EKITUNDU EKY’OKUSOMA 7
Noonya Obuwombeefu Osanyuse Yakuwa
“Munoonye Yakuwa mmwe mmwenna abawombeefu ab’omu nsi . . . Munoonye obuwombeefu.”—ZEF. 2:3.
OLUYIMBA 80 “Mulegeeko Mulabe nti Yakuwa Mulungi”
OMULAMWA *
1-2. (a) Musa ayogerwako atya, era biki bye yakola? (b) Nsonga ki etukubiriza okukulaakulanya obuwombeefu?
BAYIBULI egamba nti Musa “ye yali asingayo okuba omuwombeefu mu bantu bonna abaali ku nsi.” (Kubal. 12:3) Ekyo kitegeeza nti Musa yali munafu, atasalawo, era atya okwaŋŋanga abo abamuwakanya? Eyo ye ndowooza abantu abamu gye balina ku muntu omuwombeefu. Naye ekyo si kituufu. Musa teyali munafu, yali muntu asalawo, era yali muvumu. Yakuwa yayamba Musa n’asobola okwaŋŋanga omufuzi wa Misiri eyali ow’amaanyi, okukulemberamu abantu nga 3,000,000 n’abayisa mu ddungu, n’okuyamba eggwanga lya Isirayiri okuwangula abalabe baalyo.
2 Kyokka ffe tetwolekagana na bizibu ng’ebyo Musa bye yayolekagana nabyo, naye buli lunaku tukolagana n’abantu abatali bangu oba twolekagana n’embeera eziyinza okukifuula ekizibu gye tuli okuba abawombeefu. Naye tulina ensonga enkulu eyanditukubirizza okukulaakulanya obuwombeefu. Yakuwa yagamba nti “abawombeefu balisikira ensi.” (Zab. 37:11) Osobola okugamba nti oli muwombeefu? Abalala nabo bakiraba nti oli muwombeefu? Nga tetunnaddamu bibuuzo ebyo ebikulu, twetaaga okumanya kye kitegeeza okuba omuwombeefu.
OBUWOMBEEFU KYE KI?
3-4. (a) Obuwombeefu buyinza kugeraageranyizibwa ku ki? (b) Ngeri ki ennya ze twetaaga okukulaakulanya bwe tuba ab’okuba abawombeefu, era lwaki?
3 Obuwombeefu * buyinza okugeraageranyizibwa ku kifaananyi ekisiigiddwa obulungi. Mu ngeri ki? Ng’omusiizi w’ebifaananyi bw’alina okugatta langi ez’enjawulo okusobola okusiiga ekifaananyi ekirabika obulungi, naffe tulina okukulaakulanya engeri ennungi ez’enjawulo okusobola okuba abawombeefu. Ezimu ku ngeri enkulu ze tulina okukulaakulanya mwe muli obwetoowaze, obuwulize, obukkakkamu, n’obuvumu. Lwaki twetaaga okukulaakulanya engeri ezo bwe tuba twagala okusanyusa Yakuwa?
4 Abantu abeetoowaze bokka be bakola Katonda by’ayagala. Ekimu ku ebyo Katonda by’ayagala kwe kuba nti tuba bakkakkamu. (Mat. 5:5; Bag. 5:23) Bwe tukola Katonda by’ayagala, tunyiiza Sitaani. N’olwekyo, wadde nga tuli beetoowaze era nga tuli bakkakkamu, abantu bangi mu nsi ya Sitaani tebatwagala. (Yok. 15:18, 19) Eyo ye nsonga lwaki twetaaga okuba abavumu okusobola okuziyiza Sitaani.
5-6. (a) Lwaki Sitaani akyawa abantu abawombeefu? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
5 Omuntu atali muwombeefu aba wa malala, tafuga busungu, era tagondera Yakuwa. Bw’atyo Sitaani bw’ali. Tekyewuunyisa nti akyawa abantu abawombeefu! Olw’okuba booleka engeri ennungi z’atalina, bakiraga nti Sitaani mubi nnyo. Ate era abantu abawombeefu bakiraga nti Sitaani mulimba. Lwaki? Kubanga ka kibe ki ky’agamba oba ky’akola, tasobola kulemesa bantu bawombeefu kuweereza Yakuwa!—Yob. 2:3-5.
