OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Febwali 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Apuli 2-29, 2018.

Ba n’Okukkiriza era Ba Muwulize nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu

Abasajja abeesigwa baayolekagana n’ebizibu ebifaananako ng’ebyo bye twolekagana nabyo leero. Kiki ekyabayamba okusigala nga beesigwa?

Omanyi Yakuwa nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu Bwe Baali Bamumanyi?

Abasajja abo baamanya batya Omuyinza w’Ebintu Byonna? Okumanya okwo kwabayamba kutya? Tuyinza tutya okuba n’okukkiriza ng’okwabwe?

EBYAFAAYO EBIKWATA KU BULAMU BW'AB'OLUGANDA

Eri Yakuwa Ebintu Byonna Bisoboka

Ebigambo ebitono ebyawulira mu bbaasi mu Kyrgyzstan byakyusa obulamu bw’omwami n’omukyala omu.

Kitegeeza Ki Okuba Omuntu ow’Eby’Omwoyo?

Bayibuli eyogera ku ngeri gye tumanyaamu “omuntu ow’eby’omwoyo” n’enjawulo eriwo wakati w’omuntu ow’eby’omwoyo ‘n’omuntu ow’omubiri.’

Weeyongere Okukula mu by’Omwoyo!

Okumanya ebyo ebiri mu Bayibuli si kye kyokka ekifuula omuntu okuba ow’eby’omwoyo. Kiki ekirala ekyetaagisa?

Essanyu—Ngeri Gye Tufuna Okuva eri Katonda

Bwe kiba nti ebizibu by’oyolekagana nabyo bikumazeeko essanyu, kiki ekisobola okukuyamba okuddamu okuba omusanyufu?

OKUVA MU TTEREKERO LYAFFE

Emboozi za Bonna Zaayamba mu Kubunyisa Amawulire Amalungi mu Ireland

Kiki ekyaleetera C. T. Russell okumanya nti ‘ennimiro mu Ireland zaali zituuse okukungulwa’?