OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Febwali 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Apuli 4 okutuuka nga Maayi 1, 2016.

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Yakuwa Ampadde Emikisa Mingi nga Mmuweereza

Corwin Robison yamala emyaka 73 ng’aweereza Katonda, ng’omwo mw’otwalidde n’emyaka egisukka mu nkaaga ng’aweereza ku Beseri y’omu Amerika.

Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’

Wandyagadde okuba mukwano gwa Yakuwa? Laba engeri ekyokulabirako Ibulayimu kye yateekawo gye kiyinza okukuyambamu.

Koppa Mikwano gya Katonda egy’Oku Lusegere

Luusi, Keezeekiya, ne Maliyamu baasobola batya okubeera mikwano gya Katonda?

Weeyongere Okuweereza Yakuwa ng’Oli Musanyufu

Laba ebintu bisatu ebisobola okukuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa ng’oli musanyufu.

Beera Mwesigwa eri Yakuwa

Ekyokulabirako Yonasaani kye yateekawo kisobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa mu mbeera enzibu za mirundi esatu.

Koppa Abaweereza ba Yakuwa Abaali Abeesigwa

Dawudi, Yonasaani, Nasani, ne Kusaayi baakiraga batya nti okuba omwesigwa eri Yakuwa kikulu nnyo okusinga okuba omwesigwa eri omuntu omulala yenna?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

Abantu Bukadde na Bukadde Baali Bamanyi Emmotoka ey’Ekizindaalo

Okuva mu 1936 okutuuka mu 1941, emmotoka ey’ekizindaalo yayamba ababuulizi abaali abatono mu Brazil okutuusa obubaka bw’Obwakabaka ku bantu bukadde na bukadde.