Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’

Yakuwa Yamuyita ‘Mukwano Gwe’

“Ggwe Isirayiri, oli muweereza wange, ggwe Yakobo gwe nnalonda, ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwange.”​—IS. 41:8.

ENNYIMBA: 91, 22

1, 2. (a) Kiki ekiraga nti abantu basobola okuba mikwano gya Katonda? (b) Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

OKUVA lwe tuzaalibwa okutuuka lwe tufa ekintu kye tusinga okwetaaga kwe kwagala. Okwagala abantu kwe basinga okwetaaga si kwe kwo okubaawo wakati w’omusajja n’omukazi. Twagala nnyo okufuna emikwano era twagala nnyo okukolagana n’abalala. Naye, abantu kye basinga okwetaaga kwe kwagalibwa Yakuwa. Abantu bangi tekibanguyira kukkiriza nti omuntu obuntu asobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna atalabika. Naffe bwe tutyo bwe tulowooza? N’akatono!

2 Bayibuli eraga nti waliwo abantu bangi abatatuukiridde abaali mikwano gya Katonda. Tusaanidde okufumiitiriza ku kyokulabirako abantu abo kye baateekawo kubanga okuba mukwano gwa Katonda kye kintu ekisingayo obukulu buli muntu ky’asaanidde okuluubirira okutuukako. Omu ku bantu abaali mikwano gya Katonda ye Ibulayimu. (Soma Yakobo 2:23.) Kiki ekyayamba Ibulayimu okuba mukwano gwa Yakuwa? Ekintu ekyasinga okumuyamba kwe kuba nti yalina okukkiriza. Mu butuufu, Bayibuli egamba nti Ibulayimu ye “kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza.” (Bar. 4:11) Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri okukkiriza Ibulayimu kwe yalina gye kwamuyamba okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Era buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nnyinza ntya okwoleka okukkiriza nga Ibulayimu nsobole okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa?’

IBULAYIMU YAFUUKA ATYA MUKWANO GWA YAKUWA?

3, 4. (a) Kugezesebwa ki oboolyawo okwasingayo okuba okw’amaanyi Ibulayimu kwe yayolekagana nakwo? (b) Lwaki Ibulayimu yali mwetegefu okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka?

3 Kuba akafaananyi ng’omusajja omukadde ayambuka olusozi. Atambula naye olugendo olwo lw’aliko si lwangu n’akamu. Emyaka gye si gye gifudde olugendo olwo obutaba lwangu. Omusajja oyo ye Ibulayimu era wadde ng’alina emyaka nga 125, akyalina amaanyi. [1] Mutabani we Isaaka alina emyaka nga 25 atambula ng’amuvaako emabega era yeetisse enku. Ibulayimu alina akambe n’eby’okukumisa omuliro. Yakuwa amugambye okuwaayo omwana we oyo nga ssaddaaka!​—Lub. 22:1-8.

4 Okugezesebwa okwo Ibulayimu kwe yayolekagana nakwo oboolyawo kwe kwasingayo okuba okw’amaanyi mu bulamu bwe. Abamu bagamba nti Katonda teyayoleka kisa n’akamu okugamba Ibulayimu okukola ekintu ng’ekyo, era abamu bagamba nti Ibulayimu yali amala gagondera Katonda nga talowooza. Bagamba batyo kubanga tebalina kukkiriza era tebategeera ngeri kukkiriza gye kukolamu. (1 Kol. 2:14-16) Ibulayimu yalina ensonga kw’asinziira okugondera Katonda. Okukkiriza kwamusobozesa okukiraba nti Kitaawe ow’omu ggulu, Yakuwa, tasobola kugamba baweereza be kukola kintu kyonna ekiyinza okubaviiramu akabi ak’olubeerera. Ibulayimu yali akimanyi nti bwe yandigondedde Yakuwa, Yakuwa yandimuwadde emikisa awamu n’omwana we. Kiki ekyayamba Ibulayimu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi bwe kutyo? Ebintu bye yali amanyi n’ebyo bye yali ayiseemu bye byamuyamba.

