EKITUNDU EKY’OKUSOMA 9
Leka Yakuwa Akugumye
“Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.”—ZAB. 94:19.
OLUYIMBA 44 Essaala y’Omunaku
OMULAMWA *
1. Biki ebiyinza okutuleetera okweraliikirira, era ekyo kiyinza kutukwatako kitya?
WALI owuliddeko ng’oli mweraliikirivu nnyo? * Oboolyawo weeraliikirira olw’ebyo abalala bye baayogera oba bye baakola. Oba oyinza okuba nga weeraliikirira olw’ekyo kye wayogera oba kye wakola. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba nga wakola ensobi ne weeraliikirira nti Yakuwa talikusonyiwa. N’ekisinga obubi, oyinza okuba nga walowooza nti okweraliikirira ennyo kyali kiraga nti tokyalina kukkiriza era nti oli muntu mubi. Naye ekyo kituufu?
2. Byakulabirako ki okuva mu Byawandiikibwa ebiraga nti omuntu okweraliikirira tekitegeeza nti talina kukkiriza?
2 Lowooza ku byokulabirako bino. Kaana maama wa nnabbi Samwiri yalina okukkiriza okw’amaanyi. Naye yeeraliikirira nnyo, omu ku b’omu maka mwe yali bwe yamuyisa obubi. (1 Sam. 1:7) Omutume Pawulo yalina okukkiriza okw’amaanyi, naye yeeraliikirira nnyo “olw’ebibiina byonna.” (2 Kol. 11:28) Kabaka Dawudi yalina okukkiriza okw’amaanyi ne kiba nti Yakuwa yali amwagala nnyo. (Bik. 13:22) Wadde kyali kityo, Dawudi yakola ensobi ezaamuleetera okweraliikirira ennyo. (Zab. 38:4) Yakuwa yabudaabuda era n’agumya abaweereza be abo. Ka tulabe kye tubayigirako.
KYE TUYIGIRA KU KAANA
3. Abalala bye boogera biyinza bitya okutuleetera okweraliikirira?
3 Abalala bwe boogera naffe obubi, bwe batwogerako obubi, Nge. 12:18) Oba mu bugenderevu omuntu ayinza okusalawo okukozesa ebigambo okutulumya. Ekyo kye kyatuuka ku mwannyinaffe omu. Agamba nti: “Emyaka mitono emabega, omuntu gwe nnali ndowooza nti mukwano gwange yatandika okunjogerako ebintu eby’obulimba ku Intaneeti. Nnawulira obulumi era nneeraliikirira. Nnali sitegeera nsonga lwaki mukwano gwange gwe nnali nneesiga yasalawo okukola bw’atyo.” Bwe weesanga mu mbeera ng’eyo, olina bingi by’oyinza okuyigira ku Kaana.
oba bwe batuyisa obubi kiyinza okutuleetera okweraliikirira. Ekyo kitera okubaawo naddala singa akikoze aba mukwano gwaffe oba nga tumulinako oluganda. Tuyinza okweraliikirira nti enkolagana yaffe n’omuntu oyo eweddewo. Oluusi omuntu ayogera ekintu ekitulumya ayinza okuba nga takigenderedde, naye ky’ayogedde ne kitulumya nnyo! (4. Bizibu ki eby’amaanyi Kaana bye yayolekagana nabyo?
4 Kaana yayolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. Kaana yamala emyaka mingi nga tazaala. (1 Sam. 1:2) Mu Isirayiri, omukazi omugumba yali atwalibwa ng’eyakolimirwa. Ekyo kyaleetera Kaana okuwulira obuswavu. (Lub. 30:1, 2) Ekintu ekirala ekyayongera ku bulumi Kaana bwe yalina kwe kuba nti bbaawe yalina omukazi omulala eyali ayitibwa Penina, era omukazi oyo ye yali azaala. Penina yali tayagala Kaana era “yamuyeeyanga ng’ayagala okumunyiiza.” (1 Sam. 1:6) Mu kusooka, embeera eyo yayisa bubi nnyo Kaana. Yeeraliikiriranga nnyo ne kiba nti ‘yakaabanga era n’alemwa n’okulya.’ Kaana “yali munakuwavu nnyo.” (1 Sam. 1:7, 10) Kiki ekyamubudaabuda?