6 Ddi lwe kiyinza okutubeerera ekizibu okuba abawombeefu? Era lwaki tusaanidde okweyongera okunoonya obuwombeefu? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabe ekyokulabirako kya Musa, eky’Abebbulaniya abasatu abaali mu buwambe e Babulooni, n’ekya Yesu.
DDI LWE KIBEERA EKIZIBU OKUBA ABAWOMBEEFU?
7-8. Musa yeeyisa atya abalala bwe bataamussaamu kitiibwa?
7 Ng’oweereddwa obuyinza: Oluusi tekiba kyangu eri abo abalina obuyinza okusigala nga bawombeefu, nnaddala singa abo abali wansi waabwe beeyisa mu ngeri eraga nti tebabasizzaamu kitiibwa oba singa bakolokota bye baba basazeewo. Ekyo kyali kikutuuseeko? Watya singa omu ku b’eŋŋanda zo yeeyisa bw’atyo? Onookola ki? Lowooza ku ngeri Musa gye yakwatamu embeera ng’eyo.
8 Yakuwa yalonda Musa okukulembera eggwanga lya Isirayiri era n’amuwa n’enkizo ey’okuwandiika amateeka eggwanga lya Isirayiri kwe lyalina okutambulira. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa ye yali awa Musa obulagirizi. Wadde kyali Kubal. 12:1-13) Lwaki Musa yeeyisa bw’atyo?
kityo, Miriyamu, mwannyina wa Musa, ne Alooni muganda we, baayogera bubi ku Musa era ne bamuvumirira olw’omukazi gwe yali yawasa. Abantu abamu singa baali mu kifo kya Musa bandibadde banyiiga era ne beesasuza, naye ekyo Musa si kye yakola. Teyayanguwa kusunguwala. Yatuuka n’okwegayirira Yakuwa alekere awo okubonereza Miriyamu. (9-10. (a) Kiki Yakuwa kye yayamba Musa okutegeera? (b) Kiki emitwe gy’amaka n’abakadde kye basobola okuyigira ku Musa?
9 Musa yali yakkiriza Yakuwa okumutendeka. Emyaka nga 40 emabega bwe yali akyali mu lubiri lwa Falaawo, Musa teyali muwombeefu. Mu butuufu, yali asunguwala mangu ne kiba nti yatuuka n’okutta omusajja ye gwe yalaba nti yali ayisizza bubi munne. Musa yalowooza nti Yakuwa yandisiimye ekikolwa ekyo. Yakuwa yamala emyaka 40 ng’ayamba Musa okukimanya nti yali teyeetaaga buvumu bwokka okusobola okukulembera eggwanga lya Isirayiri, wabula nti yali yeetaaga n’okuba omuwombeefu. Ate era okusobola okuba omuwombeefu, yalina okuba omwetoowaze, omuwulize, era omukkakkamu. Ekyo Musa yakiyiga era yafuuka omukulembeze omulungi ennyo.—Kuv. 2:11, 12; Bik. 7:21-30, 36.
10 Leero emitwe gy’amaka n’abakadde basaanidde okukoppa Musa. Abalala bwe beeyisa mu ngeri eraga nti tebakusizzaamu kitiibwa, toyanguwa kunyiiga. Ba mwetoowaze okkirize ensobi yo. (Mub. 7:9, 20) Ba muwulize eri Yakuwa, ogoberere obulagirizi bw’awa ku ngeri y’okugonjoolamu ebizibu. Bulijjo ba mukkakkamu ng’oddamu abalala. (Nge. 15:1) Emitwe gy’amaka n’abalabirizi abeeyisa bwe batyo, basanyusa Yakuwa, baleetawo emirembe, era bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu kuba abawombeefu.
11-13. Kyakulabirako ki Abebbulaniya abasatu kye baatuteerawo?
11 Ng’oyigganyizibwa: Mu byafaayo byonna, ab’obuyinza bazze bayigganya abantu ba Yakuwa. Oluusi batusibako emisango egitali gimu naye ng’ekituufu ekibaleetera okutusibako emisango egyo kwe kuba nti tusalawo ‘okugondera Katonda so si bantu.’ (Bik. 5:29) Bayinza okutusekerera, okutusiba mu makomera, oba okutukuba. Naye Yakuwa atuyamba ne tuteesasuza, wabula ne tusigala nga tuli bakkakkamu nga tugezesebwa.
