Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ba n’Okukkiriza era Ba Muwulize nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu

Ba n’Okukkiriza era Ba Muwulize nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu

“Nuuwa, Danyeri, ne Yobu . . . bandiwonyezza bulamu bwabwe bwokka olw’obutuukirivu bwabwe.”​—EZK. 14:14.

ENNYIMBA: 89, 119

1, 2. (a) Lwaki ekyokulabirako kya Nuuwa, Danyeri, ne Yobu kisobola okutuzzaamu amaanyi? (b) Embeera yali etya Ezeekyeri we yawandiikira ebigambo ebiri mu Ezeekyeri 14:14?

OLINA ebizibu by’oyolekagana nabyo, gamba ng’obulwadde obw’amaanyi, ebizibu by’eby’enfuna, oba okuyigganyizibwa? Oluusi okisanga nga kizibu okusigala ng’oli musanyufu ng’oweereza Yakuwa? Bwe kiba kityo, ekyokulabirako kya Nuuwa, Danyeri, ne Yobu kisobola okukuzzaamu amaanyi. Abasajja abo baali tebatuukiridde era baayolekagana n’ebizibu bingi ebifaananako n’ebyaffe, era ng’ebimu ku byo byali bya maanyi nnyo. Wadde kyali kityo baasigala nga beesigwa eri Yakuwa era baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.​—Soma Ezeekyeri 14:12-14.

2 Ezeekyeri yawandiika ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino ng’ali mu Babulooni mu mwaka gwa 612 E.E.T. * (Ezk. 1:1; 8:1) Mu kiseera ekyo ekibuga Yerusaalemi kyali kinaatera okuzikirizibwa, era kyazikirizibwa mu mwaka gwa 607 E.E.T. Abantu batono nnyo mu kiseera ekyo abaali booleka engeri ng’eza Nuuwa, Danyeri, ne Yobu, era baateekebwako akabonero okusobola okuwonawo. (Ezk. 9:1-5) Mu bantu abo mwe mwali Yeremiya, Baluki, Ebedumereki, n’Abalekabu.

3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

3 Ne leero, abo bokka Yakuwa b’atwala nti tebaliiko kya kunenyezebwa, kwe kugamba, abantu abalinga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu be bajja okussibwako akabonero basobole okuwonawo ng’ensi ya Sitaani ezikirizibwa. (Kub. 7:9, 14) Mu kitundu kino tugenda kulaba ekyokulabirako ekirungi abasajja abo kye bassaawo. Tugenda kulaba (1) ebizibu bye baayolekagana nabyo, ne (2) engeri gye tusobola okuba n’okukkiriza n’okuba abawulize nga bo.

NUUWA YALI MWESIGWA ERA MUWULIZE OKUMALA EMYAKA EGISUKKA MU 900

4, 5. Bizibu ki Nuuwa bye yayolekagana nabyo, era lwaki kyewuunyisa okuba nti yasigala nga mwesigwa?

4 Ebizibu Nuuwa bye yayolekagana nabyo. Mu kiseera Enoka jjajja wa Nuuwa we yabeererawo, abantu baali boonoonese nnyo. Baali boogera n’ebintu ebibi ku Yakuwa. (Yud. 14, 15) Ebikolwa eby’obukambwe byali byeyongera buli lukya. Mu kiseera kya Nuuwa, ensi yali “ejjudde ebikolwa eby’obukambwe.” Bamalayika ababi beeyambaza emibiri gy’abantu ne bawasa abakazi ku nsi ne bazaala ebyana ebyali bikola ebikolwa eby’obukambwe. (Lub. 6:2-4, 11, 12) Naye Nuuwa yali wa njawulo ku bantu abalala. ‘Nuuwa yasiimibwa mu maaso ga Yakuwa. Okwawukana ku bantu ab’omu mulembe gwe, ye teyaliiko kya kunenyezebwa. Nuuwa yatambula ne Katonda ow’amazima.’​—Lub. 6:8, 9.

