Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Koppa Abaweereza ba Yakuwa Abaali Abeesigwa

Koppa Abaweereza ba Yakuwa Abaali Abeesigwa

“Kiki Yakuwa ky’akwetaagisa? Tewali kirala wabula okuba omwenkanya n’okwagala obwesigwa, n’okuba omwetoowaze ng’otambula ne Katonda wo!”​—MI. 6:8.

ENNYIMBA: 63, 43

1, 2. Dawudi yakiraga atya nti yali mwesigwa eri Katonda? (Laba ekifaananyi waggulu.)

EKIRO mu ttumbi, Dawudi ne Abisaayi bayita mu basirikale 3,000 abeebase. Batambula ne batuuka ku Kabaka Sawulo ne bamusanga ng’ali mu tulo tungi. Sawulo abadde azze mu ddungu lya Buyudaaya ng’anoonya Dawudi amutte. Abisaayi agamba Dawudi mu kaama nti: “Ka [nfumite Sawulo] effumu omulundi gumu limuyitemu likwase n’ettaka, era nja kuba seetaaga kumufumita gwa kubiri.” Ekyo Dawudi ky’amuddamu kyewuunyisa! Amugamba nti: “Tomukolako kabi, kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta n’atabaako musango? . . . Mu maaso ga Yakuwa tekiba kituufu n’akamu nze okugolola omukono gwange ku oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta!”​—1 Sam. 26:8-12.

2 Dawudi yali amanyi kye kitegeeza okuba omwesigwa eri Katonda. Yali tayagala kutuusa kabi konna ku Sawulo. Lwaki? Kubanga Katonda ye yali afuseeko Sawulo amafuta okuba kabaka wa Isirayiri. Abaweereza ba Katonda abeesigwa bassa ekitiibwa mu abo Katonda b’aba alonze. Mu butuufu, Yakuwa akubiriza abantu be bonna “okwagala obwesigwa.”​—Soma Mikka 6:8.

3. Abisaayi yakiraga atya nti yali mwesigwa eri Dawudi?

3 Abisaayi yali assa ekitiibwa mu Dawudi. Ng’ekyokulabirako: Okusobola okukweka ekibi kye yakola bwe yayenda ku Basuseba, Dawudi yalagira Yowaabu, muganda wa Abisaayi, okukola enteekateeka Uliya, omwami wa Basuseba, attibwe mu lutalo. (2 Sam. 11:2-4, 14, 15; 1 Byom. 2:16) Ekyo Abisaayi ayinza okuba nga yakitegeerako, naye yeeyongera okussa ekitiibwa mu Dawudi nga kabaka Katonda gwe yali alonze. Ate era Abisaayi teyagezaako kukozesa buyinza bwe yalina mu ggye lya Isirayiri okwezza obwakabaka. Mu kifo ky’ekyo, yanywerera ku Dawudi era n’alwanyisa abalabe be.​—2 Sam. 10:10; 20:6; 21:15-17.

4. (a) Kiki ekikakasa nti Dawudi yali mwesigwa eri Katonda? (b) Biki bye tugenda okwetegereza?

4 Dawudi bwe yagaana okutta Kabaka Sawulo kyalaga nti Dawudi yali mwesigwa eri Katonda. Bwe yali akyali muvubuka, Dawudi yalwanyisa Goliyaasi, Omufirisuuti eyali omuwagguufu, ‘eyasoomooza eggye lya Katonda omulamu’! (1 Sam. 17:23, 26, 48-51) Dawudi bwe yafuuka kabaka oluvannyuma n’ayenda ku Basuseba era n’atta n’omwami we, yakkiriza okukangavvula nnabbi Nasani kwe yamuwa era ne yeenenya. (2 Sam. 12:1-5, 13) Ne bwe yali akaddiye, Dawudi yeeyongera okuba omwesigwa eri Katonda. Ng’ekyokulabirako, yawaayo ebintu bingi okuyamba mu kuzimba yeekaalu ya Yakuwa. (1 Byom. 29:1-5) Wadde nga Dawudi yakola ensobi ez’amaanyi, yali mwesigwa eri Katonda. (Zab. 51:4, 10; 86:2) Nga twetegereza ebintu ebirala ebikwata ku Dawudi n’abantu abalala abaaliwo mu kiseera kye, ka tufumiitirize ku bibuuzo bino: Bwe kituuka ku kuba abeesigwa, ani asaanidde okutwala ekifo ekisooka mu bulamu bwaffe? Bwe tuba ab’okuba abeesigwa, ngeri ki ze tusaanidde okukulaakulanya?

ONOOBA MWESIGWA ERI YAKUWA?

