Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Beera Mwesigwa eri Yakuwa

Beera Mwesigwa eri Yakuwa

“Yakuwa abeere wakati wange naawe, ne wakati w’ezzadde lyange n’eriryo emirembe gyonna.”​—1 SAM. 20:42.

ENNYIMBA: 125, 62

1, 2. Lwaki tuyinza okugamba nti Yonasaani yali mwesiga eri Dawudi?

YONASAANI ateekwa okuba nga yeewuunya nnyo bwe yalaba ng’omuvubuka omuto Dawudi asse Goliyaasi, Omufirisuuti eyali omuwagguufu. Oluvannyuma Dawudi yagenda mu maaso ga Kabaka Sawulo, kitaawe wa Yonasaani, ‘ng’akutte omutwe gw’Omufirisuuti’ oyo. (1 Sam. 17:57) Yonasaani ateekwa okuba nga yakwatibwako nnyo bwe yalowooza ku buvumu Dawudi bwe yayoleka ku olwo. Kyeyoleka lwatu nti Katonda yali wamu ne Dawudi, era ‘Yonasaani ne Dawudi baafuuka ba mukwano nnyo.’ Baatuuka ‘n’okukola endagaano okuba ab’omukwano, olw’okuba Yonasaani yali ayagala Dawudi nga bwe yali yeeyagala.’ (1 Sam. 18:1-3) Yonasaani yeeyongera okuba omwesigwa eri Dawudi okutuusa lwe yafa.

2 Yonasaani yeeyongera okwagala Dawudi n’oluvannyuma lwa Katonda okukiraga nti Dawudi ye yali agenda okuddira Sawulo mu bigere nga kabaka wa Isirayiri. Yonasaani yafuba nnyo okuyamba Dawudi nga Sawulo ayagala okumutta. Okusobola okuzzaamu mukwano gwe Dawudi amaanyi, Yonasaani yatindigga olugendo n’agenda mu ddungu lya Buyudaaya, mu Kolesi. Yonasaani yazzaamu Dawudi amaanyi n’amukubiriza okweyongera okwesiga Yakuwa. Yamugamba nti: “Totya . . . ; ojja okuba kabaka wa Isirayiri nga nze nkuddirira mu buyinza.”​—1 Sam. 23:16, 17.

3. Kiki Yonasaani kye yali atwala ng’ekikulu n’okusinga okuba omwesigwa eri Dawudi, era ekyo tukimanya tutya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 21.)

3 Ffenna twagala nnyo abantu abeesigwa. Wadde nga twagala nnyo Yonasaani olw’okuba yali mwesigwa eri Dawudi, ekisinga okutuleetera okumwagala kwe kuba nti yali mwesigwa eri Yakuwa. Lwaki Yonasaani yatwala Dawudi nga mukwano gwe so si ng’omulabe we eyali agenda okumutwalako obwakabaka? Waliwo ekintu Yonasaani kye yali atwala nga kikulu okusinga okwefunira obwakabaka. Kijjukire nti yazzaamu Dawudi amaanyi n’amukubiriza okweyongera “okwesiga Yakuwa.” Ekyo kiraga nti ekintu Yonasaani kye yali atwala ng’ekisinga obukulu kwe kuba omwesigwa eri Katonda. Mu butuufu, okuba omwesigwa eri Yakuwa kye kyaleetera Yonasaani okuba omwesigwa eri Dawudi. Abasajja abo bombi baanywerera ku ndagaano gye baakola bwe baagamba nti: “Yakuwa abeere wakati wange naawe, ne wakati w’ezzadde lyange n’eriryo emirembe gyonna.”​—1 Sam. 20:42.

4. (a) Kiki ekinaatuyamba okuba abasanyufu era abamativu? (b) Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

4 Ng’oggyeeko okuba nti ffe Abakristaayo twagala nnyo abantu abeesigwa, naffe tuli beesigwa eri ab’omu maka gaffe, mikwano gyaffe, ne bakkiriza bannaffe. (1 Bas. 2:10, 11) Naye okusingira ddala, tusaanidde okuba abeesigwa eri Yakuwa kubanga ye yatuwa obulamu. (Kub. 4:11) Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa tuba basanyufu era tuba bamativu. Tukiraga nti tuli beesigwa eri Katonda nga tumunywererako ne mu mbeera enzibu ennyo. Mu kitundu kino tugenda kwetegereza engeri ekyokulabirako Yonasaani kye yateekawo gye kisobola okutuyamba okuba abeesigwa eri Yakuwa mu mbeera zino ennya: (1) nga waliwo omuntu ali mu buyinza gwe tulaba ng’atagwana kussibwamu kitiibwa, (2) nga tulina okulondawo gwe tusaanidde okunywererako, (3) ng’abalala batutegedde bubi oba nga batuyisizza bubi, ne (4) bwe tukisanga nga kizibu okutuukiriza ekyo kye twasuubiza.