5 Ekyo kituyigiriza ki ku Nuuwa? Nuuwa teyamala myaka 70 oba 80 gyokka ng’atambula ne Katonda mu bantu abo ababi abaaliwo ng’Amataba tegannajja. Wabula yabeera mu bantu abo okumala emyaka nga 600! (Lub. 7:11) Era okwawukana ku ffe, tewaaliwo kibiina kyonna kye yakuŋŋaanirangamu era teyalina baganda be oba bannyina baali basinza Yakuwa, abandisobodde okumuzzaamu amaanyi mu by’omwoyo. *

6. Nuuwa yayoleka atya obuvumu?

6 Nuuwa teyakoma ku kufuba kweyisa bulungi kyokka. Naye era yali ‘mubuulizi wa butuukirivu,’ ng’abuulira abalala ebikwata ku Yakuwa. (2 Peet. 2:5) Omutume Pawulo yagamba nti: ‘Okuyitira mu kukkiriza kwe, yasalira ensi omusango.’ (Beb. 11:7) Nuuwa ateekwa okuba nga yasekererwanga, yaziyizibwanga, era oboolyawo yatiisibwatiisibwanga okutuusibwako ebikolwa eby’obukambwe. Naye ‘teyatya bantu.’ (Nge. 29:25) Mu kifo ky’ekyo, yayoleka obuvumu Yakuwa bw’awa abaweereza be abeesigwa.

7. Kusoomooza ki Nuuwa kwe yayolekagana nakwo ng’azimba eryato?

7 Oluvannyuma lwa Nuuwa okumala emyaka egisukka mu 500 ng’atambula ne Katonda, Katonda yamugamba okuzimba eryato okusobola okuwonyaawo abantu n’ensolo. (Lub. 5:32; 6:14) Omulimu ogwo nga guteekwa okuba nga tegwali mwangu! Ng’oggyeeko okuba nti omulimu gw’okuzimba eryato gwali munene, Nuuwa era yali akimanyi nti abantu bandimusekeredde era bandimuziyizza ng’alizimba. Wadde kyali kityo, yayoleka okukkiriza n’akola omulimu Katonda gwe yamugamba okukola.​—Lub. 6:22.

8. Nuuwa yakiraga atya nti yali yeesiga Yakuwa nti ajja kumulabirira?

8 Okusoomooza okulala Nuuwa kwe yafuna kwe kulabirira mukyala we n’abaana be mu by’omubiri. Amataba bwe gaali tegannajja, abantu baali balina okulafuubana ennyo okulima emmere, era ne Nuuwa yalina okukola kye kimu. (Lub. 5:28, 29) Wadde kyali kityo, ebirowoozo bye teyabimalira ku kunoonya byetaago byabwe eby’omubiri wabula yabimalira ku Katonda. Ne bwe yali akola omulimu gw’okuzimba eryato, oguyinza okuba nga gwamala emyaka 40 oba 50, Nuuwa yasigala munywevu mu by’omwoyo. Era yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu emyaka emirala 350 oluvannyuma lw’Amataba. (Lub. 9:28) Nuuwa yassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka okukkiriza n’obuwulize.

9, 10. (a) Tuyinza tutya okuba n’okukkiriza n’okuba abawulize nga Nuuwa? (b) Yakuwa atwala atya abo bonna abanywerera ku mitindo gye?

9 Engeri gye tuyinza okuba n’okukkiriza n’okuba abawulize nga Nuuwa. Ekyo tusobola okukikola nga tunywerera ku mitindo gya Katonda egy’obutuukirivu, nga tetuba kitundu kya nsi ya Sitaani, era nga tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33; Yok. 15:19) Kyo kituufu nti bwe tukola tutyo, ensi etukyawa. Mu nsi ezimu, abaweereza ba Yakuwa boogeddwako bubi olw’okuba banywerera ku mitindo gya Yakuwa, gamba ng’egyo egikwata ku bufumbo ne ku by’okwegatta. (Soma Malaki 3:17, 18.) Naye okufaananako Nuuwa, tutya Yakuwa so si bantu. Yakuwa yekka y’asobola okutuwa obulamu obutaggwaawo.​—Luk. 12:4, 5.

10 Ate ggwe? Oneeyongera okutambula ne Katonda, abalala ne bwe banaakusekerera oba ne bwe banaakwogerera obubi? Era oneeyongera okwesiga Yakuwa nti ajja kukulabirira ne bwe kiba nti mbeera y’eby’enfuna ekalubye? Bw’onooba n’okukkiriza era n’oba muwulize nga Nuuwa, ojja kwesiga Yakuwa nti ajja kukulabirira.​—Baf. 4:6, 7.