5. Ani ayinza okuba nga yayamba Ibulayimu okumanya ebikwata ku Yakuwa, era ebyo Ibulayimu bye yayiga byamukwatako bitya?

5 Ebintu bye yali amanyi. Wadde nga Ibulayimu yakulira mu kibuga Uli eky’Abakaludaaya ekyali kijjudde okusinza ebifaananyi, yali amanyi ebikwata ku Yakuwa. Ekyo kyasoboka kitya, naddala bw’olowooza ku ky’okuba nti taata we, Teera, yali asinza bifaananyi? (Yos. 24:2) Ekyo Bayibuli tekiraga butereevu, naye ekiraga nti Ibulayimu yali muzzukulu wa Seemu, omu ku batabani ba Nuuwa, omusajja eyalina okukkiriza okw’amaanyi. Seemu we yafiira, Ibulayimu yalina emyaka nga 150. Tetumanyi obanga Seemu ye yayamba Ibulayimu okumanya ebikwata ku Yakuwa. Naye Seemu ateekwa okuba nga yayamba ab’omu maka ge okumanya ebikwata ku Yakuwa. Era ebyo Seemu bye yayigiriza ab’omu maka ge byatuuka ne ku Ibulayimu era ne bimukwatako nnyo. Ebintu ebikwata ku Katonda Ibulayimu bye yayiga byamuleetera okumwagala era byamuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi.

6, 7. Ebyo Ibulayimu bye yayitamu byamuyamba bitya okunyweza okukkiriza kwe?

6 Bye yayitamu. Biki Ibulayimu bye yayitamu ebyamuyamba okunyweza okukkiriza kwe? Kigambibwa nti ebintu omuntu by’alowooza bikwata ku nneewulira ye era enneewulira ye emuleetera okubaako ky’akolawo. Ebyo Ibulayimu bye yayiga ebikwata ku Katonda byamukwatako nnyo ne bimuleetera okussa ennyo ekitiibwa mu Yakuwa, “Katonda Asingayo Okuba Waggulu, eyakola eggulu n’ensi.” (Lub. 14:22) Enneewulira ng’eyo Ibulayimu gye yafuna Bayibuli gy’eyita ‘okutya Katonda,’ era okutya Katonda kuyamba omuntu okunyweza enkolagana ye ne Katonda. (Beb. 5:7; Zab. 25:14) Okutya Katonda kwayamba Ibulayimu okubaako ky’akolawo.

7 Katonda yalagira Ibulayimu ne mukyala we Saala abaali bakaddiye okuva mu Uli bagende mu nsi endala. Baali bagenda kubeeranga mu weema obulamu bwabwe bwonna. Ibulayimu yagondera Katonda n’akola ekyo kye yamulagira era ekyo kyaleetera Yakuwa okumuwa emikisa n’okumukuuma. Ng’ekyokulabirako, lumu Ibulayimu yali atidde nti mukyala we omwagalwa Saala bandimumututteko era ye n’attibwa. Ibulayimu yalina ensonga okutya, naye ekyo tekyamulemesa kugondera Yakuwa. Enfunda eziwerako, Yakuwa yakuuma Ibulayimu ne Saala, era oluusi yakikolanga mu ngeri ey’ekyamagero. (Lub. 12:10-20; 20:2-7, 10-12, 17, 18) Ibulayimu yajjukiranga engeri Yakuwa gye yamukuumamu era ekyo kyanyweza okukkiriza kwe.

8. Tuyinza tutya okweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa, era ebyo bye tuyitamu bituyamba bitya okunyweza enkolagana yaffe naye?