NGA WALIWO OMUNTU ALI MU BUYINZA GWE TULABA NG’ATAGWANA KUSSIBWAMU KITIIBWA

5. Lwaki tekyali kyangu eri abantu ba Isirayiri okuba abeesigwa eri Katonda mu kiseera ky’obufuzi bwa Sawulo?

5 Wadde nga Katonda ye yalonda Sawulo kitaawe wa Yonasaani okuba kabaka, oluvannyuma Sawulo yajeemera Katonda era Katonda n’amuvaako. (1 Sam. 15:17-23) Okuva bwe kiri nti Katonda teyaggya Sawulo ku bwakabaka mangu ddala, ebintu ebibi Sawulo bye yakola byagezesa obwesigwa bw’abantu be yali afuga n’obw’abo abaamubanga ku lusegere. Abantu baakisanga nga kizibu okusigala nga beesigwa eri Yakuwa ng’ate kabaka Katonda gwe yali alonze okutuula ku ‘ntebe ye,’ yali akola ebintu ebibi.​—1 Byom. 29:23.

6. Kiki ekiraga nti Yonasaani yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa?

6 Sawulo bwe yatandika okukiraga nti teyali mwesigwa eri Yakuwa, mutabani we Yonasaani ye yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa. (1 Sam. 13:13, 14) Nnabbi Samwiri yali agambye nti: “Yakuwa tajja kwabulira bantu be olw’erinnya lye ekkulu.” (1 Sam. 12:22) Yonasaani yakiraga nti yali akkiririza mu bigambo ebyo eggye ly’Abafirisuuti eryalina amagaali g’olutalo 30,000 bwe lyajja okulumba Isirayiri. Sawulo yalina abajaasi 600 bokka ate nga ye ne Yonasaani be bokka abaalina eby’okulwanyisa! Wadde kyali kityo, Yonasaani yalumba Abafirisuuti ng’ali n’omusajja omu yekka eyamukwatiranga eby’okulwanyisa. Yonasaani yagamba nti: “Tewali kiyinza kuziyiza Yakuwa kulokola ng’akozesa bangi oba batono.” Yonasaani n’omusajja we oyo batta abasirikale nga 20. N’ekyaddirira, ‘ensi yatandika okukankana, era entiisa n’eva eri Katonda n’ebuna mu lusiisira lw’Abafirisuuti.’ Abafirisuuti baatabulwatabulwa ne batandika okuttiŋŋana. Olw’okuba Yonasaani yeesiga Yakuwa, kyaviirako Abayisirayiri okuwangula olutalo.​—1 Sam. 13:5, 15, 22; 14:1, 2, 6, 14, 15, 20.

7. Yonasaani yeeyisa atya eri kitaawe?

7 Wadde nga Sawulo yeeyongera okujeemera Yakuwa, Yonasaani yasigala ng’agondera kitaawe we kyabanga kisoboka. Ng’ekyokulabirako, yakolera wamu ne kitaawe nga balwanirira abantu ba Katonda.​—1 Sam. 31:1, 2.

8, 9. Bwe tugondera ab’obuyinza kiraga kitya nti tuli beesigwa eri Katonda?

8 Okufaananako Yonasaani, tusobola okukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tugondera ab’obuyinza bwe kiba kituukirawo. Ekyo tusaanidde okukikola ne bwe tulaba ng’abatagwana kussibwamu kitiibwa. Ng’ekyokulabirako, omukungu wa gavumenti ayinza okuba nga si mwesigwa, naye tusigala nga tumussaamu ekitiibwa olw’okuba Yakuwa ayagala tukikole. (Soma Abaruumi 13:1, 2.) Ffenna tusobola okukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tugondera abo bonna b’awadde obuyinza.​—1 Kol. 11:3; Beb. 13:17.