DANYERI YALI MWESIGWA ERA NGA MUWULIZE MU KIBUGA EKYONOONEFU

11. Kusoomooza ki okw’amaanyi Danyeri ne banne abasatu kwe baayolekagana nakwo nga bali mu Babulooni? (Laba ekifaananyi ku lupapula 3.)

11 Ebizibu Danyeri bye yayolekagana nabyo. Danyeri yatwalibwa mu buwambe e Babulooni, ekibuga ekyali kijjudde abantu abasinza ebifaananyi era abeenyigira mu by’obusamize. Ate era Abababulooni baali banyooma Abayudaaya, era nga babajerega awamu ne Katonda waabwe, Yakuwa. (Zab. 137:1, 3) Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyaluma nnyo Abayisirayiri abeesigwa, gamba nga Danyeri! Ate era Danyeri ne banne abasatu, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya baafuna okusoomooza okw’amaanyi bwe baalondebwa okuba abamu ku abo abandiweerezza kabaka. Baalina n’okuweebwa emmere ey’enjawulo. Mu butuufu ekyo kyaleetawo okusoomooza okw’amaanyi kubanga Danyeri yali amaliridde “obuteeyonoona na mmere ya kabaka.”​—Dan. 1:5-8, 14-17.

12. (a) Ngeri ki ennungi Danyeri ze yayoleka? (b) Yakuwa yali atwala atya Danyeri?

12 Okusoomooza okulala Danyeri kwe yayolekagana nakwo kuyinza okuba nga kwali kuva ku busobozi obw’enjawulo bwe yalina obwamuviirako okuweebwa enkizo ez’enjawulo. (Dan. 1:19, 20) Naye mu kifo ky’okufuna amalala n’okwetwala nti mugezi, Danyeri yasigala mwetoowaze era ng’ekitiibwa n’ettendo abiwa Yakuwa. (Dan. 2:30) Mu butuufu, Danyeri yali akyali muvubuka Yakuwa we yamwogererako awamu ne Nuuwa ne Yobu nti baali batuukirivu. Katonda yeesigira bwereere Danyeri? Nedda! Danyeri yasigala nga mwesigwa era nga muwulize okutuukira ddala okufa. Kirabika Danyeri yali anaatera okuweza emyaka 100, malayika wa Katonda we yamugambira nti: “Ggwe Danyeri, omusajja ow’omuwendo ennyo.”​—Dan. 10:11.

13. Danyeri ayinza kuba nga yayamba atya Bayudaaya banne?

13 Olw’okuba Katonda yali wamu ne Danyeri, Danyeri yaweebwa ekifo ekya waggulu mu bwakabaka bwa Babulooni n’obwa Bumeedi ne Buperusi. (Dan. 1:21; 6:1, 2) Yakuwa ayinza okuba nga yaleetera Danyeri okufuna ekifo ekyo asobole okuyamba abantu be, nga Yusufu bwe yayamba abantu be mu Misiri ne Eseza ne Moluddekaayi bwe baayamba abantu ba Yakuwa mu Buperusi. * (Dan. 2:48) Lowooza ku ngeri Abayudaaya abaali mu buwambe, nga mw’otwalidde ne Ezeekyeri, gye baawuliramu nga balaba omukono gwa Yakuwa mu mbeera eyo!

Abo bonna abakuuma obwesigwa bwabwe, Yakuwa abatwala nga ba muwendo (Laba akatundu 14, 15)

14, 15. (a) Embeera yaffe efaananako etya eya Danyeri? (b) Kiki abazadde kye basobola okuyigira ku bazadde ba Danyeri?

14 Engeri gye tuyinza okuba n’okukkiriza n’okuba abawulize nga Danyeri. Leero tulinga abagwira mu nsi eno eyonooneddwa amadiini ag’obulimba, kwe kugamba, Babulooni ekinene, “ekifo ekibeeramu badayimooni.” (Kub. 18:2) Bwe kityo, naffe tuli ba njawulo nnyo ku bantu abalala, era tusekererwa. (Mak. 13:13) Okufaananako Danyeri, tusaanidde okweyongera okusemberera Yakuwa Katonda waffe. Bwe tugondera Yakuwa era ne tweyongera okumwesiga, naffe tujja kuba ba muwendo mu maaso ge.​—Kag. 2:7.