8 Naffe tusobola okuba mikwano gya Yakuwa? Yee tusobola! Okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebyo bye tuyitamu bisobola okutuyamba okuba mikwano gya Yakuwa. Ebintu Ibulayimu bye yali amanyi ebikwata ku Yakuwa bitono nnyo bw’obigeraageranya ku ebyo ffe bye tusobola okumanya okuyitira mu Bayibuli. (Dan. 12:4; Bar. 11:33) Mu Kigambo kya Katonda mulimu ebintu bingi ebisobola okutuyamba okumanya ebikwata ku Katonda “eyakola eggulu n’ensi,” ekyo ne kituyamba okumutya n’okwongera okumwagala. Okutya Katonda n’okumwagala kitukubiriza okumugondera era ne tulaba ebirungi ebiva mu kumugondera. Tusobola okukiraba nti amateeka ge ga bukuumi gye tuli era nti atuwa emikisa era atuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. Tukiraba nti okuweereza Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna kituyamba okuba abamativu, okufuna emirembe, n’okufuna essanyu. (Zab. 34:8; Nge. 10:22) Bwe tweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa era ne tulaba n’ebyo by’atuyisaamu, kituyamba okwongera okunyweza okukkiriza kwaffe n’okunyweza enkolagana yaffe naye.

EKYAYAMBA IBULAYIMU OKUKUUMA OMUKWANO GWE YALINA NE KATONDA

9, 10. (a) Kiki ekirina okukolebwa okusobola okukuuma omukwano? (b) Kiki ekiraga nti omukwano Ibulayimu gwe yalina ne Katonda yagutwala nga gwa muwendo era nti yafuba okugukuuma?

9 Okuba n’ow’omukwano kintu kya muwendo nnyo. (Soma Engero 17:17.) Kyokka omukwano teguba ng’ekintu ky’ogula obuguzi n’okitereka. Omukwano gulinga ekintu ekiramu ekyetaaga okulabirirwa okusobola okusigala nga kiramu. Omukwano Ibulayimu gwe yalina ne Katonda yagutwala nga gwa muwendo nnyo era yafuba okugukuuma. Ekyo yakikola atya?

10 Ibulayimu teyalowooza nti olw’okuba mu biseera eby’emabega yali mwesigwa eri Yakuwa era ng’amugondera, ekyo kyali kimala. Ibulayimu ne bwe yatuuka mu Kanani n’ab’omu nju ye, yeeyongera okukolera ku bulagirizi bwa Yakuwa ng’aliko by’asalawo, ka bibe binene oba bitono. Ng’ebula omwaka gumu Isaaka azaalibwe, nga Ibulayimu wa myaka 99, Yakuwa yalagira nti abasajja bonna ab’omu nju ya Ibulayimu bakomolebwe. Ibulayimu yeemulugunya olw’ekiragiro ekyo oboolyawo n’anoonya obusongasonga kwe yandisinzidde obutakigondera? Nedda. Yeesiga Katonda n’agondera ekiragiro ekyo “ku lunaku olwo lwennyini.”​—Lub. 17:10-14, 23.

11. Lwaki Ibulayimu yeeraliikirira bwe yakimanya nti Sodomu ne Ggomola byali bigenda kuzikirizibwa, era kiki Yakuwa kye yamuyamba okutegeera?

11 Olw’okuba Ibulayimu yagonderanga Yakuwa ne mu bintu ebyalabika ng’ebitono, ekyo kyamuyamba okukuuma enkolagana ye ne Katonda. Yategeezanga Yakuwa ebyo ebyabanga ku mutima gwe, era n’ebintu bye yabanga yeebuuza. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu bwe yakimanya nti Katonda yali agenda kuzikiriza ebibuga Sodomu ne Ggomola, yeebuuza obanga Katonda yali agenda kuzikiriza abantu abatuukirivu n’ababi. Oboolyawo Ibulayimu yali yeeraliikiridde nti Katonda yali agenda kuzikiriza ne Lutti, omwana wa muganda we, awamu n’ab’omu maka ge mu kiseera ekyo abaali babeera mu Sodomu. Ibulayimu yayoleka obwetoowaze ng’abuuza Katonda ebibuuzo era ne yeesiga “Omulamuzi w’ensi yonna.” Yakuwa yayamba Ibulayimu okukitegeera nti musaasizi era nti akebera emitima gy’abantu bonna ng’anoonya abatuukirivu ab’okuwonyaawo ng’ateeka mu nkola emisango gy’aba asaze.​—Lub. 18:22-33.