Tusobola okukiraga nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tussa ekitiibwa mu munnaffe mu bufumbo atali mukkiriza (Laba akatundu 9)

9 Mwannyinaffe Olga [1] abeera mu South America yakiraga nti mwesigwa eri Yakuwa ng’assa ekitiibwa mu mwami we ne bwe yali ng’amuyisa bubi. Okumala emyaka egiwerako, omwami we yamuyisanga bubi olw’okuba Olga yali Mujulirwa wa Yakuwa. Yamuyombesanga, yamuvumanga, oluusi yagaananga okwogera naye, era n’atiisatiisa n’okumuggyako abaana be amuviire. Naye Olga ye yasigala ayisa bulungi omwami we. Yafubanga okubeera omukyala omulungi mu maka ng’afumbira omwami we emmere, ng’amwoleza engoye, era ng’afaayo ku baana baabwe. (Bar. 12:17) Bwe kyabanga kisoboka, yagendanga naye ku mikolo egyabeeranga ewaabwe w’omusajja oba ewa mikwano gye. Ng’ekyokulabirako, lumu omwami we bwe yali agenda mu kibuga ekimu ku mukolo ogw’okusabira kitaawe eyali afudde, Olga yategeka bulungi abaana era n’ategeka buli kimu ekyali kyetaagisa ku lugendo olwo. Okusaba bwe kwali kugenda mu maaso, Olga yalindako omwami we wabweru w’ekkanisa okutuusa bwe kwaggwa. Nga wayise emyaka, omwami we yakyusa endowooza ye olw’okuba Olga yali mugumiikiriza era ng’amussaamu ekitiibwa. Kati omwami we amutwalako mu nkuŋŋaana, amukubiriza okuzigendamu, era oluusi naye abeerawo mu nkuŋŋaana.​—1 Peet. 3:1.

NGA TULINA OKUSALAWO ANI GWE TUSAANIDDE OKUNYWERERAKO

10. Kiki ekyayamba Yonasaani okumanya gwe yali asaanidde okunywererako?

10 Olw’okuba Sawulo yali amaliridde okutta Dawudi, ekyo kyagezesa nnyo obwesigwa bwa Yonasaani. Wadde nga yali yakola endagaano ne Dawudi, Yonasaani yasigala agondera kitaawe. Kyokka Yonasaani yali akimanyi nti Katonda yali wamu ne Dawudi, so si ne Sawulo. N’olwekyo, Yonasaani yasalawo okunywerera ku Dawudi mu kifo ky’okunywerera ku Sawulo. Yagamba Dawudi yeekweke era n’amwogerako bulungi eri Sawulo.​—Soma 1 Samwiri 19:1-6.

11, 12. Okwagala kwe tulina eri Katonda kuyinza kutya okutuyamba okusalawo okuba abeesigwa gy’ali?

11 Alice ow’omu Australia naye yalina okusalawo ani gwe yali asaanidde okunywererako. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yabuulirangako ab’eka ku ebyo bye yali ayiga. Lumu Alice yabagamba nti yali tagenda kukuza Ssekukkulu. Yabannyonnyola ensonga lwaki yali tagenda kugikuza naye ne bava mu mbeera. Baalowooza nti yali atandise okweyawula ku b’eŋŋanda ze. Alice agamba nti: “Oluvannyuma maama yaŋŋamba nti yali anzaalukuse. Ekyo kyanneewuunyisa nnyo era kyampisa bubi nnyo kubanga nnali njagala nnyo ab’eŋŋanda zange. Naye nnali nkimanyi nti Yakuwa n’Omwana we be nnina okukulembeza mu bulamu bwange, era nnabatizibwa ku lukuŋŋaana olunene olwaddako.”​—Mat. 10:37.

12 Bwe tutaba beegendereza, tuyinza okwesanga ng’okwagala kwe tulina eri eggwanga lyaffe, essomero, oba eby’emizannyo kutulemesa okuba abeesigwa eri Katonda. Ng’ekyokulabirako, Henry anyumirwa nnyo okuzannya kyeesi. Essomero lye yasomerangamu lye lyateranga okuwangula empaka za kyeesi era Henry yali ayagala nnyo okuyamba essomero lye okuwangula. Agamba nti: “Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, nnakiraba nti nnali nneemalidde nnyo ku muzannyo gwa kyeesi okusinga bwe nnali nneemalidde ku Yakuwa. Emizannyo gya kyeesi egyabeerangayo ku wiikendi gyannemesanga okwenyigira mu buweereza. Bwe kityo, nnasalawo okuva mu ttiimu ya kyeesi.”​—Mat. 6:33.

13. Okuba abeesigwa eri Katonda kiyinza kitya okutuyamba okugonjoola ebizibu mu maka gaffe?

13 Oluusi tekiba kyangu kusalawo ani ku b’eŋŋanda zo gw’olina kukulembeza. Ng’ekyokulabirako, Ken agamba nti: “Nnayagalanga nnyo okukyalira maama era ng’oluusi njagala ajje abeereko ewaffe. Naye mukyala wange ne maama wange baali tebakwatagana. Mu kusooka, ebintu byansobera kubanga bwe nnagezangako okusanyusa omu ng’omulala anyiiga. Oluvannyuma nnakiraba nti mu mbeera ng’eyo mukyala wange gwe nnina okukulembeza. Bwe kityo, nnasalawo okukwata ebintu mu ngeri ey’amagezi eteenyiize mukyala wange.” Olw’okuba Ken yali mwesigwa eri Yakuwa era ng’assa ekitiibwa mu Kigambo kye, yasobola okunnyonnyola mukyala we ensonga lwaki yali asaanidde okuyisa obulungi maama we era n’annyonnyola ne maama we ensonga lwaki yali asaanidde okuwa mukyala we ekitiibwa.​—Soma Olubereberye 2:24; 1 Abakkolinso 13:4, 5.