15 Leero abazadde balina kye basobola okuyigira ku bazadde ba Danyeri. Mu ngeri ki? Wadde nga mu kiseera Danyeri we yabeerera omuto ebikolwa ebibi byali bingi mu Yuda, Danyeri yayagala Yakuwa. Kyokka ekyo tekyajjawo buzzi. Bazadde be baafuba okumutendeka. (Nge. 22:6) Erinnya Danyeri litegeeza nti “Katonda ye Mulamuzi Wange,” ekiraga nti bazadde ba Danyeri baali batya Katonda. (Dan. 1:6, obugambo obuli wansi.) N’olwekyo, abazadde mufube okuyigiriza abaana bammwe awatali kuddirira. (Bef. 6:4) Ate era musabire wamu nabo era mubasabire. Bwe mufuba okuyamba abaana bammwe okutegeera amazima, Yakuwa ajja kubawa emikisa.​—Zab. 37:5.

YOBU YALI MWESIGWA ERA YALI MUWULIZE MU BUGAGGA NE MU BWAVU

16, 17. Kugezesebwa ki Yobu kwe yafuna?

16 Ebizibu Yobu bye yayolekagana nabyo. Yobu yaliko mu mbeera ennungi ennyo n’enzibu ennyo. Bwe yali tannafuna kugezesebwa, “ye yali asinga ekitiibwa mu bantu bonna ab’Ebuvanjuba.” (Yob. 1:3) Yali mugagga nnyo, nga mumanyifu, era ng’assibwamu nnyo ekitiibwa. (Yob. 29:7-16) Wadde kyali kityo, Yobu teyeetwala kuba wa kitalo era teyatandika kulowooza nti teyeetaaga Katonda. Mu butuufu, Yakuwa yayita Yobu ‘omuweereza we,’ era yagamba nti Yobu yali ‘musajja mwesigwa era mugolokofu, atya Katonda, era eyeewala ebibi.’​—Yob. 1:8.

17 Kyokka mu kaseera katono, obulamu bwa Yobu bwakyuka. Yobu yafuuka mwavu lunkupe era ne yennyamira nnyo. Tukimanyi nti Sitaani ye yaleetera Yobu ebizibu ebyo bwe yawaayiriza Yobu nti yali asinza Katonda olw’okubaako bye yeefunira. (Soma Yobu 1:9, 10.) Yakuwa teyabuusa maaso nsonga eyo. Bwe kityo, yawa Yobu akakisa okukiraga nti yali mwesigwa gy’ali, n’okukiraga nti yali asinza Katonda olw’okuba yali amwagala.

18. (a) Okwatibwako otya bw’olowooza ku bwesigwa Yobu bwe yayoleka? (b) Engeri Yakuwa gye yakolaganamu ne Yobu etuyigiriza ki ku Yakuwa?

18 Sitaani yaleetera Yobu ebizibu eby’okumukumu era yabireeta mu ngeri eyaleetera Yobu okulowooza nti Katonda ye yali abimuleetera. (Yob. 1:13-21) Ate era abasajja basatu bajja ne batandika okwogerera obubi Yobu nga bagamba nti Katonda yali amusasula ekyo ekyali kimugwanira! (Yob. 2:11; 22:1, 5-10) Naye Yobu yasigala nga mwesigwa eri Yakuwa. Wadde ng’emirundi egimu Yobu yayogeranga nga talowoozezza, Yakuwa yategeera obulumi Yobu bwe yalimu. (Yob. 6:1-3) Yakuwa yakiraba nti wadde nga Yobu yalina ennaku nnyingi ku mutima, teyamuvaako wadde nga Sitaani yamutulugunya era n’akozesa abantu okwogera ebigambo ebimumalamu amaanyi. Ebigezo ebyo bwe byaggwa, Yakuwa yawa Yobu ebintu ebyali bikubisaamu emirundi ebiri ebyo bye yalina mu kusooka era yamuwangaaza emyaka emirala 140. (Yak. 5:11) Mu myaka egyo gyonna Yobu yeeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ekyo tukimanyira ku ki? Ezeekyeri we yawandiikira ebigambo ebiri mu kyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino, Yobu yali yafa dda.

19, 20. (a) Tuyinza tutya okuba n’okukkiriza n’okuba abawulize nga Yobu? (b) Tuyinza tutya okwoleka obusaasizi nga Yakuwa nga tukolagana n’abalala?