12, 13. (a) Ebintu Ibulayimu bye yali amanyi n’ebyo bye yayitamu byamuyamba bitya oluvannyuma? (b) Kiki ekiraga nti Ibulayimu yali yeesiga Yakuwa?

12 Tewali kubuusabuusa nti ebyo Ibulayimu bye yali amanyi ku Katonda n’ebyo bye yayitamu byamuyamba okukuuma enkolagana ye ne Yakuwa. Oluvannyuma, Yakuwa bwe yamusaba okuwaayo mutabani we Isaaka nga ssaddaaka, ekintu ekitaali kyangu n’akamu, Ibulayimu yafumiitiriza ku ngeri za Kitaawe era Mukwano gwe ow’omu ggulu. Kati ka tuddemu tulowooze ku kiseera nga Ibulayimu ayambuka Olusozi Moliya. Kyandiba nti yatandika okulowooza nti Yakuwa yali akyuse era nti yali takyali musaasizi? Ekyo Ibulayimu teyakirowoozanako! Lwaki tugamba bwe tutyo?

13 Bwe yali asiibula abaddu be abaali bamuwerekeddeko, Ibulayimu yabagamba nti: “Mmwe musigale wano n’endogoyi, nze n’omulenzi tugende eri tusinze oluvannyuma tukomewo gye muli.” (Lub. 22:5) Kiki Ibulayimu kye yali ategeeza? Kyandiba nti yali alimbalimba abaweereza be bwe yabagamba nti ye ne Isaaka bagenda kukomawo ate nga yali akimanyi nti Isaaka yali agenda kusaddaakibwa? Nedda. Bayibuli etuyamba okutegeera ekyo ekyali mu birowoozo bya Ibulayimu. (Soma Abebbulaniya 11:19.) Ibulayimu ‘yakitwala nti Katonda yali asobola okuzuukiza Isaaka mu bafu.’ Ibulayimu yali akkiririza mu kuzuukira. Yali akimanyi nti Yakuwa yamusobozesa ye ne Saala okuzaala omwana wadde nga baali bakaddiye nnyo nga tebakyasobola kuzaala. (Beb. 11:11, 12, 18) Ibulayimu yakitegeera nti tewali kisobola kulema Yakuwa. N’olwekyo, yali mukakafu nti ka kibe ki ekyandibaddewo ku lunaku olwo olwali oluzibu ennyo, Yakuwa yandibadde amuddiza omwana we oyo gwe yali ayagala ennyo, ebisuubizo bya Yakuwa bisobola okutuukirira. Tekyewuunyisa nti Ibulayimu ayitibwa “kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza”!

14. Kusoomooza ki kw’oyolekagana nakwo ng’oweereza Yakuwa, era kiki ky’oyinza okuyigira ku Ibulayimu?

14 Ate ffe? Kya lwatu nti Katonda tatugamba kukola kintu ng’ekyo kye yagamba Ibulayimu okukola. Naye ayagala tukwate ebiragiro bye ne bwe kiba nti birabika ng’ebizibu oba ne bwe kiba nti tetutegeera bulungi nsonga lwaki tusaanidde okubikwata. Waliwo ekintu kyonna Katonda ky’ayagala okole naye nga kikuzibuwalira okukola? Abamu kibazibuwalira okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Bayinza okuba nga balina ensonyi nga bazibuwalirwa okutuukirira abantu okubabuulira. Abalala bakisanga nga kizibu okweyisa mu ngeri ey’enjawulo ku ya bayizi bannaabwe oba bakozi bannaabwe. (Kuv. 23:2; 1 Bas. 2:2) Bw’oyolekagana n’okusoomooza ng’okwo, oluusi owulira nga Ibulayimu bwe yawulira ng’ayambuka Olusozi Moliya? Bwe kiba kityo, waliwo ky’oyinza okuyigira ku Ibulayimu n’okukkiriza kwe yayoleka! Bwe tufumiitiriza ku byokulabirako eby’abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza okw’amaanyi, kisobola okutukubiriza okubakoppa ne kituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Mukwano gwaffe Yakuwa.​—Beb. 12:1, 2.