5. Okusaba kwayamba kutya Kaana?
5 Kaana yasaba Yakuwa era n’amweyabiza. Bwe yamala okusaba, ekizibu kye yakibuulirako Eli, kabona asinga obukulu. Eli yagamba Kaana nti: “Genda mirembe, era Katonda wa Isirayiri k’akuwe ekyo ky’omusabye.” Biki ebyavaamu? Kaana “yeddirayo, n’alya, era n’alekera awo okuba omunakuwavu.” (1 Sam. 1:17, 18) Okusaba kwayamba Kaana okufuna emirembe.
6. Bwe kituuka ku kusaba, biki bye tuyigira ku Kaana ne ku ebyo bye tusoma mu Abafiripi 4:6, 7?
6 Bwe tunyiikirira okusaba kisobola okutuyamba okufuna emirembe. Kaana yamala ekiseera kiwanvu ng’ayogera ne Kitaawe ow’omu ggulu. (1 Sam. 1:12) Naffe tusobola okumala ekiseera kiwanvu nga tubuulira Yakuwa ebitweraliikiriza, ebitutiisa, n’ensobi zaffe. Tuyinza obutasobola kusengeka bulungi bigambo byaffe nga tusaba. Oba tuyinza n’okukaaba nga tubuulira Yakuwa ku bulumi bwe tulina. Wadde kiri kityo, Yakuwa tasobola kukoowa kutuwuliriza. Ng’oggyeeko okutegeeza Yakuwa ku bizibu bye tulina, tulina n’okujjukira ebyo ebiri mu Abafiripi 4:6, 7. (Soma.) Pawulo yagamba nti bwe tuba tusaba, tusaanidde n’okwebazanga oba okusiima. Tulina ebintu bingi bye tusobola okwebaza Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, tusobola okwebaza Yakuwa olw’obulamu bwe tulina, olw’ebintu bye yatonda, olw’okwagala kwe okutajjulukuka, n’olw’essuubi ery’ekitalo ly’atuwadde. Kiki ekirala kye tuyinza okuyigira ku Kaana?
7. Kiki Kaana n’omwami we kye baakolanga obutayosa?
7 Wadde nga Kaana yali ayolekagana n’ebizibu, teyayosanga kugenda n’omwami we e Siiro okusinza Yakuwa. (1 Sam. 1:1-5) Eyo ku weema entukuvu, Eli, kabona asinga obukulu gye yagambira Kaana nti yalina essuubi nti Yakuwa yali ajja kuddamu okusaba kwe, era ekyo kyabudaabuda nnyo Kaana.—1 Sam. 1:9, 17.
8. Enkuŋŋaana zituyamba zitya? Nnyonnyola.
8 Ate era tusobola okufuna emirembe bwe tweyongera okubangawo mu nkuŋŋaana. Enkuŋŋaana zaffe bwe ziba zitandika emirundi mingi ow’oluganda asaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Emirembe kye kimu ku biri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22) Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana zaffe ne bwe tuba nga tulina ebitweraliikiriza, tuwa Yakuwa ne bakkiriza bannaffe akakisa okutuzzaamu amaanyi n’okutuyamba okufuna emirembe ku mutima. Okusaba n’enkuŋŋaana bye bimu ku bintu ebikulu Yakuwa by’akozesa okutubudaabuda. (Beb. 10:24, 25) Waliwo ekintu ekirala kye tuyigira ku Kaana.