19 Engeri gye tuyinza okuba n’okukkiriza n’okuba abawulize nga Yobu. Ka tube nga twolekagana na mbeera ki, tusaanidde okweyongera okukulembeza Yakuwa mu bulamu bwaffe, nga tumwesiga era nga tumugondera n’omutima gwaffe gwonna. Tulina ensonga nnyingi n’okusinga Yobu, ezandituleetedde okukola ekyo! Lowooza ku kino: Tumanyi bingi ebikwata ku Sitaani n’enkwe ze. (2 Kol. 2:11) Ekitabo kya Yobu kituyamba okumanya ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. Ate okusinziira ku bunnabbi bwa Danyeri, tukimanyi nti Obwakabaka bwa Katonda gavumenti eri mu mikono gya Yesu era ejja okufuga ensi. (Dan. 7:13, 14) Era tukimanyi nti Obwakabaka obwo bunaatera okumalawo ebizibu byonna ebiri ku nsi.

20 Ebyo bye tusoma ku Yobu era biraga nti tusaanidde okusaasira baganda baffe aboolekagana n’embeera enzibu. Okufaananako Yobu, oluusi bayinza okwogera nga tebasoose kulowooza. (Mub. 7:7) Mu kifo ky’okubasalira omusango, ka tufube okubategeera era tubasaasire. Bwe tukola tutyo tuba tukoppa Yakuwa Kitaffe omusaasizi.​—Zab. 103:8.

YAKUWA ‘AJJA KUKUFUULA WA MAANYI’

21. Ebigambo ebiri mu 1 Peetero 5:10 bituukana bitya n’ebyo ebyaliwo mu bulamu bwa Nuuwa, Danyeri, ne Yobu?

21 Wadde nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu baaliwo mu biseera bya njawulo era nga baali mu mbeera za njawulo, baagumira ebizibu bye baayolekagana nabyo. Ebyo bye tubasomako bitujjukiza ebigambo by’omutume Peetero bino ebigamba nti: “Bwe munaamala okubonaabona okumala akaseera katono, Katonda ensibuko y’ebikolwa byonna eby’ekisa eky’ensusso . . . ajja kumaliriza okutendekebwa kwammwe. Ajja kubanyweza, ajja kubafuula ba maanyi, era ajja kubateeka ku musingi omugumu.”​—1 Peet. 5:10.

22. Kiki kye tujja okulaba mu kitundu ekiddako?

22 Ng’ayitira mu Peetero, Yakuwa yakiraga nti ajja kunyweza abaweereza be era nti ajja kubafuula ba maanyi. Ebigambo ebyo bikwata ne ku bantu ba Katonda leero. Ffenna twetaaga Yakuwa okutufuula ab’amaanyi n’okutuyamba okusigala nga tunyweredde mu kusinza okw’amazima. N’olwekyo, ka tufube okuba n’okukkiriza n’okuba abawulize nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu! Nga bwe tujja okulaba mu kitundu ekiddako, ekintu ekyabasobozesa okusigala nga beesigwa kwe kuba nti baali bamanyi bulungi Yakuwa. Mu butuufu, baali ‘bategeera ebintu byonna’ bye yali abeetaagisa. (Nge. 28:5) Naffe tusobola okukola kye kimu.

^ lup. 2 Ezeekyeri yatwalibwa mu buwaŋŋanguse mu mwaka gwa 617 E.E.T. Ebigambo ebiri mu Ezeekyeri 8:1–19:14 yabiwandiika “mu mwaka ogw’omukaaga” ng’ali mu buwaŋŋanguse, kwe kugamba, mu mwaka gwa 612 E.E.T.

^ lup. 5 Lameka, Kitaawe wa Nuuwa, yaweereza Yakuwa n’obwesigwa era yafa ng’ebulayo emyaka etaano Amataba gajje. Bwe kiba nti maama wa Nuuwa awamu ne baganda be ne bannyina baali bakyali balamu Amataba we gajjira, bateekwa okuba nga baafiira mu Mataba ago.

^ lup. 13 Era kiyinza okuba nga bwe kityo bwe kyali ku banne ba Danyeri abasatu, nabo abaaweebwa ebifo ebya waggulu.​—Dan. 2:49.