12 Lowooza ku ky’okulabirako Abebbulaniya abasatu, Kananiya, Misayeri, ne Azaliya, kye baatuteerawo. * Kabaka wa Babulooni yabalagira okuvunnamira ekifaananyi ekinene ekya zzaabu. Mu bukkakkamu bannyonnyola kabaka ensonga lwaki baali tebasobola kusinza kifaananyi ekyo. Baasigala nga bawulize eri Katonda wadde nga kabaka yagamba nti yali agenda kubasuula mu kyokero. Yakuwa yasalawo okununula abavubuka abo amangu ddala, naye bo baali tebakitutte nti Yakuwa yali ateekeddwa okubanunula. Baali beetegefu okukkiriza ekyo kyonna Yakuwa kye yandikkirizza okubatuukako. (Dan. 3:1, 8-28) Abebbulaniya abo ddala baakiraga nti abantu abawombeefu baba bavumu. Tewali kabaka, oba kutiisibwatiisibwa, oba kibonerezo kisobola kubalemesa ‘kwemalira’ ku Yakuwa.—Kuv. 20:4, 5.
13 Bwe tuba nga twolekagana n’embeera egezesa obwesigwa bwaffe eri Katonda, tuyinza tutya okukoppa Abebbulaniya abasatu? Tusaanidde okuba abeetoowaze n’okwesiga Yakuwa nti ajja kutuyamba. (Zab. 118:6, 7) Abo abatuwaayiriza tubaddamu mu ngeri ey’obukkakkamu era eraga nti tubassaamu ekitiibwa. (1 Peet. 3:15) Era tugaana okukola ekintu kyonna ekisobola okwonoona enkolagana yaffe ne Kitaffe ow’omu ggulu.
14-15. (a) Kiki ekiyinza okubaawo bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza? (b) Okusinziira ku Isaaya 53:7, 10, lwaki tuyinza okugamba nti Yesu yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obuwombeefu ng’alina ebimweraliikiriza?
14 Nga waliwo ebikweraliikiriza: Ffenna oluusi tuba n’ebintu ebitweraliikiriza. Tuyinza okweraliikirira nga tugenda okukola ebigezo ku ssomero oba nga waliwo omulimu omuzibu gwe tugenda okukola. Oba tuyinza okweraliikirira bwe tulowooza ku bujjanjabi obumu bwe tuba tugenda okufuna. Tekiba kyangu kuba bawombeefu nga tulina ebitweraliikiriza. Ebintu ebitatera kutunyiiza biyinza okutandika okutunyiiza. Tuyinza okutandika okwogera mu ngeri ey’obukambwe oba etali ya kisa. Bwe tufuna ebitweraliikiriza, tusaanidde okulowooza ku kyokulabirako kya Yesu.
15 Ng’ebula emyezi mitono attibwe, Yesu yalina bingi ebimweraliikiriza. Yali akimanyi nti ajja kuttibwa era nti yali agenda kubonyaabonyezebwa nnyo. (Yok. 3:14, 15; Bag. 3:13) Bwe waali wabula emyezi mitono attibwe, yagamba nti yalina ennaku ya maanyi. (Luk. 12:50) Ate ng’ebula ennaku ntono attibwe, Yesu yagamba nti: “Ndi mweraliikirivu nnyo.” Ebigambo bye yakozesa ng’asaba era ng’alaga engeri gye yali awuliramu biraga nti yali mwetoowaze era nti yali muwulize eri Katonda. Yagamba nti: “Kitange, ndokola okuva mu kaseera kano. Wadde kiri kityo, nnina okwolekagana n’akaseera kano. Kitange, gulumiza erinnya lyo.” (Yok. 12:27, 28) Ekiseera bwe kyatuuka, Yesu yeewaayo eri abalabe ba Katonda abaamutta mu ngeri ey’obulumi ennyo era ey’obuswavu. Wadde nga yalina ebimweraliikiriza era wadde nga yabonyaabonyezebwa nnyo, Yesu yali muwombeefu n’akola kitaawe by’ayagala. Mazima ddala, Yesu yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kwoleka obuwombeefu ng’alina ebimweraliikiriza!—Soma Isaaya 53:7, 10.
16-17. (a) Mikwano gya Yesu gyakola ki ekyali kiyinza okumulemesa okuba omuwombeefu? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yesu?