9. Kiki ekitaakyuka mu mbeera ya Kaana, naye kiki ekyamuyamba?
9 Ekyali kireetera Kaana okweraliikirira tekyavaawo mangu. Kaana bwe yaddayo eka okuva ku weema entukuvu, yeeyongera okubeera mu maka ge gamu ne Penina. Bayibuli teraga nti Penina yakyusaamu mu nneeyisa ye. N’olwekyo kirabika Kaana yalina okugumira ebigambo bya Penina ebyali birumya. Naye Kaana yalina emirembe ku mutima. Kijjukire nti oluvannyuma lw’okutegeeza Yakuwa ebyali bimweraliikiriza, Kaana teyaddamu kweraliikirira nnyo. Yakkiriza Yakuwa okumubudaabuda n’okumugumya. Oluvannyuma Yakuwa yaddamu essaala za Kaana, era Kaana n’azaala abaana!—1 Sam. 1:19, 20; 2:21.
10. Kiki kye tuyigira ku Kaana?
10 Tusobola okufuna emirembe ne bwe kiba nti ekituviirako okweraliikirira kikyaliwo. Ne bwe tuba nga tusaba nnyo era nga tubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, ebizibu ebimu biyinza obutavaawo. Naye ebyo bye tusoma ku Kaana biraga nti tewali kiyinza kulemesa Yakuwa kutusobozesa kufuna mirembe. Yakuwa tasobola kutwerabira era ajja kutuwa empeera olw’obwesigwa bwaffe.—Beb. 11:6.
KYE TUYIGIRA KU MUTUME PAWULO
11. Bintu ki ebyaleetera Pawulo okweraliikirira?
11 Pawulo yayolekagana n’ebintu ebyamuleetera okweraliikirira. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba yali ayagala nnyo bakkiriza banne, yeeraliikiriranga olw’ebizibu bye baafunanga. (2 Kol. 2:4; 11:28) Pawulo bwe yabanga abuulira, abantu abaali bamuyigganya emirundi mingi baamukuba era ne bamusiba mu kkomera. Ate era oluusi yayolekagananga n’ebizibu gamba ‘ng’okuba n’ebintu ebitono.’ (Baf. 4:12) Olw’okuba emirundi esatu eryato mwe yali lyamenyekamenyeka, ateekwa okuba nga yeeraliikiriranga ng’atambulira ku mazzi. (2 Kol. 11:23-27) Kiki ekyayamba Pawulo nga yeeraliikirira?
12. Kiki ekyayamba Pawulo obuteeraliikirira nnyo?
12 Pawulo yeeraliikiranga bakkiriza banne bwe baabanga boolekagana n’ebizibu, naye teyagezaako kugonjoola bizibu byabwe byonna yekka. Pawulo yali akimanyi nti yali tasobola kukola buli kimu yekka. Yasaba abalala bamuyambeko okulabirira ekibiina. Ng’ekyokulabirako, yakwasa obuvunaanyizibwa obumu abantu abeesigika gamba nga Timoseewo ne Tito. Emirimu ab’oluganda abo gye baakola gyayamba Pawulo obuteeraliikirira nnyo.—Baf. 2:19, 20; Tit. 1:1, 4, 5.
13. Abakadde bayinza batya okukoppa Pawulo?
13 Saba abalala bakuyambe. Okufaananako Pawulo, abakadde bangi leero beeraliikirira olwa bakkiriza bannaabwe mu kibiina aboolekagana n’ebigezo. Kyokka omukadde ayinza obutasobola kuyamba buli omu mu kibiina. Naye bw’akikkiriza nti ebintu ebimu tasobola kubikola, asaba abalala abalina ebisaanyizo okumuyambako era atendeka abavubuka okumuyambako okulabirira ekisibo kya Katonda.—2 Tim. 2:2.