ABALALA BWE BATUTEGEERA OBUBI OBA BWE BATUYISA OBUBI

14. Sawulo yayisa atya Yonasaani obubi?

14 Obwesigwa bwaffe eri Yakuwa buyinza okugezesebwa singa ow’oluganda atwala obukulembeze mu kibiina atutegeera bubi. Yonasaani yayolekagana n’embeera ng’eyo. Kabaka Sawulo, Katonda gwe yafukako amafuta, yali akimanyi nti Yonasaani ne Dawudi baali ba mukwano naye nga tategeera nsonga lwaki. Lumu Sawulo yatuuka n’okuyombesa Yonasaani era n’amuswaza mu bantu. Naye Yonasaani teyawoolera ggwanga. Yasigala mwesigwa eri Yakuwa, n’eri Dawudi eyali agenda okufuuka kabaka wa Isirayiri.​—1 Sam. 20:30-41.

15. Twandyeyisizza tutya singa ow’oluganda atuyisa bubi?

15 Mu kibiina kya Yakuwa, si kyangu kuyisibwa mu ngeri eteri ya bwenkanya. Naye abo abatwala obukulembeze mu kibiina kya Yakuwa tebatuukiridde era oluusi bayinza okututegeera obubi. (1 Sam. 1:13-17) Singa batutegeera bubi, tusaanidde okweyongera okuba abeesigwa eri Yakuwa.

BWE TUKISANGA NGA KIZIBU OKUTUUKIRIZA EKYO KYE TWASUUBIZA

16. Mbeera ki mwe tulina okukyolekera nti tuli beesigwa eri Katonda era nti tetwerowoozaako ffekka?

16 Sawulo yakubiriza Yonasaani okwenoonyeza ebibye ku bubwe. (1 Sam. 20:31) Naye olw’okuba Yonasaani yali mwesigwa eri Katonda, yayagala Dawudi mu kifo ky’okweyagaliza obwakabaka. Naffe tusobola okukoppa Yonasaani singa tukijjukira nti omuntu asiimibwa mu maaso ga Yakuwa y’oyo “atuukiriza by’asuubiza ne bwe kiba nga kimukosa.” (Zab. 15:4) Yonasaani yanywerera ku ekyo kye yasuubiza Dawudi; era naffe tusaanidde okumukoppa nga tutuukiriza ebyo bye tusuubiza. Ng’ekyokulabirako, singa tubaako endagaano gye tukkiriziganyizzaako n’omuntu mu bya bizineesi, naye ebintu ne bitatambula nga bwe tubadde tusuubira, tusaanidde okufuba okutuukiriza ekyo kye twakkiriziganyaako. Ate watya singa tuba tetufunye ebyo bye twali tusuubira mu bufumbo bwaffe? Okwagala kwe tulina eri Katonda kujja kutukubiriza okusigala nga tuli beesigwa eri munnaffe mu bufumbo.​—Soma Malaki 2:13-16.

Bwe tuba abeesigwa eri Yakuwa, tujja kufuba okutuukiriza ebyo bye tuba tukkiriziganyizzaako mu bya bizineesi (Laba akatundu 16)

17. Kiki ky’oyize mu kitundu kino?

17 Bwe tufumiitiriza ku kyokulabirako Yonasaani kye yassaawo, kitukubiriza okumukoppa naffe ne tuba beesigwa eri Katonda. Ka bulijjo twewale okwerowoozaako ffekka. Era okufaananako Yonasaani, ka tukirage nti tuli beesigwa eri Yakuwa nga tuba beesigwa eri abantu be, nga mw’otwalidde n’abo ababa batunyiizizza. Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa ne mu mbeera enzibu, tusanyusa omutima gwe era ekyo kituleetera essanyu lingi. (Nge. 27:11) Bwe tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa, tujja kukiraba nti atufaako era nti atwagaliza ekyo ekisingayo obulungi. Mu kitundu ekiddako, tujja kulaba ebyo bye tuyinza okuyigira ku bantu abaaliwo mu kiseera kya Dawudi abaali abeesigwa n’abo abataali beesigwa.

^ [1] (akatundu 9) Amannya agamu gakyusiddwa.