16 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, mikwano gya Yesu egy’oku lusegere gyeyisa mu ngeri eyali eyinza okukifuula ekizibu gy’ali okuba omuwombeefu. Lowooza ku kweraliikirira Yesu kwe yalina ekiro ekyo. Yandisobodde okusigala nga mwesigwa okutuusa okufa? Bw’atandisigadde nga mwesigwa, tewali muntu n’omu yandibadde na ssuubi lya kufuna bulamu butaggwaawo. (Bar. 5:18, 19) N’ekisinga obukulu, ekyo kye yandisazeewo okukola kyandikutte ku linnya lya Kitaawe. (Yob. 2:4) Naye bwe yali ku kijjulo ekisembayo ne mikwano gye egy’oku lusegere, abatume baatandika “okukaayana ennyo” ku “ani ku bo eyali atwalibwa okuba nga y’asinga obukulu.” Enfunda n’enfunda Yesu yali abawabudde ku nsonga eyo era nga n’akawungeezi ako yali abawabudde ku nsonga eyo y’emu! Ekyewuunyisa, Yesu teyasunguwala. Mu kifo ky’ekyo, yayogera nabo mu bukkakkamu. Mu ngeri ey’ekisa era nga muvumu, Yesu yaddamu n’abannyonnyola endowooza gye baali basaanidde okuba nayo. Oluvannyuma yasiima mikwano gye egyo olw’okumunywererako.—Luk. 22:24-28; Yok. 13:1-5, 12-15.
Bak. 3:13) Bwe tukijjukira nti ffenna twogera oba tukola ebintu ebinyiiza abalala, tujja kugondera ekiragiro ekyo. (Nge. 12:18; Yak. 3:2, 5) Ate era bulijjo tusaanidde okusiima abalala olw’engeri ennungi ze booleka.—Bef. 4:29.
17 Wandyeyisizza otya singa ggwe wali mu mbeera ng’eyo? Tusobola okukoppa Yesu ne tusigala nga tuli bakkakkamu ne bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza. Ate era tusaanidde okugondera ekiragiro kya Yakuwa kino: “Mweyongere okugumiikirizigananga.” (LWAKI TUSAANIDDE OKWEYONGERA OKUNOONYA OBUWOMBEEFU?
18. Yakuwa ayamba atya abantu abawombeefu okusalawo mu ngeri ennungi, naye kiki kye bateekeddwa okukola?
18 Kituyamba okusalawo obulungi. Bwe tuba nga twolekaganye n’ebintu ebizibu eby’okusalawo, Yakuwa ajja kutuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi, era ng’okusobola okutuyamba tulina okuba abawombeefu. Yakuwa asuubiza nti ajja kuwuliriza “okwegayirira kw’abawombeefu.” (Zab. 10:17) Ate era tajja kukoma bukomi ku kuwuliriza kwegayirira kwaffe. Bayibuli egamba nti: “Ajja kuluŋŋamya abawombeefu basobole okukola ekituufu, era ajja kuyigiriza abawombeefu amakubo ge.” (Zab. 25:9) Yakuwa atuyigiriza ng’ayitira mu Bayibuli, mu bitabo * ebinnyonnyola Bayibuli, ne mu bintu ebirala ebituweebwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi.” (Mat. 24:45-47) Tusaanidde okukkiriza obulagirizi Yakuwa bw’atuwa, nga tusoma ebintu by’atuwa era nga tukolera ku ebyo bye tuyiga.
19-21. Nsobi ki Musa gye yakola e Kadesi, era biki bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo?
19 Kituyamba okwewala okukola ensobi. Ka tulowooze nate ku Musa. Musa yasigala nga muwombeefu okumala emyaka mingi era yasanyusa Yakuwa. Naye ng’emyaka 40 Abayisirayiri gye baamala mu ddungu nga batambula ginaatera okuggwaako, Musa yalemererwa okwoleka obuwombeefu. Mwannyina, Miriyamu, oboolyawo nga ye yayambako nnyina okutaasa obulamu bwa Musa nga bali e Misiri yali yaakafa, era ng’aziikiddwa e Kadesi. Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baddamu okwemulugunya nti baali tebafiibwako. ‘Baayombesa Musa’ olw’obutaba na mazzi. Wadde nga Yakuwa yali abakoledde ebyamagero bingi okuyitira mu Musa, era nga ne Musa amaze ekiseera kiwanvu ng’abakulembera bulungi, abantu abo beemulugunya. Tebaakoma kwemulugunya ku kya butaba na mazzi kyokka, naye Kubal. 20:1-5, 9-11.