14. Kiki Pawulo ky’ataatya, era tumuyigirako ki?
14 Kikkirize nti weetaaga okubudaabudibwa. Pawulo yali mwetoowaze ne kiba nti yali akimanyi nti yeetaaga abalala okumuzzaamu amaanyi, era baamuzzaamu amaanyi. Teyatya nti abalala bandimututte nti munafu olw’okuba yakkiriza abalala okumuzzaamu amaanyi. Mu bbaluwa gye yawandiikira Firemooni, Pawulo yagamba nti: “Nnasanyuka nnyo era ne mbudaabudibwa bwe nnawulira ku kwagala kw’olina.” (Fir. 7) Pawulo yayogera ne ku bakkiriza banne abalala abaamuzzaamu ennyo amaanyi mu biseera ebizibu. (Bak. 4:7-11) Bwe tukikkiriza nti twetaaga okuzzibwamu amaanyi, bakkiriza bannaffe bajja kutuwa obuyambi bwe twetaaga.
15. Pawulo yabudaabudibwa atya ng’ayolekagana n’embeera enzibu?
15 Somanga Ekigambo kya Katonda. Pawulo yali akimanyi nti Ebyawandiikibwa byandimuyambye okubudaabudibwa. (Bar. 15:4) Era byandimuyambye okufuna amagezi okwaŋŋanga ekizibu kyonna. (2 Tim. 3:15, 16) Bwe yali asibiddwa omulundi ogw’okubiri mu Rooma, Pawulo yakiraba nti yali anaatera okufa. Kiki kye yakola ng’ali mu mbeera eyo eyali enzibu? Yagamba Timoseewo agende mangu gy’ali amutwalire “emizingo.” (2 Tim. 4:6, 7, 9, 13) Lwaki? Kirabika emizingo egyo byali bimu ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya Pawulo bye yali asobola okukozesa mu kwesomesa. Okufaananako Pawulo, naffe bwe twesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa, Yakuwa ajja kukoze Ebyawandiikibwa okutugumya ka tube nga twolekagana na kizibu ki.
KYE TUYIGIRA KU KABAKA DAWUDI
16. Dawudi yawulira atya bwe yakola ensobi ey’amaanyi?
16 Dawudi yakola ebintu ebyamuleetera okulumirizibwa omuntu we ow’omunda. Yayenda ku Basuseba, n’akola olukwe omwami wa Basuseba n’attibwa, era n’agezaako okukweka ebibi ebyo okumala akaseera. (2 Sam. 12:9) Mu kusooka Dawudi yagezaako obutawuliriza muntu we ow’omunda. Ekyo kyayonoona enkolagana ye ne Yakuwa, era kyamuviirako okufuna ennaku n’obulumi obw’amaanyi. (Zab. 32:3, 4) Kiki ekyayamba Dawudi okwaŋŋanga ennaku gye yeereetera era kiki ekiyinza okutuyamba nga tukoze ebibi eby’amaanyi?
17. Ebyo bye tusoma mu Zabbuli 51:1-4 biraga bitya nti Dawudi yeenenya mu bwesimbu?
17 Saba Yakuwa akusonyiwe. Oluvannyuma Dawudi yasaba Yakuwa. Yanakuwalira nnyo ebibi bye era n’abitegeeza Yakuwa. (Soma Zabbuli 51:1-4.) Ekyo kyamuleetera obuweerero bwa maanyi! (Zab. 32:1, 2, 4, 5) Bw’okola ekibi eky’amaanyi, togezaako kukikweka. Mu kifo ky’ekyo, saba Yakuwa omutegeeze ekibi ekyo. Omuntu wo ow’omunda ajja kulekera awo okukulumiriza ennyo kikusobozese okufuna obuweerero. Naye bw’oba oyagala okuzzaawo enkolagana yo ne Yakuwa, tolina kukoma ku kusaba.