OMUKWANO OGUVAAMU EMIKISA

15. Lwaki tusobola okugamba nti Ibulayimu teyejjusa olw’okusigala nga mwesigwa eri Yakuwa?

15 Olowooza waliwo olunaku lwonna Ibulayimu lwe yejjusa olw’okuba omuwulize eri Yakuwa? Weetegereze ekyo Bayibuli ky’eyogera ku kufa kwa Ibulayimu: “Ibulayimu n’assa ogw’enkomerero, n’afa ng’akaddiye bulungi era nga mumativu.” (Lub. 25:8) Ibulayimu yafa nga wa myaka 175, naye yafa nga mumativu olw’okuba yali akozesezza bulungi obulamu bwe. Yasigala nga mukwano gwa Yakuwa okutuukira ddala lwe yafa. Kyokka Bayibuli bw’egamba nti Ibulayimu we yafiira yali “akaddiye bulungi era nga mumativu,” eba tetegeeza nti yali akooye obulamu era nga teyeegomba kuddamu kuba mulamu mu biseera eby’omu maaso.

16. Bintu ki ebinaaleetera Ibulayimu essanyu mu nsi empya?

16 Bayibuli egamba nti Ibulayimu “yali alindirira ekibuga ekirina emisingi gyennyini, era ng’eyakuba pulaani yaakyo era eyakizimba ye Katonda.” (Beb. 11:10) Ibulayimu yali mukakafu nti ekiseera kyandituuse n’alaba ekibuga ekyo, nga buno bwe Bwakabaka bwa Katonda obujja okufuga ensi yonna. Lowooza ku ssanyu Ibulayimu ly’ajja okufuna ng’ali mu nsi empya era nga yeeyongera okunyweza enkolagana ye ne Yakuwa! Nga kijja kumusanyusa nnyo okukimanya nti ekyokulabirako kye yateekawo mu kwoleka okukkiriza kyayamba nnyo abaweereza ba Yakuwa okumala enkumi n’enkumi z’emyaka! Mu nsi empya era ajja kukimanya nti ekyo ekyaliwo ng’agenze okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka kyali kisonga ku kintu ekikulu ennyo. (Beb. 11:19) Era ajja kukimanya nti obulumi bwe yayitamu ng’ateekateeka okuwaayo Isaaka nga ssaddaaka bwayamba abaweereza ba Katonda bukadde na bukadde okutegeera obulumi Yakuwa bwe yayitamu ng’awaayo Omwana we Yesu Kristo nga ssaddaaka. (Yok. 3:16) Ekyokulabirako Ibulayimu kye yateekawo kituyambye ffenna okwongera okusiima ssaddaaka ya Yesu, ekirabo ekisingayo okuba eky’omuwendo Katonda kye yawa abantu!

17. Kiki ky’omaliridde okukola, era kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

17 Ka buli omu ku ffe afube okukoppa Ibulayimu. Bwe tweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa kitukubiriza okuba abeesigwa gy’ali era ne tulaba n’ebirungi ebiva mu kumuweereza n’obwesigwa. (Soma Abebbulaniya 6:10-12.) Ka tufube okusigala nga tuli mikwano gya Yakuwa emirembe gyonna! Mu kitundu ekiddako tujja kulabayo ebyokulabirako by’abantu abalala basatu abaali mikwano gya Yakuwa.

^ [1] (akatundu 3) Ibulayimu ne mukazi we Saala mu kusooka baali bayitibwa Ibulaamu ne Salaayi, naye oluvannyuma Yakuwa yabatuuma Ibulayimu ne Saala era mu kitundu kino amannya ago ge tugenda okukozesa.