era beemulugunya ne ku Musa nga gy’obeera nti ye yali abaleetedde okulumwa ennyonta.—20 Musa yasunguwala nnyo era n’alemererwa okwoleka obuwombeefu. Mu kifo ky’okwoleka okukkiriza n’ayogera eri olwazi nga Yakuwa bwe yamulagira, Musa yayogera eri abantu n’obusungu era engeri gye yayogeramu yali ng’eraga nti ye yali agenda okukola ekyamagero ekyo. Oluvannyuma yakuba ku lwazi emirundi ebiri ne lufukumula amazzi. Amalala n’obusungu bye byamuleetera okukola ensobi eyo. (Zab. 106:32, 33) Olw’okuba Musa yalemererwa okwoleka obuwombeefu mu kiseera ekyo, teyakkirizibwa kuyingira mu nsi ensuubize.—Kubal. 20:12.
21 Tulina ebintu ebikulu bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo. Ekisooka, buli kiseera tulina okufuba okulaba nga tusigala nga tuli bawombeefu. Bwe tulekera awo okuba abawombeefu wadde okumala akaseera akatono, kiba kyangu okufuna amalala ne twogera oba ne tukola ebintu ebitali bya magezi. Eky’okubiri, bwe tuba n’ebintu ebitutawaanya oba ebitweraliikiriza, kyangu obutaba bawombeefu. N’olwekyo tusaanidde okufuba ennyo okusigala nga tuli bawombeefu mu mbeera eyo.
22-23. (a) Lwaki tusaanidde okweyongera okunoonya obuwombeefu? (b) Ebigambo ebiri mu Zeffaniya 2:3 biraga ki?
22 Tukuumibwa. Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kusaanyaawo abantu bonna ababi ku nsi, wasigalewo abawombeefu bokka. Ensi ejja kubaamu emirembe. (Zab. 37:10, 11) Onooba omu ku abo abawombeefu? Ojja kuba omu ku bo singa onookolera ku bigambo Yakuwa bye yaluŋŋamya nnabbi Zeffaniya okuwandiika.—Soma Zeffaniya 2:3.
23 Lwaki Zeffaniya 2:3 wagamba nti, “Oboolyawo mulikwekebwa”? Ebigambo ebyo tebitegeeza nti Yakuwa tasobola kukuuma abo abaagala okumusanyusa era b’ayagala, wabula biraga nti tulina okubaako kye tukolawo okusobola okukuumibwa. Tusobola okuwonyezebwawo “ku lunaku lw’obusungu bwa Yakuwa” ne tubeerawo emirembe gyonna singa tufuba okunoonya obuwombeefu kati ne tusanyusa Yakuwa.
OLUYIMBA 120 Koppa Obuwombeefu bwa Kristo
^ lup. 5 Tewali n’omu ku ffe azaalibwa nga muwombeefu. Engeri eyo tulina kugikulaakulanya bukulaakulanya. Kyangu okuba abawombeefu nga tukolagana n’abantu ab’emirembe, naye tekiba kyangu kuba bawombeefu nga tukolagana n’abantu ab’amalala. Ekitundu kino kigenda kulaga okumu ku kusoomooza kwe tulina okuvvuunuka okusobola okukulaakulanya obuwombeefu.
^ lup. 3 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Obuwombeefu. Abantu abawombeefu bakolagana n’abalala mu ngeri ey’ekisa era basigala nga bakkakkamu ne bwe baba nga bayisiddwa bubi. Obwetoowaze. Abantu abeetoowaze tebaba na malala; batwala abalala nti babasinga. Bayibuli bw’eyogera ku Yakuwa nti mwetoowaze, eba etegeeza nti akolagana n’abo abamuli wansi mu ngeri ey’okwagala era ey’obusaasizi.
^ lup. 12 Abababulooni baatuma Abebbulaniya abo abasatu amannya gano: Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego.—Dan. 1:7.
^ lup. 18 Ng’ekyokulabirako, laba ekitundu ekirina omutwe “Salawo mu Ngeri Eweesa Katonda Ekitiibwa,” mu Munaala gw’Omukuumi ogwa Apuli 15, 2011.
^ lup. 59 EKIFAANANYI: Yesu asigala nga mukkakkamu era ayoleka ekisa ng’awabula abayigirizwa be oluvannyuma lw’okukaayana bokka na bokka ku ani ku bo asinga obukulu.