18. Dawudi yakola ki ng’akangavvuddwa?
18 Kkiriza okukangavvulwa. Yakuwa bwe yasindika nnabbi Nasani okwanika ekibi kya Dawudi, Dawudi teyagezaako kwewolereza oba okutwala ekibi kye ng’ekitaali kya maanyi. Amangu ddala yakkiriza nti yali akoze ekibi, si ku mwami wa Basuseba yekka, naye n’okusingira ddala ku Yakuwa. Dawudi yakkiriza 2 Sam. 12:10-14) Bwe tukola ekibi eky’amaanyi, tulina okutegeeza abo Yakuwa be yassaawo okutulabirira mu by’omwoyo. (Yak. 5:14, 15) Era tulina okwewala okwewolereza. Gye tukoma okwanguwa okukkiriza okukangavvula kwonna okuba kutuweereddwa n’okukukolerako, gye tukoma okwanguwa okufuna emirembe n’essanyu.
okukangavvula Yakuwa kwe yamuwa era Yakuwa yamusonyiwa. (19. Kiki kye tulina okumalirira okukola?
19 Malirira obutaddamu kukola nsobi y’emu. Kabaka Dawudi yali akimanyi nti okusobola okwewala okuddamu okola ensobi y’emu yali yeetaaga Yakuwa okumuyamba. (Zab. 51:7, 10, 12) Oluvannyuma lwa Yakuwa okumusonyiwa, Dawudi yali mumalirivu okwewala endowooza enkyamu. N’ekyavaamu, yafuna emirembe ku mutima.
20. Tukiraga tutya nti tusiima enteekateeka ya Yakuwa ey’okutusonyiwa?
20 Tukiraga nti tusiima enteekateeka ya Yakuwa ey’okutusonyiwa bwe tumusaba okutusonyiwa, ne tukkiriza okukangavvula okutuweebwa, era ne tufuba obutaddamu kukola nsobi y’emu. Bwe tukola ebintu ebyo tuddamu okufuna emirembe. Ow’oluganda ayitibwa James eyakola ekibi eky’amaanyi ekyo yakiraba nti kituufu. Agamba nti: “Bwe nnategeeza abakadde ekibi kye nnali nkoze, nnawulira nga nninga atikkuddwa omugugu omuzito. Nnatandika okuddamu okufuna emirembe ku mutima.” Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti “Yakuwa ali kumpi n’abo abalina omutima ogumenyese; alokola abo bonna abalina omwoyo oguboneredde.”—Zab. 34:18.
21. Tuyinza tutya okukkiriza Yakuwa okutubudaabuda?
21 Ng’enkomerero egenda esembera, ebintu ebitweraliikiriza biyinza okweyongera. Bw’oba ng’olina ebikweraliikiriza, tolonzalonza kusaba Yakuwa kukuyamba. Soma Bayibuli. Yigira ku Kaana, Pawulo, ne Dawudi. Saba Kitaawo ow’omu ggulu akuyambe okumanya ekikuviirako okweraliikirira. (Zab. 139:23) Muleke yeetikke emigugu gyo nnaddala egyo gy’otolina kya maanyi ky’oyinza kugikolako. Bw’okola bw’otyo, ojja kuba ng’omuwandiisi wa zabbuli eyayimbira Yakuwa n’agamba nti: “Bwe nnali nneeraliikirira nnyo, wambudaabuda era n’oŋŋumya.”—Zab. 94:19.
OLUYIMBA 4 “Yakuwa Ye Musumba Wange”
^ lup. 5 Oluusi n’oluusi, ffenna tweraliikirira olw’ebizibu bye tuba twolekagana nabyo. Ekitundu kino kyogera ku baweereza ba Yakuwa basatu aboogerwako mu Bayibuli abaalina ebibeeraliikiriza. Era kiraga engeri Yakuwa gye yabudaabuda era n’agumya buli omu ku bo.
^ lup. 1 EBIGAMBO EBINNYONNYOLWA: Okweraliikirira kwe kuwulira ng’omutima gukwewanise. Kiyinza okuva ku kulowooza ennyo ku mbeera y’eby’enfuna, obulwadde, ebizibu mu maka, oba ebizibu ebirala. Ate era tuyinza okweraliikirira olw’ensobi ze twakola emabega oba olw’ebizibu bye tulowooza nti tujja kufuna mu biseera eby’omu maaso.