Weeyongere Okuweereza Yakuwa ng’Oli Musanyufu
LUNAKU ki olukyasinzeeyo okukuleetera essanyu. Kyandiba nti lwe lunaku kwe wafumbirwa oba kwe wawasiza? Kyandiba nti lwe lunaku omwana wammwe eyasooka kwe yazalirwa? Oba kyandiba nti lwe lunaku kwe wabatirizibwako? Mu butuufu olunaku kwe wabatirizibwako luteekwa okuba nga lwe lunaku olukyasinzeeyo okukuleetera essanyu. Era bakkiriza banno bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe baalaba ng’okiraze nti oyagala Katonda n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna!—Mak. 12:30.
Kya lwatu nti okuva lwe wabatizibwa ofunye essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa. Kyokka ababuulizi abamu tebakyalina ssanyu lye baalina edda. Kiki ekireetedde essanyu lyabwe okukendeera? Lwaki twandyeyongedde okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu?
LWAKI ABAMU TEBAKYALI BASANYUFU NG’EDDA
Kya lwatu nti amawulire amalungi ag’Obwakabaka agalaga nti Katonda anaatera okuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu embi aleete ensi empya gatuleetera essanyu. Zeffaniya 1:14 wagamba nti: “Olunaku lwa Yakuwa olukulu luli kumpi okutuuka! Luli kumpi okutuuka era lwanguwa nnyo!” Kyokka olw’okuba abamu bawulira nti enkomerero eruddewo okutuuka, kibamazeeko essanyu era ne kibaleetera okuddirira mu buweereza bwabwe.—Nge. 13:12.
Okubeerako awamu n’abantu ba Katonda kisobola okutuyamba okweyongera okuweereza Yakuwa n’essanyu. Empisa ennungi ez’abaweereza ba Yakuwa ziyinza okuba nga ze zaatusikiriza okujja mu mazima ne tutandika okuweereza Katonda n’essanyu. (1 Peet. 2:12) Naye watya singa omu ku bakkiriza bannaffe akangavvulwa olw’okugaana okukolera ku mitindo gya Katonda? Oluusi ekyo bwe kibaawo abamu ku abo abaasikirizibwa okujja mu mazima olw’enneeyisa ennungi ey’abantu ba Yakuwa baggwaamu amaanyi era ne baba nga tebakyalina ssanyu.
Abasuubuzi mu nsi ya Sitaani eno nabo basobola okutuleetera okuggwebwako essanyu. Sitaani akozesa ensi okutuleetera okulowooza nti waliwo ebintu bye twetaaga naye nga ddala mu butuufu tetubyetaaga. Tusaanidde okujjukira ebigambo bya Yesu bino: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri; aba alina okukyawako omu n’ayagala omulala, oba okunywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.” (Mat. 6:24) Tetusobola kufuna ssanyu mu kuweereza Yakuwa singa tumuweereza ate nga mu kiseera kye kimu tululunkanira ebintu ebiri mu nsi.
‘OKUJAGULIZA MU KATONDA OW’OBULOKOZI BWAFFE’
Abo bonna abaagala Yakuwa, okuweereza Yakuwa tebakitwala nga mugugu. (1 Yok. 5:3) Yesu yagamba nti: “Mujje gye ndi mmwe mmwenna abategana era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza. Mwetikke ekikoligo kyange era muyigire ku nze, kubanga ndi muteefu era muwombeefu mu mutima, era mulifuna ekiwummulo mu bulamu bwammwe. Kubanga ekikoligo kyange kyangu okusitula n’omugugu gwange si muzito.” (Mat. 11:28-30) Okwetikka ekikoligo kya Yesu kiyamba omuntu okufuna ekiwummulo n’okufuna essanyu. Mu butuufu kitusanyusa nnyo okuweereza Yakuwa. Kati ka tulabeyo ensonga ssatu enzandituleetedde ‘okujaguliza mu Katonda ow’obulokozi bwaffe.’—Kaab. 3:18.
Tuweereza Katonda omusanyufu, oyo eyatuwa obulamu. (Bik. 17:28; 1 Tim. 1:11) Tukimanyi nti Katonda ye yatuwa obulamu bwe tulina. N’olwekyo, tusaanidde okweyongera okumuweereza n’essanyu, ka tube nga tumaze bbanga lyenkana wa nga tumuweereza.
