.

Kiki kye tumanyi era kiki kye tutamanyi ku ngeri Yakuwa gy’ajja okulamulamu Kabaka Sulemaani, awamu n’abantu abaafiira mu Sodomu ne Ggomola, ne mu Mataba?

Tetumanyi obanga Yakuwa yasalawo nti tebajja kuzuukira. Naye kye tumanyi kiri nti Yakuwa amanyi byonna ebizingirwamu era musaasizi nnyo.—w24.05, lup. 3-4.

Okuba nti Katonda ‘Lwazi’ kituleetera kuba bakakafu ku ki? (Ma. 32:4)

Tusobola okuddukira eri Yakuwa okufuna obukuumi. Yeesigika era bulijjo atuukiriza by’asuubiza. Takyukakyuka, engeri ze zisigala ze zimu era n’ebigendererwa bye.—w24.06, lup. 26-28.

Kiki ekiyinza okukuyamba okumanyiira ekibiina ekipya ky’ogenzeemu?

Weesige Yakuwa, ajja kukuyamba nga bw’azze ayamba abaweereza be. Weewale okugeraageranya ekibiina ky’ogenzeemu n’ekyo ky’ovuddemu. Weenyigire mu bintu ebikolebwa mu kibiina ky’ogenzeemu, era fuba okufuna emikwano emipya.—w24.07, lup. 26-28.

Biki bye tuyiga mu ngero esatu eziri mu Matayo essuula 25?

Olugero olukwata ku ndiga n’embuzi lulaga obukulu bw’okuba abeesigwa. Olugero olukwata ku bawala embeerera ab’amagezi n’abawala embeerera abasirusiru, lulaga obukulu bw’okuba nga twetegese n’okuba nga tweteeseteese. Ate olugero lwa ttalanta lulaga obukulu bw’okuba abakozi abanyiikivu.—w24.09, lup. 20-24.

Ekisasi kya yeekaalu ya Sulemaani kyali kyenkana wa obuwanvu?

Mu 2 Ebyomumirembe 3:​4, emizingo egimu egy’edda gigamba nti kyali “emikono 120” obuwanvu, kwe kugamba, ffuuti 175 obuwanvu. Naye ebiwandiiko ebirala ebyesigika biraga nti kyali “emikono 20” obuwanvu, kwe kugamba, ffuuti 30 obuwanvu. Ekyo ebiwandiiko kye bigamba nti kyali “emikono 20” obuwanvu kirabika nga kikwatagana n’ekyo ekyogerwa ku bugazi bw’amayinja agaakozesebwa mu kuzimba ebisenge bya yeekaalu.—w24.10, lup. 31.

Bayibuli etegeeza ki bw’egamba nti omuweereza mu kibiina “abeerenga n’omukazi omu”? (1 Tim. 3:12)

Etegeeza nti alina okuba n’omukazi omu era alina okwewala ebikolwa eby’obugwenyufu. Ate era talina kukolagana na bakazi balala mu ngeri etasaana.—w24.11, lup. 19.

Lwaki tugamba nti ebyo ebiri mu Yokaana 6:53 tebikwata ku mukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe?

Yokaana 6:53 walaga obukulu bw’okulya omubiri gwa Yesu n’okunywa omusaayi gwe. Ebigambo ebyo Yesu yabyogera mu mwaka gwa 32 E.E., mu Ggaliraaya, era yabigamba Bayudaaya abaali batannaba kumukkiririzaamu. Kyokka, omukolo gw’Eky’Ekiro kya Mukama Waffe gwatandikibwawo mu Yerusaalemi nga wayise omwaka gumu. Yesu bwe yali ku mukolo ogwo, ebyo bye yayogera yabigamba abo abandifuze naye mu ggulu.—w24.12, lup. 10-11.