5. Kiki kye tuyigira ku nsobi Abisaayi gye yali agenda okukola?

5 Olw’okuba yali mwesigwa eri Dawudi, Abisaayi yayagala okutta Sawulo. Naye olw’okuba Dawudi yali akimanyi nti kyali kikyamu okutta “oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta,” yagaana Abisaayi okutta Sawulo. (1 Sam. 26:8-11) Ekyo kituyigiriza ekintu ekikulu ennyo: Bwe tuba ab’okusalawo obulungi ku ani gwe tulina okukulembeza nga twoleka obwesigwa, tusaanidde okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli.

6. Wadde nga kikulu okubeera abeesigwa eri ab’eŋŋanda zaffe n’eri mikwano gyaffe, kiki kye tusaanidde okujjukira?

6 Obwesigwa ngeri esibuka mu mutima kyokka ng’ate omutima mukuusa. (Yer. 17:9) Bwe kityo, n’omuntu omwesigwa eri Katonda ayinza okugwa olubege mu kwoleka obwesigwa, naddala singa mukwano gwe oba omu ku b’eŋŋanda ze akola ekibi. N’olwekyo, singa omuntu gwe twagala akola ekibi era n’ava mu mazima tusaanidde okukijjukira nti bwe kituuka ku kwoleka obwesigwa, Yakuwa gwe tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe.​—Soma Matayo 22:37.

7. Mwannyinaffe omu yasigala atya nga mwesigwa eri Yakuwa mu mbeera enzibu?

7 Obwesigwa bwaffe buyinza okugezesebwa singa wabaawo omu ku b’eŋŋanda zaffe agobebwa mu kibiina. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe ayitibwa Anne [1] alina maama we eyagobebwa mu kibiina. Lumu maama we oyo yamukubira essimu ng’ayagala Anne amukyalireko olw’okuba yali awulira ekiwuubaalo. Ekyo Anne kyamunakuwaza nnyo era n’asuubiza maama we nti yali agenda kumuwandiikira ebbaluwa amuddemu. Bwe yali tannawandiika bbaluwa eyo, Anne yasooka kwekenneenya misingi gya Bayibuli. (1 Kol. 5:11; 2 Yok. 9-11) Anne yawandiikira maama we ebbaluwa n’amugamba nti ye yali asazeewo okwekutula ku b’omu maka ge olw’enneeyisa ye embi era n’olw’obuteenenya. Era Anne yamugamba nti: “Ekintu kyokka ekinaakuyamba okuwona obulumi bw’olimu kwe kudda eri Yakuwa.”​—Yak. 4:8.

8. Ngeri ki ezisobola okutuyamba okuba abeesigwa eri Katonda?

8 Abaweereza ba Katonda abeesigwa abaaliwo mu kiseera kya Dawudi baayoleka engeri enkulu ssatu ezisobola okutuyamba okuba abeesigwa eri Katonda. Baali beetoowaze, baali ba kisa, era baali bavumu. Ka twetegereze engeri ezo emu ku emu.

TWETAAGA OKUBA ABEETOOWAZE

9. Lwaki Abuneeri yayagala okutta Dawudi?

9 Dawudi bwe yagenda mu maaso ga Kabaka Sawulo ng’akutte omutwe gwa Goliyaasi, Yonasaani omwana wa Sawulo eyakola endagaano ne Dawudi ne Abuneeri eyali omukulu mu ggye lya Isirayiri bateekwa okuba nga baaliwo. (1 Sam. 17:57–18:3) Kyokka oluvannyuma Abuneeri yayambako Sawulo mu kunoonya Dawudi amutte. Dawudi yagamba nti: “Abantu abakambwe baagala okusaanyaawo obulamu bwange.” (Zab. 54:3; 1 Sam. 26:1-5) Lwaki engeri Yonasaani gye yayisaamu Dawudi eyawukana ku eyo Abuneeri gye yayisaamu Dawudi? Okufaananako Yonasaani, Abuneeri yali akimanyi nti Katonda yali alonze Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri. Oluvannyuma lw’okufa kwa Sawulo, Abuneeri yandibadde ayoleka obwetoowaze era n’akiraga nti mwesigwa eri Katonda ng’awagira Dawudi, mu kifo ky’okuwagira Isubosesi mutabani wa Sawulo. Ate era Abuneeri okwegatta n’omuzaana wa Kabaka Sawulo, ayinza okuba nga yali ayagala kwezza bwakabaka.​—2 Sam. 2:8-10; 3:6-11.

10. Lwaki Abusaalomu teyali mwesigwa eri Katonda?

10 Olw’okuba yali wa malala, Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalemererwa okuba omwesigwa eri Katonda. ‘Abusaalomu yeefunira eggaali, embalaasi, n’abasajja 50 okuddukiranga mu maaso ge’! (2 Sam. 15:1) Ate era yasendasenda Abayisirayiri bangi okumugoberera. Okufaananako Abuneeri, Abusaalomu naye yayagala okutta Dawudi wadde nga yali akimanyi nti Yakuwa yali alonze Dawudi okuba kabaka wa Isirayiri.​—2 Sam. 15:13, 14; 17:1-4.