Lowooza ku w’oluganda Héctor eyamala emyaka 40 ng’aweereza Yakuwa ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Wadde nga kati akaddiye, akyaweereza Yakuwa n’essanyu. (Zab. 92:12-14) Olw’okuba kati mukyala we mulwadde, Héctor takyamala biseera bingi mu buweereza nga bwe yakolanga edda, naye ekyo tekimumazeeko ssanyu. Agamba nti: “Wadde nga kinnuma okulaba nga mukyala wange mulwadde era ng’okumujjanjaba kulimu okusoomooza kungi, ekyo sikikkirizza kummalako ssanyu nga mpeereza Katonda ow’amazima. Okuba nti Yakuwa ye nsibuko y’obulamu bwange era nti yatutonda ng’alina ekigendererwa, kinkubiriza okumwagala n’okumuweereza n’omutima gwange gwonna. Nfuba okuba n’eby’okukola bingi mu mulimu gw’okubuulira era nfuba okukuumira ebisuubizo bya Katonda mu birowoozo byange, kinnyambe okusigala nga ndi musanyufu.”
Yakuwa yawaayo ssaddaaka ya Yesu, ekintu ekitusobozesa okuba abasanyufu. Bayibuli egamba nti, “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiririzaamu aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yok. 3:16) Katonda asobola okutusonyiwa ebibi byaffe ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu era tusobola okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Ekyo tekyanditukubirizza okusiima ennyo Yakuwa olw’ekyo kye yatukolera? Era tekyanditukubirizza okumuweereza n’essanyu?
Ow’oluganda ayitibwa Jesús, abeera mu Mexico, yagamba nti: “Nnali muddu wa mulimu gwange, ng’oluusi mmala ebiseera bingi nnyo ku mulimu gwange wadde nga kyali tekinkakatako kukikola. Nnali
njagala bwagazi kukola ssente nnyingi. Oluvannyuma nnayiga ebikwata ku Yakuwa ne ku ssaddaaka y’Omwana we gye yawaayo ku lwaffe. Nnawulira nga njagala nnyo okumuweereza. Bwe kityo, nneewaayo eri Yakuwa, era oluvannyuma lw’okumala ku mulimu ogwo emyaka 28 nnaguleka ne nnyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. “ Okuva olwo Jesús abadde aweereza Yakuwa nga musanyufu nnyo.Okukola Katonda by’ayagala kivaamu essanyu, so si nnaku. Obulamu bwo bwali butya nga tonnayiga bikwata ku Yakuwa? Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo mu Rooma nti bwe baali tebannayiga bikwata ku Katonda baali “baddu ba kibi” naye bwe bayiga ebimukwatako ne bafuuka “abaddu b’obutuukirivu.” Baali babala ebibala eby’obutuukirivu ebyandibaviiriddemu okufuna obulamu obutaggwaawo. (Bar. 6:17-22) Naffe obulamu bwaffe tubutambuliza ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu era ekyo kituwonya ebizibu ebiva mu nneeyisa embi. Ekyo kituleetera essanyu lingi!
Lowooza ku Jaime, eyali omukubi w’ebikonde era nga takkiririza mu Katonda. Jaime yatandika okugendanga mu nkuŋŋaana era okwagala kwe yalaba mu kibiina kya Yakuwa kwamukwatako nnyo. Okusobola okwekutula ku mize gye emibi, Jaime yasaba Yakuwa amuyambe okumukkiririzaamu. Jaime agamba nti: “Mpolampola nnatandika okukitegeera nti ddala Katonda gyali era nti atufaako. Okutambuliza obulamu bwange ku mitindo gya Yakuwa kibadde kya bukuumi gye ndi. Singa saatandika kuweereza Katonda, oboolyawo nnandibadde nnafa dda ng’abamu ku mikwano gyange be twazannyanga nabo ebikonde. Ekiseera kye nsinze okuba omusanyufu mu bulamu bwange ky’ekyo kye mmaze nga mpeereza Yakuwa.”
TOKOOWA!
Twandiwulidde tutya nga bwe tulindirira enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu? Kijjukire nti bwe ‘tusigira omwoyo’ tujja ‘kukungula obulamu obutaggwaawo.’ N’olwekyo, “ka tuleme kulekera awo kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.” (Bag. 6:8, 9) Ka bulijjo tweyongere okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu, okukulaakulanya engeri ezinaatuyamba okuyita mu “kibonyoobonyo ekinene,” era ka tweyongere okumuweereza nga tuli basanyufu ne mu mbeera enzibu.—Kub. 7:9, 13, 14; Yak. 1:2-4.
Tuli bakakafu nti bwe tuba abagumiikiriza Katonda ajja kutuwa emikisa kubanga tasobola kwerabira ebyo bye tukola nga tumuweereza era n’okwagala kwe tulaga erinnya lye. Bwe tweyongera okuweereza Katonda n’essanyu tujja kuba ng’omuwandiisi wa Zabbuli, Dawudi, eyagamba nti: “Yakuwa mmuteeka mu maaso gange bulijjo. Olw’okuba ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana. Omutima gwange kyeguva gusanyuka; nzenna ndi musanyufu. Era ndi mu mirembe.”—Zab. 16:8, 9.