11. Biki bye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Abuneeri, Abusaalomu, ne Baluki?

11 Ebyo bye tusoma ku Abuneeri ne Abusaalomu biraga bulungi nti okwagala ennyo obuyinza kisobola okulemesa omuntu okuba omwesigwa eri Katonda. Kya lwatu nti tewali muweereza wa Yakuwa Katonda mwesigwa yandyagadde kubeera nga Abuneeri ne Abusaalomu. Naye okwagala ennyo eby’obugagga n’ettutumu kisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Bayibuli eraga nti waliwo ekiseera Baluki, omuwandiisi wa nnabbi Yeremiya, we yawugulibwa n’aba nga takyafuna ssanyu mu kuweereza Yakuwa. Yakuwa yagamba Baluki nti: “Laba! Mmenya bye nnazimba, era nsimbula bye nnasimba​—ensi eno yonna. Naye weenoonyeza ebikulu. Lekera awo okunoonya ebintu ng’ebyo.” (Yer. 45:4, 5) Baluki yakolera ku kuwabula okwo. Naffe tusaanidde okujjukiranga ebigambo ebyo, naddala mu kiseera kino ng’enkomerero esembedde!

12. Kiki ekiraga nti okwenoonyeza ebyaffe ku bwaffe kisobola okutulemesa okuba abeesigwa eri Yakuwa.

12 Ow’oluganda Daniel abeera mu Mexico yayolekagana n’embeera ng’alina okulondawo okuba omwesigwa eri Yakuwa oba okwenoonyeza ebibye ku bubwe. Yali ayagala okuwasa omukazi ataali muweereza wa Yakuwa. Daniel agamba nti: “Nneeyongera okuwandiikira omukazi oyo n’oluvannyuma lw’okufuuka payoniya. Naye oluvannyuma nneetoowaza ne mbuulirako omukadde mu kibiina ku kizibu ekyo. Yannyamba okukiraba nti okusobola okuba omwesigwa eri Katonda, nnalina okulekera awo okuwandiikira omukazi oyo. Oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa n’okumwegayirira, nnalekera awo okumuwandiikira. Ekyo kyannyamba okufuna essanyu mu buweereza bwange.” Oluvannyuma Daniel yawasa mwannyinaffe omwesigwa era kati aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina.

BWE TUBA ABEESIGWA ERI KATONDA KITUYAMBA OKUBA AB’EKISA

Singa okimanyako nti mukkiriza munno akoze ekibi eky’amaanyi, onooyoleka obwesigwa ng’obaako ky’okolawo asobole okuyambibwa mu by’omwoyo? (Laba akatundu 14)

13. Nasani yasigala atya nga mwesigwa eri Katonda n’eri Dawudi, nga Dawudi akoze ekibi eky’amaanyi?

13 Bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa kisobola okutuyamba okuba abeesigwa eri bannaffe n’okubayamba. Nnabbi Nasani yali mwesigwa eri Yakuwa n’eri Dawudi. Nasani yakitegeerako nti Dawudi yali ayenze ku Basuseba era oluvannyuma Dawudi n’akola olukwe okutta omwami wa Basuseba. Yakuwa bwe yatuma Nasani okunenya Dawudi, Nasani yagondera Yakuwa era n’ayoleka obuvumu ng’anenya Dawudi. Nasani yakozesa amagezi ng’anenya Dawudi era n’ayoleka ekisa. Okusobola okuyamba Dawudi okulaba nti ekibi kye yali akoze kyali kya maanyi nnyo, Nasani yagerera Dawudi olugero olw’omusajja omugagga ataali mwenkanya eyatwala akaliga k’omusajja omwavu. Dawudi bwe yasunguwala olw’ekyo omusajja oyo kye yakola, Nasani yamugamba nti: “Ggwe musajja oyo!” Ensonga Dawudi yagitegeera bulungi!​—2 Sam. 12:1-7, 13.

14. Oyinza otya okubeera omwesigwa eri Yakuwa n’eri mikwano gyo oba ab’eŋŋanda zo?

14 Bwe twoleka ekisa kitusobozesa okuba abeesigwa eri Yakuwa n’eri bannaffe. Ng’ekyokulabirako, oyinza okukimanyaako nti omu ku bakkiriza banno akoze ekibi eky’amaanyi. Oyinza okuwulira ng’oyagala okuba omwesigwa gy’ali, naddala bw’aba mukwano gwo ow’oku lusegere oba omu ku b’eŋŋanda zo. Naye bw’obikkirira ekibi kye, toba mwesigwa eri Katonda. Kya lwatu nti bwe kituuka ku kwoleka obwesigwa, Yakuwa gw’olina okukulembeza. Okufaananako Nasani, beera wa kisa naye onywerere ku kituufu. Kubiriza mukwano gwo oba ow’eŋŋanda zo okutuukirira abakadde bamuyambe. Singa ekyo takikola mu bbanga eggereke, osobola okukiraga nti oli mwesigwa eri Katonda ng’otegeeza abakadde ensonga eyo. Ekyo bw’okikola, kiba kiraga nti oli mwesigwa eri Yakuwa era oba olaze mukwano gwo oyo ekisa, kubanga abakadde bajja kumutereeza mu mwoyo omukkakkamu.​—Soma Eby’Abaleevi 5:1; Abaggalatiya 6:1.

TWETAAGA OBUVUMU OKUSOBOLA OKUBA ABEESIGWA ERI KATONDA

15, 16. Lwaki Kusaayi yali yeetaaga okuba omuvumu okusobola okuba omwesigwa eri Katonda?

15 Kusaayi yali yeetaaga okuba omuvumu okusobola okuba omwesigwa eri Katonda. Kusaayi yali mukwano gwa Kabaka Dawudi era nga mwesigwa gy’ali. Naye obwesigwa bwe bwagezesebwa nnyo Abusaalomu mutabani wa Dawudi bwe yasendasenda abantu bangi okumugoberera era n’agezaako okuwamba Yerusaalemi n’obwakabaka. (2 Sam. 15:13; 16:15) Dawudi yadduka okuva mu kibuga. Kiki Kusaayi kye yandikoze? Yandisazeewo okwegatta ku Abusaalomu oba yandisigadde nga mwesigwa eri Kabaka Dawudi eyali akaddiye era ng’adduse osobole okuwonya obulamu bwe? Olw’okuba yali mwesigwa eri kabaka Katonda gwe yali alonze, Kusaayi yagenda n’asisinkana Dawudi ku Lusozi lw’Emizeyituuni.​—2 Sam. 15:30, 32.

16 Dawudi yagamba Kusaayi addeyo e Yerusaalemi yeefuule mukwano gwa Abusaalomu, asobole okulemesa amagezi Akisoferi ge yandiwadde okuteekebwa mu nkola. Kusaayi yateeka obulamu bwe mu kabi n’akiraga nti yali mwesigwa eri Yakuwa bwe yakolera ku ekyo Dawudi kye yamugamba. Nga Dawudi bwe yasaba Yakuwa, Kusaayi yalemesa amagezi Akisoferi ge yawa okuteekebwa mu nkola.​—2 Sam. 15:31; 17:14.

17. Lwaki twetaaga okuba abavumu okusobola okuba abeesigwa eri Yakuwa?

17 Twetaaga okuba abavumu okusobola okuba abeesigwa eri Yakuwa. Bangi ku ffe tusobodde okusigala nga tuli beesigwa eri Katonda nga twolekagana n’okugezesebwa okuva mu b’eŋŋanda zaffe, bakozi bannaffe, n’ab’obuyinza. Ng’ekyokulabirako, okuviira ddala mu buto, ow’oluganda Taro abeera mu Japan yali muwulize eri bazadde be era nga mwesigwa gye bali. Yali tabagondera kutuusa butuusa luwalo. Yali ayagala nnyo okusanyusa bazadde be. Bazadde be bwe baatandika okumuyigganya olw’okuba yali ayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, tekyamwanguyira kubategeeza nti yali agenda kutandika okugendanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Taro agamba nti: “Bazadde bange baanyiiga nnyo ne kiba nti waayita emyaka mingi nga tebanzikiriza kugenda kubakyalira. Nnasaba Yakuwa ampe obuvumu nnywerere ku ekyo kye nnali nsazeewo okukola. Kati endowooza yaabwe yakyuka era nsobola okubakyalira wonna we mba njagalidde.”​—Soma Engero 29:25.

18. Kiki ky’oyize mu kitundu kino?

18 Okufaananako Dawudi, Yonasaani, Nasani, ne Kusaayi, bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa tufuna essanyu lingi. Ku luuyi olulala, bwe tutaba beesigwa eri Yakuwa, nga Abuneeri ne Abusaalomu bwe baali, ebivaamu tebiba birungi. N’olwekyo, ka tufube okunywerera ku Yakuwa nga Dawudi bwe yakola. Olw’okuba tetutuukiridde, emirundi egimu tukola ensobi. Wadde kiri kityo, ffenna tusobola okukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa.

^ [1] (akatundu 7) Amannya agamu gakyusiddwa.